Engeri Obulema n’Obulwadde Gye Binaggwaawo
TEEBEREZAAMU ng’amaaso ga muzibe galaba, amatu ga kiggala nga gawulira amaloboozi gonna, olulimi lwa kasiru nga luyimba n’essanyu, era nga n’omulema atambula! Tetwogera ku kukulaakulana mu by’ekisawo, wabula ku ebyo ebinaabaawo nga Katonda ayingidde mu nsonga z’abantu. Baibuli eragula: “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba: kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n’emigga mu ddungu.” (Isaaya 35:5, 6) Naye tuyinza tutya okuba abakakafu nti obunnabbi obwo obwewuunyisa bunaatuukirizibwa?
Ekisookera ddala, Yesu Kristo bwe yali ku nsi, yawonya abantu abaalina endwadde ez’enjawulo n’abalema. Ate era, ebyamagero bye byalabibwa abantu bangi nga mwe muli n’abalabe be. Mu butuufu, lumu, abalabe ba Yesu baanoonyereza ku kyamagero kye yali akoze nga baagala okwonoona erinnya lye. Kyokka, baggwaamu amaanyi bwe baakizuula nti ekyamagero kye yakola kyali kituufu. (Yokaana 9:1, 5-34) Oluvannyuma lwa Yesu okukola ekyamagero ekirala kye baali tebayinza kugaana kukkiriza, n’obusungu abalabe be baagamba nti: “Tukole tutya kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi?” (Yokaana 11:47) Wabula, bo abantu ba bulijjo tebaali bakakanyavu. N’olwekyo baatandika okukkiririza mu Yesu.—Yokaana 2:23; 10:41, 42; 12:9-11.
Ebyamagero bya Yesu Bisonga ku Kuwonyezebwa okw’Ensi Yonna
Ebyamagero bya Yesu tebyalaga nti Yesu ye yali Masiya era Omwana wa Katonda kyokka, naye era byateekawo n’ekisinziirwako okukkiririza mu bisuubizo bya Baibuli nti abantu abawulize bajja kuwonyezebwa mu biseera eby’omu maaso. Ebisuubizo bino mwe muli n’ekyo ekiri mu bunnabbi bwa Isaaya essuula 35, obwogeddwako waggulu mu katundu akasooka. Isaaya 33:24 lugamba bwe luti ku bikwata ku bulamu bw’abantu abatya Katonda mu biseera eby’omu maaso: “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” Mu ngeri y’emu, Okubikkulirwa 21:4 wasuubiza: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye [ebizibu bya leero n’okubonaabona] biweddewo.”
Buli lunaku abantu basaba ebintu bino okutuukirizibwa mu ssaala eya kitaffe ali mu ggulu, egamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Yee, ebyo Katonda by’ayagala bizingiramu ensi wamu n’abantu. Newakubadde nga waliwo ensonga lwaki Katonda akyakkirizza obulwadde n’obulema okubaawo, mangu ddala bijja kukoma, tebijja kuddamu kuleeta kivume ku ‘ntebe ya bigere bye’ emirembe n’emirembe.—Isaaya 66:1.a
Baawonyezebwa Awatali Bulumi Wadde Okusasula
Abantu ka babeere nga baali banyigirizibwa mu ngeri ki, Yesu yabawonya awatali bulumi, kulwa, wadde okusasula. Bwe kityo, amawulire agakwata ku kino gaasaasaana ng’oluyiira, era mangu ddala “ebibiina bingi ne bijja gyali, nga birina abawenyera, n’abazibe b’amaaso, ne bakasiru, n’abalema, n’abalala bangi ne babassa awali ebigere bye; n’abawonya.” Kino kyaleetera abantu kukola ki? Matayo eyalabako n’agage agamba: “Ekibiina n’okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba ba kasiru nga boogera, abawenyera nga batambula, n’abazibe b’amaaso nga balaba: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.”—Matayo 15:30, 31.
Weetegereze nti abo Yesu be yawonya tebaasookanga kulondebwa kuva mu kibiina, akakodyo akakozesebwa abantu abalimba. Wabula, ab’eŋŋanda n’emikwano gy’abalwadde ‘baabassa awali ebigere bya Yesu n’abawonya.’ Ka twetegereze ebimu ku byokulabirako ebiraga obusobozi bwa Yesu obw’okuwonya.
