LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 5/1 lup. 7-12
  • Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekisa Kye Ki?
  • Okubeera ow’Ekisa Tekyoleka Bunafu
  • Ekisa n’Engeri Endala Ezooleka Okutya Katonda
  • Lwaki Ensi Erimu Obukambwe?
  • Ekisa Kijja Kubuna Wonna mu Bwakabaka bwa Katonda
  • Lwaki Tusaanidde Okulaga Ekisa?
  • Okulaga Ekisa mu Nsi Ejjudde Obukambwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Ekisa—Ngeri Gye Twoleka mu Bigambo ne mu Bikolwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Kolera ku ‘Tteeka ery’Ekisa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Okuba ow’Ekisa Katonda Akitwala nga Kikulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 5/1 lup. 7-12

Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa

‘Mukama akusaba ki wabula okukola eby’ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula mu buwombeefu ne Katonda wo?’​—MIKKA 6:8.

1, 2. (a) Lwaki tekisaanidde kutwewuunyisa nti Yakuwa atusuubira okulaga ekisa? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwekenneenya ebikwata ku kisa?

YAKUWA Katonda wa kisa. (Abaruumi 2:4; 11:22) Nga Adamu ne Kaawa, abafumbo ababiri abaasooka bateekwa okuba nga baasiima nnyo ekisa kya Katonda! Nga bali mu lusuku Adeni, baali beetooloddwa ebitonde ebirungi ennyo era nga biwa obukakafu nti Katonda wa kisa eri abantu be yatonda okubinyumirwa. Na guno gujwa, Katonda akyeyongera okulaga abantu bonna ekisa nga mw’otwalidde abatasiima n’ababi.

2 Olw’okuba baakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, abantu basobola okukoppa engeri za Yakuwa. (Olubereberye 1:26) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Katonda atusuubira okulaga ekisa. Nga Mikka 6:8 bwe lugamba, abantu ba Katonda bateekwa “okwagala ekisa.” Naye ekisa kye ki? Kikwatagana kitya n’engeri za Katonda endala? Okuva abantu bwe basobola okwoleka ekisa, lwaki ensi erimu obukambwe bungi era nga nzibu nnyo okubeeramu? Ffe ng’Abakristaayo, lwaki tusaanidde okufuba okulaga ekisa nga tukolagana n’abalala?

Ekisa Kye Ki?

3. Oyinza otya okunnyonnyola ekisa?

3 Ekisa kiragibwa ng’omuntu afaayo ku balala. Kiragibwa mu bigambo ne mu bikolwa ebyoleka okufaayo. Okubeera ow’ekisa kitegeeza okukola ebirungi mu kifo ky’okukola ekintu kyonna ekirumya. Omuntu ow’ekisa aba wa mukwano, mukkakkamu, musaasizi era ng’alumirirwa abalala. Aba afaayo nnyo ku balala. Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Mwambalenga ng’abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza.” (Abakkolosaayi 3:12) N’olwekyo, ekisa kye kimu ku byambalo eby’akabonero eby’Omukristaayo ow’amazima.

4. Mu ngeri ki Yakuwa gye yasooka okulaga abantu ekisa?

4 Yakuwa Katonda ye yasookera ddala okulaga ekisa. Nga Pawulo bwe yagamba, ‘ekisa, kya Katonda Omulokozi waffe, n’okwagala kwe, kw’ayagalamu abantu bwe byalabika, n’atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola ffe wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng’atunaaza ne tuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, ne tufuuka abaggya olw’omwoyo omutukuvu.’ (Tito 3:4, 5) Katonda ‘anaaza’ oba ayonja Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu musaayi gwa Yesu, ne basobola okuganyulwa mu ssaddaaka ya Kristo. Ate era bazzibwa buggya okuyitira mu mwoyo omutukuvu nga bafuuka “ekitonde ekiggya” ng’abaana ba Katonda. (2 Abakkolinso 5:17) Ate era, ekisa kya Katonda n’okwagala kwe biragibwa ‘n’ab’ekibiiina ekinene,’ ‘abayozezza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.’​—Okubikkulirwa 7:9, 14; 1 Yokaana 2:1, 2.

