LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 7/1 lup. 4-7
  • Ebizibu by’Abantu Binaatera Okukoma!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebizibu by’Abantu Binaatera Okukoma!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Okugatta Awamu Byonna mu Kristo”
  • Okukkiriza Obubi Okubeerawo Okumala Akaseera
  • “Ng’ensi Tennaba Kutondebwa”
  • Ani Anaaleeta Obuweerero?
  • “Okusumululwa Okuyitira mu Kinunulo”
  • “Ekyama” kya Katonda
  • Ekigendererwa kya Yakuwa Kituukirizibwa
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Olina ‘Emirandira Eminywevu era Onyweredde ku Musingi’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Ekigendererwa kya Yakuwa Kijja Kutuukirira!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Engeri Katonda gy’Anaatuukirizaamu Ebigendererwa Bye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 7/1 lup. 4-7

Ebizibu by’Abantu Binaatera Okukoma!

“OKUDDUUKIRIRA abantu abali mu bizibu kuba n’omugaso mutono ddala bwe watabaawo nteekateeka nnuŋŋamu ekwata ku bufuzi era ng’erina ekigendererwa eky’okutuuka ku nsibuko y’obukuubagano. Ebizze bibaawo biraze nti jjo na luli okudduukirira obudduukirizi kyokka, tekiyinza kugonjoola bizibu ebisibuka ku by’obufuzi.”​—The State of the World’s Refugees 2000.

Wadde ng’abantu bafubye nnyo okudduukirira bannaabwe, ebizibu byeyongera bweyongezi. Ssuubi ki eririwo ery’okugonjoola ebizibu okuyitira mu by’obufuzi? Mu butuufu ttono nnyo ddala. Naye wa awalala we tuyinza okufuna essuubi? Ku ntandikwa y’ebbaluwa ye eri Abaefeso, omutume Pawulo annyonnyola engeri Katonda gyajja okumalirawo ddala ebizibu by’abantu. Atulaga n’ekyo Katonda kyajja okweyambisa okukola kino​—ekijja okutuukira ddala ku nsibuko y’ebizibu ebitubuzizaako emirembe leero. Lwaki teweetegereza Pawulo ky’agamba mu Abaefeso 1:3-10?

“Okugatta Awamu Byonna mu Kristo”

Pawulo agamba nti ekigendererwa kya Katonda kwe ‘kuteekawo obuwanika oba enteekateeka ey’okukola ku nsonga ng’ekiseera kituuse.’ Kino kitegeeza ki? Kitegeeza nti Katonda alina ekiseera ekigereke ‘w’anaagattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.’ (Abaefeso 1:10, NW) Yee, Katonda atandise okukozesa enteekateeka ye okugatta awamu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi bibeere wansi w’obufuzi bwe. J. H Thayer omwekenneenya wa Baibuli ayogera bw’ati ku bigambo “okugatta awamu ebintu”: “Okukomyawo nate gy’ali . . . ebintu byonna n’abantu (abaali bayawuddwayawuddwa olw’ekibi) basse kimu ne Kristo.”

Ekyo kiraga nti Katonda alina okugatta awamu ebintu byonna olw’enjawukana ezajjawo mu ntandikwa. Mu ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, beegatta ku Setaani Omulyolyomi mu kujeemera Katonda. Baayagala okwesalirawo bokka ekirungi n’ekibi. (Olubereberye 3:1-5) Nga kituukana bulungi n’obwenkanya bwalina, Katonda yabagoba mu maka ge era ne bafiirwa enkolagana yaabwe naye. Bannyika olulyo lw’omuntu lwonna mu ddubi ly’ekibi, omwava ebizibu byonna bye tulina kaakano.​—Abaruumi 5:12.

Okukkiriza Obubi Okubeerawo Okumala Akaseera

Abamu bayinza okwebuuza nti “Lwaki Katonda yabakkiriza okukola ekyo?” “Lwaki teyeeyambisa obusobozi bwe obw’ekitalo n’alaba nti ekyo kyayagala kye kikolebwa, mu ngeri eyo n’atuwonya obulumi n’okubonaabona bye tulina kati?” Kyangu nnyo okulowooza bw’otyo. Naye okweyambisa obusobozi bwe mu ngeri eyo kyandiraze ki? wandisembye omuntu asaanyawo bunnambiro abo abatakkirizigannya naye olw’okuba alina obusobozi okukikola? Mu butuufu nedda.

