LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 6/1 lup. 8-12
  • Weetegekedde Okuwonawo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weetegekedde Okuwonawo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Embeera Efaananako ey’Omu Nnaku za Nuuwa
  • Okusobola Okuwonawo Tulina Okuba n’Okkiriza
  • Enkyukakyuka Ezikoleddwa Okutuyamba
  • Beera Mwetegefu Okuwonawo
  • ‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yatambulira Wamu ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • ‘Yawonyezebwawo n’abalala musanvu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Nuuwa Yasiimibwa Katonda Kino Kitukwatako Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 6/1 lup. 8-12

Weetegekedde Okuwonawo?

“Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino.”​—OLUBEREBERYE 7:1.

1. Nteekateeka ki Yakuwa gye yakola okusobola okuwonyawo abantu mu kiseera kya Nuuwa?

WADDE nga Yakuwa “yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda” mu kiseera kya Nuuwa, yakola enteekateeka okuwonyawo abamutya. (2 Peetero 2:5) Katonda ow’amazima yawa Nuuwa ebiragiro ebitegeerekeka obulungi ku ngeri y’okuzimbamu eryato asobole okulokoleramu abantu. (Olubereberye 6:14-16) Okufaananako abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, ‘Nuuwa yakolera ddala byonna Katonda bye yamulagira.’ Mazima ddala “bw’atyo bwe yakola.” Olw’okuba Nuuwa yali muwulize, eyo y’emu ku nsonga lwaki tuli balamu leero.​—Olubereberye 6:22.

2, 3. (a) Abantu b’omu biseera bya Nuuwa baatunuulira batya omulimu gwe yali akola? (b) Kiki ekyaleetera Nuuwa okuyingira mu lyato?

2 Omulimu gw’okuzimba eryato tegwali mwangu n’akamu. Wadde abantu bangi beewuunya okulaba Nuuwa n’ab’omu maka ge nga bakola omulimu ogwo, tebakkiriza nti bwe bandiyingidde mu lyato eryo bandiwonyewo. Ddaaki, Katonda yali takyasobola kugumiikiriza nsi eyo embi.​—Olubereberye 6:3; 1 Peetero 3:20.

3 Oluvannyuma lw’emyaka nga Nuuwa n’ab’omu maka ge balafuubana okuzimba eryato, Yakuwa yagamba Nuuwa nti: “Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino.” Olw’okuba yalina okukkiriza okunywevu mu kigambo kya Yakuwa, ‘yayingira n’abaana be ne mukazi we ne bakazi b’abaana be.’ Yakuwa yaggalawo oluggi okusobola okukuuma abantu be. Amataba bwe gajjula ensi yonna, abantu abaali mu lyato be bokka abaawonawo.​—Olubereberye 7:1, 7, 10, 16.

Embeera Efaananako ey’Omu Nnaku za Nuuwa

4, 5. (a) Ekiseera ky’okubeerawo kwe Yesu yakigeraageranya ku ki? (b) Embeera ezaaliwo mu biseera bya Nuuwa ezifaananako zitya n’ezo eziriwo leero?

4 “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.” (Matayo 24:37) Mu bigambo ebyo, Yesu yalaga nti ekiseera eky’okubeerawo kwe nga kabaka atalabika, kijja kufaananako eky’omu nnaku za Nuuwa, era bwe kityo bwe kibadde. Naddala okuva mu 1919, okulabula okufaananako n’okwo Nuuwa kwe yawa, kubadde kuweebwa mu mawanga gonna. Okutwalira awamu, nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, ne kaakano abantu tebafuddeyo ku kulabula okubaweebwa.

5 Ng’akozesa amataba, Yakuwa yazikiriza ensi eyali ‘ejjudde obubi.’ (Olubereberye 6:13) Kyeyoleka kaati eri abantu nti Nuuwa n’ab’omu maka ge tebeenyigira mu bikolwa ebibi ebyaliwo mu kiseera ekyo, wabula beemalira ku mulimu gw’okuzimba eryato. Kino nakyo kifaanagana n’ebiriwo mu kiseera kyaffe. Abantu abeesimbu basobola ‘okwawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.’ (Malaki 3:18) Obwesigwa, ekisa, emirembe n’obunyiikivu Abajulirwa ba Yakuwa bye booleka bisiimibwa abantu abeesimbu era ekyo kireetera abantu abo okwawulawo abaweereza ba Katonda okuva ku abantu ab’ensi. Abajulirwa abo tebeenyigira mu bikolwa ebibi eby’engeri yonna era bakkiriza omwoyo gwa Katonda okubawa obulagirizi. Eno ye nsonga lwaki balina emirembe era bafuba okukola eby’obutuukirivu.​—Isaaya 60:17.

