Olina ‘Emirandira Eminywevu era Onyweredde ku Musingi’?
WALI weetegerezza omuti omunene nga gufuuyibwa kibuyaga? Empewo ne bw’eba ya maanyi etya, omuti ogwo tegusiguukululwa. Lwaki? Kubanga gwasimba emirandira egy’amaanyi mu ttaka. Naffe tusobola okuba ng’omuti ogwo. Bwe twolekagana n’ebizibu ebiringa kibuyaga, tusobola okubigumira bwe tuba ‘n’emirandira eminywevu era nga tuli ku musingi omunywevu.’ (Bef. 3:14-17) Omusingi ogwo gwe guluwa?
Ekigambo kya Katonda kigamba nti “Kristo Yesu yennyini lye jjinja ery’omusingi ery’oku nsonda” ery’ekibiina Ekikristaayo. (Bef. 2:20; 1 Kol. 3:11) Ng’Abakristaayo, tukubirizibwa ‘okutambuliranga awamu naye, nga tuli banywevu, nga tuzimbibwa mu ye era nga tetusagaasagana mu kukkiriza.’ Bwe tunaakola tutyo, tujja kusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza nga tugezesebwa, ka tube nga tukemebwa abo aboogera “ebigambo ebisendasenda” ebyesigamizibwa ku ‘by’obulimba ebitaliimu.’—Bak. 2:4-8.
“Obugazi, Obuwanvu, Obugulumivu, n’Obuziba”
Tuyinza tutya okuba ‘abanywevu’ era ‘abatasagaasagana mu kukkiriza’? Engeri emu gye tuyinza okukikola kwe kunyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda, tube ng’emiti egyasimba emirandira egy’amaanyi mu ttaka. Yakuwa ayagala ffe ‘awamu n’abatukuvu tutegeerere ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba’ bw’amazima. (Bef. 3:18) N’olwekyo, Omukristaayo tasaanidde kukoma ku kumanya ‘bintu ebisookerwako’ eby’omu Kigambo kya Katonda. (Beb. 5:12; 6:1) Mu kifo ky’ekyo, asaanidde okufuba okweyongeranga okumanya amazima agali mu Baibuli.—Nge. 2:1-5.
Kino tekitegeeza nti okumanya ebingi kye kyokka kye twetaaga okusobola okuba ‘n’emirandira eminywevu n’okuba abanywevu’ mu mazima. Kijjukire nti Sitaani naye amanyi bulungi ebiri mu Baibuli. N’olwekyo, ekirala kye twetaaga kwe ‘kuba n’okwagala kwa Kristo okusingira ewala okumanya.’ (Bef. 3:19) Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda ne tweyongera okukitegeera olw’okwagala ennyo Yakuwa n’okwagala amazima, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera.—Bak. 2:2.
Gezesa Okumanya Kwo
Mu kaseera kano kennyini, lwaki tosoma ebimu ku bintu ebikulu ebiri mu Baibuli n’olaba obanga obitegeera bulungi? Okukola ekyo kiyinza okukukubiriza okwagala okusoma Baibuli okusingawo. Ng’ekyokulabirako, soma ennyiriri ezisooka ez’ebbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abeefeso. (Laba akasanduuko “Eri Abeefeso.”) Ng’omaze okusoma ennyiriri ezo weebuuze, ‘Ntegeera bulungi ebiri mu nnyiriri zino ebiwandiikiddwa mu italiki mu kasanduuko?’ Ka tubyetegereze kimu ku kimu.
Yatulonda “ng’Ensi Tennabaawo”
Pawulo yawandiikira bw’ati bakkiriza banne: “[Katonda] yatulonda dda okuba abaana be okuyitira mu Yesu Kristo.” Yakuwa yasalawo nti ajja kuddira abantu abamu abatwale beegatte ku baana be ab’omu ggulu abatuukiridde. Bano Katonda be yandifudde abaana be bandifuze nga bakabaka era bakabona awamu ne Kristo. (Bar. 8:19-23; Kub. 5:9, 10) Sitaani bwe yaleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa y’asaanidde okufuga obutonde bwonna, yalaga nti abantu baliko ekikyamu. Nga kituukirawo okuba nti Yakuwa yalonda abamu ku bo abakozese mu kumalawo obubi bwonna mu nsi, ne mu kuzikiriza Sitaani Omulyolyomi abuleetawo! Kyokka Yakuwa yali teyasalawo dda bantu ki abandifuuse abaana be. Mu kifo ky’ekyo, yasalawo nti wandibaddewo ekibinja ky’abantu abandifuze ne Kristo mu ggulu.—Kub. 14:3, 4.
“Nsi” ki Pawulo gye yali ategeeza bwe yawandiikira Bakristaayo banne nti bo, ng’ekibinja, baali baalondebwa “ng’ensi tennabaawo”? Yali tategeeza kiseera ng’ensi oba ng’abantu tebannatondebwa. Singa ekyo kye yali ategeeza, Katonda yandibadde talaze bwenkanya kusalira Adamu ne Kaawa musango olwokumujeemera, kuba bandibadde bakoze nga bwe yateekateeka. Kati olwo Yakuwa yasalawo ddi nti yanditereezezza embeera eyajjawo olwa Adamu ne Kaawa okwegatta ku Sitaani mu kuwakanya obufuzi bwe? Yakuwa yakisalawo nga bazadde baffe abaasooka bamaze okujeema, naye ng’ensi y’abantu abatatuukiridde abasobola okulokolebwa tennatandikawo.
