LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 7/15 lup. 7-11
  • “Mube Bantu Abalina Empisa Entukuvu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mube Bantu Abalina Empisa Entukuvu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kulaakulanya Engeri Ennungi
  • Musigale nga “Temuliiko Bbala Wadde Akamogo”
  • Leka Okugezesebwa kw’Ofuna Kukunyweze
  • Ba Munyiikivu mu Buweereza Bwo eri Yakuwa
  • Olina ‘Endowooza ey’Okulindirira’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ku Kugumiikiriza Kwo Gattako Okwemalira ku Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Nywerera ku Kibiina kya Yakuwa
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 7/15 lup. 7-11

“Mube Bantu Abalina Empisa Entukuvu”

“Okuva ebintu ebyo byonna bwe bigenda okusaanuusibwa, mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda!”​—2 PEET. 3:11.

1. Lwaki ebbaluwa ya Peetero ey’okubiri yali ya muganyulo nnyo eri Abakristaayo mu kiseera kye?

OMUTUME Peetero we yawandiikira ebbaluwa ye ey’okubiri, ekibiina Ekikristaayo kyali kimaze ebbanga nga kiyigganyizibwa, naye ekyo kyali tekikireetedde kuddirira oba kulekera awo kukulaakulana. Bwe kityo Omulyolyomi yasalawo okukozesa akatego akalala ke yali yakozesaako emirundi mingi emabega. Nga Peetero bwe yakiraga, Sitaani yagezaako okwonoona abantu ba Katonda ng’akozesa abayigiriza ab’obulimba abaalina ‘amaaso agajjudde obwenzi n’emitima egyamanyiira okwegomba okubi.’ (2 Peet. 2:1-3, 14; Yud. 4) N’olwekyo, ebbaluwa ya Peetero ey’okubiri yali ekubiriza Abakristaayo okusigala nga beesigwa eri Katonda.

2. Kiki ekyogerwako mu 2 Peetero essuula ey’okusatu, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

2 Peetero yawandiika nti: “Nga nkyali mu mubiri guno, nkiraba nti kirungi okubajjukizanga, kubanga nkimanyi nti nnaatera okuva mu mubiri guno . . . Ate era nja kufuba nga bwe nsobola okubajjukizanga bulijjo, bwe ndivaawo, musobole okwejjukizanga ebintu bino.” (2 Peet. 1:13-15) Yee, Peetero yali akimanyi nti yali anaatera okufa, era ng’ayagala ab’oluganda basigale nga bajjukira ebigambo bye. Mu butuufu, ebigambo bye ebyo bisangibwa mu Baibuli era ffenna tusobola okubisoma leero. Essuula ey’okusatu ey’ebbaluwa ya Peetero ey’okubiri ya muganyulo nnyo gye tuli kubanga eyogera ku “nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka eno ey’ebintu era ne ku kuzikirizibwa kw’eggulu n’ensi eby’akabonero. (2 Peet. 3:3, 7, 10) Magezi ki Peetero g’atuwa? Okukolera ku magezi ago kinaatuyamba kitya okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

3, 4. (a) Peetero yakubiriza atya Abakristaayo, era kulabula ki kwe yawa? (b) Bintu ki ebisatu bye tugenda okwetegereza?

3 Bwe yamala okwogera ku kuzikirizibwa kw’ensi ya Sitaani, Peetero yakubiriza nti: “Mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda!” (2 Peet. 3:11, 12) Mu bigambo ebyo, Peetero yakiraga bulungi nti abo bokka abakola Yakuwa by’ayagala era abooleka engeri ennungi be bajja okuwonawo ku ‘lunaku olw’okuwalanirako eggwanga’ olujja. (Is. 61:2) Peetero yagattako nti: “N’olwekyo abaagalwa, okuva bwe mutegedde ebintu ebyo nga bukyali, mwekuume muleme kutwalirizibwa kwonoona kw’abantu abo abajeemu ne muva we munyweredde.”​—2 Peet. 3:17.

