LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 12/1 lup. 4-7
  • Okuwaayo Okuleeta Essanyu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuwaayo Okuleeta Essanyu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekimu eky’Ekkumi n’Amateeka ga Musa
  • Okuwaayo okw’Ekikristaayo
  • ‘Nga bw’Aba Asazeewo mu Mutima Gwe’
  • Okuwaayo Kyeyagalire Leero
  • Bayibuli Eyogera ki ku Kuwaayo Ekimu eky’Ekkumi?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okuwaayo Ekisinga ku Ekyo ky’Osobola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • ‘Mulagenga Okusiima’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 12/1 lup. 4-7

Okuwaayo Okuleeta Essanyu

GENIVAL, abeera mu kibuga ekibeeramu abaavu mu Brazil, yali ayimirizzaawo mukazi we n’abaana be ku musaala omutono ennyo gwe yali afuna ng’akola ng’omukuumi w’eddwaliro. Wadde nga yali mwavu, Genival yawangayo ekimu eky’ekkumi. Agamba nti: “Ebiseera ebimu ab’omu maka gange tebaalyanga mmere.” Yayogera bw’atyo ng’eno bw’akutte ku lubuto lwe, “naye nnali njagala okuwa Katonda ekisingayo obulungi, wadde ng’ekyo kyali kinneetaagisa okwerekereza ennyo.”

Oluvannyuma lw’okufiirwa omulimu gwe, Genival yeeyongera okuwaayo ekimu eky’ekkumi. Omukulembeze w’eddiini ye yamugamba akeme Katonda ng’awaayo ekisingayo obunene. Era yamukakasa nti Katonda yali ajja kumufukumulira emikisa. N’olwekyo, Genival yasalawo okutunda ennyumba ye era ssente ze yandifunyeemu eziweeyo eri ekkanisa.

Genival si ye yekka alina omwoyo ng’ogwo ogw’okugaba. Abantu abaavu bangi bawaayo ekimu eky’ekkumi, kubanga bayigiriziddwa amakanisa gaabwe nti Baibuli ebeetaaza okukiwaayo. Naye ekyo kituufu?

Ekimu eky’Ekkumi n’Amateeka ga Musa

Ekiragiro ky’okuwaayo ekimu eky’ekkumi kyali kimu ku Mateeka Yakuwa Katonda ge yawa ebika 12 ebya Isiraeri ey’edda emyaka egisukka mu 3,500 emabega. Etteeka eryo lyalagira nti ekimu eky’ekkumi eky’ensi n’eky’ebibala by’emiti, n’eky’ebisolo, biweebwengayo eri ekika kya Leevi okubasobozesa okutuukiriza emirimu egyakolebwanga mu weema.​—Eby’Abaleevi 27:30, 32; Okubala 18:21, 24.

Yakuwa yakakasa Abaisiraeri nti Amateeka ago ‘tegandibakaluubirizza.’ (Ekyamateeka 30:11) Gye bandikomye okukwata ebiragiro bye nga mw’otwalidde n’okuwaayo ekimu eky’ekkumi, gye bandikomye n’okufuna amakungula amangi. Era buli mwaka baaterekanga ekimu eky’ekkumi ekirala ekyakozesebwanga nga bakuŋŋaanye ku mikolo gy’eddiini waleme kubeerawo kyetaago kyonna mu by’emmere. Mu ngeri eyo, ‘omunnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu, baasobolanga okufuna eky’okulya.’​—Ekyamateeka 14:28, 29; 28:1, 2, 11-14.

Amateeka tegaalaga kibonerezo omuntu kye yandifunye olw’okulemererwa okuwaayo ekimu eky’ekkumi, naye buli Muisiraeri yali avunaanyizibwa okubaako ne ky’awaayo okuwagira okusinza okw’amazima. Mu butuufu, Yakuwa yanenya Abaisiraeri abaasuula omuguluka okuwaayo ekimu eky’ekkumi mu kiseera kya Malaki era yabagamba nti baali ‘bamunyaga ebitundu eby’ekkumi n’ebiweebwayo.’ (Malaki 3:8) Abakristaayo bayinza okunenyezebwa mu ngeri y’emu olw’obutawaayo ekimu eky’ekkumi?