5. Lwaki abo abakulemberwa omwoyo gwa Katonda basaanidde okulaga ekisa?

5 Ate era ekisa kye kimu ku bibala eby’omwoyo omutukuvu oba amaanyi ga Katonda agakola. Pawulo yagamba: “Ebibala eby’omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng’ebyo tewali mateeka.” (Abaggalatiya 5:22, 23) Bwe kiba bwe kityo, abo abakulemberwa omwoyo gwa Katonda tebasaanidde kulaga balala kisa?

Okubeera ow’Ekisa Tekyoleka Bunafu

6. Ddi ekisa lwe kyoleka obunafu, era lwaki?

6 Abantu abamu balowooza nti okubeera ow’ekisa buba bunafu. Bagamba nti omuntu alina okuba omuzibu ennyo era ng’emirundi egimu tasalikako musale abalala basobole okumutwala nti wa maanyi. Kyokka, kyetaagisa obuvumu okuba n’ekisa ekya nnamaddala era n’okwewala okulaga ekisa mu ngeri enkyamu. Okuva ekisa ekya nnamaddala bwe kiri ekimu ku bibala eby’omwoyo omutukuvu, tekisobola kuba ngeri eyoleka obunafu era ereetera omuntu okwekkiriranya mu bikolwa ebikyamu. Ku luuyi olulala, ekisa ekiragibwa mu ngeri enkyamu kyoleka obunafu era kireetera omuntu okubuusa amaaso ebikolwa ebikyamu.

7. (a) Mu ngeri ki Eri gye yalemererwa okukangavvula batabani be? (b) Lwaki abakadde bateekwa okwewala okulaga ekisa mu ngeri enkyamu?

7 Lowooza ku kyokulabirako kya Eri kabona omukulu owa Isiraeri. Yalemererwa okukangavvula Kofuni ne Finekaasi batabani be abaali baweereza nga bakabona mu weema. Olw’okuba tebaali bamativu n’omugabo gwe baafunanga ku biweebwayo nga bwe kyali kiragiddwa mu Mateeka ga Katonda, baatumanga omuddu wa kabona okusaba omuntu eyabanga awaayo ssaddaaka abawe ennyama embisi, ng’amasavu g’ekiweebwayo tegannaba kwokebwa ku kyoto. Ate era batabani ba Eri beebakanga n’abakazi abaaweerezanga mu mulyango gw’eweema. Kyokka, mu kifo ky’okuggya Kofuni ne Finekaasi ku bwa kabona, Eri yabanenya bunenya. (1 Samwiri 2:12-29) Tekyewuunyisa nti ‘ekigambo kya Mukama kyali kya kkekwa mu nnaku ezo’! (1 Samwiri 3:1) Abakadde bateekwa okwegendereza obutalaga kisa mu ngeri enkyamu abakozi b’obubi abayinza okwonoona embeera y’ekibiina ey’eby’omwoyo. Okulaga ekisa tekitegeeza kubuusa maaso bigambo ebibi n’ebikolwa ebitatuukana na mitindo gya Katonda.

8. Yesu yalaga atya ekisa ekya nnamaddala?

8 Yesu Kristo gwe tukoppa, teyalaga kisa mu ngeri nkyamu. Wabula, yali kyakulabirako kirungi nnyo mu kulaga ekisa ekya nnamaddala. Ng’ekyokulabirako, ‘abantu baamukwasa ekisa kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.’ Abantu ab’emitima emirungi tebaatyanga kumutuukirira era n’okumuleetera abaana baabwe. Lowooza ku kisa n’obusaasizi bye yalaga ‘ng’awambaatira abaana era n’abawa omukisa ng’abassaako emikono.’ (Matayo 9:36; Makko 10:13-16) Kyokka, wadde nga Yesu yali wa kisa, yanywereranga ku kukola ekintu ekituufu mu maaso ga Kitaawe ali mu ggulu. Yesu teyabuusa maaso bintu bibi; yali muvumu ng’ayanika obunnanfuusi bw’abakulembeze b’eddiini. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 13-26, enfunda n’enfunda yagamba: “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi!”

