‘Mubayigirize Okukwata Byonna Bye Nnabalagira’
“Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa . . . , nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira.”—MATAYO 28:19, 20.
1. Mboozi ki eyaliwo wakati w’omuyigirizwa Firipo n’omusajja eyava mu Buwesiyopya?
OMUSAJJA omu okuva mu Buwesiyopya yatindigga olugendo okugenda mu Yerusaalemi. Eyo gye yasinzizanga Yakuwa, Katonda gwe yali ayagala ennyo. Kya lwatu, yali ayagala nnyo n’Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Firipo omuyigirizwa wa Kristo we yamusangira, omusajja ono yali mu ggaali lye ng’adda eka era yali asoma ebyawandiikibwa ebya nnabbi Isaaya. Firipo yamubuuza: “Obitegedde by’osoma?” Omusajja yaddamu: “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira?” Firipo yayongera okuyamba omuyizi ono eyali omusomi w’Ebyawandiikibwa okusobola okufuuka omuyigirizwa wa Kristo.—Ebikolwa 8:26-39.
2. (a) Mu ngeri ki ekyo Omwesiyopya kye yaddamu gye kyali ekikulu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya ebikwata ku mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa Yesu gwe yawa abagoberezi be?
2 Ekyo Omwesiyopya kye yaddamu kikulu nnyo. Yagamba: ‘Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira?’ Yee, yali yeetaaga omuntu okumulagirira okusobola okutegeera bye yali asoma. Ebyo bye yayogera biraga obukulu bw’ekintu ekimu Yesu kye yayogera ng’awa abayigirizwa be omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Kintu ki ekyo? Okuzuula eky’okuddamu, ka tweyongere okwekenneenya ebigambo bya Yesu ebisangibwa mu Matayo essuula 28. Ekitundu ekivuddeko kitadde essira ku bibuuzo lwaki? ne wa? Kati tugenda kwekenneenya ebibuuzo ebirala ebizingirwa mu kiragiro kya Kristo eky’okufuula abalala abayigirizwa, kwe kugamba, kiki? ne ddi?
“Nga Mubayigiriza Okukwata Byonna”
3. (a) Omuntu afuuka atya omuyigirizwa wa Yesu Kristo? (b) Okufuula abantu abayigirizwa kizingiramu kubayigiriza ki?
3 Kiki kye tuteekwa okuyigiriza okusobola okuyamba abalala okufuuka abayigirizwa ba Kristo? Yesu yalagira abagoberezi be: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira.” (Matayo 28:19, 20) N’olwekyo, tuteekwa okuyigiriza ebyo Kristo bye yalagira.a Naye kiki ekiyinza okukolebwa okukakasa nti omuntu ayigirizibwa ebiragiro bya Yesu takoma ku kufuuka muyigirizwa kyokka, naye era nti asigala nga muyigirizwa? Ensonga emu enkulu eragibwa mu ngeri Yesu gye yayogeramu. Weetegereze nti teyagamba bugambi nti: ‘Mubayigirize ebintu byonna bye nnabalagira.’ Wabula, yagamba: ‘Mubayigirize okukwata byonna bye nnabalagira.’ (Matayo 19:17) Ekyo kitegeeza ki?
4. (a) Kitegeeza ki okukwata ekiragiro? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gye tuyigirizaamu omuntu okukwata ebiragiro bya Kristo.
4 Omuntu okukwata ekiragiro kitegeeza nti “ebikolwa bye” bituukagana n’ekiragiro ekyo, kwe kugamba aba akigondera. Kati olwo, tusobola tutya okuyigiriza omuntu okukwata oba okugondera ebintu Kristo bye yalagira? Lowooza ku ngeri oyo ayigiriza abalala okuvuga emmotoka gy’ayigirizaamu abayizi be okukwata amateeka g’ebidduka. Ayinza okubayigiriza amateeka ago nga bali mu kibiina. Kyokka, okusobola okubayigiriza engeri y’okugagonderamu, alina okubalagirira ng’eno bwe bavuga era ne bafuba okussa mu nkola bye baba bayize. Mu ngeri y’emu, bwe tusoma n’abantu Baibuli, tubayigiriza ebiragiro bya Kristo. Kyokka, kitwetaagisa okuwa abayizi obulagirizi ng’eno bwe bafuba okussa mu nkola ebiragiro bya Kristo mu bulamu bwabwe ne mu buweereza. (Yokaana 14:15; 1 Yokaana 2:3) N’olwekyo, okusobola okutuukiriza mu bujjuvu ekiragiro kya Kristo eky’okufuula abayigirizwa, kitwetaagisa okuyigiriza n’okuyamba abalala okussa mu nkola bye bayiga. Mu ngeri eyo, tuba tukoppa eky’okulabirako kya Yesu ne Yakuwa kennyini.—Zabbuli 48:14; Okubikkulirwa 7:17.