Abajeemu abo tebaabuusabuusa nti Katonda y’asingayo amaanyi. Wabula baasoomooza obutuufu bw’obufuzi bwe. Okusobola okusonjolera ddala ensonga enkulu Setaani ze yaleetawo, Yakuwa akkirizza ebitonde bye okwefuga nga tabiyingiridde okumala akaseera. (Omubuulizi 3:1; Lukka 21:24) Ekiseera ekyo bwe kinnaggwaako, ajja kubaako ky’akolawo era addemu okufuga ensi yonna. Mu kiseera ekyo, kijja kuba kitegeerekeka bulungi nnyo nti obufuzi bwe, bwe bwokka obuyinza okuleetera abantu ku nsi emirembe n’essanyu ebya nnamaddala. Olwo nno, abo bonna abanyigiriza bannaabwe bajja kuggibwawo emirembe gyonna.​—Zabbuli 72:12-14; Danyeri 2:44.

“Ng’ensi Tennaba Kutondebwa”

Ekyo Yakuwa yali yakiteekateeka dda nnyo. Pawulo agamba nti ‘ng’ensi tennaba kutondebwa.’ (Abaefeso 1:4) Ekyo tekitegeeza kiseera nga Katonda tannatonda nsi oba Adamu ne Kaawa. Ensi yo yali ‘nnungi nnyo,’ era obwewagguzi bwali tebunnabaawo. (Olubereberye 1:31) Kati olwo ‘nsi’ ki Pawulo gye yali ategeeza? Y’ensi ey’abaana ba Adamu ne Kaawa, kwe kugamba abantu abatatuukiridde abalina essuubi ery’okununulibwa. Nga tewannabaawo mwana n’omu azaalibwa, Yakuwa yali yamanya dda engeri y’okukwatamu ensonga okusobola okununula abaana ba Adamu.​—Abaruumi 8:20.

Kino tekitegeeza nti Omufuzi w’ensi yonna alina okukwata ensonga mu ngeri abantu gye bazikwatamu. Nga bamanyi nti wayinza okuggwaawo akatyabaga ak’embagirawo, abantu batema empenda nnyingi ez’enjawulo okukola ku katyabaga ako. Okubaawukanako, ye Katonda aba n’ekigendererwa era n’akituukiriza. Newakubadde kiri bwe kityo, Pawulo annyonnyola enteekateeka Yakuwa gye yakola okugonjoolamu ensonga abantu basobole okufuna obuweerero obw’olubeerera. Nteekateeka ki Katonda ze yakola?

Ani Anaaleeta Obuweerero?

Pawulo agamba nti abayigirizwa ba Kristo abaafukibwako amafuta balina ekifo eky’enjawulo mu kumalawo ebizibu ebyaleetebwawo ekibi kya Adamu. Pawulo agamba nti, Yakuwa ‘yatulondera wamu ne Kristo,’ okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu. Ayongera n’agamba nti Yakuwa ‘yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo.’ (Abaefeso 1:4, 5) Kya lwatu, Yakuwa teyabalonda oba okubaawulawo ng’abantu ssekinnoomu. Wabula, yabaawulawo ng’ekibiina ky’abantu abeesigwa era abandikoledde awamu ne Kristo, okumalawo emitawaana egyaleetebwawo Setaani Omulyolyomi ng’ali wamu ne Adamu era ne Kaawa.​—Lukka 12:32; Abaebbulaniya 2:14-18.

Kino nga kyewuunyisa nnyo! Mu ntandikwa, Setaani bwe yali asoomooza obufuzi bwa Katonda, yagamba nti, abantu Katonda be yatonda baaliko ekikyamu, era nti singa banyigirizibwa oba singa basendebwasendebwa bandijeemedde obufuzi bwa Katonda. (Yobu 1:7-12; 2:2-5) Yakuwa Katonda bwe yafuula abamu ku bazzukulu ba Adamu abaana be ab’eby’omwoyo, yayolesa ‘ekisa kye ekitatusaanira’ era n’akiraga nga bwe yalina obwesige mu bantu. Abo abali mu kabiina kano akatono banditwaliddwa okuweereza mu ggulu. Lwa kigendererwa ki?​—Abaefeso 1:3-6; Yokaana 14:2, 3; 1 Abasessaloniika 4:15-17; 1 Peetero 1:3, 4. 

Pawulo agamba nti, abo Katonda be yafuula abaana be, ‘basika awamu ne Kristo’ mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu. (Abaruumi 8:14-17) Nga baweereza nga ba kabaka era nga bakabona, bajja kwenyigira mu kununula olulyo lw’omuntu okuva mu bulumi n’okubonaabona ebiriwo kati. (Okubikkulirwa 5:10) Kituufu, “ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.” Naye mangu ddala, abaana ba Katonda bano bajja kukolera wamu ne Kristo, era abantu abawulize bonna bajja “[ku]weebwa [nate] eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa eky’abaana ba Katonda.”​—Abaruumi 8:18-22.

