LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 3/1 lup. 28-32
  • Amazima ga Muwendo gy’Oli Kwenkana Wa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amazima ga Muwendo gy’Oli Kwenkana Wa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Endowooza Ensi gy’Erina ku Mazima
  • Abakristaayo n’Ensi
  • Yakuwa Atufaako
  • Okwefaako Ffe Ffennyini mu By’Omwoyo
  • Okugoberera Obulagirizi bwa Katonda Kireeta Essanyu
  • Abakristaayo Basinza mu Mwoyo n’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • “Nja Kutambulira mu Mazima Go”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Koppa Katonda ow’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • “Weeyongere Okutambulira mu Mazima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 3/1 lup. 28-32

Amazima ga Muwendo gy’Oli Kwenkana Wa?

“Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”​—YOKAANA 8:32.

1. Engeri Piraato gye yakozesaamu ekigambo “amazima” eyawukana etya ku ya Yesu?

“AMAZIMA kye ki?” Kirabika nga Piraato bwe yabuuza ekibuuzo ekyo, yali ategeeza amazima okutwalira awamu. Yesu yali yaakamala okumugamba nti: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37, 38) Obutafaananako Piraato, Yesu yali ategeeza amazima agava eri Katonda.

Endowooza Ensi gy’Erina ku Mazima

2. Bigambo ki Yesu bye yayogera ebiraga nti amazima ga muwendo nnyo?

2 Pawulo yagamba: “Okukkiriza si kwa bonna.” (2 Abasessaloniika 3:2) Ekintu kye kimu kiyinza okwogerwa ku mazima. Wadde nga bafunye omukisa ogw’okumanya amazima ageesigamiziddwa ku Baibuli, abantu bangi bagabuusa amaaso. Naye, ng’amazima ga muwendo nnyo! Yesu yagamba: “Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”​—Yokaana 8:32.

3. Kulabula ki okukwata ku njigiriza ez’obulimba kwe tulina okugoberera?

3 Omutume Pawulo yagamba nti amazima gaali tegayinza kusangibwa mu bufirosoofo ne mu bulombolombo bw’abantu. (Abakkolosaayi 2:8) Mazima ddala, enjigiriza ng’ezo za bulimba. Pawulo yalabula Abakristaayo ab’omu Efeso nti singa bakkiririza mu njigiriza ezo, bandibadde ng’abaana abato mu by’omwoyo ‘nga bayuugana nga batwalibwa buli mpewo ey’okuyigiriza, mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, olw’okugoberera okuteesa okw’obulimba.’ (Abaefeso 4:14) Leero, “obukuusa bw’abantu” bubunyisibwa okuyitira mu ppokopoko w’abo abaziyiza amazima agava eri Katonda. Ekitabo The New Encyclopædia Britannica kinnyonnyola ekigambo “ppokopoko” nga kigamba nti “ye ngeri y’okufugamu ebirowoozo by’abantu n’ebyo bye bakkiriza oba enneeyisa zaabwe.” Ppokopoko ow’ekika ekyo anyoolanyoola amazima ne gafuuka obulimba, era atumbula obulimba mu kifo ky’amazima. Okusobola okuzuula amazima nga twolekaganye n’okupikirizibwa okw’engeri eyo, tuteekwa okunyiikirira Ebyawandiikibwa.

Abakristaayo n’Ensi

4. Baani abasobola okuzuula amazima, era abo abagategeera baba na buvunaanyizibwa ki?

4 Yesu Kristo yasaba Yakuwa bw’ati ku lw’abo abaali bafuuse abayigirizwa be: “Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Banditukuziddwa oba bandyawuliddwawo olw’ekigendererwa eky’okuweereza Yakuwa n’okumanyisa erinnya lye n’Obwakabaka. (Matayo 6:9, 10; 24:14) Wadde nga si bonna nti bagategeera, abantu bonna abanoonya amazima ga Yakuwa basobola okugazuula awatali kugasasulira ka babe ba ggwanga ki, ba langi ki oba nga bava mu mbeera ki ey’obulamu. Omutume Peetero yagamba: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

