Obukulembeze bwa Kristo bwa Ddala gy’Oli?
“Temuyitibwanga bakulembeze; kubanga omukulembeze wammwe ali omu, ye Kristo.”—MATAYO 23:10, NW.
1. Ani Mukulembeze w’Abakristaayo ab’amazima?
LWALI Lwakubiri, nga Nisani 11. Yali ebulayo ennaku ssatu, Yesu Kristo attibwe. Guno gwe gwali omulundi gwe ogusembayo okugenda mu yeekaalu. Ku lunaku olwo, Yesu yategeeza abayigirizwa be era n’ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanye, enjigiriza enkulu. Yagamba: “Temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. So temuyitibwanga balagirizi [“bakulembeze,” NW]: kubanga omulagirizi [“omukulembeze,” NW] wammwe ali omu, ye Kristo.” (Matayo 23:8-10) Kya lwatu, Yesu Kristo ye Mukulembeze w’Abakristaayo ab’amazima.
2, 3. Okuwuliriza Yakuwa n’okukkiriza Omukulembeze gw’alonze kiyinza kukola ki ku bulamu bwaffe?
2 Nga tuganyulwa nnyo mu bulamu bwaffe singa tukkiriza obukulembeze bwa Kristo! Yakuwa Katonda bwe yali alagula ku kujja kw’Omukulembeze oyo okuyitira mu nnabbi we Isaaya, yagamba: “Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n’oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje, mugule omwenge n’amata awatali bigula . . . Mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu. . . . Laba mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, [omukulembeze] era [omuduumizi] eri amawanga.”—Isaaya 55:1-4.
3 Isaaya yakozesa ebintu ebya bulijjo, kwe kugamba, amazzi, amata n’omwenge okulaga engeri obulamu bwaffe gye buyinza okukwatibwako singa tuwuliriza Yakuwa era ne tugoberera Omukulembeze era Omuduumizi gw’atuwadde. Ebivaamu bizzaamu endasi. Kiba ng’okunywa amazzi aganyogoga mu kasana ak’amaanyi. Mu ngeri y’emu ennyonta ey’amazima n’obutuukirivu gye tuba nayo eggwaawo. Ng’amata bwe gawa abaana abawere amaanyi era ne gabayamba okukula obulungi, bwe kityo ‘amata g’Ekigambo’ gatuwa amaanyi era ne gatusobozesa okukula obulungi mu by’omwoyo awamu n’okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. (1 Peetero 2:1-3) Era ani ayinza okugamba nti omwenge teguleeta ssanyu ku mbaga? Mu ngeri y’emu, okusinza Katonda ow’amazima n’okugoberera ekyokulabirako ky’Omukulembeze gw’alonze, kireetera obulamu okubeeramu “essanyu ejjereere.” (Ekyamateeka 16:15) N’olwekyo, kikulu nnyo eri ffenna, abato n’abakulu, abasajja n’abakazi okulaga nti obukulembeze bwa Kristo bwa ddala gye tuli. Kati olwo, tuyinza tutya okulaga mu bulamu bwaffe nti Masiya ye Mukulembeze waffe?
Abavubuka—‘Mweyongere Okukula mu Magezi’
4. (a) Kiki ekyaliwo Yesu bwe yagenda mu yeekaalu mu kiseera ky’embaga ey’Okuyitako ng’aweza emyaka 12 gyokka? (b) Yesu yali amanyi byenkana wa ku myaka 12 egy’obukulu?
4 Lowooza ku kyokulabirako Omukulembeze waffe kye yateerawo abaana abato. Wadde nga bitono nnyo ebimanyiddwa ku buto bwa Yesu, waliwo ekintu kimu ekyaliwo ekirimu eby’okuyiga. Yesu bwe yali ng’aweza emyaka 12 egy’obukulu, bazadde be baagenda naye e Yerusaalemi gye baagendanga buli mwaka ku mbaga ey’Okuyitako. Nga bali eyo, alina be yali akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa, era mu butali bugenderevu ab’ewaabwe ne bamulekayo. Nga wayiseewo ennaku ssatu, bazadde be, Yusufu ne Malyamu, abaali abeeraliikirivu ennyo, baamusanga mu yeekaalu, “ng’atudde wakati mu bayigiriza, ng’abawuliriza era ng’ababuuza.” Ate era, ‘bonna abaali bamuwuliriza baawuniikirira olw’amagezi ge n’okuddamu kwe.’ Kirowoozeeko, ku myaka 12 gyokka egy’obukulu, Yesu yali asobola okubuuza ebibuuzo ebyali bikubiriza omuntu okulowooza era ebikwata ku by’omwoyo, ate era ng’asobola n’okuddamu mu ngeri ey’amagezi! Awatali kubuusabuusa, yali atendekeddwa bulungi bazadde be.—Lukka 2:41-50.
