LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 5/1 lup. 12-17
  • Okulaga Ekisa mu Nsi Ejjudde Obukambwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okulaga Ekisa mu Nsi Ejjudde Obukambwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okulaga Ekisa mu Maka
  • Okulaga Ekisa ku Mulimu
  • Okulaga Ekisa ku Ssomero
  • Okulaga Baliraanwa Ekisa
  • Okulaga Ekisa mu Buweereza Bwaffe
  • Okulaga Ekisa mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina
  • Weeyongere Okulaga Ekisa
  • Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Kolera ku ‘Tteeka ery’Ekisa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Ekisa—Ngeri Gye Twoleka mu Bigambo ne mu Bikolwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okuba ow’Ekisa Katonda Akitwala nga Kikulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 5/1 lup. 12-17

Okulaga Ekisa mu Nsi Ejjudde Obukambwe

“Omuntu ekimwagaza [kye] kisa kye.”​—ENGERO 19:22.

1. Lwaki kisobola okuba ekizibu okulaga ekisa?

WEERABA nti oli muntu wa kisa? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okuba ng’osanga obuzibu mu nsi ey’akakyo kano. Kyo kituufu nti Baibuli eyogera ku kisa ng’ekimu ku ‘bibala eby’omwoyo omutukuvu,’ naye lwaki kizibu nnyo okulaga ekisa ne mu nsi ezitwalibwa okuba ez’Abakristaayo? (Abaggalatiya 5:22) Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, eky’okuddamu kiyinza okusangibwa mu bigambo by’omutume Yokaana nti, ensi yonna eri mu buyinza bwa Setaani Omulyolyomi, ekitonde eky’omwoyo ekitalina kisa. (1 Yokaana 5:19) Yesu Kristo yalaga nti Setaani ye ‘mufuzi w’ensi.’ (Yokaana 14:30) N’olwekyo, ensi eyoleka omwoyo omubi ogw’omufuzi waayo.​—Abaefeso 2:2.

2. Biki ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okulaga ekisa?

2 Tuyisibwa bubi nnyo abalala bwe batuyisa mu ngeri etali ya kisa. Baliraanwa, abantu be tutamanyi, ab’emikwano, n’ab’omu maka gaffe bayinza obutatulaga kisa oba okweyisa mu ngeri embi. Tunyolwa nnyo bwe twolekagana n’abantu abeeyisa obubi, aboogera n’ekkayu era abawaanyisiganya ebigambo ebisongovu. Olw’abantu abalala okweyisa mu ngeri ng’eyo, naffe kiyinza okutuviiramu okubeera abakambwe, era ne tulowooza n’okubayisa mu ngeri y’emu. Kino kiyinza okuba eky’akabi eri obulamu bwaffe n’embeera yaffe ey’eby’omwoyo.​—Abaruumi 12:17.

3. Bizibu ki eby’amaanyi abantu bye boolekagana nabyo ebibazibuwaliza okulaga abalala ekisa?

3 Ate era kiyinza okutubeerera ekizibu okulaga abalala ekisa olw’embeera z’ensi ezinyigiriza. Ng’ekyokulabirako, abantu bonna beeraliikirivu olw’ebikolwa ebya bannalukalala, awamu n’eby’okulwanyisa nnamuzisa ebiyinza okukozesebwa amawanga agatali gamu. Okugatta ku ekyo, obukadde n’obukadde bw’abantu bali bubi, tebalina mmere emala, wa kusula walungi, engoye, oba obujjanjabi obumala. Tekiba kyangu okulaga ekisa ng’omuntu ali mu mbeera bwe zityo.​—Omubuulizi 7:7.