5. Lwaki omuntu gwe tuyigiriza Baibuli ayinza okulonzalonza okugondera ekiragiro kya Kristo eky’okufuula abantu abayigirizwa?
5 Okuyigiriza abalala okukwata ebiragiro bya Yesu kizingiramu okubayamba okugondera ekiragiro ky’okufuula abalala abayigirizwa. Ekyo kiyinza okutiisa abamu ku abo be tuyigiriza Baibuli. Ka babe nga baali banyiikivu nnyo mu makanisa ga Kristendomu, kiyinzika okuba nti abo abaali babayigiriza eby’eddiini tebaabayigiriza kufuula balala bayigirizwa. Abamu ku bakulembeze b’amadiini boogera kaati nti Kristendomu eremereddwa ddala okuyigiriza ekisibo kyayo okubuulira. Ng’ayogera ku kiragiro kya Yesu eky’okugenda mu nsi okuyamba abantu aba buli kika okufuuka abayigirizwa, omwekenneenya wa Baibuli ayitibwa John R. W. Stott yagamba: “Okuba nti tulemereddwa okugondera ekiragiro kino, bwe bunafu obukyasinzeeyo mu makanisa leero.” Yayongera n’agamba: “Bwe tuba tubuulira tetutuukirira bantu kinnoomu. Oluusi tufaananako abantu abayima ku lukalu ne bawa abantu abafiira mu mazzi obulagirizi. Tetuyingira mu mazzi kubayamba. Tutya okutoba.”
6. (a) Bwe tuba tuyamba omuyizi wa Baibuli, tusobola tutya okukoppa ekyokulabirako kya Firipo? (b) Tusobola tutya okulaga okufaayo ng’omuyizi wa Baibuli atandise okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira?
6 Bwe kiba nti omuntu gwe tuyigiriza Baibuli yali mu ddiini abagoberezi baayo nga “batya okutoba,” kiyinza okumubeerera ekizibu okuvvuunuka okutya amazzi okusobola okugondera ekiragiro kya Kristo eky’okufuula abantu abayigirizwa. Ajja kwetaaga obuyambi. N’olwekyo, twetaaga okuba abagumiikiriza nga tumuwa obulagirizi obunaamusobozesa okutegeerera ddala by’ayiga n’okubissa mu nkola era nga Firipo bwe yayamba Omwesiyopiya okutegeera bye yali ayiga ne kimuviirako okubatizibwa. (Yokaana 16:13; Ebikolwa 8:35-38) Ate era, olw’okuba twagala okuyigiriza abayizi ba Baibuli okugondera ekiragiro ky’okufuula abalala abayigirizwa, tukubirizibwa okukola nabo nga tubawa obulagirizi bwe baba nga baakatandika okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka.—Omubuulizi 4:9, 10; Lukka 6:40.
“Okukwata Byonna”
7. Okuyigiriza abalala “okukwata byonna” kuzingiramu kubayigiriza mateeka ki?
7 Mu kubuulira kwaffe, tetukoma ku kuyigiriza bayigirizwa bappya okufuula abalala abayigirizwa. Yesu yatulagira okuyigiriza abalala “okukwata byonna” bye yalagira. Awatali kubuusabuusa mu ebyo muzingiramu amateeka agasingayo obukulu, kwe kugamba, okwagala Katonda ne muliraanwa. (Matayo 22:37-39) Omuyigirizwa omuppya ayinza atya okuyigirizibwa okukwata amateeka ago?
8. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri omuyigirizwa omuppya gy’ayinza okuyigirizibwamu etteeka ery’okwoleka okwagala.