Lowooza ku nsonga eno. Amateeka agafuga ensi emu tegayinza kufuga nsi ndala. Ng’ekyokulabirako, etteeka eriragira abavuzi b’ebidduka mu Bungereza okuvugira ku kkono, terikwata ku bavuzi ba bidduka mu Bufalansa. Mu ngeri y’emu, etteeka eryali liragira okuwaayo ekimu eky’ekkumi yali ndagaano wakati wa Katonda n’eggwanga lya Isiraeri lyokka. (Okuva 19:3-8; Zabbuli 147:19, 20) Abaisiraeri bokka be baali bakwatibwako etteeka eryo.

Okugatta ku ekyo, wadde nga kituufu nti Katonda takyuka, naye bye yeetaaza abantu oluusi bikyuka. (Malaki 3:6) Baibuli ekirambika kaati nti ssaddaaka y’okufa kwa Yesu, mu 33 C.E., ‘yasangulawo,’ oba ‘yaggyawo’ Amateeka nga mw’otwalidde n’ekiragiro eky’okuwaayo ekimu eky’ekkumi.’​—Abakkolosaayi 2:13, 14; Abaefeso 2:13-15; Abaebbulaniya 7:5, 18.

Okuwaayo okw’Ekikristaayo

Kyokka, okuwaayo ensimbi, ebintu n’amaanyi olw’okuwagira okusinza okw’amazima, kwali kukyetaagisa. Yesu yali alagidde abayigirizwa be ‘okubeera abajulirwa be okutuukira ddala ku nkomerero y’ensi.’ (Ebikolwa 1:8) Omuwendo gw’abakkiriza bwe gweyongera, era kyali kyetaagisa abayigiriza Abakristaayo n’abalabirizi okukyalira ebibiina n’okubinyweza. Era ebiseera ebimu kyali kyetaagisa okulabirira bannamwandu, bamulekwa awamu n’abantu abalala. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakola batya ku bwetaavu obwo?

Awo ga mu 55 C.E., Abakristaayo Bannaggwanga abaali mu Bulaaya ne mu Asiya Omutono baakubirizibwa okuyamba Abakristaayo ab’omu kibiina ky’Ebuyudaaya abaali abaavu ennyo. Mu bbaluwa ze eri ekibiina ky’e Kkolinso, omutume Pawulo annyonnyola engeri enteekateeka ‘ey’okukuŋŋaanyiza abatukuvu ebintu’ gye yakolebwamu. (1 Abakkolinso 16:1) Oyinza okwewuunya ebigambo bya Pawulo kye bibikkula ku kugaba okw’Ekikristaayo.

Omutume Pawulo teyawaliriza bakkiriza banne okugaba. Mu butuufu, Abakristaayo abaali e Makedoni, wadde nga baali ‘babonaabona nnyo’ era nga ‘baavu nnyo,’ ‘baamusabanga nga bamwegayirira okufuna enkizo ey’okubaako kye bawaayo olw’ekisa era n’okwenyigira mu buweereza awamu n’abatukuvu.’​—2 Abakkolinso 8:1-4.

Kituufu nti, Pawulo yakubiriza Abakkolinso abaali abagagga okukoppa omwoyo ogw’obugabi ogwa baganda baabwe ab’omu Makedoni. Wadde kyali kityo, ekitabo ekimu kigamba, ‘teyabawa biragiro, wabula yasalawo okubeegayirira, okubawa ekirowoozo, n’okubakubiriza. Abakristaayo ab’omu Kkolinso tebandibadde na ssanyu mu kugaba kwabwe singa baali bakakiddwa bukakibwa.’ Pawulo yali akimanyi nti “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 Abakkolinso 9:7.

