LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w03 1/1 lup. 3
  • ‘Katonda, Lwaki Wakkirizza Kino Okubaawo?’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Katonda, Lwaki Wakkirizza Kino Okubaawo?’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obutyabaga Bwe Bugwawo, Abantu Beebuuza Ebibuuzo Bingi
  • Okubudaabuda Abo Ababonaabona
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Okugumira Ebizibu Kinviiriddemu Emikisa Mingi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2019
  • Ebikwata ku Ricardo ne Andres
    Zuukuka!—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
w03 1/1 lup. 3

‘Katonda, Lwaki Wakkirizza Kino Okubaawo?’

RICARDO akyajjukira olunaku bwe yali ng’atudde ne mukyala we Maria mu kisenge awalindirwa omusawo.a Bombi tebaalina buvumu kusoma lipoota y’omusawo eyali eraga ebyali bivudde mu kukeberebwa kwa Maria. Oluvannyuma, Ricardo yasumulula ebbaasa era bunnambiro ne bayisa amaaso mu lipoota eyo. Baalabamu ekigambo “kookolo” era bombi baatulika ne bakaaba kubanga baali bamanyi ekigambo ekyo kye kitegeeza mu bujjuvu.

Ricardo agamba nti “omusawo yali wa kisa nnyo kyokka yakiraba nti obulamu bw’omulwadde bwali mu katyabaga era yatugambanga nti twesige Katonda.”

Nga tannamuwa bujjanjabi obw’okukalirira kookolo, omusawo yalaba okugulu kwa Maria okwa ddyo nga kukankana. Bwe yeeyongera okukeberebwa, kyazuulibwa nti kookolo yali amutuuse ku bwongo. Oluvannyuma lwa wiiki emu yokka, baalekeraawo okumukalirira kookolo. Maria yazirika era n’afa oluvannyuma lw’emyezi ebiri. Ricardo agamba: “Nnasanyuka kubanga yali owonye obulumi, naye nnamusaalirwa nnyo n’entuuka n’okwagala okufa. Emirundi mingi nnalaajaniranga Katonda: ‘Lwaki wakkirizza kino okubaawo?’”

Obutyabaga Bwe Bugwawo, Abantu Beebuuza Ebibuuzo Bingi

Okufaananako Ricardo, abantu bangi okwetooloola ensi babonaabona. Emirundi mingi bassaalumanya be babonaabona. Lowooza ku nnyiike ereetebwawo entalo ezitakoma. Oba lowooza ku bulumi obutagambika obw’abakazi abakwatibwa, abaana abatuntuzibwa, abo abakolebwako ebikolwa eby’obukambwe mu maka n’ebikolobero ebirala bingi abantu bye bakola bannaabwe. Mu byafaayo byonna abantu bayisizza bannaabwe mu ngeri atali ya bwenkanya. (Omubuulizi 4:1-3) Ate waliwo abali mu buyinike olw’endwadde ez’omubiri n’ez’ebirowoozo n’olw’obutyabaga obw’omu butonde. N’olwekyo, tekyewuunyisa lwaki abantu beebuuza: “Lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo?”

Ka babeere abo abagoberera eddiini, tekibanguyira kugumiikiriza kubonaabona. Naawe oyinza okuba nga weebuuza lwaki Katonda ow’amaanyi era omwagazi akkiriza okubonaabona okubaawo. Okufuna eky’okuddamu ekituufu era ekimatiza mu kibuuzo kino, kitusobozesa okuba n’emirembe mu mutima era n’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Baibuli etuwa eky’okuddamu ekyo. Weetegereze ky’eddamu mu bitundu ebiddirira.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya gakyusiddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Omusawo yatugambanga nti twesige Katonda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share