5. Abato bayinza batya okukebera endowooza gye balina ku kuyiga kw’amaka?
5 Oboolyawo oli muto. Bwe kiba nti bazadde bo baweereza ba Katonda abeesigwa, muyinza okuba nga mulina enteekateeka ey’okuyiga Baibuli mu maka gammwe obutayosa. Olina ndowooza ki ku kuyiga kw’amaka? Lwaki tolowooza ku bibuuzo nga bino: ‘Mpagira enteekateeka y’amaka ey’okuyiga Baibuli n’omutima gwange gwonna? Enteekateeka eyo ngigoberera era sikola kintu kyonna ekiyinza okugiremesa?’ (Abafiripi 3:16) ‘Nneenyigira mu kuyiga okwo? Bwe kiba nga kisaanira, mbuuza ebibuuzo ebikwata ku ekyo ekiyigibwako era ne njogera ku ngeri ebiyigibwa gye bitukwatako? Nga ŋŋenda nkula mu by’omwoyo, nneeyongera okwagala ‘emmere enkalubo ey’abakulu’?—Abaebbulaniya 5:13, 14.
6, 7. Enteekateeka ey’okusoma Baibuli buli lunaku esobola etya okuganyula abavubuka?
6 Enteekateeka ey’okusoma Baibuli buli lunaku, nayo nkulu nnyo. Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Alina omukisa atatambulira mu kuteesa kw’ababi, . . . Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro.” (Zabbuli 1:1, 2) Yoswa eyasikira Musa, ‘yasomanga mu kitabo ky’amateeka emisana n’ekiro.’ Ekyo kyamuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi era n’okukola obulungi omulimu Katonda gwe yali amuwadde. (Yoswa 1:8) Omukulembeze waffe Yesu Kristo yagamba: “Kyawandiikibwa nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4) Bwe kiba nti twetaaga okulya emmere ey’omubiri buli lunaku, si kikulu nnyo n’okusingawo okulya emmere ey’eby’omwoyo obutayosa?
7 Bwe yakitegeera nti alina okukola ku mbeera ye eby’eby’omwoyo, Nicole ow’emyaka 13 yatandika okusoma Baibuli buli lunaku.a Kati ng’aweza emyaka 16, amaze okusoma Baibuli yonna omulundi gumu era nga kati agituuse mu makkati ku mulundi gwe ogw’okubiri. Enkola gy’akozesa nnyangu. Agamba: “Nsoma waakiri essuula emu mu Baibuli buli lunaku.” Aganyuddwa atya olw’okusoma Baibuli buli lunaku? Agamba: “Leero waliwo ebintu ebyonoona bingi. Buli kiseera njolekagana n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwange ku ssomero ne mu bifo ebirala. Okusoma Baibuli buli lunaku kinnyamba okujjukira ebiragiro n’emisingi ebigirimu, ebinkubiriza okuziyiza okupikirizibwa okwo. N’ekivuddemu, enkolagana yange ne Yakuwa era ne Yesu yeeyongedde okunywera.”
8. Kiki Yesu kye yakolanga ng’ali mu kkuŋŋaaniro, era abato basobola batya okumukoppa?
8 Yesu yalina empisa ey’okuwuliriza n’okusoma Ebyawandiikibwa mu kkuŋŋaaniro. (Lukka 4:16; Ebikolwa 15:21) Nga kyandibadde kya muganyulo nnyo abato okugoberera ekyokulabirako ekyo nga teboosa kugenda mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo Baibuli gy’esomerwa! Ng’alaga okusiima kw’alina eri enkuŋŋaana ezo, Richard ow’emyaka 14 agamba: “Enkuŋŋaana za muwendo nnyo gye ndi. Zinzijukiza buli kiseera ekirungi n’ekibi, empisa ennungi n’ez’obugwenyufu, awamu n’ekikwatagana n’engeri za Kristo oba ekikontana nazo. Ebyo sibitegeera nga mmaze kutuukibwako kizibu.” Yee, “ebyo Yakuwa by’atutegeeza byesigika era biwa omusirusiru amagezi.” (Zabbuli 19:7, NW) Nicole naye yakifuula kiruubirirwa kye okubeera mu nkuŋŋaana zonna ettaano buli wiiki. Era akozesa essaawa nga bbiri oba ssatu ng’azeeteekerateekera.—Abaefeso 5:15, 16.