5. Lwaki Abakristaayo batera okuyigganyizibwa?

5 Abakristaayo babuulira abalala amazima ag’omu Baibuli naye tebaasiimibwa mu buli kifo. Yesu yalabula: “Balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.” (Matayo 24:9) Bwe yali ayogera ku lunyiriri luno, omukulembeze w’eddiini ayitibwa John R. Cotter enzaalwa y’omu Ireland yawandiika bw’ati mu 1817: “[Abakristaayo] bwe baagezaako okukyusa obulamu bw’abantu abalala okuyitira mu kubuulira kwabwe, mu kifo ky’abantu okubasiima, baabakyawa bukyayi era ne babayigganya kubanga baayatuukiriza ebibi byabwe.” Abantu ng’abo ‘bagaana amazima agandibalokodde.’ N’olw’ensonga eyo, “Katonda kyava abaleka okubuzaabuzibwa, bakkirize eby’obulimba, bonna balyoke basalirwe omusango kubanga tebakkiriza mazima naye baasanyukira obutali butuukirivu.”​—2 Abasessaloniika 2:10-12, NW.

6. Kwegomba ki Abakristaayo kwe batasaanidde kukulaakulanya?

6 Omutume Yokaana alabula Abakristaayo abali mu nsi eno embi: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. . . . Buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.” (1 Yokaana 2:15, 16) Yokaana bwe yagamba nti “buli ekiri mu nsi,”yali ayogera ku buli kimu. N’olw’ensonga eyo, tetuteekwa kwagala kintu kyonna ekiri mu nsi ekiyinza okutuwugula okuva ku mazima. Okugoberera okubuulirira kwa Yokaana, kijja kubaako eky’amaanyi kye kikola ku bulamu bwaffe. Mu ngeri ki?

7. Okumanya amazima kukubiriza abantu ab’emitima emyesigwa okukola ki?

7 Buli mwezi mu mwaka gw’obuweereza 2001, Abajulirwa ba Yakuwa baayigiriza abantu Baibuli abasukka mu bukadde buna n’ekitundu, nga babayigiriza Katonda by’abeetaagisa okusobola okufuna obulamu. N’ekyavaamu, abantu 263,431 baabatizibwa. Ekitangaala eky’amazima kyafuuka kya muwendo nnyo eri abayigirizwa abo abappya, era beesamba emikwano emibi n’empisa embi ezitaweesa Katonda kitiibwa ezicaase ennyo mu nsi eno. Okuva lwe baabatizibwa, beeyongedde okweyisa mu ngeri etuukana n’emitindo Yakuwa gy’ateerawo Abakristaayo bonna. (Abaefeso 5:5) Amazima ga muwendo nnyo gy’oli okwenkana awo?

Yakuwa Atufaako

8. Yakuwa atwala atya okwewaayo kwaffe gy’ali, era lwaki kya magezi ‘okusooka okunoonya obwakabaka’?

8 Wadde nga tetutuukiridde, Yakuwa asiima okwewaayo kwaffe, era n’atusembeza gy’ali. Mu ngeri eyo, atuyamba okufuna ebiruubirirwa ebikulu. (Zabbuli 113:6-8) Mu kiseera kye kimu, Yakuwa atusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi naye, era n’atusuubiza nti ajja kutufaako singa ‘tusooka okunoonya obwakabaka bwe n’obutuukirivu.’ Singa tukola bwe tutyo era ne tusigala nga tuli bulungi mu mbeera yaffe ey’eby’omwoyo, atusuubiza nti: “Ebyo byonna mulibyongerwako.”​—Matayo 6:33.

9. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ y’ani, era Yakuwa atufaako atya ng’ayitira mu ‘muddu’ oyo?

9 Yesu Kristo yalonda abatume be 12 okuba omusingi gw’ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, oluvannyuma abaayitibwa “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16; Okubikkulirwa 21:9, 14) Ekibiina kino oluvannyuma kyayitibwa “ekkanisa ya Katonda omulamu” era “empagi n’omusingi eby’amazima.” (1 Timoseewo 3:15) Abo abaali mu kibiina ekyo Yesu yabayita ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ era “omuwanika omwesigwa ow’amagezi.” Yesu yagamba nti, omuddu oyo omwesigwa yandibadde n’obuvunaanyizibwa obw’okuwa Abakristaayo “omugabo gwabwe ogw’emmere mu kiseera kyayo.” (Matayo 24:3, 45-47; Lukka 12:42) Bwe tutaba na mmere ya mubiri, tusobola okufa enjala. Mu ngeri y’emu, bwe tutalya mmere ya bya mwoyo, tusobola okunafuwa era ne tufa mu by’omwoyo. N’olwekyo, okubeerawo ‘kw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ bukakafu obulala obulaga nti Yakuwa atufaako. Bulijjo ka tutwale emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa omuddu oyo nga ya muwendo nnyo.​—Matayo 5:3.