4. Ndowooza ki enkyamu ekwata ku kulaga abalala ekisa abamu gye bayinza okuba nayo?

4 Kyangu nnyo omuntu okugamba nti, si kikulu okulaga ekisa era nti okulaga ekisa kayinza okuba akabonero akooleka obunafu. Omuntu ayinza okuwulira nti ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya, naddala singa abalala tebafaayo ku nneewulira ze. (Zabbuli 73:2-9) Kyokka, Baibuli etuwa obulagirizi obutuufu bw’egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi: naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.” (Engero 15:1) Ekisa n’eggonjebwa oba obuteefu, bibala bya mwoyo mutukuvu ebikwatagana era nga bikulu nnyo bwe tuba nga twolekaganye n’embeera enzibu.

5. Mu mbeera ki ez’obulamu mwe twetaaga okulaga abalala ekisa?

5 Okuva bwe kiri ekikulu ennyo Abakristaayo okwoleka ebibala eby’omwoyo omutukuvu, tusaanidde okwetegereza engeri gye tuyinza okwolekamu ekimu ku bibala ebyo, kwe kugamba, ekibala eky’ekisa. Ddala kisoboka okulaga ekisa mu nsi eno ejjudde obukambwe? Bwe kiba nti kisoboka, ngeri ki ezimu mwe tuyinza okukyoleka nti tetukkiriza mwoyo gwa Setaani kutulemesa kulaga kisa naddala nga tuli mu mbeera enzibu? Ka twetegereze engeri gye tuyinza okulaga abalala ekisa mu maka, ku mulimu, ku ssomero, eri baliraanwa baffe, mu buweereza bwaffe, n’eri basinza bannaffe.

Okulaga Ekisa mu Maka

6. Lwaki kikulu nnyo okulaga ekisa mu maka, era ngeri ki gye kiyinza okulagibwamu?

6 Okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa era n’obulagirizi bwe, kikulu nnyo okukulaakulanya ebibala eby’omwoyo omutukuvu mu bujjuvu. (Abaefeso 4:32) Ka twetegereze engeri ab’omu maka gye bayinza okulagaŋŋanamu ekisa. Mu nkolagana yaabwe, omwami n’omukyala basaanidde okulagaŋŋana ekisa n’okufaayo buli omu ku munne era n’eri abaana baabwe. (Abaefeso 5:28-33; 6:1, 2) Ekisa ng’ekyo kirina okweyolekera mu ngeri buli omu mu maka gy’ayogeramu ne munne, mu ngeri abaana gye bassaamu bazadde baabwe ekitiibwa era ne mu ngeri abazadde gye bayisaamu abaana baabwe. Beera muntu ayanguwa okusiima abalala so si oyo ayanguwa okunenya.

7, 8. (a) Biki bye tulina okwewala bwe tuba ab’okulaga ekisa ekya nnamaddala mu maka? (b) Empuliziganya ennungi eyamba etya okunyweza amaka? (c) Osobola otya okwoleka ekisa awaka?

7 Okulagaŋŋana ekisa mu maka kizingiramu okugoberera okubuulirira kwa Pawulo kuno: “Muggyewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby’ensonyi mu kamwa kammwe.” Mu maka Amakristaayo, buli omu asaanidde okwogera obulungi eri munne era mu ngeri eweesa ekitiibwa. Lwaki? Kubanga empuliziganya ennungi esobozesa amaka okuba amanywevu. Singa wabaawo obutategeeragana, ekisobola okuzza embeera mu nteeko kwe kugezaako okugonjoola ensonga eyo so si kunoonyereza ngeri ya kulagamu nti ggwe mutuufu. Ab’omu maka abasanyufu, bafuba okulagaŋŋana ekisa era buli omu afaayo ku munne.​—Abakkolosaayi 3:8, 12-14.

8 Ekisa kituleetera okwagala okukolera abalala ebirungi. N’olwekyo, tufuba okukolera be tubeera nabo awaka ebintu eby’omugaso, okubafaako era n’okukolagana nabo obulungi. Kyetaagisa buli omu mu maka okufuba okulaga ekisa era nga kino kisobola okuleetera amaka okwogerebwako obulungi. Ab’omu maka ago bafuna emikisa gya Katonda era bamuweesa ekitiibwa mu kibiina ne mu kitundu gye babeera.​—1 Peetero 2:12.