4 Okuva bwe kiri nti Peetero y’omu ku abo ‘abaategeera ebintu ebyo nga bukyali,’ yali akimanyi nti mu nnaku ez’oluvannyuma, Abakristaayo bandibadde balina okuba obulindaala okusobola okukuuma obugolokofu bwabwe. Oluvannyuma, omutume Yokaana yalaga ensonga lwaki kyandibeetaagisizza okuba obulindaala. Mu kwolesebwa, yalaba Sitaani ng’asuulibwa okuva mu ggulu era ng’alina “obusungu bungi” eri abo “abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.” (Kub. 12:9, 12, 17) Abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ bajja kusobola okuwangula. (Yok. 10:16) Ate kiri kitya eri buli omu ku ffe? Tunaasobola okukuuma obugolokofu bwaffe? Tujja kusobola okubukuuma singa tufuba (1) okukulaakulanya engeri ennungi, (2) okusigala nga tetuliiko bbala wadde akamogo mu mpisa ne mu by’omwoyo, ne (3) okubeera n’endowooza ennuŋŋamu nga tugezesebwa. Kati ka twetegereze ebintu bino.

Kulaakulanya Engeri Ennungi

5, 6. Ngeri ki ze tusaanidde okufuba okukulaakulanya, era lwaki ekyo kyetaagisa ‘okufuba ennyo’?

5 Mu ssuula esooka ey’ebbaluwa ye ey’okubiri, Peetero yawandiika nti: “Mufubenga nnyo okwongera ku kukkiriza kwammwe obulungi, ku bulungi bwammwe, okumanya, ku kumanya kwammwe, okwefuga, ku kwefuga kwammwe, okugumiikiriza, ku kugumiikiriza kwammwe, okwemalira ku Katonda, ku kwemalira ku Katonda, okwagalana ng’ab’oluganda, ku kwagalana ng’ab’oluganda, okwagala. Kubanga ebintu bino bwe muba nabyo mu bungi ddala, bijja kubakugira okuba abagayaavu oba abantu abatabala bibala, nga mussa mu nkola bye mutegeeredde ddala obulungi ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.”​—2 Peet. 1:5-8.

6 Kituufu nti kitwetaagisa ‘okufuba ennyo’ okusobola okukola ebintu ebituyamba okukulaakulanya engeri ennungi. Ng’ekyokulabirako, kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okubangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo zonna, okusoma Baibuli buli lunaku, n’okunywerera ku nteekateeka yaffe ey’okwesomesa. Era kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo n’okuteekateeka obulungi okusobola okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka obutayosa. Naye bwe tunyiikirira ebintu ebyo, ekiseera kituuka ne bitandika okutwanguyira okukola​—naddala bwe tulaba emiganyulo egivaamu.

7, 8. (a) Ab’oluganda abamu boogedde ki ku kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka? (b) Oganyuddwa otya mu kusinza kw’amaka?

7 Ng’ayogera ku nteekateeka y’okusinza kw’amaka, mwannyinaffe omu agamba nti: “Enteekateeka eno etusobozesa okuyiga ku bintu bingi.” Ate omulala agamba nti: “Ekituufu kiri nti nnali saagala olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo luveewo. Lwe lukuŋŋaana lwe nnali nsinga okwagala. Naye okuva bwe twatandika okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka, nkirabye nti Yakuwa amanyi bye twetaaga era n’ekiseera ekituufu we tubyetaagira.” Omutwe gw’amaka omu agamba nti: “Okusinza kw’amaka kutuyambye nnyo. Okuba n’ekiseera eky’enjawulo okuyiga ku bintu ebitukwatako kibadde kya muganyulo nnyo eri nze ne mukyala wange! Ffembi tukirabye nti tweyongedde okwoleka ekibala ky’omwoyo omutukuvu, era n’essanyu lye tufuna mu buweereza bwaffe lyeyongedde.” Omutwe gw’amaka omulala agamba nti: “Abaana bange bafuba okunoonyereza era bayiga ebintu bingi​—era ekyo kibasanyusa nnyo. Enteekateeka eno etuyambye okweyongera okukiraba nti Yakuwa amanyi bye twetaaga era addamu okusaba kwaffe.” Naawe bw’otyo bw’otwala enteekateeka eno ey’eby’omwoyo?