9. Abato basobola batya ‘okweyongera okukula mu magezi’?
9 Ekiseera eky’obuvubuka kiba kirungi okufuniramu ‘okumanya okukwata ku Katonda ow’amazima n’oyo gwe yatuma Yesu Kristo.’ (Yokaana 17:3, NW) Oyinza okuba ng’omanyiiyo abavubuka abamala ebiseera bingi nga basoma ebitabo ebirimu ebintu ebisesa, nga balaba ttivi, nga bazannya emizannyo gy’oku vidiyo oba nga bamalira ebiseera byabwe ku Internet. Lwaki wandibakoppye ng’ate oyinza okukoppa ekyokulabirako eky’Omukulembeze waffe ekirungi ennyo? Ng’akyali muto, yayagala nnyo okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Biki ebyavaamu? Olw’okuba yayagala nnyo eby’omwoyo, ‘Yesu yeeyongeranga okukula mu magezi.’ (Lukka 2:52) Naawe osobola.
‘Muwuliraganenga’
10. Kiki ekinaayamba amaka okubeera ekifo ekirimu emirembe n’essanyu?
10 Amaka gayinza okubeera ekifo ekirungi ekirimu emirembe n’essanyu oba ekifo omuli enyombo. (Engero 21:19; 26:21) Bwe tukkiriza obukulembeze bwa Kristo, kituyamba okuleetawo emirembe n’essanyu mu maka gaffe. Mazima ddala, Yesu gwe twandibadde tulabirako okusobola okubeera n’enkolagana ennungi mu maka. Ebyawandiikibwa bigamba: “Muwuliragan[e]nga mu kutya Kristo. Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa, bw’ali omulokozi ow’omubiri yennyini. . . . Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.” (Abaefeso 5:21) Omutume Pawulo yawandiikira ekibiina ky’e Kkolosaayi: “Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.”—Abakkolosaayi 3:18-20.
11. Omusajja ayinza atya okulaga nti obukulembeze bwa Kristo bwa ddala gy’ali?
11 Okugoberera okubuulirira okwo kitegeeza nti omusajja y’alina okutwala obukulembeze mu maka ng’ayambibwako mukyala we, ate nga bo abaana balina okugondera bazadde baabwe. Kyokka, obukulembeze bw’omusajja buyinza okuvaamu essanyu singa abukozesa bulungi. Omusajja ow’amagezi ateekwa okuyiga engeri y’okukozesaamu obukulembeze bwe ng’akoppa Omutwe gwe era Omukulembeze we, Yesu Kristo. (1 Abakkolinso 11:3) Wadde ng’oluvannyuma Yesu yafuuka “omutwe ku byonna eri ekibiina,” teyajja mu nsi “okuweerezebwa, wabula okuweereza.” (Abaefeso 1:22; Matayo 20:28) Mu ngeri y’emu, omusajja Omukristaayo takozesa buyinza bwe ng’omutwe gw’amaka olw’okwefaako yekka, wabula okukola ku byetaago bya mukyala we n’abaana, kwe kugamba, eby’ab’omu maka ge bonna. (1 Abakkolinso 13:4, 5) Afuba okukoppa engeri z’omutwe gwe Yesu Kristo. Okufaananako Yesu, afuba okubeera omuteefu era omuwombeefu. (Matayo 11:28-30) Ebigambo nga “nsonyiwa” oba “oli mutuufu” tebimuzibuwalira kwogera bw’aba ng’asobezza. Ekyokulabirako kye ekirungi kisobozesa mukyala we okubeera ‘omubeezi we,’ ‘amujjuuliriza,’ era ‘munne’ ddala, ate era kimwanguyira okukolagana naye.—Olubereberye 2:20; Malaki 2:14.
12. Kiki ekinaayamba omukyala okugondera omusingi gw’obukulembeze?
12 Ate ye omukyala asaanidde okugondera bba. Naye bwe kiba nti omwoyo gw’ensi gulina kye gumukozeeko, ayinza okutandika okunyooma omusingi gw’obukulembeze era ayinza obutaagala kugondera musajja we. Ebyawandiikibwa tebigamba nti omusajja asaanye okubeera nnaakyemalira, naye biraga nti omukazi asaanidde okuwulira bba. (Abaefeso 5:24) Ebyawandiikibwa era biraga nti omusajja oba taata asaanidde okutwala obuvunaanyizibwa mu maka. Singa okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa kussibwa mu nkola, amaka gabaamu emirembe n’obutebenkevu.—Abafiripi 2:5.