Okulaga Ekisa ku Mulimu

9, 10. Nnyonnyola ebizibu ebiyinza okujjawo ku mulimu era yogera ku ngeri gye biyinza okukolebwako mu ngeri ey’ekisa.

9 Omukristaayo ayinza obutayanguyirwa kulaga bakozi banne kisa ng’ali ku mulimu. Olw’okuvuganya, omukozi omu ayinza okwonoona erinnya lya munne ng’amwogerako eby’obulimba eri mukama waabwe. (Omubuulizi 4:4) Mu mbeera ng’eyo, tekiba kyangu okulaga ekisa. Wadde kiba kityo, okumanya nti okulaga ekisa kye kintu ekituufu okukola, omuweereza wa Yakuwa asaanidde okufuba nga bw’asobola okukolera ebirungi abo abatakolaganika nabo. Ekiyinza okutuyamba okukola ekyo, kwe kwoleka omwoyo gw’okufaayo. Oboolyawo oyinza okulaga okufaayo singa mukozi munno alwala oba alwaza omu ku b’omu maka ge. N’okumubuuza obubuuza embeera gy’alimu oba ab’omu maka ge gye balimu, kiyinza okubaako eky’amaanyi kye kimukolako. Yee, Abakristaayo bateekwa okukola kyonna kye basobola okutumbula obumu n’emirembe. Oluusi, ebigambo ebyoleka ekisa n’okufaayo bisobola okubaako ekirungi kye bikola.

10 Ebiseera ebimu, mukama wammwe ayinza okubakakaatikako endowooza ye era ayinza okwagala buli omu yeenyigire mu mukolo ogumu ogw’eggwanga oba omukolo omulala gwonna ogukontana n’ebyawandiikibwa. Omuntu w’omunda ow’Omukristaayo bw’aba tamukkiriza kwenyigira mu mikolo ng’egyo, kiyinza okuleetawo obuzibu wakati we ne mukama we. Mu mbeera eyo kiyinza obutaba kya magezi kugenda wala nnyo ng’omunnyonnyola nga bwe kiri ekikyamu okukola ky’ayagala. N’ekirala, abo abatagoberera nzikiriza za Kikristaayo, bayinza obutalabawo kikyamu kyonna mu kwenyigira mu mikolo ng’egyo. (1 Peetero 2:21-23) Oboolyawo, oyinza okubannyonnyola mu ngeri ey’ekisa ensonga lwaki teweenyigira mu mikolo egyo. Bwe wabaawo abakukiina, ggwe tobakiina. Omukristaayo asaanidde okugoberera okubuulirira okuli mu Abaruumi 12:18: “Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.”

Okulaga Ekisa ku Ssomero

11. Buzibu ki abavubuka bwe boolekagana nabwo mu kulaga bayizi bannaabwe ekisa?

11 Kiyinza okuzibuwalira abato okulaga bayizi bannaabwe ekisa. Abavubuka baagala nnyo okwagalibwa bayizi bannaabwe. Abalenzi abamu bayinza okubaako ebintu bye bakola, bannaabwe babatwale nti ba maanyi era batuuka n’okutuntuza abalala. (Matayo 20:25) Abalala baagala okweraga nti bo, basukkiridde ku bannaabwe mu by’emisomo, mu by’emizannyo, oba mu bintu ebirala. Mu kukola ekyo, batera okuyisa bayizi bannaabwe mu ngeri etali ya kisa, nga balowooza mu bukyamu nti kino kibafuula aba waggulu. Omuvubuka Omukristaayo alina okwegendereza okulaba nti takoppa baana abo. (Matayo 20:26, 27) Omutume Pawulo yagamba nti “Okwagala kugumiikiriza,” era nti “tekwekulumbaza, tekwegulumiza.” N’olwekyo, buvunaanyizibwa bwa Mukristaayo obutakoppa byakulabirako bibi eby’abo abeeyisa mu ngeri etali ya kisa, wabula okunywerera ku kubuulirira kw’omu Byawandiikibwa ng’akolagana ne bayizi banne.​—1 Abakkolinso 13:4.