8 Temukkiriza kintu kyonna kubalemesa kunywerera ku nteekateeka yammwe ey’okusinza ng’amaka. Omwami omu ne mukyala we baagamba nti, “Buli lwa kuna mu wiiki ennya eziyise, wabaddengawo ebintu ebiggwaawo mu maka gaffe ebyanditulemesezza okusoma ng’amaka, naye tubadde tetubikkiriza kutulemesa.” Kyo kituufu nti oluusi muyinza okwesanga nga mwetaaga okukola enkyukakyuka mu nteekateeka yammwe. Naye mube bamalirivu obutasazaamu nteekateeka yammwe ey’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka​—wadde wiiki emu!

9. Yakuwa yayamba atya Yeremiya, era ekyokulabirako kya Yeremiya kituyigiriza ki?

9 Nnabbi Yeremiya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yali yeetaaga obuyambi obw’eby’omwoyo Yakuwa bwe yamuwa era yabusiima nnyo. Ekyo kyamuyamba okuba omugumiikiriza ng’abuulira abantu abaali abakakanyavu. Yagamba nti: ‘Ekigambo kya Mukama kyali ng’omuliro ogubuubuuka ogusibiddwa mu magumba gange.’ (Yer. 20:8, 9) Era obuyambi obwo bwamusobozesa okugumira embeera enzibu ezaaliwo nga Yerusaalemi tekinnaba kuzikirizibwa. Leero, tulina Ekigambo kya Katonda mu bulamba. Bwe tukisoma n’obwegendereza era ne tufuba okufuna endowooza ya Katonda, okufaananako Yeremiya, naffe tujja kusobola okugumiikiriza nga tukola omulimu gw’okubuulira, tujja kusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa, era tujja kusigala nga tuli bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo.​—Yak. 5:10.

Musigale nga “Temuliiko Bbala Wadde Akamogo”

10, 11. Lwaki tulina okufuba ennyo okusobola okusigala nga ‘tetuliiko bbala wadde akamogo,’ era ekyo kizingiramu ki?

10 Ng’Abakristaayo, tukimanyi nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. N’olw’ensonga eyo, tekitwewuunyisa kulaba ng’ensi ejjudde ebintu Yakuwa by’akyawa, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, omululu, era n’ebikolwa eby’obukambwe. Ekigendererwa kya Sitaani kwe kulaba nti atiisatiisa abaweereza ba Katonda, ekyo bwe kimulema ng’olwo agezaako okwonoona ebirowoozo byabwe. (Kub. 2:13, 14) N’olwekyo, ka tufube okukolera ku bigambo bya Peetero bino: “Mufube nnyo okusangibwa [Katonda] nga temuliiko bbala wadde akamogo era nga muli mu mirembe.”​—2 Peet. 3:14.

11 Ebigambo “mufube nnyo” biraga bulungi nti Yakuwa​—oyo eyaluŋŋamya Peetero okuwandiika ebigambo ebyo​—akimanyi nti twetaaga okufuba ennyo okusobola okusigala nga “te[t]uliiko bbala wadde akamogo” mu nsi ya Sitaani eno embi. Okufuba kuno kuzingiramu okukuuma emitima gyaffe gireme okutwalirizibwa okwegomba okubi. (Soma Engero 4:23; Yakobo 1:14, 15.) Ate era kuzingiramu okunywerera ku kituufu nga waliwo abasobeddwa era ne batandika ‘okutuvuma’ olw’engeri gye tweyisaamu ng’Abakristaayo.​—1 Peet. 4:4.