Ekisa n’Engeri Endala Ezooleka Okutya Katonda

9. Ekisa kikwataganyizibwa kitya n’obugumiikiriza era n’obulungi?

9 Ekisa kikwataganyizibwa n’ebibala ebirala eby’omwoyo gwa Katonda gamba nga “okugumiikiriza” ‘n’obulungi.’ Mu butuufu, omuntu ayoleka ekisa ng’aba mugumiikiriza. Agumiikiriza n’abo abatali ba kisa. Ekisa kikwataganyizibwa n’obulungi era kyeyolekera mu bikolwa ebirungi ebiganyula abalala. Mu Baibuli ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “ekisa,” oluusi kiyinza okuvvuunulwa nga “obulungi.” Ekisa Abakristaayo abaasooka kye baayoleka, kyawuniikiriza nnyo abakaafiiri ne kiba nti Tertullian yatuuka n’okugamba nti, abakaafiiri baayitanga abagoberezi ba Kristo ‘abantu abajjudde ekisa.’

10. Ekisa kikwatagana kitya n’okwagala?

10 Waliwo akakwate wakati w’ekisa n’okwagala. Ng’ayogera ku bagoberezi be, Yesu yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Ate era ku bikwata ku kwagala kuno, Pawulo yagamba: “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa.” (1 Abakkolinso 13:4) Era, ekisa kikwataganyizibwa n’okwagala mu bigambo ‘ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala,’ ebitera okukozesebwa mu Byawandiikibwa. Kino ky’ekisa ekisibuka mu kwagala okwa nnamaddala. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala,’ kirina amakulu agasingawo ku kubeera ow’omukwano. Ky’ekisa ekiragibwa okutuusiza ddala ng’ekigendererwa kyakyo kituukiriziddwa. Ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala kyeyolekera mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, kirabikira mu bikolwa bye eby’okununula n’okukuuma abantu be.​—Zabbuli 6:4; 40:11; 143:12.

11. Bukakafu ki bwe tulina ku bikwata ku kisa kya Katonda ekyesigamiziddwa ku kwagala?

11 Ekisa kya Katonda kisikiriza abantu okufuna enkolagana ennungi naye. (Yeremiya 31:3) Abaweereza ba Katonda abeesigwa bwe baba nga beetaaga okununulibwa oba okuyambibwa, baba bakakafu nti ddala ajja kubalaga ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala. N’olwekyo, nga balina okukkiriza, nabo basaba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: ‘Nneesiga ekisa kyo; omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo.’ (Zabbuli 13:5) Okuva okwagala kwa Katonda bwe kuli okwa nnamaddala, abaweereza be basobola okumwesiga mu bujjuvu. Balina obukakafu buno: “[Yakuwa] talisuula bantu be, so talisuula busika bwe.”​—Zabbuli 94:14.

Lwaki Ensi Erimu Obukambwe?

12. Obufuzi obubi bwatandika ddi, era mu ngeri ki?

12 Eky’okuddamu mu kibuuzo kino kirina akakwate n’ebyo ebyaliwo mu lusuku Adeni. Mu ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, ekitonde eky’omwoyo ekyali kyenoonyeza ebyakyo era eky’amalala, kyakola olukwe olw’okufuga ensi yonna. Ekyavaamu, ekitonde ekyo kyafuuka ‘omufuzi w’ensi eno’ omukambwe ennyo. (Yokaana 12:31) Omufuzi oyo ye Setaani Omulyolyomi, omuziyiza omukulu owa Katonda n’abantu. (Yokaana 8:44; Okubikkulirwa 12:9) Olukwe lwe olw’okussaawo obufuzi obuvuganya n’obwa Katonda, lweyoleka oluvannyumako nga Kaawa amaze okutondebwa. Bwe kityo, obufuzi obubi bwatandika Adamu bwe yalondawo okwewaggula ku bufuzi bwa Katonda, ne yeesambira ddala ekisa kye. (Olubereberye 3:1-6) Mu kifo ky’okwefuga bo bennyini, Adamu ne Kaawa, baatandika okufugibwa Omulyolyomi eyali yeerowoozaako yekka era ow’amalala.