8 Nate lowooza ku kyokulabirako ky’omuyizi ayiga okuvuga emmotoka. Bw’aba avuga emmotoka ng’ali wamu n’amuyigiriza, omuyizi oyo awuliriza bulungi amuyigiriza ky’amugamba, ate era ne yeetegereza n’abavuzi abalala kye bakola. Ng’ekyokulabirako, oyo amuyigiriza ayinza okumulaga omuvuzi awa emmotoka endala ekyanya okuyitawo; oba omuvuzi akendeeza ku kitangaala ky’amataala okusobozesa abavuzi abalala okulaba obulungi; oba omuvuzi ayamba omulala emmotoka gw’eyonooneseeko. Ebyokulabirako ng’ebyo biyigiriza omuyizi ebintu ebikulu by’asobola okussa mu nkola ng’avuga. Mu ngeri y’emu, omuyigirizwa omuppya ali mu luguudo lw’obulamu, tayigira ku oyo amuyigiriza yekka, naye era ayigira ne ku byokulabirako ebirungi eby’abalala mu kibiina.—Matayo 7:13, 14.
9. Omuyigirizwa omuppya ayiga atya etteeka ly’okwagala?
9 Ng’ekyokulabirako, omuyizi wa Baibuli ayinza okulaba omuzadde ali obwannamunigina afuba okujja mu Kizimbe ky’Obwakabaka n’abaana be abato. Ayinza okulaba omuntu omwennyamivu atayosa kujja mu nkuŋŋaana wadde ng’ali mu mbeera eyo, nnamwandu akaddiye aleetako bannamukadde abalala mu mmotoka mu buli lukuŋŋaana lw’ekibiina, oba omutiini eyeenyigira mu kuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka. Omuyizi oyo ayinza okulaba omukadde mu kibiina afuba okuwoma omutwe mu buweereza bw’ennimiro wadde ng’alina obuvunaanyizibwa bungi mu kibiina. Ayinza okusisinkana Omujulirwa atasobola kuva waka olw’obulwadde obw’amaanyi kyokka ng’azzaamu abamukyalira amaanyi mu by’omwoyo. Omuyizi ayinza okulaba omugogo gw’abafumbo abakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okulabirira bazadde baabwe abakaddiye. Bw’alaba ebyokulabirako by’Abakristaayo ng’abo ab’ekisa, omuyigirizwa omuppya ayiga etteeka lya Kristo ery’okwagala Katonda ne muliraanwa. (Engero 24:32; Yokaana 13:35; Abaggalatiya 6:10; 1 Timoseewo 5:4, 8; 1 Peetero 5:2, 3) Bwe kityo, buli omu mu kibiina asobola—era asaanidde—okuba omuyigiriza, era ayamba abalala okussa mu nkola bye bayiga.—Matayo 5:16.
“Okutuusa Emirembe Gino lwe Giriggwaawo”
10. (a) Tuli ba kufuula abalala abayigirizwa kutuusa ddi? (b) Kyakulabirako ki Yesu kye yateekawo ku bikwata ku kutuukiriza obuvunaanyizibwa?
10 Tuli ba kufuula abalala abayigirizwa kutuusa ddi? Okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo. (Matayo 28:20) Ddala tunaasobola okutuukiriza omulimu guno Yesu gwe yatuwa? Ng’ekibiina ekiri mu nsi yonna, tuli bamalirivu okugutuukiriza. Mu myaka egiyise, tukozesezza ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuzuula abo ‘abagwanira okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Ebikolwa 13:48) Mu kiseera kino, Abajulirwa ba Yakuwa bamala essaawa ezisukka mu bukadde busatu buli lunaku nga babuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa mu nsi yonna. Tuwaayo ebiseera okubuulira olw’okuba tugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Yagamba: ‘Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.’ (Yokaana 4:34) Naffe ekyo kye twagala okukola. (Yokaana 20:21) Tetwagala kukoma ku kutandika butandisi omulimu ogwatukwasibwa; naye era twagala n’okugumaliriza.—Matayo 24:13; Yokaana 17:4.
11. Kiki ekituuse ku bamu ku baganda baffe ne bannyinaffe Abakristaayo, era kiki kye tusaanidde okwebuuza?
11 Kyokka, tunakuwala bwe tulaba bakkiriza bannaffe nga banafuye mu by’omwoyo era nga baddiridde oba nga balekedde awo okutuukiriza ekiragiro kya Kristo eky’okufuula abalala abayigirizwa. Waliwo engeri yonna gye tuyinza okubayambamu basobole okuddamu okujja mu nkuŋŋaana z’ekibiina era n’okuddamu okwenyigira mu kufuula abalala abayigirizwa? (Abaruumi 15:1; Abebbulaniya 12:12) Engeri Yesu gye yayambamu abatume be nga baweddemu amaanyi okumala akaseera etulaga kye tuyinza okukola leero.