“Okusinziira ku Kisa kya Katonda eky’Ensusso”
Lwaki Pawulo yagamba nti enteekateeka gye yali ayogeddeko mu nnyiriri ezisooka yakolebwa “okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso”? Yakyogera okulaga nti tekyali kya tteeka nti Yakuwa yalina okununula abantu.
Ku ffenna tewali alina ky’ayinza kukola abe ng’agwanira okulokolebwa. Naye Katonda olw’okwagala ennyo olulyo lw’omuntu, yakola enteekateeka okutununula. Bw’ofumiitiriza ennyo ku ky’okuba nti tetutuukiridde era tuli boonoonyi kyeyoleka bulungi nti, okulokolebwa kwaffe kintu ekitatusaanira, nga Pawulo bwe yagamba.
Ekyama Ekitukuvu Ekikwata ku Kigendererwa kya Katonda
Mu kusooka Katonda teyayogera ngeri gye yali agenda kumalawo bizibu Sitaani bye yaleetawo. Ekyo kyali ‘kyama ekitukuvu.’ (Bef. 3:4, 5) Oluvannyuma ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikiddwawo, Yakuwa yayogera engeri gye yali agenda okutuukirizaamu ekigendererwa kye eri olulyo lw’omuntu n’ensi eno. Pawulo yannyonnyola nti “ng’ekiseera ekigereke kiweddeko,” Katonda yanditaddewo “engeri y’okuddukanyaamu ebintu,” oba enteekateeka omwandiyitiddwa okugatta ebitonde bye byonna ebitegeera.
Ekitundu ekisooka eky’okugatta ebitonde kyatandika ku Pentekooti 33 E.E., Yakuwa bwe yatandika okukuŋŋaanya abo abandifuze ne Yesu mu ggulu. (Bik. 1:13-15; 2:1-4) Ekitundu eky’okubiri ky’eky’okukuŋŋaanyizibwa kw’abo abagenda okubeera mu nsi empya efugibwa Obwakabaka bwa Masiya. (Kub. 7:14-17; 21:1-5) Ebigambo “engeri y’okuddukanyaamu ebintu” tebitegeeza Bwakabaka bwa Masiya, olw’ensonga nti Obwakabaka obwo tebwateekebwawo okutuusa mu 1914. Ebigambo ebyo bitegeeza engeri Katonda gy’akwatamu ensonga, oba gy’akolamu ebintu okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okugatta awamu ebitonde bye byonna.
Beera ‘Mukulu mu Kutegeera’
Tewali kubuusabuusa nti okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa kikuyamba okutegeera “obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba” bw’amazima. Naye kikulu okukijjukira nti olw’okuba tuba n’ebintu eby’okukola bingi, kyangu Sitaani okutuleetera okusuulirira enteekateeka eyo, oba okugiviirako ddala. Kino tomuwa kaagaanya kukikukola. Kozesa “okutegeera” Katonda kwe yakuwa okufuuka ‘omukulu mu kutegeera.’ (1 Yok. 5:20; 1 Kol. 14:20) Fuba okulaba nti by’okkiririzaamu obitegeera bulungi, era nti osobola okunnyonnyola ‘ebikwata ku ssuubi ly’olina.’—1 Peet. 3:15.
Singa waliyo mu Efeso ng’ebbaluwa ya Pawulo eyo esomebwa, ebigambo bye byandikuleetedde okwagala okweyongera ‘okumanyira ddala Omwana wa Katonda’? (Bef. 4:13, 14) Awatali kubuusabuusa bwe kyandibadde! Ne leero ebigambo bya Pawulo byanditukutteko mu ngeri y’emu. Okwagala ennyo Yakuwa n’okumanya amazima agali mu Kigambo kye kijja kukuyamba okuba ‘n’emirandira eminywevu era n’okunywerera ku musingi’ gwa Kristo. Olwo oba ojja kusobola okugumira embuyaga eza buli ngeri Sitaani z’ayinza okukuleetera ng’enkomerero y’ensi eno embi tennatuuka.—Zab. 1:1-3; Yer. 17:7, 8.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
“Eri Abeefeso”
“Atenderezebwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga atuwadde omukisa ogw’eby’omwoyo mu bifo eby’omu ggulu nga tuli bumu ne Kristo, nga bwe yatulonda okuba obumu ne Kristo ng’ensi tennabaawo, tusobole okuba abatukuvu era nga tetuliiko kamogo mu maaso ge olw’okwagala kwe tulina eri Katonda. Kubanga yatulonda dda okuba abaana be okuyitira mu Yesu Kristo okusinziira ku ekyo ekimusanyusa era nga bw’ayagala, asobole okutenderezebwa olw’ekisa kye eky’ensusso eky’ekitiibwa kye yatulaga ng’ayitira mu Mwana we omwagalwa. Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso. Ekisa kino eky’ensusso yakitulaga mu bungi era n’atuwa n’amagezi gonna n’okutegeera, bwe yatutegeeza ekyama ekitukuvu eky’ebyo by’ayagala. Ekyama kino kiri bumu n’ebyo ebimusanyusa era n’ekigendererwa kye eky’okussaawo engeri y’okuddukanyaamu ebintu ng’ekiseera ekigereke kiweddeko, addemu okukuŋŋaanya ebintu byonna mu Kristo, ebintu eby’omu ggulu n’eby’oku nsi.”—Bef. 1:3-10.