13-15. (a) Ebimu ku ebyo ebyava mu kujeemera obufuzi bwa Yakuwa bye biruwa? (b) Lwaki ensi eno erimu obukambwe?

13 Ka tulabe ebimu ku byavaamu. Adamu ne Kaawa baagobebwa mu lusuku lwa Katonda. Baava mu bulamu obulungi mu lusuku lwa Katonda mwe baafuniranga emmere ennungi n’ebibala, ne badda mu mbeera enzibu ennyo wabweru w’olusuku Adeni. Katonda yagamba Adamu: “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw’onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo; amaggwa n’amatovu g’eneekuzaaliranga.” Okukolimira ensi kyali kitegeeza nti kati kyandibadde kizibu nnyo okugirimako. Ebyava mu nsi eyakolimirwa n’ebaako amaggwa n’amatovu, byabonyaabonya nnyo bazzukulu ba Adamu, ne kiba nti Lameka taata wa Nuuwa yatuuka n’okwogera ku ‘kutegana okw’emikono gyabwe olw’ensi Mukama gye yakolimira.’​—Olubereberye 3:17-19; 5:29.

14 Ate era Adamu ne Kaawa baafiirwa emirembe gye baalimu ne batandika okwolekagana n’ebizibu. Katonda yagamba Kaawa: “Okwongera naakwongerangako obulumi bwo n’okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw’onoozaaliranga abaana; n’okwegomba kwo kunaabeeranga eri musajja wo, naye anaakufuganga.” Oluvannyuma, Kayini omuggulanda wa Adamu ne Kaawa yakola ekintu eky’obukambwe ennyo eky’okutta muganda we Abeeri.​—Olubereberye 3:16; 4:8.

15 Omutume Yokaana yagamba nti: ‘Ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi.’ (1 Yokaana 5:19) Okufaananako omufuzi waayo, ensi leero eyolesa engeri embi ezizingiramu amalala n’okwerowoozaako. Ekyo nga kiraga bulungi ensonga lwaki ensi ejjudde obukambwe! Naye tejja kuba bw’etyo emirembe n’emirembe. Yakuwa ajja kukakasa nti mu Bwakabaka bwe mubaamu ekisa n’obusaasizi mu kifo ky’obukambwe.

Ekisa Kijja Kubuna Wonna mu Bwakabaka bwa Katonda

16. Lwaki kigambibwa nti obufuzi bwa Katonda okuyitira mu Yesu Kristo bwoleka ekisa, era kino kitukubiriza kukola ki?

16 Yakuwa era ne Yesu Kristo gw’alonze okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe, baagala abo be banaafuga okubeera ab’ekisa. (Mikka 6:8) Yesu Kristo yatulagako katono engeri obufuzi obwamuweebwa Kitaawe gye bujja okuba obw’ekisa. (Abaebbulaniya 1:3) Kino kiyinza okulabikira mu bigambo Yesu bye yayogera ng’ayanika abakulembeze b’eddiini abaali batikka abantu emigugu emizito. Yagamba: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:28-30) Bangi ku bakulembeze b’ensi, ab’eddiini oba abalala, batikka abantu emigugu emizito egy’amateeka amangi n’obuvunaanyizibwa ng’ate abo ababituukiriza bayinza obutasiimibwa. Kyokka, Yesu bye yeetaaza abagoberezi be bituukagana n’ebyetaago byabwe, era tebisukka ku busobozi bwabwe. Mazima ddala, ng’ekikoligo kye kiwummuza nnyo era kyoleka ekisa! Kino naffe tekyandituleetedde okumukoppa mu kulaga abalala ekisa?​—Yokaana 13:15.

17, 18. Lwaki tusobola okuba n’obwesige nti abo abanaafugira awamu ne Kristo mu ggulu oba ababaka be ku nsi bajja kwoleka ekisa?