6, 7. (a) Kiki abantu b’omu kiseera kya Nuuwa kye baalemererwa okutegeera, era abantu abo bafaananako batya n’ab’omu kiseera kyaffe? (b) Byakulabirako ki ebiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa ba njawulo ku balala?

6 Abantu b’omu kiseera kya Nuuwa baalemererwa okukitegeera nti Nuuwa yalina obuwagizi bwa Katonda era nti yali akola ekyo Katonda kye yali amulagidde. Bwe kityo, tebaafaayo ku bubaka bwe yali abuulira, era tebaakolera ku kulabula kwe yabawa. Ate kiri kitya leero? Wadde ng’abantu bangi basiima omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa n’enneeyisa yaabwe, abasinga obungi tebafaayo ku mawulire malungi ge bababuulira ne ku kulabula okuli mu Baibuli. Baliraanwa baabwe, bakama baabwe oba ab’eŋŋanda zaabwe, bayinza okuboogerako obulungi olw’engeri zaabwe ennungi naye ate ne bagamba nti, “Kyandibadde kirungi singa abantu abo tebaali Bajulirwa ba Yakuwa!” Abantu abo tebakimanyi nti ekiviirako Abajulirwa ba Yakuwa okwoleka engeri ng’okwagala, emirembe, ekisa, obulungi, obuwombeefu n’okwefuga, kwe kuba nti bakulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Abaggalatiya 5:22-25) Eky’okuba nti Abajulirwa ba Yakuwa balina engeri zino ennungi, kyandireetedde abantu okuwuliriza obubaka bwabwe.

7 Ng’ekyokulabirako, mu Russia, Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bazimba Ekizimbe ky’Obwakabaka, omusajja omu yayimirira n’ayogera n’omu ku abo abaali bazimba. Yagamba nti: “Ng’abantu abali wano ba njawulo nnyo! Tewali anywa sigala, tewali avuma munne, era tewali mutamiivu. Kyandiba nga muli Bajulirwa ba Yakuwa?” Oyo gwe yali ayogera naye yamuddamu ng’amubuuza nti, “Singa nkugamba nti tetuli Bajulirwa ba Yakuwa onookikkiriza?” Omusajja oyo yamugamba nti, “Siyinza kukikkiriza.” Ate mu kibuga ekirala eky’omu Russia, meeya yakwatibwako nnyo bwe yalaba Abajulirwa nga bazimba Ekizimbe ky’Obwakabaka. Yagamba nti wadde yali akitwala nti amadiini gonna ge gamu, oluvannyuma lw’okulaba ng’Abajulirwa ba Yakuwa tebeefaako bokka, yakitegeera nti amadiini ga njawulo. Bino bye bimu ku byokulabirako ebiraga nti Abantu ba Yakuwa ba njawulo ku bantu abatafaayo ku misingi gya Baibuli.

8. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tunaaba ab’okuwonawo ng’ensi eno embi ezikirizibwa?

8 Ng’Amataba ganaatera okuzikiriza “ensi ey’edda,” Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu’ omunyiikivu. (2 Peetero 2:5) Ng’eteekateeka y’ebintu eno eneetera okuzikirizibwa, abaweereza ba Yakuwa bamanyisa abantu emitindo gye egy’obutuukirivu era bababuulira nti basobola okuwonawo ne bayingira mu nsi empya. (2 Peetero 3:9-13) Nga Nuuwa n’ab’omu maka ge abaali batya Katonda bwe baawonawo nga bayingidde mu lyato, ne mu kiseera kino abantu bajja kuwonawo bwe banaabeera n’okukkiriza okunywevu era ne banywerera ne ku nteekateeka ya Yakuwa ey’oku nsi.

Okusobola Okuwonawo Tulina Okuba n’Okkiriza

9, 10. Lwaki okukkiriza kwetaagisa nnyo bwe tunaaba ab’okuwonawo ng’eteekateeka ya Setaani ezikirizibwa?

9 Kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okuwonawo ng’ensi eno eri mu buyinza bwa Setaani ezikirizibwa? (1 Yokaana 5:19) Okusooka, alina okukimanya nti yeetaaga obukuumi. Ate era alina okubaako ky’akolawo okusobola okufuna obukuumi obwo. Abantu b’omu kiseera kya Nuuwa beemalira ku bintu ebya bulijjo ne batamanya nti baali beetaaga okukuumibwa basobole okuwonawo mu katyabaga akaali kabindabinda. Tebaalina kukkiriza.

