Osaanidde Okubeera mu Kibiina ky’Eddiini?
‘TEKINNEETAAGISA kubeera mu ddiini yonna oba okugenda mu kkanisa obutayosa okusobola okulaga nti nzikiririza mu Katonda!’ Eyo ye ndowooza abantu bangi gye balina ku kubeera mu kibiina ky’eddiini. Mu butuufu, abantu abamu bagamba nti bawulira ng’enkolagana yaabwe ne Katonda yeeyongera okunywera bwe batunuulira obutonde okusinga bwe babeera mu kanisa. Leero, abantu bangi nnyo balowooza nti okubeera mu kibiina ky’eddiini si kye kiraga nti omuntu akkiririza mu Katonda.
Kyokka abalala balina endowooza ya njawulo. Bagamba nti omuntu okusobola okusiimibwa Katonda kimwetaagisa okubeera mu kibiina ky’eddiini era nga kino kikulu nnyo. N’olwekyo, okwebuuza obanga omuntu kimugwanidde okubeera mu kibiina ky’eddiini nsonga nkulu nnyo eri buli muntu kinnoomu, so si eri abo bokka abeekenneenya eby’eddiini okusobola okumanya omuwendo gw’abo abazirimu oba olw’ensonga endala yonna. Ate era, okuva kino bwe kizingiramu enkolagana yaffe ne Katonda, tekyandibadde kya magezi okumanya endowooza ya Katonda ku nsonga eno? Kati olwo, Ekigambo kye Baibuli kiyinza kutuyigiriza ki ku nsonga eno?
Engeri Katonda Gye Yakolaganamu n’Abantu mu Biseera eby’Edda
Kumpi emyaka nga 4,400 egiyise, Amataba gaabuutikira ensi yonna. Ekyaliwo ekyo kyali tekiyinza kwerabirwa mangu, era amawanga agatali gamu okwetooloola ensi gakyogerako mu byafaayo byago. Wadde nga gakyogerako mu ngeri ez’enjawulo, ebyogerwa birina bingi bye bifaanaganya, nga mw’otwalidde n’okuba nti bantu batono nnyo abaawonawo awamu n’ensolo.
Abaawonawo mu Mataba ago baafuna bufunyi kakisa okusumattuka okuzikirizibwa? Baibuli eraga nti tekyali bwe kityo. Kikulu okwetegereza wano nti Katonda teyategeeza buli omu ebikwata ku Mataba agaali gagenda okujja. Wabula, yategeeza Nuuwa, ate Nuuwa oluvannyuma n’alangirira eri abantu b’omu kiseera kye ebikwata ku Mataba ago agaali gagenda okujja.—Olubereberye 6:13-16; 2 Peetero 2:5.
Omuntu okuwonawo kyali kyesigamye ku kubeera mu kibiina ekyo ekyali obumu era n’okubeera omwetegefu okugoberera obulagirizi Katonda bwe yawa Nuuwa. N’ensolo zaawonawo olw’okuba zaali wamu n’ekibiina ekyo mu lyato. Nuuwa yategeezebwa ebintu bye yalina okukola okusobola okuwonyawo obulamu bw’ensolo.—Olubereberye 6:17–7:8.
Nga wayiseewo ebyasa bingi, bazzukulu ba Nuuwa okuyitira mu lunyiriri lwa mutabani we Seemu, baafuuka baddu e Misiri. Kyokka, Katonda n’akola enteekateeka okubanunula era n’okubatwala mu nsi gye yali asuubizza jjajjaabwe Ibulayimu. Ne ku mulundi ogwo tekyategeezebwa buli muntu kinnoomu, wabula yasooka kukitegeeza abo be yali alonze okubakulembera, kwe kugamba, Musa ne muganda we Alooni. (Okuva 3:7-10; 4:27-31) Oluvannyuma lw’okubanunula mu buddu e Misiri, Katonda yabawa Amateeka ku Lusozi Sinaayi era n’abafuula eggwanga lya Isiraeri.—Okuva 19:1-6.
Abaisiraeri kinnoomu baasobola okununulibwa kubanga baali wamu mu kibiina ekyo Katonda kye yali atandiseewo era nga bagoberera obulagirizi obwaweebwa abo abaali babakulembera. N’Abamisiri kinnoomu baafuna omukisa okwegatta ku kibiina ekyo ekyali kisiimibwa Katonda. Abaisiraeri bwe baali bava e Misiri, Abamisiri abamu baavaayo nabo, era mu ngeri eyo ne baba nga basobola okufuna emikisa gya Katonda.—Okuva 12:37, 38.
Ate mu kyasa ekyasooka, Yesu yatandika omulimu gwe ogw’okubuulira, ng’afuula abantu abayigirizwa be. Yakolagana nabo ng’ekibiina, wadde nga yafaangayo ne ku byetaago byabwe kinnoomu. Yesu yagamba bw’ati abatume 11 abeesigwa: “Mmwe muumuno abaagumiikiriza awamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze.” (Lukka 22:28, 29) Oluvannyuma, Katonda yafuka omwoyo gwe ku bayigirizwa nga bali wamu ng’ekibiina.—Ebikolwa 2:1-4.
Ebyokulabirako ebyo biraga nti mu biseera ebyayita, Katonda yakolagananga n’abantu be nga bali wamu ng’ekibiina ekitegeke. Abantu abatono ennyo Katonda be yakolagana nabo butereevu, gamba nga Nuuwa, Musa, Yesu n’abalala, mu butuufu era be yakozesa n’okutuusa obubaka bwe eri ekibiina ky’abantu ekyali obumu. Tewaliiwo nsonga yonna kwe twandisinzidde okulowooza nti leero Katonda akolagana n’abaweereza be mu ngeri eyawukanako ku eyo. Kya lwatu, kino kireetawo ekibuuzo ekirala: Omuntu asobola okubeera mu kibiina kyonna eky’eddiini? Tujja kwekenneenya ekibuuzo kino ekikulu mu kitundu ekiddako.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Okuva edda n’edda Katonda abadde akolagana n’abantu be nga bali wamu ng’ekibiina ekitegeke