Abantu Abalongooseddwa Okwenyigira mu Bikolwa Ebirungi
“Twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.”—2 ABAKKOLINSO 7:1.
1. Kiki Yakuwa kye yeetaaza abo abamusinza?
“ANI alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?” Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yabuuza ebibuuzo ebyo ebikwata ku kusinza okusiimibwa Yakuwa. Oluvannyuma yabiddamu ng’agamba: “Oyo alina emikono emirungi, n’omutima omulongoofu; atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, so teyalayiriranga bwereere.” (Zabbuli 24:3, 4) Okusobola okusiimibwa Yakuwa, ayoleka obutukuvu mu buli mbeera, omuntu ateekwa okuba omuyonjo era omutukuvu. Emabegako, Yakuwa yajjukiza ekibiina kya Isiraeri: “Mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.”—Eby’Abaleevi 11:44, 45; 19:2.
2. Pawulo ne Yakobo baggumiza batya obukulu bw’obuyonjo mu kusinza okw’amazima?
2 Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, omutume Pawulo yawandiikira Bakristaayo banne abaali mu kibuga ky’e Kkolinso omwali mujjudde empisa ez’obugwenyufu: “[Nga] bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Era kino kiraga nti okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda era n’okufuna emikisa gy’asuubiza, omuntu ateekwa okuba omuyonjo era omulongoofu mu mubiri ne mu by’omwoyo. Mu ngeri y’emu, ng’awandiika ku kusinza okusiimibwa Katonda, omuyigirizwa Yakobo yagamba: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n’okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.”—Yakobo 1:27.
3. Okusinza kwaffe okusobola okusiimibwa Katonda, kiki kye tuteekwa okufaako ennyo?
3 Okuva obuyonjo, obutukuvu n’obutabaako bbala bwe biri ebintu ebikulu mu kusinza okw’amazima, buli ayagala okusiimibwa Katonda ateekwa okufuba ennyo okutuukana nabyo. Kyokka, okuva abantu leero bwe balina emitindo n’endowooza eby’enjawulo ku buyonjo, twetaaga okutegeera n’okugoberera ekyo Yakuwa ky’atwala okuba ekiyonjo era ekikkirizibwa. Tulina okuzuula ekyo Katonda kye yeetaaza abasinza be ku nsonga eno era ne ky’akoze okubayamba okubeera abayonjo era abasiimibwa gy’ali.—Zabbuli 119:9; Danyeri 12:10.
Bayonjo olw’Okusinza okw’Amazima
4. Nnyonnyola endowooza ya Baibuli ku buyonjo.
4 Eri abantu abasinga obungi, okubeera omuyonjo kitegeeza obutaba muccaafu. Kyokka, mu Baibuli, okubeera omuyonjo kiragibwa mu bigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyogera ku buyonjo. Ebigambo ebyo tebyogera ku buyonjo mu mubiri kyokka, naye okusingira ddala mu mpisa ne mu by’omwoyo. Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba: “‘Obuyonjo’ ne ‘obutaba muyonjo’ bigambo ebitatera kukwataganyizibwa ku buyonjo mu mubiri, naye okusingira ddala bikwataganyizibwa na bya ddiini. N’olwekyo, ensonga ‘y’obuyonjo’ ekwata kumpi ku buli mbeera ya bulamu.”
5. Amateeka ga Musa gaakoma wa okwogera ku buyonjo mu bulamu bw’Omuisiraeri?
5 Mazima ddala, Amateeka ga Musa gaalimu ebiragiro ebikwata kumpi ku buli mbeera y’obulamu bw’Abaisiraeri, nga galaga ekiyonjo, ekitali kiyonjo, ekisiimibwa n’ekitasiimibwa. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Eby’Abaleevi essuula 11 okutuuka 15, tusangamu kalonda yenna akwata ku buyonjo n’obutali buyonjo. Ebisolo ebimu tebyali biyonjo era Abaisiraeri tebaali ba kubirya. Okuzaala kwandiviiriddeko omukazi obutaba muyonjo okumala ekiseera ekigereke. Endwadde ezimu ez’olususu, naddala ebigenge era n’ebiva mu bitundu eby’ekyama eby’omusajja n’omukazi nabyo byandiviiriddeko omuntu obutaba muyonjo. Era, Amateeka gaalaga ekyandikoleddwa nga waliwo obutali buyonjo. Ng’ekyokulabirako, mu Okubala 5:2, tusoma nti: “Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku na buli atali mulongoofu olw’omufu.”