Okukkiriza okw’amaanyi awamu n’okumanya era n’okwagala okwa nnamaddala eri Bakristaayo bannaabwe, bye byandibakubirizza okuwaayo, so si kuwalirizibwa.​—2 Abakkolinso 8:7, 8.

‘Nga bw’Aba Asazeewo mu Mutima Gwe’

Mu kifo ky’okugereka omuwendo oba obungi bw’ekyo kye baali balina okuwaayo, Pawulo yawa buwi kirowoozo nti ‘ku lunaku olw’olubereberye mu ssabbiiti buli muntu aterekenga ewuwe ssente okusinziira ku nfuna ye.’ (1 Abakkolinso 16:2) Okuyitira mu ntegeka ennungi, era n’okubaako bye baterekawo obutayosa, Abakkolinso tebandikitutte nti bawalirizibwa okuwaayo oba okumala gawaayo mu kiseera nga Pawulo atuuse. Buli Mukristaayo yali wa kusalawo mu kyama ssente mmeka ze yalina okuwaayo, kwe kugamba, ze yandibadde ‘asazeewo mu mutima gwe.’​—2 Abakkolinso 9:5, 7.

Okusobola okukungula ebingi, Abakkolinso baali balina kusiga bingi. Tebaaweebwa kirowoozo kya kuwaayo kye batasobola. Pawulo yagamba nti ‘soogedde bwe ntyo okubakaluubiriza.’ Omuntu yalina okuwaayo ‘okusinziira ku ebyo bye yalina so si ku bye yali talina.’ (2 Abakkolinso 8:12, 13; 9:6) Mu bbaluwa ye endala, omutume yalabula: “Omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Pawulo teyabakubiriza kuwaayo mu ngeri emenya omusingi guno.

Kikulu nnyo nti Pawulo yakubiriza enteekateeka ‘ey’okukuŋŋaanyiza abatukuvu ebintu’ abaali mu bwetaavu. Tewali we tusoma mu Byawandiikibwa awalaga nti Pawulo oba abatume abalala baakola enteekateeka ey’okukuŋŋaanya ebintu oba okufuna ekimu eky’ekkumi okusobola okuyimirizaawo obuweereza bwabwe. (Ebikolwa 3:6) Wadde nga bulijjo yasanyukiranga ebirabo ebibiina bye byamuwanga, Pawulo yeewala ‘okuzitoowerera’ baganda be.​—1 Abasessaloniika 2:9; Abafiripi 4:15-18.

Okuwaayo Kyeyagalire Leero

Kya lwatu, mu kyasa ekyasooka, abagoberezi ba Kristo baawangayo kyeyagalire, so si ekimu eky’ekkumi. Kyokka, oyinza okwebuuza oba ng’eno ekyali ngeri nnungi ey’okuwagiramu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi n’okulabirira Abakristaayo abali mu bwetaavu.

Lowooza ku bino ebiddirira. Mu 1879, abawandiisi ba magazini eno baakyogera kaati nti “tebagenda kusabiriza wadde okwegayirira abantu okubayamba.” Okusalawo okw’engeri eyo kulemesezza Abajulirwa ba Yakuwa okubunyisa amazima ga Baibuli?

Kaakano, Abajulirwa babunyisa Baibuli, ebitabo eby’Ekikristaayo n’ebitabo ebirala mu nsi 235. Mu ntandikwa, kopi 6,000 eza Omunaala gw’Omukuumi ze zaali zibunyisibwa buli mwezi mu lulimi lumu lwokka. Mu kiseera kino kopi za magazini eno 24,000,000 zifulumizibwa emirundu ebiri buli mwezi mu nnimi 146. Okusobola okutegeka omulimu gwabwe ogw’okuyigiriza Baibuli mu nsi yonna, Abajulirwa bazimbye oba baguze amatabi mu nsi 110. Okwongereza ku ekyo, bazimbye enkumi n’enkumi z’ebifo eby’okukuŋŋaaniramu okusobola okutuuzaamu abantu abaagala okuyigirizibwa Baibuli.