13. Kyakulabirako ki eky’obuwulize Yesu kye yateerawo abaana abato?
13 Abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe. Ku nsonga eyo, Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Oluvannyuma lw’ekyo ekyaliwo nga Yesu eyali alina emyaka 12 egy’obukulu alekeddwa mu yeekaalu, ‘yaserengeta ne bazadde be n’agenda e Nazaaleesi, era n’abagonderanga.’ (Lukka 2:51) Abaana bwe bagondera bazadde baabwe kiyamba okuleetawo emirembe n’enkolagana ennungi mu maka. Buli omu mu maka bw’agondera obukulembeze bwa Kristo, amaka gabaamu essanyu.
14, 15. Kiki ekinaatuyamba okutuuka ku buwanguzi singa twolekagana n’embeera enzibu mu maka? Waayo ekyokulabirako.
14 Wadde ng’ebizibu biba bibaluseewo mu maka, ekiyinza okubasobozesa okubigonjoola kwe kugoberera obulagirizi bwa Yesu. Ng’ekyokulabirako, Jerry ow’emyaka 35 bwe yawasa Lana, eyalina omwana omuwala omutiini, kyaleetawo ekizibu bombi kye baali batasuubira. Jerry agamba: “Nnamanya nti okusobola okubeera omutwe gw’amaka omulungi, nnali nnina okussa mu nkola emisingi egiri mu Baibuli egireetera amaka amalala okubeera amasanyufu. Naye nnakizuula nti nnali nnina okugikozesa mu ngeri ey’amagezi ennyo.” Muwala wa mukyala we yali amutwala ng’omuntu amwawudde ku nnyina era n’olw’ensonga eyo, yali tamwagalirako ddala. Jerry yali yeetaaga okutegeera nti endowooza eyo erina kye yakolanga ku ebyo omuwala oyo bye yayogeranga ne bye yakolanga. Jerry yakola atya? Agamba bw’ati: “Nze ne Lana twakkiriziganya nti Lana ye yandibadde atwala obuvunaanyizibwa obw’okukangavvula omwana oyo okumala akaseera, ng’ate nze essira nsinga kulissa ku ngeri gye nnyinza okubeera n’enkolagana ennungi ne muwala wange oyo. Nga wayiseewo ekiseera, enkola eyo yavaamu ebibala ebirungi.”
15 Bwe tuba twolekaganye n’embeera enzibu awaka, twetaaga okukozesa amagezi okusobola okumanya ensonga lwaki ab’omu maka boogera era ne beeyisa bwe batyo. Era kitwetaagisa okuba n’amagezi okusobola okukozesa obulungi emisingi gya Katonda. Ng’ekyokulabirako, Yesu yamanya bulungi ensonga lwaki omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi yamukwatako era n’olw’ensonga eyo, yamuyisa mu ngeri ey’amagezi era ey’ekisa. (Abaleevi 15:25-27; Makko 5:30-34) Amagezi n’okutegeera ze ngeri z’Omukulembeze waffe. (Engero 8:12) Tuba basanyufu bwe tweyisa mu ngeri ye kennyini gye yandibadde yeeyisaamu.
“Musooke Munoonye Obwakabaka”
16. Kiki kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe, era ekyo Yesu yakiraga atya okusinziira ku ebyo bye yakola?
16 Yesu yalaga bulungi ekirina okubeera ekikulu mu bulamu bw’abo abakkiriza obukulembeze bwe. Yagamba: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu [bwa Katonda].” (Matayo 6:33) Era okuyitira mu kyokulabirako kye, yatulaga engeri gye tuyinza okukikolamu. Ku nkomerero y’ennaku 40 ze yamala ng’asiiba, ng’afumiitiriza, era ng’asaba oluvannyuma lw’okubatizibwa kwe, Yesu yakemebwa. Setaani Omulyolyomi yasuubiza okumuwa obuyinza ku “nsi za bakabaka bonna abali mu nsi.” Lowooza ku bulamu Yesu bwe yandibadde nabwo singa yakkiriza ekyo Omulyolyomi kye yasuubiza okumuwa! Kyokka, ye Kristo ebirowoozo bye yali abitadde ku kukola ebyo Kitaawe by’ayagala. Yali akimanyi nti obulamu ng’obwo mu nsi ya Setaani bwandibadde bwa kaseera buseera. Mangu ddala, yagaana Setaani bye yali amuwa ng’agamba: “Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.” Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu ‘yatandika okubuulira n’okugamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.’ (Matayo 4:2, 8-10, 17) Obulamu bwe bwonna ng’ali ku nsi, Kristo yali mubuulizi ow’Obwakabaka bwa Katonda ow’ekiseera kyonna.