6. Lwaki abantu baaweebwa amateeka agakwata ku buyonjo?
6 Awatali kubuusabuusa, amateeka gano era n’amalala okuva eri Yakuwa gaalimu enkola y’ekisawo eyali tennavumbulwa basawo ne bannasayansi. Era abantu baaganyulwa nnyo bwe baagagoberera. Kyokka, amateeka gano tegaaweebwa bantu kubawa bulagirizi mu by’ekisawo. Gaali kitundu ky’okusinza okw’amazima. Olw’okuba amateeka gano gaakwata ku bulamu bw’abantu obwa bulijjo, kwe kugamba, okulya, okuzaala, eby’obufumbo n’ebirala, ekyo kyaggumiza buggumiza nti Katonda waabwe, Yakuwa, ye yalina obwannannyini okubasalirawo ekyali kisaanira n’ekitasaanira mu mbeera zonna ez’obulamu bwabwe, obwali buweereddwayo eri Yakuwa.—Ekyamateeka 7:6; Zabbuli 135:4.
7. Abaisiraeri bandiganyuddwa batya nga bakutte Amateeka?
7 Era Amateeka gaakuuma Abaisiraeri okuva ku bikolwa ebibi eby’amawanga agaali gabeetoolodde. Bwe bandikutte Amateeka, nga mw’otwalidde ne byonna ebyali byetaagisa okusigala nga bayonjo mu maaso ga Katonda, Abaisiraeri bandibadde bagwanira okuweereza Katonda waabwe era n’okufuna emikisa gye. Olw’ensonga eyo, Yakuwa yagamba eggwanga eryo: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.”—Okuva 19:5, 6; Ekyamateeka 26:19.
8. Lwaki Abakristaayo leero bandifuddeyo ku biri mu Mateeka ebikwata ku buyonjo?
8 Okuva Yakuwa bwe yawa kalonda oyo yenna akwata ku Mateeka okusobozesa Abaisiraeri okubeera abayonjo, abatukuvu, era abasiimibwa gy’ali, tekituukirawo Abakristaayo mu kiseera kyaffe okwekebera okulaba oba nga batuukana n’emitindo egyo? Wadde ng’Abakristaayo tebali wansi w’amateeka, balina okumanya nti, nga Pawulo bwe yannyonnyola, ebintu byonna ebiri mu Mateeka ‘kisiikirize ky’ebyo ebigenda okujja; naye ekirimu ensa ye Kristo.’ (Abakkolosaayi 2:17; Abaebbulaniya 10:1) Bwe kiba nti Yakuwa Katonda, agamba nti ‘sikyukanga,’ yatwala obuyonjo n’obutabaako bbala okuba ensonga enkulu mu kusinza mu kiseera ekyo, naffe mu kiseera kyaffe, obuyonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo tuteekwa okubutwala ng’ensonga enkulu singa twagala atusiime era atuwe emikisa gye.—Malaki 3:6; Abaruumi 15:4; 1 Abakkolinso 10:11, 31.
Obuyonjo mu Mubiri Bututenderezesa
9, 10. (a) Lwaki obuyonjo mu by’omubiri bukulu eri Omukristaayo? (b) Biki ebitera okwogerwa ku nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa?
