Olina ‘Endowooza ey’Okulindirira’?
“Mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda, nga mulindirira era nga mukumira mu birowoozo byammwe olunaku lwa Yakuwa!”—2 PEETERO 3:11, 12, NW.
1, 2. Kyakulabirako ki kye tuyinza okuwa ekikwata ku kuba ‘n’endowooza ey’okulindirira’ olunaku lwa Yakuwa?
KUBA ekifaananyi ng’amaka gasuubira okufuna abagenyi ku kijjulo. Ekiseera abagenyi kye balina okutuukirako kiri kumpi nnyo. Omukyala afuba okumaliriza okutegeka eby’okulya byonna. Omwami we n’abaana bamuyamba okumaliriza okutegeka ebintu byonna obulungi. Buli omu musanyufu. Yee, ab’omu maka bonna beesunga nnyo abagenyi okutuuka era beesunga okubeera awamu ku kijjulo ekiwoomu.
2 Ng’Abakristaayo, tulindirira ekintu ekisingawo n’obukulu. Kiki kye tulindirira? Ffenna tulindirira “olunaku lwa Yakuwa.” Nga terunnatuuka, tulina okubeera nga nnabbi Mikka, eyagamba: “Naatunuuliranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange.” (Mikka 7:7) Ekyo kitegeeza kulera ngalo? Nedda. Waliwo emirimu mingi egy’okukola.
3. Okusinziira ku 2 Peetero 3:11, 12, ndowooza ki Abakristaayo gye balina okubeera nayo?
3 Omutume Peetero atuyamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu nga tulindirira. Agamba: “Mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda, nga mulindirira era nga mukuumira mu birowoozo byammwe olunaku lwa Yakuwa!” (2 Peetero 3:11, 12, NW) Weetegereze nti Peetero okwogera ebigambo ebyo, yali tabuusabuusa bwe tugwanidde kubeera. Mu bbaluwa ze ebbiri ezaaluŋŋamizibwa, yannyonnyola engeri Abakristaayo gye bagwanidde okubeeramu. Era yabakubiriza okweyongera okwoleka ‘empisa entukuvu n’ebikolwa eby’okutya Katonda.’ Wadde emyaka ng’asatu gyali giyiseewo bukya Yesu Kristo awa akabonero ‘ak’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu,’ Abakristaayo baali balina okweyongera okubeera obulindaala. (Matayo 24:3) Baali balina ‘okulindirira n’okusuubira’ olunaku lwa Yakuwa.
4. Kiki ekizingirwa mu ‘kusuubira n’okwegomba ennyo olunaku lwa Yakuwa’?
4 Ekigambo ky’Oluyonaani wano ekivvuunulwa ‘okukuumira mu birowoozo,’ kitegeeza “okwanguyaako.” Kya lwatu, tetuyinza ‘kwanguyaako’ lunaku lwa Yakuwa. N’olw’ensonga eyo, ‘tetumanyi lunaku wadde ekiseera’ Yesu Kristo ky’alijjiramu okutuukiriza omusango Kitaawe gw’asalidde abalabe be. (Matayo 24:36; 25:13) Ekitabo ekimu kinnyonnyola nti ekigambo omuva ekigambo “okwanguyaako” ekikozeseddwa wano kitegeeza “‘okukola mu bwangu’ era kikwataganyizibwa ‘n’okuba omunyiikivu era n’okufaayo ku kintu.’” N’olwekyo, Peetero yali akubiriza bakkiriza banne ‘okwegombanga ennyo’ olunaku lwa Yakuwa okutuuka. Kino bandisobodde okukikola nga balulowoozaako buli kiseera. (2 Peetero 3:12) Olw’okuba kati “olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa” luli kumpi nnyo okutuuka, tusaanidde okubeera n’endowooza y’emu.—Yoweeri 2:31.
Mulindirire nga ‘Mulina Empisa Entukuvu’
5. Tusobola tutya okulaga nti ‘twegomba nnyo’ okulaba ‘olunaku lwa Yakuwa’?
5 Bwe tuba nga ‘twegomba nnyo’ okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa, ekyo tujja kukyolekera ‘mu mpisa zaffe entukuvu ne mu bikolwa eby’okutya Katonda.’ Ebigambo ‘empisa entukuvu’ biyinza okutujjukiza okubuulirira kwa Peetero: “Ng’abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw’edda okw’omu butamanya bwammwe: naye ng’oyo eyabayita bw’ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna; kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.”—1 Peetero 1:14-16.
6. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okubeera abatukuvu?
6 Okubeera abatukuvu, tuteekwa okubeeranga abayonjo mu mubiri, mu birowoozo, mu mpisa ne mu by’omwoyo. Twetegekera ‘olunaku lwa Yakuwa’ nga tweyongera okuba abatukuvu ng’abantu abayitibwa erinnya lye? Si kyangu leero okubeera abatukuvu mu ngeri ng’ezo kubanga emitindo egy’ensi egy’empisa gyeyongera okusereba. (1 Abakkolinso 7:31; 2 Timoseewo 3:13) Empisa zaffe zeeyongedde okwawukana ku z’ensi? Bwe kitaba bwe kityo, kyeraliikiriza. Kyandiba nti emitindo gyaffe egy’empisa kinnoomu, wadde nga gya waggulu nnyo okusinga egy’ensi, nagyo gigenda gisereba? Bwe kiba bwe kityo, tusaanidde okubaako kye tukolawo okutereeza ensonga tusobole okusanyusa Katonda.
7, 8. (a) Tuyinza tutya okwerabira obukulu bw’okuba ‘n’empisa entukuvu’? (b) Biki bye tusaanidde okukola okutereeza ensonga?
7 Okuva ebifaananyi eby’obuseegu bwe biyinza okulabibwa ku Internet era ng’abantu basobola okugikozesa mu kyama, abamu abaali tebasobola kulaba bifaananyi ng’ebyo, kati “basobolera ddala okubiraba mu bungi,” bw’atyo omusawo omu bwe yagamba. Singa tugenda ku mikutu gya Internet egiriko ebintu ebitali birongoofu ng’ebyo, mazima ddala tujja kuba tusudde muguluka ekiragiro kya Baibuli ekigamba nti “temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu.” (Isaaya 52:11) Singa tukola ekyo, ddala twandibadde ‘tusuubira era nga twegomba nnyo olunaku lwa Yakuwa’? Kyandiba nti tugenda twongezaayo olunaku olwo nga tulowooza nti ne bwe twonoona ebirowoozo byaffe nga tulaba ebintu ebibi, tuba tukyalinayo ekiseera okwerongoosa? Bwe tuba nga tulina ekizibu ku nsonga ezo, nga kyandibadde kirungi nnyo okwegayirira Yakuwa mu bwangu ddala ‘awunjule amaaso gaffe galemenga okulaba ebintu ebitasaana era atukuumire mu kkubo lye’!—Zabbuli 119:37.
8 Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi abato n’abakulu, bagoberera emitindo gya Katonda egy’empisa era beewala empisa embi ez’ensi. Olw’okuba bamanyi obukulu bw’ebiseera bye tulimu era n’okulabula kwa Peetero nti “Olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi,” beeyongera okuba ‘n’empisa entukuvu.’ (2 Peetero 3:10) Ebikolwa byabwe biwa obukakafu nti ‘basuubira era nti beegomba nnyo olunaku lwa Yakuwa.’a
Lindirira ng’Oyoleka ‘Ebikolwa eby’Okutya Katonda’
9. Okutya Katonda kwanditukubirizza kukola ki?
9 ‘Ebikolwa ebyoleka okutya Katonda’ bikulu nnyo bwe tuba ab’okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe. ‘Okutya Katonda’ kuzingiramu okumuwa ekitiibwa, era ekyo kitukubiriza okukola ebimusanyusa. Okwesiga ennyo Yakuwa kye kitukubiriza okumwemalirako. Ayagala ‘abantu aba buli kika okulokolebwa, era n’okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Katonda ‘tayagala muntu yenna kuzikirizibwa, naye bonna beenenye.’ (2 Peetero 3:9) Kati olwo, okutya Katonda tekwanditukubiriza okweyongera okufuba okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumukoppa?—Abaefeso 5:1.