12. Kisuubizo ki ekiri mu Lukka 11:13?

12 Olw’okuba tetutuukiridde, si kyangu kunywerera ku kituufu. (Bar. 7:21-25) Naye ekyo kisoboka singa twesigama ku Yakuwa, oyo awa omwoyo gwe omutukuvu abo abamusaba mu bwesimbu. (Luk. 11:13) Omwoyo ogwo gutusobozesa okukulaakulanya engeri ennungi ezituyamba okugumira ebikemo n’okugezesebwa, ebiyinza okweyongera ng’olunaku lwa Yakuwa lweyongera okusembera.

Leka Okugezesebwa kw’Ofuna Kukunyweze

13. Bwe twolekagana n’okugezesebwa, kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza?

13 Nga tukyali mu nteekateeka eno ey’ebintu, tujja kweyongera okwolekagana n’okugezesebwa okutali kumu. Naye mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, lwaki okugezesebwa kw’oyolekagana nakwo tokutwala ng’akakisa k’ofunye okwoleka okwagala n’okukkiriza kw’olina mu Katonda ne mu Kigambo kye? Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Musanyukenga baganda bange bwe mwolekagana n’okugezesebwa okutali kumu, nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe okugezeseddwa kuvaamu obugumiikiriza.” (Yak. 1:2-4) Era kijjukire nti “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.”​—2 Peet. 2:9.

14. Ekyokulabirako kya Yusufu kikuzzaamu kitya amaanyi?

14 Lowooza ku kyokulabirako kya Yusufu mutabani wa Yakobo, baganda be gwe baatunda mu buddu. (Lub. 37:23-28; 42:21) Okukkiriza kwa Yusufu kwaddirira olw’okuba yayisibwa bubi nnyo? Yanyiigira Katonda olw’okuleka obubi obwo okumutuukako? Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi nti ekyo si bwe kyali! Kyokka, okugezesebwa Yusufu kwe yayitamu tekwakoma awo. Olulala, yassibibwako omusango gw’okugezaako okukwata omukazi era n’aggalirwa mu kkomera. Ne mu mbeera eyo, Yusufu yasigala yeemalidde ku Katonda. (Lub. 39:9-21) Yaleka okugezesebwa kwe yafuna okumunyweza, era ekyo kyamuviiramu emikisa mingi.

15. Ekyokulabirako kya Nawomi kituyigiriza ki?

15 Kyo kituufu nti okugezesebwa kuyinza okutuleetera okuwulira ennaku ey’amaanyi. Oboolyawo ne Yusufu ebiseera ebimu bw’atyo bwe yawuliranga. N’abaweereza ba Katonda abalala nabo oluusi baawuliranga ennaku ey’amaanyi. Lowooza ku Nawomi, eyafiirwa bba awamu ne batabani be ababiri. Yagamba nti: “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala: kubanga Omuyinza w’ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo.” (Luus. 1:20, 21) Kya bulijjo abantu okuwulira nga Nawomi bwe yawulira. Kyokka okufaananako Yusufu, Nawomi teyaddirira mu by’omwoyo wadde okusuula obugolokofu bwe. N’ekyavaamu, Yakuwa yamuwa emikisa mingi. (Luus. 4:13-17, 22) Mu Lusuku lwe olugenda okujja, Katonda ajja kuggyawo emitawaana gyonna egireeteddwawo Sitaani awamu n’ensi ye embi. “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.”​—Is. 65:17.

16. Okusaba tusaanidde kukutwala tutya, era lwaki?

16 Ka kube kugezesebwa kwa ngeri ki kwe twolekagana nakwo, okukimanya nti Katonda atwagala kijja kutuyamba okugumiikiriza. (Soma Abaruumi 8:35-39.) Wadde nga Sitaani ajja kweyongera okugezaako okutumalamu amaanyi, ajja kulemererwa singa tufuba okusigala nga ‘tulina endowooza ennuŋŋamu era nga tuli bulindaala ku bikwata ku kusaba.’ (1 Peet. 4:7) Yesu yagamba nti: “Mutunulenga, nga musabanga ekiseera kyonna musobole okuyita mu bintu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.” (Luk. 21:36) Yesu okugamba nti tulina okusaba ekiseera kyonna, kiraga nti kino kye kiseera okukakasa nti tuyimiridde bulungi mu maaso ge era ne mu maaso ga Kitaawe. Abo bokka abalina ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa be bajja okuwonawo ku lunaku lwe.