10. Lwaki kikulu okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa?

10 Okulya emmere ey’eby’omwoyo kitwetaagisa okweyigiriza. Era kitwetaagisa okubeera awamu n’Abakristaayo abalala n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Okyajjukira bulungi bye walya emyezi mukaaga oba wiiki mukaaga eziyise? Oboolyawo nedda. Kyokka, emmere gye walya wali ogyetaaga okusobola okweyongera okubeerawo ng’oli mulamu. Era kyandiba nti okuva ku olwo, obadde olya emmere efaananako n’eyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku mmere ey’eby’omwoyo gye tufuna mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Oboolyawo tetujjukira buli kimu kye twawulira mu nkuŋŋaana zaffe. Era oboolyawo ebintu bye bimu bibadde biddiŋŋanwa enfunda n’enfunda. Wadde kiri bwe kityo, mmere ya bya mwoyo gye twetaaga okusobola okubeera abalamu mu by’omwoyo. Mu nkuŋŋaana zaffe bulijjo mubeeramu emmere ey’eby’omwoyo ennungi, etuweebwa mu kiseera ekituufu.

11. Bwe tuba mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, tuba na buvunaanyizibwa ki?

11 Okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era kituwa obuvunaanyizibwa. Abakristaayo bakubirizibwa ‘okuzziŋŋanamu amaanyi,’ n’okukubiriza bannaabwe mu kibiina “okwagala n’okukola ebirungi.” Bwe tweteekerateekera enkuŋŋaana ne tuzibeeramu era ne tuzenyigiramu zonna, kinyweza okukkiriza kwaffe kinnoomu era kizzaamu abalala amaanyi. (Abaebbulaniya 10:23-25) Okufaananako abaana abato abeeroboza emmere, abamu bayinza okuba nga beetaaga okukubirizibwa buli kiseera okulya emmere ey’eby’omwoyo. (Abaefeso 4:13) Kiba kya kwagala okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi basobole okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo Pawulo be yayogerako nti: ‘Emmere enkalubo ya bakulu, abamaze okuyiga ne bamanya okwawulawo ekirungi n’ekibi.’​—Abaebbulaniya 5:14.

Okwefaako Ffe Ffennyini mu By’Omwoyo

12. Ani abeera n’obuvunaanyizibwa obusingira ddala okulaba nti tusigala mu mazima? Nnyonnyola.

12 Munnaffe mu bufumbo oba bazadde baffe basobola okutukubiriza okweyongera okutambulira mu mazima. Mu ngeri y’emu, abakadde mu kibiina basobola okutuwa obulagirizi okuva bwe tuli mu kisibo kye balabirira. (Ebikolwa 20:28) Naye, ani aba n’obuvunaanyizibwa obusingira ddala okulaba nti tweyongera okutambulira mu kkubo ery’obulamu eryesigamiziddwa ku mazima? Mazima ddala, obuvunaanyizibwa obwo bubeera ku ffe ffennyini. Era ekyo bwe kibeera ka tube nga tuli mu mbeera nnungi oba nga tuli mu bizibu. Lowooza ku kino ekyaliwo.

13, 14. Nga bwe kiragiddwa n’ebyo ebyatuuka ku kaliga, tusobola tutya okufuna obuyambi bwe twetaaga mu by’omwoyo?

13 Mu Scotland, obuliga obumu bwe bwali ku ttale nga bulya, akamu ku bwo kaagwa mu lukonko. Tekaalumizibwa naye kaatya nnyo era ne kalemererwa okuvaayo. Kaatandika okukaaba. Maama waako yakawulira era naye n’atandika okukaaba okutuusa omusumba bwe yajja n’akaggyayo.

14 Weetegereze ebyo ebyaliwo. Akaliga kaakaaba nga kaagala kayambibwe, maama waako naye yakaaba, era mangu ddala omusumba alina kye yakolawo okukawonya. Bwe kiba nti ekisolo ekito bwe kityo ne maama waakyo biyinza okumanya nti waliwo akabi era mangu ddala ne bikaaba biyambibwe, naffe tetwandikoze ekintu kye kimu singa tugwa mu mitawaana mu by’omwoyo oba singa twolekagana n’ebintu eby’akabi okuva mu nsi ya Setaani? (Yakobo 5:14, 15; 1 Peetero 5:8) Bwe tusaanidde okukola, nnaddala bwe tuba nga tetulina bumanyirivu olw’okuba tukyali bato mu myaka oba nga tukyali bappya mu mazima.