Obuzibe bw’amaaso: Bwe yali mu Yerusaalemi, Yesu yazibula amaaso g’omusajja “eyazaalibwa nga muzibe.” Omusajja ono yali amanyiddwa bulungi mu kibuga olw’okusabiriza. N’olwekyo, oyinza okulowooza ku kasasamalo akaaliwo abantu bwe baamulaba ng’atambula ng’alaba! Kyokka, si bonna nti baasanyuka. Olw’okuba Yesu yali ayanise ebyonoono byabwe emabegako, Abafalisaayo abamu baayagala nnyo okufuna obujulizi obulaga nti yakozesa bulimba okuwonya omusajja oyo. (Yokaana 8:13, 42-44; 9:1, 6-31) N’olwekyo, baakazaakaza omusajja eyawonyezebwa, era ne bazadde be. Wabula okubuuliriza kw’Abafalisaayo kwakakasa bukakasa nti ekyamagero kya Yesu kyali kituufu, ekintu ekyabanyiiza ennyo. Ng’awuniikiridde olw’obunnanfuusi bw’Abafalisaayo bano, omusajja eyawonyezebwa yagamba: “Okuva edda n’edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g’omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola [kino].” (Yokaana 9:32, 33) Olw’okuddamu mu ngeri ey’obwesimbu, ey’amagezi, era eyoleka okukkiriza, Abafalisaayo ‘baamusindika ebweru,’ oboolyawo ekitegeeza nti yagobebwa mu kkuŋŋaaniro.—Yokaana 9:22, 34.
Obuggavu bw’amatu: Yesu bwe yali e Dekapoli, ekitundu ekiri ebuvanjuba bw’Omugga Yoludaani, “b[a]amuleetera omuggavu w’amatu, atayogera bulungi.” (Makko 7:31, 32) Yesu teyakoma ku kuwonya buwonya muntu ono, naye era yategeera enneewulira ya kiggala, ayinza okuba nga yawulira ensonyi ng’ali mu bantu abangi. Baibuli etutegeeza nti Yesu ‘yaggya kiggala ono mu kibiina kyama,’ n’amuwonya. Nate, abaalabako n’agaabwe “baawuniikirira nnyo nnyini kitalo,” ne bagamba nti “byonna akoze bulungi. Aggula abaggavu b’amatu, era ayogeza bakasiru.”—Makko 7:33-37.
Okukonziba: Yesu bwe yali mu Kaperunawumu, abantu baamuleetera omulwadde akonzibye ng’agalamiziddwa ku kitanda. (Matayo 9:2) Olunyiriri 6 okutuuka ku 8 zinnyonnyola ekyaliwo. “[Yesu] n’agamba oyo akonzibye nti Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo. N’agolokoka, n’agenda ewuwe. Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya ne bigulumiza Katonda awa abantu obuyinza obwenkanidde awo.” Ekyamagero kino kyakolebwa nga abayigirizwa ba Yesu n’abalabe be weebali. Weetegereze nti abatume ba Yesu tebakkiriza bukyayi kubaziba maaso, wabula ‘baagulumiza Katonda’ olw’ekyo kye baalaba.
Endwadde: “Omugenge n’ajja [eri Yesu], ng’amwegayirira ng’amufukaamirira, ng’amugamba nti Bw’oyagala, oyinza okunnongoosa. N’amusaasira n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti Njagala; longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako n’alongooka.” (Makko 1:40-42) Weetegereze nti Yesu teyawonya muntu ono lwa buwaze, wabula yakwatibwa ekisa. Teeberezaamu nga wali mugenge. Wandiwulidde otya ng’owonyezeddwa mbagirawo era awatali na bulumi endwadde ey’olukonvuba eyali eyonoonyeyonoonye omubiri gwo era ng’ekufudde omuntu abooleddwa? Awatali kubuusabuusa osobola okutegeera obulungi lwaki omugenge omulala eyawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero ‘yavuunama awali ebigere bya Yesu, n’amwebaza.’—Lukka 17:12-16.
Ebisago: Ekyamagero kya Yesu ekyasembayo nga tannakwatibwa akomererwe, kyali kikolwa kya kuwonya. Ng’ayagala okulwanyisa abo abaali bazze okutwala Yesu, omutume Peetero, ‘eyalina ekitala, yakisowolayo n’atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amusalako okutu okwa ddyo.’ (Yokaana 18:3-5, 10) Ekitabo kya Lukka kigamba nti, “[n’akwata] ku kutu [kw’omuddu] n’amuwonya.” (Lukka 22:50, 51) Era ekikolwa kino eky’ekisa, Yesu yakikola nga mikwano gye n’abalabe be balaba.
