LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 12/1/07 lup. 20-24
  • Yiga Engeri Ezinaakuyamba Okufuula Abalala Abayigirizwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yiga Engeri Ezinaakuyamba Okufuula Abalala Abayigirizwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Laga nti Oyagala Nnyo Katonda
  • Laga nti Ofaayo ku Balala
  • Beera n’Omwoyo ogw’Okwefiiriza
  • Beera Mugumiikiriza Naye nga Toyonoona Biseera
  • Yiga Okusomesa Obulungi
  • Beera Munyiikivu mu Kufuula Abalala Abayigirizwa
  • ‘Mubayigirize Okukwata Byonna Bye Nnabalagira’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Koppa Yesu ng’Oyigiriza n’Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Mugende Mufuule Abantu . . . Abayigirizwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Osobola Okuyambako mu Mulimu gw’Okufuula Abantu Abayigirizwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 12/1/07 lup. 20-24

Yiga Engeri Ezinaakuyamba Okufuula Abalala Abayigirizwa

“Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.”​—MATAYO 28:19.

1. Busobozi ki era n’endowooza abamu ku baweereza ba Katonda ab’edda bye baali beetaaga?

ABAWEEREZA ba Yakuwa oluusi kibeetaagisa okuba n’obusobozi era n’endowooza ebibayamba okutuukiriza Katonda by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Katonda bwe yalagira Ibulayimu ne Saala okuva mu kibuga Uli, baalina okufuna obumanyirivu n’obusobozi ebyandibayambye okubeeranga mu weema. (Abaebbulaniya 11:8, 9, 15) Okusobola okukulembera Abaisiraeri okubatuusa mu Nsi Ensuubize, Yoswa yalina okuba omuvumu, okwesiga ennyo Yakuwa, n’okumanya Amateeka ge. (Yoswa 1:7-9) Era omwoyo gwa Katonda gulina okuba nga gwayamba Bezaaleeri ne Okoliyaabu okwongera ku bumanyirivu bwe baalina ne basobola okulabirira obulungi omulimu gwonna ogw’okuzimba weema ey’okusisinkanirangamu.​—Okuba 31:1-11.

2. Bibuuzo ki ebikwata ku kufuula abalala abayigirizwa bye tugenda okwekenneenya?

2 Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Yesu Kristo yalagira abagoberezi be nti: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Abantu baali tebaweebwangako nkizo ya kukola mulimu gufaananako nga guno. Ngeri ki ezeetaagisa mu kufuula abalala abayigirizwa? Tuyinza kuzikulaakulanya tutya?

Laga nti Oyagala Nnyo Katonda

3. Ekiragiro ky’okufuula abalala abayigirizwa kituwa kakisa ki?

3 Okusobola okutuukirira abantu n’okubayamba okutandika okusinza Katonda ow’amazima kyetaagisa okuba nga twagala nnyo Yakuwa. Okulaga nti ddala baagala Katonda, Abaisiraeri baalina okukwata ebiragiro bye n’omutima gwabwe gwonna, okuwaayo ssaddaaka ezimusanyusa, n’okumutendereza mu nnyimba. (Ekyamateeka 10:12, 13; 30:19, 20; Zabbuli 21:13; 96:1, 2; 138:5) Mu kuyamba abalala okufuuka abayigirizwa, naffe tulina okukwata amateeka ga Katonda. Okugatta ku ekyo, tulina okwoleka nti twagala Yakuwa nga tubuulira abalala ebimukwatako n’ebigendererwa bye. Tulina okwogera mu ngeri eraga nti twekakasa, era nti ddala tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda.​—1 Abasessaloniika 1:5; 1 Peetero 3:15.

4. Lwaki Yesu yali ayagala nnyo okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa?

4 Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Yakuwa, kyamusanyusanga okwogera ku bigendererwa Bye, Obwakabaka, n’okusinza okw’amazima. (Lukka 8:1; Yokaana 4:23, 24, 31) Mu butuufu, Yesu yagamba: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” (Yokaana 4:34) Ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bino bikwata ku Yesu: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda. Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; laba, ssiibunizenga mimwa gyange, ai Mukama, gwe omanyi.”​—Zabbuli 40:8, 9; Abaebbulaniya 10:7-10.

5, 6. Engeri enkulu eyeetaagisa mu kufuula abalala abayigirizwa y’eruwa?