10. Lwaki tulina okwekuuma “obulimba bw’obugagga”?
10 Tujja kwoleka ebikolwa bingi mu bulamu bwaffe eby’okutya Katonda singa tusooka okunoonya Obwakabaka bwe. (Matayo 6:33) Kino kizingiramu okubeera n’endowooza etagudde lubege ku by’obugagga. Yesu yalabula: “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw’omuntu si by’ebintu ebingi by’aba nabyo.” (Lukka 12:15) Wadde nga kiyinza okubeera ekizibu okukiteebereza nti okwagala ssente kuyinza okutuziba amaaso, kiba kya magezi okukimanya nti “okweraliikirira kw’ensi, n’obulimba bw’obugagga” biyinza “okuzisa ekigambo” kya Katonda. (Matayo 13:22) Kiyinza obutaba kyangu okweyimirizaawo. N’olwekyo, mu bitundu ebimu eby’ensi, bangi balowooza nti okusobola okubeera obulungi mu bulamu, balina okugenda mu nsi engagga, oboolyawo, nga baleka ab’omu maka gaabwe okumala emyaka. Era n’abamu ku baweereza ba Katonda balina endowooza ng’eyo. Bagamba nti singa bagenda mu nsi endala, basobola okutuusa ku b’omu maka gaabwe ebintu ebiri ku mulembe. Naye, kiki ekiyinza okutuuka ku mbeera ey’eby’omwoyo ey’abaagalwa baabwe ababa basigadde eka? Olw’okuba mu maka muba temukyalimu asobola kugakulembera bulungi, banaasobola okubeera n’embeera ennungi ey’eby’omwoyo enaabasobozesa okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa?
11. Omuntu omu eyagenda okunoonya emirimu yalaga atya nti ebikolwa eby’okutya Katonda bikulu nnyo okusinga obugagga?
11 Omuntu omu enzaalwa ey’omu Philippines eyagenda mu Japan okunoonya emirimu, Abajulirwa ba Yakuwa baamuyigiriza Baibuli. Bwe yayiga okuva mu Byawandiikibwa obuvunaanyizibwa omutwe gw’amaka bw’alina, yakitegeera nti yali alina okuyamba ab’omu maka ge okutandika okusinza Yakuwa. (1 Abakkolinso 11:3) Kyokka, mukyala we eyali asigadde mu Philippines yamuziyiza nnyo olw’enzikiriza ye empya gye yali azudde ng’ayagala omwami we yeeyongere okuweerezanga ssente mu kifo ky’okuddayo eka okubayigiriza enzikiriza ye eyeesigamiziddwa ku Baibuli. Kyokka, olw’okuba yali amanyi obukulu bw’ebiseera era ng’afaayo nnyo ku b’omu maka ge abaagalwa, yaddayo. Yasasulwa olw’obugumiikiriza bwe yalina ng’akolagana n’ab’omu maka ge mu ngeri ey’okwagala. Nga wayiseewo ekiseera, ab’omu maka ge baamwegattako mu kusinza okw’amazima era mukyala we n’ayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
12. Lwaki tusaanidde okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe?
12 Embeera gye tulimu eyinza okufaananyirizibwa n’ey’abantu abali mu nnyumba ekutte omuliro. Kyandibadde kya magezi okudduka eno n’eri okuggya ebintu mu nnyumba ebumbujja omuliro era eri okumpi okusaanawo? Okwawukana ku ekyo, tekyandibadde kikulu okusingawo okuwonyawo obulamu—obwaffe, obw’ab’omu maka gaffe n’obw’abalala ababeera mu nnyumba eyo? Mu ngeri y’emu, enteekateeka y’ebintu eno embi eri kumpi okusaanawo, era obulamu buli mu katyabaga. Bwe tumanya ekyo, mazima ddala, tusaanidde okukulembeza ebintu eby’omwoyo era n’okunyiikirira omulimu oguwonya obulamu ogw’okubuulira Obwakabaka.—1 Timoseewo 4:16.
Tusaanidde Okuba nga ‘Tetuliiko Bbala’
13. Tusaanidde kubeera mu mbeera ki mu kiseera ky’olunaku lwa Yakuwa?
13 Ng’aggumiza obukulu bw’okubeera n’endowooza ey’okulindirira, Peetero agamba: ‘Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde akamogo mu maaso ge.’ (2 Peetero 3:14) Ng’ayongereza ku kubuulirira kwe okw’okubeera n’empisa entukuvu n’ebikolwa eby’okutya Katonda, Peetero aggumiza obukulu bw’okusangibwa nga tutukuziddwa omusaayi gwa Yesu ogw’omuwendo. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Kino kiba kyetaagisa omuntu okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu era n’okufuuka omuweereza wa Yakuwa eyeewaddeyo era n’abatizibwa.