“Okusumululwa Okuyitira mu Kinunulo”

Ekinunulo kya ssaddaaka ya Yesu Kristo kye kyasobozesa bino byonna okubaawo era ekyo kye kikolwa kya Katonda ekyasingirayo ddala okulaga ekisa kye ekitasaanira eri abantu. Pawulo yawandiika: ‘Eyatuweesa okununulibwa kwaffe olw’omusaayi gwa Yesu Kristo, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng’obugagga obw’ekisa kye bwe buli.’​—Abaefeso 1:7.

Oyo awomye omutwe mu kutuukiriza ekigendererwa kya katonda, ye Yesu Kristo. (Abaebbulaniya 2:10) Ekinunulo kye kyateekawo ekyo Yakuwa ky’asinziirako okusobola okuyingiza abamu ku bazzukulu ba Adamu mu maka ge ag’omu ggulu era n’okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kibi, awatali kusuula muguluka mateeka ge n’emisingi gye. (Matayo 20:28; 1 Timoseewo 2:6) Yakuwa akutte ensonga mu ngeri etuukana n’obutuukirivu wamu n’obwenkanya bwe.​— Abaruumi 3:22-26.

“Ekyama” kya Katonda

Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Katonda teyabikkula butereevu ngeri ki gye yandituukirizzaamu ekigendererwa kye eri ensi. Mu kyasa ekyasooka C.E., ‘yategeeza Abakristaayo ekyama ky’okwagala kwe.’ (Abaefeso 1:9) Pawulo ne Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta baategeera bulungi omulimu ogw’ettendo ogwaweebwa Yesu Kristo olw’okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Era baatandika n’okutegeera obuvunaanyizibwa bwabwe obw’enjawulo obw’okusikira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu. (Abaefeso 3:5, 6, 8-11) Yee, gavumenti ey’Obwakabaka ng’ekulemberwa Yesu Kristo n’abo abanaafugira awamu naye, y’eyo Katonda gy’ajja okweyambisa okuleetawo emirembe egy’olubeerera mu ggulu ne ku nsi. (Matayo 6:9, 10) Okuyitira mu gavumenti eyo, Yakuwa ajja kuzzaawo ku nsi embeera gye yayagala okubaawo mu ntandikwa.​—Isaaya 45:18; 65:21-23; Ebikolwa 3:21.

Ekiseera kye ekigereke eky’okumalawo okunyigirizibwa n’obutali bwenkanya mu nsi kisembedde. Naye mu butuufu, Yakuwa yatandika dda omulimu gw’okuzza ebintu obuggya ku Pentekoote 33 C.E. Atya? Ng’atandika ku lunaku olwo okukuŋŋaanya “ebiri mu ggulu,” nga bano beebo abajja okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Mu bano mwe mwali n’Abakristaayo Abaefeso. (Abaefeso 2:4-7) Mu kiseera kyaffe, Yakuwa abadde akuŋŋaanya ‘ebiri ku nsi.’ (Abaefeso 1:10) Ng’ayitira mu kaweefube ow’okubuulira mu nsi yonna, amanyisa eri amawanga gonna amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwe obuli mu mikono gya Yesu Kristo. Ne kaakati abo abasiima amawulire amalungi, bakuŋŋaanyizibwa mu kifo eky’eby’omwoyo ekirimu obukuumi n’okuwonya. (Yokaana 10:16) Mangu ddala, bajja kufuna eddembe okuva mu kubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya mu lusuku lwa Katonda ku nsi oluzziddwa obuggya.​—2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 11:18.

“Abantu bakoze kinene nnyo” okuyamba bannaabwe abanyigirizibwa. (The State of the World’s Children 2000) Naye, ekinaasingawo ku ekyo, bwe Bwakabaka obw’omu ggulu obuli mu mikono gya Kristo Yesu ne bafuzi banne okuyingira mu nsonga z’ensi. Bujja kutuukira ddala ku nsibuko y’obukuubagano n’obubi bwonna obututawaanya. Bajja kumalirawo ddala ebizibu byonna eby’olulyo lw’omuntu.​—Okubikkulirwa 21:1-4.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]

Okudduukirira abantu abali mu buzibu tekigonjodde bizibu bya bantu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Ekinunulo kya ssaddaaka ya Kristo kyawa abantu obuweerero okuva mu kibi kya Adamu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Leero kisoboka okufuna obukuumi n’okuwonyezebwa mu by’omwoyo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Mangu ddala, okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya, ebizibu byonna bijja kuggwaawo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share