Ba Munyiikivu mu Buweereza Bwo eri Yakuwa

17. Bwe kiba nti si kyangu kubuulira mu kitundu kyo, ekyokulabirako kya bannabbi abaaliwo mu biseera by’edda kiyinza kitya okukuganyula?

17 Okwenyigira mu bintu eby’omwoyo kituzzaamu nnyo amaanyi. Kino kitujjukiza ebigambo bya Peetero bino: “Mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda!” (2 Peet. 3:11) Ekisinga obukulu mu bikolwa ebyo, kwe kulangirira amawulire amalungi. (Mat. 24:14) Kituufu nti mu bitundu ebimu si kyangu kukola mulimu gwa kubuulira, oboolyawo olw’okuba abantu tebeefiirayo, batuyigganya, oba beemalidde ku bintu ebya bulijjo. Abaweereza ba Yakuwa mu biseera by’edda nabo baayolekagananga n’embeera ng’ezo. Wadde kyali kityo, tebaalekulira naye “buli lunaku” baatwalanga obubaka Katonda bwe yabawanga. (2 Byom. 36:15, 16; soma Yeremiya 7:24-26.) Kiki ekyabasobozesa okugumiikiriza? Omulimu gwe baali bakola baagutunuulira nga Yakuwa bw’agutunuulira so si ng’ensi bw’egutunuulira. Ate era baakitwala nga nkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lya Katonda.​—Yer. 15:16.

18. Kakwate ki akali wakati w’omulimu gw’okubuulira n’okugulumizibwa kw’erinnya lya Katonda mu biseera eby’omu maaso?

18 Naffe leero tulina enkizo ey’okubuulira abantu ku linnya lya Yakuwa ne ku bigendererwa bye. Lowooza ku kino: Olw’omulimu gwe tukola ogw’okubuulira, abalabe ba Katonda tebajja kuba na kya kwekwasa ku lunaku lwe olukulu. Okufaananako Falaawo, nabo bajja kukimanya nti Yakuwa y’abalwanyisa. (Kuv. 8:1, 20; 14:25) Ate era mu kiseera ekyo, Yakuwa ajja kukyoleka bulungi nti abaweereza be abeesigwa babadde bamukiikirira.​—Soma Ezeekyeri 2:5; 33:33.

19. Tuyinza tutya okukiraga nti tukozesa bulungi akaseera kano nga Yakuwa akyagumiikirizza?

19 Ng’anaatera okumaliriza ebbaluwa ye ey’okubiri, Peetero yagamba bakkiriza banne nti: “Obugumiikiriza bwa Mukama waffe mubutwale ng’obulokozi.” (2 Peet. 3:15) Yee, ka tufube okukozesa obulungi akaseera kano nga Yakuwa akyagumiikirizza. Tutya? Nga tufuba okukulaakulanya engeri ennungi, nga tusigala nga “te[t]uliiko bbala wadde akamogo,” nga tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kugezesebwa, era nga tuba na bingi eby’okukola mu mulimu gw’Obwakabaka. Bwe tukola tutyo, tujja kufuna emikisa egy’olubeerera ‘ng’eggulu eriggya n’ensi empya’ bizze.​—2 Peet. 3:13.

Ojjukira?

• Tuyinza tutya okukulaakulanya engeri ennungi?

• Tuyinza tutya okusigala nga ‘tetuliiko bbala wadde akamogo’?

• Kiki kye tuyigira ku Yusufu ne Nawomi?

• Lwaki okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nkizo y’amaanyi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Kiki ekinaabayamba mmwe abaami awamu n’ab’omu maka gammwe okukulaakulanya engeri ennungi?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Engeri Yusufu gye yeeyisaamu ng’agezesebwa etuyigiriza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share