EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 14-15
Yakuwa Ayagala Abo Abamusinza Babe Bayonjo
Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tulina okuba abayonjo munda ne kungulu. Ekyo kitegeeza nti tulina okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku kuba abayonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo, abantu abatwetoolodde ka babe nga beeyisa batya. Twewala okukola ekintu kyonna Kitaffe ow’omu ggulu ky’atwala nti kikyamu.
Miganyulo ki gye nfuna bwe nneewala okweyisa ng’abantu mu nsi bwe beeyisa?