12. (a) Lwaki kiyinza obutayanguyira bavubuka okulaga abasomesa baabwe ekisa? (b) Wa abavubuka gye bayinza okufuna obuyambi bwe baba bazibuwalirwa okulaga ekisa?

12 Abavubuka era basaanidde okulaga abasomesa baabwe ekisa. Abayizi bangi banyumirwa okukola ebintu ebinyiiza abasomesa baabwe. Balowooza nti baba ba magezi bwe bayisaamu abasomesa baabwe amaaso nga beenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka g’essomero. Bayinza okuwaliriza abalala okubeegattako nga babatiisatiisa. Omuvubuka Omukristaayo ayinza okusekererwa oba okuvumibwa singa agaana okubeegattako. Ng’ayolekaganye n’embeera ng’ezo mu bbanga ly’amala ng’asoma, kiyinza obutayanguyira Mukristaayo okulaga ekisa. Kyokka, kijjukire nti kikulu nnyo okubeera omuweereza wa Yakuwa omwesigwa. Osobola okuba omukakafu nti ajja kukuwa obuyambi mu biseera ebizibu ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.​—Zabbuli 37:28.

Okulaga Baliraanwa Ekisa

13-15. Biki ebiyinza okutulemesa okulaga baliraanwa baffe ekisa, era tuyinza kubivvuunuka tutya?

13 K’obe ng’osula mu nnyumba yo, oba ng’opangisa, oyinza okulowooza ku ngeri ez’enjawulo z’oyinza okulagiramu baliraanwa bo ekisa n’okufaayo. Kyokka era, ne mu mbeera eno tekibeera kyangu okulaga ekisa.

14 Kiba kitya singa baliraanwa bo tebakwagala olwa langi yo, eggwanga lyo oba eddiini yo? Watya singa oluusi bakukambuwalira oba nga tebakufiirako ddala? Ng’omuweereza wa Yakuwa, kijja kuba kya muganyulo okufuba nga bw’osobola okulaga ekisa. Kino kijja kulaga nti ggwe oli wa njawulo nnyo era kireetere Yakuwa ettendo, oyo asingayo okulaga ekisa. Tomanya, muliraanwa wo ayinza okukyusa endowooza ye olw’okuba omulaze ekisa. Ayinza n’okufuuka omusinza wa Yakuwa.​—1 Peetero 2:12.

15 Tuyinza tutya okulaga baliraanwa baffe ekisa? Tuyinza okukibalaga nga tweyisa bulungi, nga buli omu mu maka ayoleka ebibala eby’omwoyo omutukuvu. Baliraanwa bayinza okulaba enneeyisa yaffe ennungi. Oluusi, oyinza okukolerayo muliraanwa wo ekintu eky’ekisa. Jjukira nti okulaga ekisa kitegeeza okufaayo ku balala.​—1 Peetero 3:8-12.

Okulaga Ekisa mu Buweereza Bwaffe

16, 17. (a) Lwaki kikulu nnyo okulaga ekisa mu buweereza bwaffe? (b) Ekisa kiyinza kulagibwa kitya mu mbeera ez’enjawulo mu buweereza bw’ennimiro?

16 Tusaanidde okwoleka ekisa mu buweereza bwaffe nga tufuba okutuukirira abantu mu maka gaabwe, ku mirimu ne mu bifo ebya lukale. Tusaanidde okukijjukira nti tukiikirira Yakuwa, oyo ayoleka ekisa bulijjo.​—Okuva 34:6.

17 Biki ebizingirwa mu kulaga ekisa mu buweereza? Ng’ekyokulabirako, bw’oba obuulira ku nguudo, oyinza okulaga ekisa ng’oyogera mu bumpimpi era ng’ofaayo ku bantu b’oba otuukiridde. Emabbali w’oluguudo etera okuyitayo abantu bangi abatambuza ebigere, n’olwekyo weegendereze obutaziba kkubo. Ate era, bw’oba obuulira mu bifo ebikolerwamu eby’obusuubuzi, laga ekisa ng’oyogera mu bumpimpi, ng’ojjukira nti abasuubuzi b’oyogera nabo balina okufaayo ku baguzi.