14. Kiki ekizingirwa mu ‘butaba na bbala’?
14 Peetero atukubiriza okufuba ennyo okusangibwa nga ‘tetuliiko bbala.’ Ekyambalo kyaffe eky’empisa n’engeri ez’Ekikristaayo tukikuuma nga tekiriiko bbala lya nsi? Bwe tulaba ebbala ku ngoye zaffe, twanguwa mangu okuliggyako. Ekyambalo kye twagala ennyo bwe kiba nga kye kiriko ebbala, tufuba nnyo okuliggyako. Era tufuba mu ngeri y’emu singa ebyambalo byaffe eby’Ekikristaayo bijjako ebbala, olw’engeri oba empisa ezitali nnungi ze tuyinza okuba nazo?
15. (a) Lwaki Abaisiraeri baalina okukola amatanvuuwa ku nkugiro z’ebyambalo byabwe? (b) Lwaki abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino ba njawulo?
15 Abaisiraeri baalina “okwekolera amatanvuuwa ku nkugiro z’ebyambalo byabwe” era baalina ‘okuteeka omugwa ogwa kaniki ku matanvuuwa agaali ku buli lukugiro.’ Lwaki? Basobole okujjukira ebiragiro bya Yakuwa, okubigondera, era balyoke ‘babeere batukuvu’ eri Katonda. (Okubala 15:38-40) Ng’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, tuli ba njawulo ku nsi kubanga tukwata amateeka n’emisingi gya Katonda. Ng’ekyokulabirako, twoleka empisa ennungi, tussa ekitiibwa ku butukuvu bw’omusaayi, era twewala okusinza ebifaananyi okwa buli ngeri. (Ebikolwa 15:28, 29) Bangi batussaamu ekitiibwa olw’obumalirivu bwaffe obw’obutabaako bbala.—Yakobo 1:27.
Tulina ‘Obutabaako Kamogo’
16. Kiki ekizingirwa mu kwekuuma ‘obutaba na kamogo’?
16 Peetero era agamba nti tulina okusangibwa nga ‘tetuliiko kamogo.’ Ekyo kisoboka kitya? Ebbala bwe liba ku kintu kisoboka okulisiimula oba okulyozaako, naye, si bwe kiri ku kamogo. Akamogo kalaga nti waliwo ekikyamu munda w’ekintu ekyo. Omutume Pawulo yabuulirira bakkiriza banne mu Firipi: “Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n’empaka; mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala [“kamogo,” NW] wakati w’emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng’ettabaaza z’omu nsi.” (Abafiripi 2:14, 15) Singa tugoberera okubuulirira okwo, tujja kwewala okwemulugunya n’empaka era tujja kuweereza Katonda nga tulina ekiruubirirwa ekirungi. Okwagala Yakuwa ne muliraanwa kujja kutukubiriza okubuulira “amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka.” (Matayo 22:35-40; 24:14) Era, tujja kweyongera okulangirira amawulire amalungi wadde nga okutwalira awamu abantu bayinza obutategeera nsonga lwaki tuwaayo ebiseera byaffe nga tufuba okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Katonda n’Ekigambo kye, Baibuli.
17. Tusaanidde kubeera na kiruubirirwa ki nga twagala okufuna enkizo mu kibiina Ekikristaayo?
17 Olw’okuba twagala okusangibwa nga ‘tetulina kamogo,’ kiba kya magezi okwekenneenya ebiruubirirwa byaffe mu byonna bye tukola. Tuleseeyo engeri z’ensi ez’okwefaako, gamba ng’okufunvubira okufuna eby’obugagga oba obuyinza. Bwe tuba nga twagala okufuna enkizo ez’obuweereza mu kibiina Ekikristaayo, ebiruubirirwa byaffe ka bulijjo bibeere birungi era tukubirizibwenga okwagala Yakuwa n’abantu abalala. Kizzaamu amaanyi okulaba abasajja abafaayo ku by’omwoyo nga ‘baluubirira okubeera abalabirizi.’ Ekyo nga bakikola n’essanyu, mu bwetoowaze nga baagala okuweereza Yakuwa ne bakkiriza bannaabwe. (1 Timoseewo 3:1; 2 Abakkolinso 1:24) Mazima ddala, abo abalina ebisaanyizo by’okuweereza ng’abakadde ‘balunda ekisibo kya Katonda lwa kwagala, si lwa kwegomba amagoba mu bukuusa. So si abeefuula abaami b’ebyo bye baateresebwa, naye nga babeera byakulabirako eri ekisibo.’—1 Peetero 5:1-4.