9 Obuyonjo mu mubiri bukyali bukulu mu kusinza okw’amazima leero? Wadde nga obuyonjo mu mubiri ku bwabwo tebufuula muntu musinza wa Katonda ow’amazima, kisaanira omusinza ow’amazima okubeera omuyonjo mu mubiri ng’embeera ze bwe zimusobozesa. Naddala mu kiseera kyaffe, ng’abantu bangi bafaayo kitono ku kweyonja, okuyonja engoye zaabwe oba ebweru w’amaka gaabwe, abo ababikola basiimibwa abantu ababeetoolodde. Kino kiyinza okuvaamu ebirungi, nga Pawulo bwe yategeeza Abakristaayo mu Kkolinso: “Nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa; naye mu byonna nga twetendereza ng’abaweereza ba Katonda.”—2 Abakkolinso 6:3, 4.
10 Enfunda n’enfunda, Abajulirwa ba Yakuwa basiimiddwa abakungu olw’okubeera abayonjo, okuba n’entegeka ennungi, n’okussaamu abalala ekitiibwa, naddala nga bali mu nkuŋŋaana ennene. Ng’ekyokulabirako, olupapula lw’amawulire oluyitibwa La Stampa, lwayogera bwe luti ku lukuŋŋaana olwaliwo mu ssaza lya Savona, mu Italy: “Ekyeyoleka amangu omuntu bw’atambulatambula mu kifo awali olukuŋŋaana, bwe buyonjo n’entegeka ennungi ey’abantu abakikozesa.” Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lw’Abajulirwa mu kisaawe ky’e São Paulo, mu Brazil, akulira ekisaawe yagamba bw’ati eyali akulira abalongoosa: “Okuva kati twagala ekisaawe kirongoosebwe mu ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakirongoosezzaamu.” Omukungu omulala mu kisaawe ekyo kye kimu yagamba: “Abajulirwa ba Yakuwa bwe baba baagala okupangisa ekisaawe kyaffe, kye tufaako ennyo ze nnaku olukuŋŋaana lwabwe we lunaabeererawo. Tewali kirala kitweraliikiriza.”
11, 12. (a) Misingi ki egya Baibuli gye twandirowoozezaako bwe kituuka ku buyonjo bwaffe? (b) Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza ku ngeri gye tweyisaamu mu bulamu?
11 Bwe kiba nti obuyonjo n’entegeka ennungi mu kifo we tusinziza biyinza okutenderezesa Katonda gwe tusinza, mazima ddala kikulu nnyo okwoleka engeri zino mu bulamu bwaffe. Kyokka, bwe tuba mu maka gaffe, tuyinza okulowooza nti tulina eddembe okukola nga bwe twagala. Bwe kituuka ku nnyambala n’okwekolako, mazima ddala tulina eddembe okusalawo okwambala kye tulowooza nti kisaanira era ekisikiriza! Kyokka, okutwalira awamu, eddembe lino liriko ekkomo. Jjukira nti Pawulo bwe yali ayogera ku mmere omuntu gy’alondawo okulya, yalabula Bakristaayo banne: “Mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu.” Awo n’alyoka ayogera omusingi omulala ogw’omuwendo: “Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna.” (1 Abakkolinso 8:9; 10:23) Okubuulirira kwa Pawulo kutukwatako kutya ku nsonga y’obuyonjo?
12 Kya magezi abantu okusuubira omuweereza wa Katonda okuba omuyonjo era ng’alina enteekateeka ennungi mu bulamu bwe. N’olwekyo, tulina okukakasa nti endabika y’amaka gaffe munda n’ebweru tereeta kivume ku linnya lyaffe ng’abaweereza b’Ekigambo kya Katonda. Amaka gaffe gawa bujulizi ki ku ffe ffenyini n’enzikiriza zaffe? Galaga nti twagala okubeera mu nsi empya ey’obutuukirivu, ennyonjo era entegeke obulungi, gye tukubiriza abalala okufuba okubeeramu? (2 Peetero 3:13) Mu ngeri y’emu, endabika yaffe ey’okungulu—ka kibe mu biseera byaffe eby’eddembe oba mu buweereza obw’ennimiro—eyinza okuleetera amawulire amalungi ge tubuulira okusikiriza abalala oba obutabasikiriza. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebigambo bino ebyayogerwa omusasi w’amawulire mu Mexico: “Mazima ddala, mu Bajulirwa ba Yakuwa mulimu abavubuka bangi era ekintu eky’enjawulo ku bavubuka abo y’engeri gye basalamu enviiri zaabwe, obuyonjo bwabwe n’engoye zaabwe ezisaanira.” Nga kya ssanyu nnyo okubeera n’abavubuka ng’abo mu ffe!