Wadde nga bakulembeza kukola ku byetaago by’abantu eby’eby’omwoyo, Abajulirwa ba Yakuwa tebasuula muguluka byetaago eby’omubiri ebya bakkiriza bannaabwe. Baganda baabwe bwe babonaabona olw’ebyo ebiva mu ntalo, musisi, ekyeya n’amataba, banguwa mangu nnyo okubawa obuyambi bw’eddagala, emmere, eby’okwambala n’ebintu ebirala ebyetaagisa. Ebyo byonna bisobola okutuukirizibwa nga bakozesa ebyo ebiweebwayo Abakristaayo kinnoomu awamu n’ebibiina.

Enkola eno si nnungi bulungi kyokka, naye era eyanguyira abaavu nga Genival, eyayogeddwako mu ntandikwa. Eky’omukisa omulungi, Genival bwe yali nga tannaba kutunda nnyumba ye, Maria, omuweereza ow’ekiseera kyonna era omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yamukyalira. Genival agamba nti, “emboozi gye nnanyumya naye yawonya amaka gange ebizibu bingi nnyo.”

Genival yakizuula nti omulimu gwa Katonda tegwesigamye ku kuwaayo ekimu eky’ekkumi. Mazima ddala, okuwaayo ekimu eky’ekkumi tekukyetaagisa okusinziira ku Byawandiikibwa. Yakitegeera nti Abakristaayo basobola okufuna emikisa bwe bawaayo kyeyagalire era nti tebawalirizibwa kuwaayo kye batasobola.

Okuwaayo kyeyagalire, kuleetedde Genival okufuna essanyu. Agamba bw’ati: “Nnyinza okuwaayo oba obutawaayo ekimu eky’ekkumi, naye mba musanyufu n’ekyo kyemba mpaddeyo, era ndi mukakafu nti Yakuwa naye asiima.”

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

Abakulembeze b’Ekkanisa Abaasooka Baayigiriza Okuwaayo Ekimu eky’Ekkumi?

“Abagagga abali mu ffe bayamba abaavu . . . Abo abali obulungi era abaagala okuwaayo, bawaayo kye basobola.”​—The First Apology, Justin Martyr, c. 150 C.E.

“Abayudaaya baawangayo ekimu eky’ekkumi eky’ebintu byabwe eri Katonda, naye Abakristaayo baawaayo bye balina byonna eri Katonda, . . . nga nnamwandu oli omwavu bwe yakola ng’awaayo byonna bye yalina eri Katonda.”​—Against Heresies, Irenaeus, c. 180 C.E.

“Wadde nga tulina akasanduuko mwe tuteeka ssente, ssente ezo teziba za kugula bulokozi, nga gy’obeera nti eddiini egula ssente. Omulundi gumu buli mwezi, omuntu bw’aba ng’ayagala, abaako ekitono ky’ateeka mu kasanduuko; kubanga tewali awalirizibwa; okuwaayo kwa kyeyagalire.”​—Apology, Tertullian, c. 197 C.E.

“Ekkanisa bwe yagenda egaziwa era n’ebitongole eby’enjawulo ne bijjawo, kyali kyetaagisa okussaawo amateeka agandisobozesezza okulabirira n’okuwagira abakulembeze b’eddiini mu by’ensimbi. Okuwaayo ekimu eky’ekkumi kwatandika nga basinziira ku Mateeka ga Musa . . . Ekyasalibwawo ku nsonga eno kirabika kiri mu bbaluwa ya Babisopu abaakuŋŋaanira mu Bufalansa mu kibuga ekiyitibwa Tours mu 567 ne mu lukiiko lwa [bannaddiini] olwali e Macon mu Bufalansa mu 585.”​—The Catholic Encyclopedia.

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Coin, top left: Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4, 5]

Okuwaayo kyeyagalire kuleeta essanyu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Okuwaayo kyeyagalire kusobozesa okuwagira omulimu gw’okubuulira, okuyamba abeetaaga obuyambi n’okuzimba ebifo eby’okukuŋŋaaniramu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share