Okugoberera Obulagirizi bwa Katonda Kireeta Essanyu

15. Omukyala omu yawulira atya bwe yatandika okukolagana n’ekibiina Ekikristaayo?

15 Lowooza ku miganyulo egiri mu kutegeera Baibuli era n’okubeera n’emirembe mu mutima abantu abaweereza Katonda ow’amazima gye baba nagyo. Omukyala omu ow’emyaka 70 egy’obukulu eyali mu Kkanisa y’e Bungereza okuviira ddala mu buto bwe, yakkiriza okuyiga Baibuli n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mangu ddala yakitegeera nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, era bwe yagenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka yali omu ku abo abaagamba nti “Amiina” oluvannyuma lw’okusaba. Ng’abuguumiridde nnyo, yagamba: “Mu kifo ky’okuyigiriza nti Katonda ali wala nnyo era nti ffe abantu tetusobola kumutuukirira, mutuyambye okumutegeera nti ali kumpi naffe nga mukwano gwaffe nfiirabulago. Kino kye kintu kye nnali simanyiddeko ddala.” Kirabika omukyala oyo talyerabira engeri amazima gye gaamukwatako omulundi ogwasookera ddala. Ka naffe mu ngeri y’emu, tuleme kwerabira engeri amazima gye gaali ag’omuwendo ennyo gye tuli nga twakagafuna.

16. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa okufuna ssente kiba ekiruubirirwa ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe? (b) Tuyinza tutya okufuna essanyu erya nnamaddala?

16 Abantu bangi balowooza nti singa baalina ssente nnyingi, bandibadde basanyufu nnyo. Naye, singa tufuula okufuna ssente ekiruubirirwa ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe, tuyinza okufuna ‘ennaku nnyingi nnyo mu mutima.’ (1 Timoseewo 6:10, Phillips) Lowooza ku ngeri abantu bangi gye bamalira ssente zaabwe mu kukuba zzaala nga basuubira nti bajja kugaggawala nnyo. Batono nnyo ddala abafuna obugagga obwo bwe baali basuubira. N’abo ababufuna, mangu ddala bakizuula nti obugagga obwo tebuyinza kubaleetera ssanyu. Essanyu erya nnamaddala liva mu kukola Yakuwa by’ayagala n’okukolaganira awamu n’ekibiina Ekikristaayo ekirina obulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa n’obuyambi bwa bamalayika be. (Zabbuli 1:1-3; 84:4, 5; 89:15) Bwe tukola bwe tutyo, tuyinza okufuna emikisa mingi. Amazima ga muwendo nnyo gy’oli ne kiba nti gasobola okukuleetera emikisa ng’egyo mu bulamu bwo?

17. Peetero okubeera mu nnyumba ya Simooni omuwazi w’amaliba kyalaga ki ku ndowooza y’omutume oyo?

17 Lowooza ku bino ebikwata ku mutume Peetero. Mu mwaka 36 C.E., yatambula olugendo lwe olw’obuminsani ng’ayolekera Ensenyi za Saloni. Yayimirirako e Luda gye yawonyeza omusajja ayitibwa Ayineya eyali akonzimbye, owo ate n’agenda ku mwalo gw’e Yopa. Eyo yawonyezaayo Doluka. Ebikolwa by’Abatume 9:43 watugamba: “Awo olwatuuka n’alwayo ennaku nnyingi mu Yopa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w’amaliba.” Ebigambo ebyo biraga endowooza etali ya busosoze Peetero gye yalina bwe yali ng’abuulira abantu b’omu kibuga ekyo. Mu ngeri ki? Omwekenneenya wa Baibuli ayitibwa Frederic W. Farrar agamba bw’ati: “Tewali mugoberezi w’Amateeka Agatali mu Buwandiike [aga Musa] eyandibadde asikirizibwa okusula mu nnyumba y’omuwazi w’amaliba. Mu maaso g’abagoberezi b’amateeka lukulwe, ennyumba y’omuntu akola omulimu ogwo yatwalibwanga okuba etali nnongoofu era ey’omuzizo olw’amaliba g’ensolo era n’ebisolo ebifudde bye yakwatiriranga buli lunaku.” Ka kibe nti ennyumba ya Simooni ‘eyali eriraanye ennyanja’ teyali kumpi n’ekifo we yali awalira amaliba, Simooni yali yeenyigira mu ‘mulimu ogwali gutwalibwa okuba ogw’omuzizo era ogwanyoomesanga abo abaagukolanga,’ bw’atyo Farrar bw’agamba.​—Ebikolwa 10:6.