13. Kiki kye tuyinza okukola okukakasa nti tuli bayonjo era nti tulina enteekateeka ennungi mu bulamu bwaffe?
13 Kya lwatu, si kyangu buli kiseera okuyonja obulungi emibiri gyaffe, ebintu byaffe n’amaka gaffe. Ekyetaagisa si bye bintu ebingi eby’ebbeeyi, naye enteekateeka ennungi n’okufuba. Tulina okuwaayo ebiseera okuyonja omubiri gwaffe, engoye zaffe, amaka gaffe, emmotoka yaffe n’ebirala. Okwenyigira mu buweereza, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okwesomesa ffekka awamu n’obuvunaanyizibwa obulala mu bulamu—tebituggyako buvunaanyizibwa bwa kubeera bayonjo era abasiimibwa mu maaso ga Katonda n’abantu. Omusingi ogumanyiddwa nti ‘buli kintu kirina ekiseera kyakyo’ gukwata ne ku mbeera eno ey’obulamu.—Omubuulizi 3:1.
Omutima Ogutayonooneddwa
14. Lwaki kiyinza okugambibwa nti obuyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo bikulu okusinga obuyonjo mu mubiri?
14 Nga bwe kiri ekikulu okufaayo ku buyonjo mu mubiri, kikulu nnyo n’okusingawo okufaayo ku buyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo. Tutuuka ku kusalawo kuno bwe tujjukira nti eggwanga lya Isiraeri lyagaanibwa Yakuwa, si lwa kuba tebaali bayonjo mu mubiri, naye lwa kuba tebaali bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yabagamba nti olw’okuba baali “eggwanga eririna ebibi, abantu abazitoowereddwa olw’obutali butuukirivu,” ssaddaaka zaabwe, okukuza omwezi ogubonese, ssabbiiti wamu n’okusaba kwabwe byali bimufuukidde omugugu. Kiki kye bandikoze okuddamu okusiimibwa Katonda? Yakuwa yabagamba: “Munaabe, mwerongoose; muggyengawo obubi bw’ebikolwa byammwe bive mu maaso gange; mulekenga okukola obubi.”—Isaaya 1:4, 11-16.
15, 16. Kiki Yesu kye yagamba nti kyonoona omuntu, era tuyinza tutya okuganyulwa mu bigambo bya Yesu?
15 Okusobola okweyongera okutegeera obukulu bw’obuyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera eri Abafalisaayo n’abawandiisi bwe baagamba nti abayigirizwa be tebaali bayonjo kubanga tebaanaaba ngalo zaabwe nga bagenda okulya. Yesu yabagolola ng’agamba: “Ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.” Awo Yesu n’alyoka annyonnyola: “Ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n’ebyo bye byonoona omuntu. Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma: ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.”—Matayo 15:11, 18-20.
16 Kiki kye tuyinza okuyigira ku bigambo bya Yesu? Yesu yali agamba nti ebikolwa ebibi, eby’obugwenyufu era ebitali biyonjo biva mu ndowooza embi ey’obugwenyufu eba mu mutima. Ng’omuyigirizwa Yakobo bwe yagamba: ‘Buli muntu akemebwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa.’ (Yakobo 1:14, 15) Bwe kityo, bwe tuba tetwagala kukola kibi kya maanyi Yesu kye yayogerako, tuteekwa okuggya mu mutima gwaffe ebirowoozo byonna ebikwata ku bintu ng’ebyo. Ekyo kitegeeza nti tuteekwa okwegendereza bye tusoma, bye tulaba, ne bye tuwuliriza. Leero, nga beekwasa eddembe ly’okwogera, abalanga eby’amasanyu n’eby’amaguzi bafulumya ennyimba n’ebifaananyi ebisikiriza omubiri omunafu. Tuteekwa okuba abamalirivu obutakkiriza birowoozo bikwata ku bintu ng’ebyo kusimba makanda mu mutima gwaffe. Ensonga enkulu eri nti okusobola okusanyusa n’okusiimibwa Katonda, tuteekwa okwegendereza buli kiseera omutima gwaffe gusigale nga muyonjo era nga tegwonoonese.—Engero 4:23.