Yee, gye tukoma okwekkenneenya ebyamagero bya Yesu, gye tukoma okutegeera nti byali bituufu. (2 Timoseewo 3:16) Ate nga bwe kyayogeddwako emabega, okwekkenneenya ng’okwo kwandinywezezza okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Katonda eby’okuwonya abantu abawulize. Baibuli ennyonnyola okukkiriza kw’Ekikristaayo nga ‘okubeera abakakafu ku bintu ebisuubirwa, obutabuusabuusa ebitalabika.’ (Abaebbulaniya 11:1, NW) Kya lwatu, Katonda tatukubiriza kumala gakkiriza kintu awatali nsonga oba okusuubira obusuubizi nti ebintu bijja kutuukirira, wabula atukubiriza okuba n’okukkiriza okunywevu okwesigamiziddwa ku bujulizi. (1 Yokaana 4:1) Bwe tufuna okukkiriza ng’okwo, tweyongera okunywera mu by’omwoyo era ne tufuna essanyu erisingawo.—Matayo 5:3; Abaruumi 10:17.
Okuwonyezebwa mu by’Omwoyo Kwe Kuteekwa Okusooka Okubaawo!
Abantu bangi balamu mu mibiri naye nga si basanyufu. Abamu bagezaako n’okwetta olw’okuba bawulira nti tebalina ssuubi mu biseera eby’omu maaso, oba olw’okuba ebizibu bibayitiriddeko. Baba balwadde mu by’omwoyo, ng’eno embeera y’akabi nnyo mu maaso ga Katonda okusinga endwadde ey’omubiri. (Yokaana 9:41) Ku luuyi olulala, abalwadde bangi oba abalema basanyufu era bamativu mu bulamu. Lwaki? Kubanga banywevu mu by’omwoyo era nga balina essuubi erya nnamaddala eryesigamiziddwa ku Baibuli.
Ng’ayogera ku bwetaavu obw’enjawulo bwe tulina ng’abantu, Yesu yagamba: “Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4) Yee, obutafaananako nsolo, abantu tebeetaaga bintu bya mubiri byokka. Olw’okuba twatondebwa mu ‘kifaananyi’ kya Katonda, twetaaga emmere ey’eby’omwoyo—okumanya Katonda n’ekifo kye tulina mu kigendererwa kye wamu n’okukola by’ayagala. (Olubereberye 1:27; Yokaana 4:34) Okumanya Katonda kiwa obulamu bwaffe amakulu era kituwa amaanyi mu by’omwoyo. Ate era kituteerawo omusingi ogw’okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”— Yokaana 17:3.
Kikulu okujjukira nti abantu abaaliwo mu nnaku za Yesu tebaamuyitanga “Musawo” wabula “Muyigiriza.” (Lukka 3:12; 7:40) Lwaki? Kubanga Yesu yayigiriza abantu ku ekyo ekijja okumalirawo ddala ebizibu by’omuntu—Obwakabaka bwa Katonda. (Lukka 4:43; Yokaana 6:26, 27) Gavumenti eno ey’omu ggulu eri mu mikono gya Yesu Kristo, ejja kufuga ensi yonna era etuukirize ebisuubizo byonna ebiri mu Baibuli ebikwata ku kuzza obuggya ensi wamu n’abantu babeere batuukirivu. (Okubikkulirwa 11:15) Eyo y’ensonga lwaki Yesu mu ssaala eya Kitaffe ali mu ggulu yakwataganya okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda n’okukolebwa kw’ebyo Katonda by’ayagala mu nsi.—Matayo 6:10.
Abalwadde n’abalema bangi bwe bayize ku ssuubi lino, ennaku yaabwe efuuse essanyu. (Lukka 6:21) Mu butuufu, Katonda ajja kukola n’ekisingawo ku kumalawo obumazi endwadde n’obulema; ajja kuggirawo ddala ekyo ekireetawo okubonaabona kw’omuntu—ekibi. Era Isaaya 33:24 ne Matayo 9:2-7 ebyayogeddwako emabega, biraga nti okulwala kuleetebwawo kibi. (Abaruumi 5:12) N’olwekyo, ng’ekibi kimaze okuwangulwa, omuntu ku nkomerero ajja “kuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda,” eddembe erizingiramu okubeera abatuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri.—Abaruumi 8:21.
Abo abatalina bukosefu bayinza okubuusa amaaso obukulu bw’okubeera abalamu obulungi. Naye tekiri bwe kityo eri abo abalwadde oba abalema. Bamanyi ng’obulamu bwa muwendo nnyo era nti ebintu biyinza okukyuka mbagirawo nga tekisuubirwa. (Omubuulizi 9:11) N’olwekyo, okusuubira kwaffe kuli nti abo abalwadde oba abalema abasoma obutabo bwaffe bajja kussaayo nnyo omwoyo ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Baibuli. Yesu yawaayo obulamu bwe kisobozese ebisuubizo bino okutuukirira. Kakalu ki akasinga ku kano ke twetaaga?—Matayo 8:16, 17; Yokaana 3:16.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebisingawo ku nsonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, laba brocuwa Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.