17 Ebyo Yesu bye yagamba abatume be biraga engeri obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda gye bwawukanira ddala ku bufuzi bw’abantu. Baibuli egamba: “Ne wabaawo empaka mu bo [abayigirizwa], nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu. N’abagamba nti Bakabaka b’ab’amawanga babafuga; n’abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obulungi. Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng’omuto n’oyo akulembera, abe ng’aweereza. Kubanga omukulu [y’]ani, atuula ku mmere, oba aweereza? [S]i oyo atuula ku mmere? [N]aye nze wakati mu mmwe nninga aweereza.”​—Lukka 22:24-27.

18 Abafuzi beenoonyeza obukulu nga bakajjala ku bantu era beenoonyeza ebitiibwa eby’amaanyi nga gy’obeera nti ebitiibwa ebyo bibafuula okuba aba waggulu okusinga abo be bafuga. Naye Yesu yagamba nti obukulu obwa nnamaddala buva mu kuweereza abalala n’obunyiikivu. Abo bonna abanaafugira awamu ne Kristo mu ggulu oba abanaaweereza ku nsi ng’ababaka be, bateekwa okufuba okugoberera eky’okulabirako kye eky’obuwombeefu n’ekisa.

19, 20. (a) Yesu yalaga atya nti ekisa kya Katonda kingi nnyo? (b) Tusobola tutya okukoppa Yakuwa mu kwoleka ekisa?

19 Ka tulabe okubuulirira okulala Yesu kwe yawa. Ng’alaga nti ekisa kya Yakuwa kingi nnyo, yagamba: “Bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? [K]ubanga n’abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala. Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? [K]ubanga n’abantu abalina ebibi babakola bwe batyo. Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? [N’]abantu abalina ebibi baazika abalina ebibi, era baweebwa bwe batyo. Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n’empeera yammwe eriba nnyingi, naye nammwe muliba baana b’Oyo ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi [“alaga ekisa,” “NW”] eri abateebaza n’ababi. Mube ba kisa nga Kitammwe bw’alina ekisa.”​—Lukka 6:32-36, italiki zaffe.

20 Katonda teyeerowoozaako ng’alaga ekisa. Tasuubira kusasulwa. Mu ngeri ey’ekisa, Yakuwa ‘enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, era atonnyeseza enkuba abakola obulungi n’obubi.’ (Matayo 5:43-45; Ebikolwa 14:16, 17) Nga tukoppa Kitaffe ow’omu ggulu, tetulumya abo abatasiima naye tubakolera ebirungi, nga mw’otwalidde n’abo abeeyisa ng’abalabe baffe. Bwe twoleka ekisa, tulaga Yakuwa ne Yesu nti twagala okubeera mu Bwakabaka bwa Katonda abantu mwe bajja okulagaŋŋanira ekisa era n’engeri endala eza Katonda.

Lwaki Tusaanidde Okulaga Ekisa?

21, 22. Lwaki tusaanidde okulaga ekisa?

21 Kikulu nnyo Omukristaayo owa nnamaddala okwoleka ekisa. Okulaga ekisa kiwa obukakafu nti tulina omwoyo gwa Katonda. Bwe twoleka ekisa ekya nnamaddala, tuba tukoppa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. Ate era, abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda bateekwa okuba ab’ekisa. N’olwekyo, tuteekeddwa okwagala ekisa era n’okuyiga okukyoleka.

22 Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okwolekera ekisa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo? Ekitundu ekiddako kigenda kwogera ku nsonga eyo.

Oyinza Kuddamu Otya?

• Ekisa kye ki?

• Lwaki ensi erimu obukambwe bungi?

• Tumanya tutya nti obufuzi bwa Katonda bujja kuba bwa kisa?

• Lwaki kikulu nnyo abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda okulaga abalala ekisa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Abakadde Abakristaayo bafuba okulaga ekisa nga bakolagana n’ekisibo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Mu biseera ebizibu, Yakuwa talemwa kulaga baweereza be kisa ekyesigamiziddwa ku kwagala

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Mu ngeri ey’ekisa, Yakuwa ayakiza abantu bonna enjuba era abatonnyeseza enkuba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share