Twetaaga ‘Okuba mu Mirembe’
18. Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa lwa kwoleka ngeri ki?
18 Ekisembayo, Peetero atugamba okusangibwa nga tuli “mu mirembe.” Okusobola okutuukiriza ekyo, tulina okuba mu mirembe ne Yakuwa era ne baliraanwa baffe. Peetero aggumiza obukulu ‘bw’okwagalananga’ era n’okubeera mu mirembe ne Bakristaayo bannaffe. (1 Peetero 2:17; 3:10, 11; 4:8; 2 Peetero 1:5-7) Okusobola okuba n’emirembe, tuteekwa okwagalana. (Yokaana 13:34, 35; Abaefeso 4:1, 2) Okwagala kwaffe n’emirembe byeyoleka nnyo naddala bwe tuba n’enkuŋŋaana z’ensi yonna. Mu lukuŋŋaana olunene olwali mu Costa Rica mu 1999, omusuubuzi ku kisaawe ky’ennyonyi yanyiiga olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kitundu ekyo abaali baaniriza abagenyi baasiikiriza ebintu bye yali atunda. Kyokka, ku lunaku olw’okubiri, yalaba okwagala n’emirembe ebyeyolekera mu ngeri ey’ebbugumu abagenyi gye baali baanirizibwamu, wadde nga Abajulirwa ab’omu kitundu ekyo baali tebabamanyi. Ku lunaku olwasembayo, omusuubuzi oyo naye yeenyigira mu kwaniriza abagenyi era n’asaba okuyigirizibwa Baibuli.
19. Lwaki kikulu nnyo okutabagana ne bakkiriza bannaffe?
19 Bwe tubeera abeesimbu mu kutabagana ne baganda baffe ne bannyinaffe mu by’omwoyo, ekyo kiyinza okubeera n’akakwate n’engeri gye tufuba okulindiriramu olunaku lwa Yakuwa n’ensi empya gye yasuubiza. (Zabbuli 37:11; 2 Peetero 3:13) Kitya singa tukisanga nga kizibu okutabagana ne mukkiriza munnaffe? Tuyinza okukuba ekifaananyi nga tutabaganye naye mu Lusuku lwa Katonda? Singa tuba n’obutategeeragana ne muganda waffe, tusaanidde ‘okutabagana naye amangu ddala.’ (Matayo 5:23, 24) Kiba kikulu okukola ekyo naddala bwe tuba ab’okubeera mu mirembe ne Yakuwa.—Zabbuli 35:27; 1 Yokaana 4:20.
20. ‘Endowooza ey’okulindirira’ erina kwolekebwa mu ngeri ki?
20 Kinnoomu ‘tulindirira era tusuubira nga twegomba nnyo olunaku lwa Yakuwa’? Okwesunga kwe tulina okulaba enkomerero y’obubi, kweyoleka bwe tusigala nga tuli batukuvu mu nsi eno embi. Okwongereza ku ekyo, engeri gye twesungamu okujja kwa Yakuwa n’obulamu wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka yeeyolekera mu bikolwa byaffe eby’okutya Katonda. Ate essuubi lye tulina ery’okubeera mu nsi empya ey’emirembe lirabikira mu kutabagana ne basinza bannaffe kaakano. Mu ngeri ng’ezo, tuba tulaga nti tulina ‘endowooza ey’okulindirira’ era nti ‘tukuumira mu birowoozo byaffe olunaku lwa Yakuwa.’
[Obugambo obuli wansi]
a Ng’ekyokulabirako, laba Watchtower aka Jjanwali 1, 2000, olupapula 16 n’akatabo 1997 Yearbook of Jehovah’s Witnesses olupapula 51.
Ojjukira?
• Kitegeeza ki ‘okusuubira n’okwegomba olunaku lwa Yakuwa’?
• Endowooza ‘ey’okulindirira yeeyolekera etya mu mpisa zaffe?
• Lwaki ‘ebikolwa eby’okutya Katonda’ bikulu?
• Kiki kye tuteekwa okukola okusangibwa nga ‘tetuliiko bbala wadde akamogo era nga tuli mu mirembe’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
‘Endowooza ey’okulindirira’ yeeyolekera mu mpisa entukuvu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]
Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka guwonya obulamu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Nga tulindirira olunaku lwa Yakuwa, ka tufube okutabagana n’abalala