17. Tuyinza tutya okulaga nti Obwakabaka bwe butwala ekifo ekisooka mu bulamu bwaffe?
17 Tusaanidde okukoppa Omukulembeze waffe era tuleme kuleka nsi ya Setaani okututwaliriza ne tukulembeza mu bulamu bwaffe okufuna omulimu ogusasula ennyo. (Makko 1:17-21) Nga kyandibadde kya busiru nnyo ffe okwemalira ku bintu by’ensi ne tutakulembeza Bwakabaka! Yesu atuwadde omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Kituufu, tuyinza okubeera n’obuvunaanyizibwa bw’amaka oba obulala bwe tulina okukolako. Naye tekituleetera essanyu bwe tukozesa ebiseera eby’olweggulo oba wiikendi okutuukiririzaamu obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo obw’okubuulira n’okuyigiriza abalala? Era nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba nti mu mwaka gw’obuweereza 2001 abantu abawera 780,000 baasobola okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna nga bakola nga bapayoniya!
18. Kiki ekituyamba okufuna essanyu mu buweereza?
18 Ebiri mu Njiri biraga Yesu okuba omusajja eyakolerangawo era omuntu eyali ow’ekisa ekingi. Bwe yalaba abantu abaali bazze gy’ali nga balina obwetaavu obw’eby’omwoyo, yabakwatirwa ekisa era n’abayamba. (Makko 6:31-34) Obuweereza bwaffe butuleetera essanyu singa tubwenyigiramu olw’okuba twagala abantu era nga tulina ekiruubirirwa eky’okubayamba. Naye tuyinza tutya okufuna okwagala ng’okwo? Omuvubuka omu ayitibwa Jayson agamba: “Bwe nnali nkyali mutiini, sanyumirwanga buweereza.” Kiki ekyamuyamba okwagala omulimu ogwo? Jayson agamba: “Mu maka gaffe, buli Lwamukaaga ku makya, lwalinga lunaku lwa kugenda mu buweereza bw’ennimiro. Nnayagala nnyo entegeka eyo kubanga gye nnakoma okwenyigira mu buweereza, era gye nnakoma n’okulaba ebirungi ebivaamu era n’okunyumirwa.” Naffe tusaanidde okwenyigira mu buweereza obutayosa.
19. Ku bikwata ku bukulembeze bwa Kristo, twandimaliridde kukola ki?
19 Mazima ddala kizzaamu endasi era kiba kya muganyulo nnyo okukkiriza obukulembeze bwa Kristo. Bwe tukola bwe tutyo, ekiseera eky’obuvubuka kibeera kiseera kya kukula mu magezi n’okutegeera. Obulamu bw’amaka busobola okubaamu essanyu n’emirembe era obuweereza busobola okubeera omulimu ogutuleetera essanyu n’obumativu. Mazima ddala, ka tubeere bamalirivu okukiraga mu bulamu bwaffe ne mu bye tusalawo nti obukulembeze bwa Kristo bwa ddala gye tuli. (Abakkolosaayi 3:23, 24) Kyokka era, Yesu Kristo abadde mukulembeze waffe ne mu ngeri endala—okuyitira mu kibiina Ekikristaayo. Ekitundu ekiddako kijja kutulaga engeri gye tuyinza okuganyulwa mu nteekateeka eyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
Ojjukira?
• Okugoberera Omukulembeze Katonda gw’alonze kituganyula kitya?
• Abavubuka basobola batya okulaga nti bagoberera obukulembeze bwa Yesu?
• Obukulembeze bwa Yesu buyinza kukola ki mu maka g’abo ababukkiriza?
• Obuweereza bwaffe busobola butya okulaga nti obukulembeze bwa Kristo bwa ddala gye tuli?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Obuvubuka kiba kiseera kirungi eky’okufuniramu okumanya okukwata ku Katonda n’Omukulembeze waffe gw’alonze
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Okugondera obukulembeze bwa Kristo kireeta essanyu mu maka
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Yesu yasooka kunoonya Bwakabaka. Naawe bw’okola?