Tulongooseddwa Okwenyigira mu Bikolwa Ebirungi
17. Lwaki Yakuwa ayambye abantu be okubeera abayonjo?
17 Mazima ddala, nkizo ya maanyi era bukuumi bwa maanyi okuba nti Yakuwa asobola okutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi naye. (2 Abakkolinso 6:14-18) Era, tukitegeera nti Yakuwa alina esonga lwaki ayambye abantu be okubeera abayonjo. Pawulo yagamba Tito nti Kristo Yesu “yeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.” (Tito 2:14) Ng’abantu abalongooseddwa, twandinyiikiridde bikolwa ki?
18. Tuyinza tutya okulaga nti tunyiikirira ebikolwa ebirungi?
18 Ekisooka, era nga kye kisinga obukulu, tulina okufuba okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Bwe tukola bwe tutyo, tutegeeza abantu ku ssuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna mu nsi eriba ennyonjo mu buli ngeri. (2 Peetero 3:13) Ebikolwa byaffe ebirungi era bizingiramu okwoleka ebibala by’omwoyo omutukuvu mu bulamu bwaffe buli lunaku, bwe kityo ne kitenderezesa Kitaffe ow’omu ggulu. (Abaggalatiya 5:22, 23; 1 Peetero 2:12) Era tetwerabira abo abatali mu mazima abayinza okukosebwa obutyabaga bw’omu butonde oba ebizibu ebirala ebireetebwa abantu. Tujjukira okubuulirira kwa Pawulo: “Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolerenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Ebintu ng’ebyo byonna bye tukola n’omutima omuyonjo, nga tulina ekiruubirirwa ekirungi, bisanyusa Katonda.—1 Timoseewo 1:5.
19. Bintu ki ebirungi bye tusuubira singa tweyongera okukuuma omutindo ogwa waggulu ogw’obuyonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo?
19 Ng’abaweereza b’oyo Ali Waggulu Ennyo, tugoberera ebigambo bya Pawulo: “Kyenvudde mbeegayirira ab’oluganda, olw’okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi.” (Abaruumi 12:1) Ka tweyongere okusiima enkizo ey’okulongoosebwa Yakuwa era tukole kyonna kye tusobola okukuuma omutindo ogw’obuyonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. Okukola ekyo tekijja kutuleetera kussibwamu kitiibwa na kumatira kyokka mu kiseera kino, naye era n’okulaba “eby’olubereberye,” kwe kugamba, embeera y’ebintu embi era ennyonoonefu eriwo—nga biggwaawo, Katonda ‘bw’alizza obuggya ebintu byonna.’—Okubikkulirwa 21:4, 5.
Okyajjukira?
• Lwaki Abaisiraeri baawebwa amateeka mangi agakwata ku buyonjo?
• Obuyonjo mu mubiri buleetera butya obubaka bwe tubuulira okusikiriza?
• Lwaki obuyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo bukulu nnyo n’okusinga obuyonjo mu mubiri?
• Tuyinza tutya okulaga nti tuli bantu ‘abanyiikirira ebikolwa ebirungi’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
Obuyonjo mu mubiri buleetera obubaka bwe tubuulira okusikiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Yesu yalabula nti ebirowoozo ebibi bivaamu ebikolwa ebibi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Ng’abantu abalongooseddwa, Abajulirwa ba Yakuwa banyiikirira ebikolwa ebirungi