18. Okukozesa amagezi kukusobozesa kutya okulaga ekisa mu buweereza bwaffe?

18 Kozesa amagezi ng’obuulira nnyumba ku nnyumba. Tomala kiseera kiwanvu we bakwanirizza, naddala embeera y’obudde bw’eba nga mbi. Oyinza okukitegeera nti omuntu atandise okukaluubirirwa? Oboolyawo mu nsi gy’olimu Abajulirwa ba Yakuwa batera okukyalira abantu. Bwe kiba bwe kityo laga okufaayo mu ngeri ey’enjawulo, ng’oba wa kisa. (Engero 17:14) Gezaako okutegeera ensonga lwaki nnyinimu tawulirizza ku mulundi ogwo. Kijjukire nti omu ku baganda bo ayinza okukyalira amaka ago mu biseera ebitali bya wala. Bw’osanga omuntu eyeeyisa obubi, fuba okulaba nti omulaga ekisa. Toyogerera waggulu oba okukayuka, wabula yogera mu ngeri ey’obukkakkamu. Omukristaayo ow’ekisa tayogera mu ngeri ereetera nnyinimu okutandika okuwakana. (Matayo 10:11-14) Oboolyawo luliba lumu omuntu oyo n’awuliriza amawulire amalungi.

Okulaga Ekisa mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina

19, 20. Lwaki kyetaagisa okulaga ekisa mu kibiina, era ngeri ki gye kiyinza okulagibwamu?

19 Ate era, kikulu okulaga bakkiriza bannaffe ekisa. (Abaebbulaniya 13:1) Okuva bwe tuli oluganda olw’ensi yonna, kikulu nnyo okulaga ekisa nga tukolagana n’abalala.

20 Ebibiina ebisukka mu kimu bwe biba nga bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu, kikulu nnyo abali mu bibiina ebyo eby’enjawulo okukolagana mu ngeri ey’ekisa, nga bawaŋŋana ekitiibwa. Bwe wabaawo okuvuganya, kiba kizibu okukolera awamu mu kuteekateeka ebiseera by’enkuŋŋaana era n’ebintu ebirala, gamba ng’okuyonja n’okuddaabiriza ekizimbe ekikuŋŋaanirwamu. Mubeere ba kisa era abafaayo ku balala ne bwe kiba nga mulina endowooza ezaawukana. Mu ngeri eno ekisa kijja kubayamba era Yakuwa ajja kubawa emikisa olw’okufaayo ku balala.

Weeyongere Okulaga Ekisa

21, 22. Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:12, tusaanidde kumalirira kukola ki?

21 Ekisa kikwata ku mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. N’olwekyo kisaanidde okweyoleka mu ngeri zaffe ez’Ekikristaayo. Eteekwa okuba empisa yaffe okulaga abalala ekisa.

22 Ka ffenna tube ba kisa eri abalala era kinnoomu tuteeke mu nkola ebigambo by’omutume Pawulo: “Mwambalenga ng’abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza.”​—Abakkolosaayi 3:12.

Ojjukira?

• Kiki ekizibuwaliza Omukristaayo okulaga ekisa?

• Lwaki kikulu okulaga ekisa mu maka?

• Bintu ki ebikifuula ekizibu okulaga ekisa ku ssomero, ku mulimu, ne ku muliraano?

• Nnyonnyola engeri Abakristaayo gye bayinza okulaga ekisa mu buweereza bwabwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Ab’omu maka bwe booleka ekisa, kitumbula obumu era kibasobozesa okukolagana obulungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Osobola okulaga ekisa, singa mukozi munno alwala oba alwaza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Yakuwa ayamba abo abooleka ekisa ka babe nga basekererwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Okuyamba muliraanwa ng’ali mu bwetaavu kikolwa kya kisa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share