10 Ku luuyi olulala, Nuuwa n’ab’omu maka ge baakitegeera nti beetaaga obukuumi era n’okununulibwa. Ate era, bakkiririza mu Yakuwa Katonda, Omufuzi w’Obutonde bwonna. Omutume Pawulo yagamba nti: “Awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” Ate era yagattako nti: “Olw’okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n’atya bulungi n’asiba eryato olw’okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.”​—Abaebbulaniya 11:6, 7.

11. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakuumanga abantu mu biseera eby’edda?

11 Okusobola okuwonawo ng’eteekateeka y’ebintu eno embi ezikirizibwa, tekimala kukkiriza bukkiriza nti ejja kuzikirizibwa. Tuteekwa okuba n’okukkiriza era n’okweyambisa enteekateeka zonna Katonda z’atukolera okutuwonyawo. Kyo kituufu nti tusaanidde okukkiririza mu ssaddaaka y’Omwana wa Katonda, Yesu Kristo. (Yokaana 3:16, 36) Kyokka, tetusaanidde kwerabira nti abo bokka abaali mu lyato lya Nuuwa be baawonawo Amataba bwe gaazikiriza ensi. Mu ngeri y’emu, n’ebibuga eby’okuddukiramu ebyali mu Isiraeri ey’edda byali bya bukuumi eri omuntu yenna eyalinga asse omulala mu butali bugenderevu. Singa omuntu oyo yaddukiranga mu bibuga ebyo era n’asigalamu okutuusa nga kabona omukulu afudde, yandiwonye okuttibwa. (Okubala 35:11-32) Mu nnaku za Musa, abaana b’Abamisiri ababereberye battibwa mu kibonoobono eky’ekkumi Katonda kye yaleeta ku Misiri kyokka ab’Abaisiraeri ne balekebwawo. Lwaki? Kubanga Yakuwa yali agambye Musa nti: “[Abaisiraeri] balitwala ku musaayi [gw’akaliga ke baasala ku lunaku olw’Okuyitako] ne baguteeka ku mifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe [balikaliira]. . . . Temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw’ennyumba ye okutuusa enkya.” (Okuva 12:7, 22) Mwana ki omubereberye ow’Abaisiraeri eyanditadde obulamu bwe mu kabi n’asuula omuguluka ekiragiro kya Katonda ng’afuluma ebweru w’ennyumba esiigiddwako omusaayi ku mifubeeto gyombi ne ku miryango gyayo?

12. Kibuuzo ki buli omu ku ffe ky’asaanidde okwebuuza era lwaki?

12 N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: Ndi mu kibiina kya Yakuwa ekirimu obukuumi obw’eby’omwoyo? Ekibonyoobonyo ekinene bwe kiribalukawo, abo abettanira obukuumi obwo bajja kubugaana essanyu. Ate abalala abatalina bukuumi obwo bajja kuba mu maziga.

Enkyukakyuka Ezikoleddwa Okutuyamba

13. (a) Biki ebivudde mu nkyukakyuka ezikoleddwa mu kibiina kya Yakuwa? (b) Menyayo ezimu ku nkyukakyuka ezizze zikolebwa mu kibiina.

13 Yakuwa abaddenga akola enkyukakyuka mu kibiina kye eky’oku nsi. Enkyukakyuka ezo ziyambye mu kulongoosa, ne mu kunyweza ekibiina tusobole okukuumibwa mu by’omwoyo. Okuva mu 1870 okutuuka mu 1932, ab’oluganda mu kibiina baakubanga bululu okusobola okulonda abakadde n’abaweereza. Mu 1932 akakiiko k’obuweereza akaalondebwa ekibiina okuyamba ku mulabirizi w’obuweereza, kadda mu kifo ky’abakadde abaalinga balondebwa okuyitira mu nkola ey’okukuba obululu. Mu 1938, ekibiina kya Yakuwa kyakola enteekateeka ey’okulonda abaweereza mu kibiina nga kigoberera obulagirizi obuli mu Baibuli. Okuviira ddala mu 1972, ab’oluganda ababa basembeddwa okuweereza ng’abakadde n’abaweereza mu bibiina balondebwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa era ebibiina bitegeezebwa okuyitira mu bbaluwa. Emyaka bwe gigenze giyitawo, omulimu ogukolebwa Akakiiko Akafuzi gweyongedde okugaziwa era waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa okubayamba okutuukiriza omulimu gwabwe.