Laga Okufaayo
12. (a) Nga Yesu anaatera okufa, kiki abatume kye baakola? (b) Yesu yafaayo atya ku batume be wadde nga baali boolese obunafu obw’amaanyi?
12 Ku nkomerero y’obuweereza bwa Yesu ku nsi era ng’ebulayo akaseera katono afe, abatume be ‘baamwabulira ne badduka.’ Nga Yesu bwe yali alagudde, ‘baasaasaana buli muntu n’adda ewuwe.’ (Makko 14:50; Yokaana 16:32) Yesu yayisa atya banne bano abaali banafuye mu by’omwoyo? Nga wayiseewo ekiseera kitono ng’amaze okuzuukira, Yesu yagamba abamu ku bagoberezi be: “Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya gye balindabira.” (Matayo 28:10) Wadde ng’abatume baali boolese obunafu obw’amaanyi, Yesu yeeyongera okubayita ‘baganda be.’ (Matayo 12:49) Teyalekayo kubassaamu bwesige. Mukukola bw’atyo, Yesu yalaga nti musaasizi era asonyiwa okufaananako Yakuwa. (2 Bassekabaka 13:23) Tusobola tutya okukoppa Yesu?
13. Tusaanidde kutwala tutya abo abanafuye mu by’omwoyo?
13 Tusaanidde okufaayo ennyo ku abo abaddiridde oba abalekedde awo okwenyigira mu buweereza. Tukyajjukira omulimu gwe baakola era n’okwagala kwe baalaga mu biseera eby’emabega—abamu nga baamala emyaka mingi nga baweereza. (Abaebbulaniya 6:10) Mazima ddala tubasaalirwa nnyo. (Lukka 15:4-7; 1 Abasessaloniika 2:17) Kati olwo, tuyinza tutya okulaga nti tubafaako?
14. Nga tukoppa Yesu, tusobola tutya okuyamba omuntu anafuye?
14 Yesu yagamba abatume abaali baweddemu amaanyi bagende e Ggaliraaya bamusisinkanire eyo. Mu ngeri endala, Yesu yabayita babeerewo mu lukuŋŋaana olw’enjawulo. (Matayo 28:10) Mu ngeri y’emu leero, tukubiriza abo abanafuye mu by’omwoyo okujja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, era kiyinza okutwetaagisa okubakubiriza emirundi egisukka mu gumu. Okuyitibwa kw’abatume kwavaamu ebirungi, kubanga ‘abayigirizwa kkumi n’omu baagenda e Ggaliraaya Yesu gye yabayita’ okumusisinkana. (Matayo 28:16) Nga tufuna essanyu lya nsusso abanafuye bwe bakola ekintu kye kimu nga tubayise!—Lukka 15:6.
15. Tusobola tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu mu kwaniriza abanafuye mu by’omwoyo ababa bazze mu nkuŋŋaana?
15 Tunaakola tutya ng’Omukristaayo anafuye azze mu Kizimbe ky’Obwakabaka? Yesu yakola ki bwe yalaba nga abatume be abaali banafuye mu kukkiriza okumala akaseera, bazze mu kifo we yabagamba okumusisinkana? ‘Yesu yajja n’ayogera nabo.’ (Matayo 28:18) Teyayima eri n’abatunuulira butunuulizi naye yabatuukirira n’abaako ky’akolawo. Teebereza engeri abatume gye baawuliramu nga Yesu asoose okubaako ky’akolawo! Naffe ka tusooke okubaako kye tukolawo nga twaniriza n’ebbugumu abanafuye mu by’omwoyo abafuba okukomawo mu kibiina Ekikristaayo.
16. (a) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abagoberezi be? (b) Tusobola tutya okukoppa engeri Yesu gye yatunuuliramu abanafu? (Laba obugambo obuli wansi)
16 Kiki ekirala Yesu kye yakola? Okusooka, yabategeeza: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Ekyokubiri, yabawa omulimu ogw’okukola: “Mugende mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Eky’okusatu, yabasuubiza: “Ndi wamu nnamwe ennaku zonna.” Naye weetegerezza Yesu ky’ataakola? Teyanenya bayigirizwa be olw’obunafu bwabwe oba olw’okubuusabuusa kwe baalina. (Matayo 28:17) Engeri gye yabakwatamu yavaamu ebirungi? Yee. Mu bbanga ttono, abatume baddamu ‘okuyigiriza n’okubuuliranga amawulire amalungi.’ (Ebikolwa 5:42) Bwe tukoppa ekyokulabirako kya Yesu ekiraga engeri y’okutunuuliramu n’okuyisaamu abanafuye mu by’omwoyo, naffe tusobola okulaba ebirungi ebivaamu mu kibiina kyaffe.b—Ebikolwa 20:35.
“Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”
17, 18. Mu ngeri ki ebigambo bya Yesu nti, “ndi wamu nammwe ennaku zonna,” gye bizzaamu amaanyi?
17 Ebigambo bya Yesu ebyasembayo ebikwata ku mulimu gwe yawa ebigamba nti, “ndi wamu nammwe ennaku zonna,” bizzaamu amaanyi abo bonna abafuba okutuukiriza ekiragiro kya Kristo eky’okufuula abantu abayigirizwa. Ka kibe nti abalabe baffe baziyiza batya omulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka, era ka bube bulimba ki obuyinza okutwogerwako, tetulina nsonga yonna kutya. Lwaki? Olw’okuba Yesu Omukulembeze waffe eyaweebwa obuyinza mu ggulu ne ku nsi ali wamu naffe!
18 Ate era, ekisuubizo kya Yesu nti “ndi wamu nammwe ennaku zonna,” kibudaabuda. Nga tufuba okutuukiriza ekiragiro kya Kristo eky’okufuula abalala abayigirizwa tetufuna ssanyu lyokka naye era oluusi twolekagana n’ebizibu. (2 Ebyomumirembe 6:29) Abamu mu ffe twolekagana n’ennaku nga tukungubagira abaagalwa baffe abatufaako. (Olubereberye 23:2; Yokaana 11:33-36) Abalala batawaanyizibwa obukadde, ekiseera obulamu we butabeerera bulungi era nga n’amaanyi gakendedde. (Omubuulizi 12:1-6) Ate abalala ebiseera ebimu baba bennyamivu nnyo. (1 Abasessaloniika 5:14) Bangi mu ffe twolekagana n’embeera embi ey’eby’enfuna. Wadde nga tufuna ebizibu ng’ebyo, tutuuka ku buwanguzi mu buweereza bwaffe kubanga Yesu ali naffe “ennaku zonna,” nga mw’otwalidde n’ennaku embi mu bulamu bwaffe.—Matayo 11:28-30.
19. (a) Omulimu Yesu gwe yatuwa ogw’okufuula abalala abayigirizwa guzingiramu ki? (b) Kiki ekitusobozesa okutuukiriza omulimu Kristo gwe yatuwa?
19 Nga bwe tulabye mu kitundu kino era n’ekyayita, omulimu Yesu gwe yatuwa ogw’okufuula abalala abayigirizwa guzingiramu ebintu ebitali bimu. Yesu yatubuulira ensonga lwaki tusaanidde okutuukiriza ekiragiro kino era ne wa we tukituukiririza. Ate era yatubuulira biki bye tusaanidde okuyigiriza era n’okutuusa ddi. Kyo kituufu nti si kyangu okutuukiriza omulimu guno. Kyokka, nga Kristo atuwagira era ng’ali wamu naffe, tusobola okugutuukiriza! Ekyo tokikkiriza?
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitabo ekimu kiraga nti Yesu yagamba, “nga mubabatiza . . . nga mubayigiriza,” so si, ‘nga mubabatiza ne okubayigiriza.’ N’olwekyo, ekiragiro ky’okubatiza n’okuyigiriza ‘tekitegeeza nti ebintu ebyo biteekeddwa okuddiriŋŋana.’ Mu butuufu, ‘okuyigiriza tekukoma, kusooka ne kubaawo ng’omuntu tannabatizibwa, ate oluvannyuma ne kugenda mu maaso okumala ekiseera.’
b Ebisingawo ebikwata ku ngeri y’okuyisaamu abanafu mu by’omwoyo bisangibwa mu Omunaala gw’Omukuumi aka Febwali 2003, empapula 24-27.
Wandizzeemu Otya?
• Tuyigiriza tutya abalala okukwata Yesu bye yalagira?
• Biki omuyigirizwa omuppya by’ayinza okuyigira ku balala mu kibiina?
• Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abo abanafuye mu by’omwoyo?
• Ekisuubizo kya Yesu nti, “ndi wamu nammwe ennaku zonna,” kitubudaabuda kitya?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Twetaaga okubeera abayigiriza era abayamba abalala okussa mu nkola bye bayiga
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
Omuyigirizwa omuppya ayigira ku byokulabirako ebiteekebwawo abalala