18, 19. (a) Lwaki Peetero yeewuunya nnyo okwolesebwa kwe yafuna? (b) Peetero yafuna mukisa ki gwe yali tasuubira?

18 Peetero eyali tasosola yakkiriza okukyazibwa Simooni, era ng’ali eyo, Peetero yafuna obulagirizi bwa Katonda bwe yali tasuubira. Yafuna okwolesebwa era n’alagirwa okulya ebisolo ebyali bitwalibwa okuba ebitali birongoofu mu mateeka g’Abayudaaya. Peetero yagaana ng’agamba nti yali ‘talyangako kintu kyonna eky’omuzizo newakubadde ekibi.’ Naye emirundi esatu yagambibwa: “Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.” Awatali kubuusabuusa, ‘Peetero yeewuunya nnyo amakulu g’okwolesebwa okwo.’​—Ebikolwa 10:5-17; 11:7-10.

19 Peetero yali takimanyi nti olunaku lumu emabega, ne Koluneeriyo eyali e Kayisaliya, ze mayiro nga 30 okuva awo, naye yali afunye okwolesebwa. Malayika wa Yakuwa yali alagidde Koluneeriyo okutuma abaweereza be mu nnyumba ya Simooni omuwazi w’amaliba bayite Peetero. Koluneeriyo yatuma abaweereza be mu nnyumba ya Simooni era Peetero n’agenda nabo e Kayisaliya. Ng’ali eyo, Peetero yabuulira Koluneeriyo n’ab’eŋŋanda ze awamu ne mikwano gye. N’ekyavaamu, abo be baali Ab’amawanga abatali bakomole abaasooka okufuna omwoyo omutukuvu ng’abasika mu Bwakabaka. Wadde ng’abantu abo abaali bawuliriza Peetero tebaali bakomole, bonna baabatizibwa. Ekyo kyaggulirawo ekkubo ab’amawanga, Abayudaaya be baali batwala okuba abatali balongoofu okufuuka ab’omu kibiina Ekikristaayo. (Ebikolwa 10:1-48; 11:18) Eyo nga yali nkizo ya maanyi nnyo Peetero gye yafuna olw’okubanga amazima gaali ga muwendo nnyo gy’ali, era ne gamuleetera okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa era n’okwoleka okukkiriza!

20. Katonda atuwa buyambi ki bwe tukulembeza amazima mu bulamu bwaffe?

20 Pawulo abuulirira bw’ati: ‘Nga twogeranga amazima, ka tukulaakulane mu bintu byonna nga tuli mu kwagalana okutuuka mu ye, gwe mutwe, Kristo.’ (Abaefeso 4:15) Yee, amazima gajja kutuleetera essanyu lingi nnyo kaakano singa tugakulembeza mu bulamu bwaffe era ne tuleka Yakuwa okutuwa obulagirizi okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Era tujjukire buli kiseera obuyambi bamalayika abatukuvu bwe batuwa nga tuli mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. (Okubikkulirwa 14:6, 7; 22:6) Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okubeera n’obuyambi ng’obwo mu mulimu Yakuwa gw’atuwadde okukola! Bwe tusigala nga tuli bagolokofu, kijja kutuleetera okutendereza Yakuwa, Katonda ow’amazima, emirembe gyonna. Ddala eriyo ekintu kyonna ekisinga ekyo okubeera eky’omuwendo.​—Yokaana 17:3.

Tuyize Ki?

• Lwaki abantu bangi tebakkiriza mazima?

• Abakristaayo banditunuulidde batya ebintu ebiri mu nsi ya Setaani?

• Twandibadde na ndowooza ki ku nkuŋŋaana, era lwaki?

• Tulina buvunaanyizibwa ki ku bikwata ku kufaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Yesu yawa obujulirwa ku mazima

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okufaananako emmere ey’omubiri, emmere ey’eby’omwoyo ya mugaso nnyo mu bulamu bwaffe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share