Okuwaayo Ekisinga ku Ekyo ky’Osobola
“NE BW’OMPITA omuntu asabiriza; ekyo tekiyinza ku nnyiiza. Nsabiriza ku lwa Yesu.” Ebigambo ebyo ebyayogerwa omuweereza mu ddiini y’Ekipolotesitante byoleka obutategeeragana obukwata ku nsimbi eziweebwayo okuwagira amadiini. Kirabika nti engeri yokka eddiini gy’eyinza okuyimirirawo, kwe kufuna obuyambi obw’amaanyi mu by’ensimbi. Emisaala girina okusasulwa, amasinzizo galina okuzimbibwa era n’okuddaabirizibwa, era ne kaweefube w’okubuulira alina okusasulirwa. Ensimbi ezeetaagisa ziyinza kufunibwa zitya?
Amakanisa agasinga obungi gagoberera enkola ey’okuwaayo ekimu eky’ekkumi.a Omubuulizi ayitibwa Norman Robertson yagamba nti: “Ekimu eky’ekkumi ye ngeri Katonda gy’akozesa okuwagira Obwakabaka Bwe ku nsi. Eyo ye nkola gy’Akozesa okusobozesa Enjiri okubuulirwa.” Awatali kulonzaalonza kwonna yajjukiza abagoberezi b’eddiini ye ku buvunaanyizibwa bwe balina obw’okuwaayo, ng’akiggumiza nti: ‘Okuwaayo ekimu eky’ekkumi si kye kintu ky’okola kubanga osobola. Wabula ekyo kiba kikolwa kya buwulize. Bw’oba towaddeyo kimu eky’ekkumi, obeera omenye ebiragiro bya Katonda. Kiba kyenkanankana n’okutwala ssente ezitali zizo n’ozikozesa ku bintu ebibyo ku bubwo.’—Tithing—God’s Financial Plan.
Oyinza okuba ng’okikkiriza nti okugaba kusaanidde okuba ekitundu ky’okusinza okw’Ekikristaayo. Wadde kiri kityo, wandiba ng’owulira ng’okaluubirizibwa kabe kasinge n’okukwatibwa obusungu singa osabibwa ssente buli kiseera? Omwekenneenya w’eddiini ow’omu Brazil ayitibwa Inácio Strieder anenya abakulembeze b’amakanisa olw’okukubiriza enkola ey’okuwaayo ekimu eky’ekkumi okusobola “okugonjoola ebizibu bye balina mu kuddukanya emirimu gyabwe,” era enkola eyo n’agiyita “emenya amateeka, embi era ewabye okuva ku Katonda.” Agamba nti ekivudde mu ekyo, kwe kuba nti “abantu abatalina mirimu, bannamwandu, abaavu, era n’abo abatasobola kulowooza bulungi ku nsonga, bagamba nti Katonda abaabulidde era nti bawalirizibwa okuwaayo eri ababuulizi ne kiba nti ab’omu maka gaabwe batuuka n’okusula enjala.”
Oyinza okwebuuza: ‘Amakanisa agakozesa enkola ey’okuwaayo ekimu eky’ekkumi ddala gagoberera Ebyawandiikibwa? Oba amadiini agamu gatiisatiisa butiisatiisa abantu nti Katonda ajja kubabonereza singa tebawaayo kimu eky’ekkumi okusobola okunyaga ebisibo byabwe? Ddala Katonda atusuubira okuwaayo okusinga ku ekyo kye tusobola, ng’abamu bwe bagamba?’
[Obugambo obuli wansi]
a Kwe kugamba okuwaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu by’ofuna.