14. Ssomero ki eryatandikibwawo mu 1959?

14 Oluvannyuma lw’okwekenneenya Zabbuli 45:16 mu 1950, enteekateeka zaakolebwa okutandika okutendekanga ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. Ekyawandiikibwa ekyo kigamba: “Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, b’olifuula abalangira mu nsi zonna.” Abakadde kati abatwala obukulembeze mu bibiina bafuna okutendekebwa okubasobozesa okukola emirimu mu kiseera kino n’oluvannyuma lwa Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka lyatandikibwawo mu 1959. Mu kiseera ekyo ab’oluganda abakubiriza akakiiko k’abakadde, abaayitibwanga abaweereza b’ekibiina, baamalanga omwezi mulamba nga bayigirizibwa mu ssomero eryo. Mu kiseera kino, essomero lino litendeka abakadde n’abaweereza bonna. Ab’oluganda bano bwe bamala okutendekebwa nabo batendeka ab’oluganda abalala kinnoomu abali mu bibiina byabwe. Mu ngeri eyo, bonna bayambibwa mu by’omwoyo ne basobola okulongoosa mu buweereza bwabwe ng’abalangirizi b’amawulire amalungi ag’Obwakabaka.​—Makko 13:10.

15. Mu ngeri ki ebbiri ekibiina Ekikristaayo gye kikuumibwamu nga kiyonjo?

15 Waliwo ebisaanyizo ebirina okutuukirizibwa abo abaagala okubeera mu kibiina Ekikristaayo. Ng’abasekerezi b’omu kiseera kya Nuuwa bwe takkirizibwa kuyingira mu lyato, n’ab’omu kiseera kino tebakkirizibwa kubeera mu kibiina Ekikristaayo. (2 Peetero 3:3-7) Okuviira ddala mu 1952, Abajulirwa ba Yakuwa beeyongedde okuwagira enteekateeka ey’okugoba aboonoonyi abatenenya kisobozese okukuuma ekibiina nga kiyonjo. Kya lwatu, abo ababa boonoonye naye ne beenenya mu bwesimbu, bayambibwa ne basobola ‘okutambulira mu makubo amagolokofu.’​—Abaebbulaniya 12:12, 13; Engero 28:13; Abaggalatiya 6:1.

16. Abantu ba Yakuwa bali mu mbeera ki ey’eby’omwoyo?

16 Embeera ennungi ey’eby’omwoyo abantu ba Yakuwa gye balimu tezzeewo yokka. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yagamba: “Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa.” (Isaaya 65:13, 14) Yakuwa yeeyongera okutuwa emmere ey’ebyomwoyo mu bungi ne tusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo.​—Matayo 24:45.

Beera Mwetegefu Okuwonawo

17. Kiki ekinaatuyamba okwetegekera okuwonawo?

17 N’okusinga bwe kyali kibadde, kino kye kiseera ‘okulowoozagananga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Abaebbulaniya 10:23-25) Singa tubeera mu kimu ku bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 98,000 mu nsi yonna, kijja kutuyamba okwetegekera okuwonawo. Bakkiriza bannaffe bajja kutuyamba okwambala “omuntu omuggya” era naffe tujja kufuba okuyamba abalala okumanya enteekateeka Yakuwa z’atukoledde okusobola okuwonawo.​—Abaefeso 4:22-24; Abakkolosaayi 3:9, 10; 1 Timoseewo 4:16.

18. Lwaki oli mumalirivu okunywerera ku kibiina Ekikristaayo?

18 Setaani n’ensi ye embi bafuba nnyo okulaba nti batuggya mu kibiina Ekikristaayo. Kyokka, bwe tufuba okunywerera mu kibiina Ekikristaayo, tujja kusobola okuwonawo ku nkomerero y’omulembe guno omubi. Ka okwagala kwaffe eri Yakuwa n’okusiima enteekateeka z’atukolera bituyambe okweyongera okubeera abamalirivu okuziyiza Setaani. Bwe tufumiitiriza ku mikisa gye tufuna kati kijja kutuyamba okweyongera okuba abamalirivu okukola kyonna okusobola okuwonawo. Egimu ku mikisa egyo tujja kugyogerako mu kitundu ekinaddako.

Wandizzeemu Otya?

• Mu ngeri ki ebiseera byaffe gye bifaananako n’ebya Nuuwa?

• Kiki ekyetaagisa okusobola okuwonawo?

• Nkyukakyuka ki eziyambye ekibiina kya Yakuwa okuba ekinywevu ne kisobola okutukuuma mu by’omwoyo?

• Kinnoomu tuyinza tutya okweteekerateekera okuwonawo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Abantu b’omu kiseera kya Nuuwa tebaafaayo ku kulabula kwe yabawa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Kikulu nnyo okufaayo ku kulabula Katonda kw’atuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka lirina kigendererwa ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Kino kye kiseera okunywerera ku kibiina Ekikristaayo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share