5 Okwagala kwe balina eri Katonda oluusi kuleetera abo abaakayiga amazima g’omu Baibuli okwogera mu bwesimbu ku Yakuwa n’Obwakabaka bwe mu ngeri esikiriza abalala okwekenneenya Ebyawandiikibwa. (Yokaana 1:41) Okwagala Yakuwa ye ngeri enkulu etuleetera okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa. N’olwekyo, ka tukulaakulanye okwagala okwo nga tusoma bulijjo Ekigambo kye n’okukifumiitirizaako.​—1 Timoseewo 4:6, 15; Okubikkulirwa 2:4.

6 Kituufu nti okwagala Yakuwa kwayamba Yesu Kristo okuba omuyigiriza omunyiikivu. Naye ekyo si kye kyokka ekyamufuula omubuulizi w’Obwakabaka mulungi ennyo. Kati olwo, kiki ekirala ekyamuyamba mu kufuula abalala abayigirizwa?

Laga nti Ofaayo ku Balala

7, 8. Yesu yayisa atya abantu?

7 Yesu yalaga nti afaayo nnyo ku balala. Ne bwe yali ng’akyali mu ggulu “ng’omukoza,” yali ayagala nnyo ebikwatagana n’abantu. (Engero 8:30, 31) Bwe yali ku nsi ng’omuntu, Yesu yakwatirwa abantu ekisa, era ng’abo abajja gy’ali abazzaamu amaanyi. (Matayo 11:28-30) Yesu yakoppa Yakuwa mu kwoleka okwagala n’obusaasizi, era kino kyasikiriza abantu okusinza Katonda omu yekka ow’amazima. Abantu aba buli ngeri baawuliriza Yesu olw’okuba yali abalumirirwa era ng’afaayo ku mbeera yaabwe.​—Lukka 7:36-50; 18:15-17; 19:1-10.

8 Omusajja omu bwe yabuuza kye yalina okukola okusikira obulamu obutaggwawo, ‘Yesu yamutunuulira n’amwagala.’ (Makko 10:17-21) Tusoma ku bantu abamu Yesu be yayigiriza mu Bessaniya nti: “Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo.” (Yokaana 11:1, 5) Yesu yafaayo nnyo ku bantu n’atuuka n’okwerekereza okuwummulamu asobole okubayigiriza. (Makko 6:30-34) Okufaayo ennyo ku balala mu ngeri eyo kyayamba Yesu okuleeta abantu mu kusinza okw’amazima okusinga omuntu omulala yenna.

9. Ngeri ki ennungi Pawulo gye yayoleka mu kufuula abalala abayigirizwa?

9 Omutume Pawulo naye yafangayo nnyo ku bantu be yabuuliranga. Ng’ekyokulabirako, yagamba abo abaali bafuuse Abakristaayo mu Ssessaloniika nti: “Bwe twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n’emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.” Olw’okuba Pawulo yafaayo nnyo ku bantu b’omu Ssessaloniika, abamu ‘baakyuka ne baleka ebifaananyi, ne baweereza Katonda omulamu.’ (1 Abasessaloniika 1:9; 2:8) Bwe tulaga okufaayo ku balala nga Yesu ne Pawulo bwe baakola, naffe tujja kufuna essanyu okulaba amazima nga gatuuka mu mitima gy’abo ‘abagwanira okufuna obulamu obutaggwawo.’​—Ebikolwa 13:48, NW.

Beera n’Omwoyo ogw’Okwefiiriza

10, 11. Lwaki okufuula abalala abayigirizwa kyetaagisa okwefiiriza?

10 Abo abalina obumanyirivu mu kufuula abalala abayigirizwa balina omwoyo ogw’okwefiiriza. Okwefunira eby’obugagga si kye batwala ng’ekisinga obukulu. Mu butuufu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” Kino abayigirizwa baakyewuunya, naye Yesu yagattako nti: “Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Makko 10:23-25) Yesu yakubiriza abagoberezi be okuba n’obulamu obwangu basobole okwemalira mu kuyamba abalala okufuuka abayigirizwa. (Matayo 6:22-24, 33) Omwoyo gw’okwefiiriza gutuyamba gutya mu kufuula abalala abayigirizwa?

11 Okuyigiriza ebintu byonna Yesu bye yalagira kyetaagisa okufuba ennyo. Okutwalira awamu, omuntu okusobola okuyamba omulala okufuuka omuyigirizwa alina okuyiga naye Baibuli buli wiiki. Okusobola okuzuula abo abaagala okuyiga, abalangirizi b’Obwakabaka abamu basazeewo okuleka emirimu egy’ekiseera kyonna ne bafuna egitali gya kiseera kyonna. Abakristaayo bangi bayize ennimi endala okusobola okuyamba abo abazoogera abali mu bitundu byabwe. Abalala basengukidde mu bitundu ebirala oba mu nsi endala basobole okwenyigira mu bujjuvu mu makungula. (Matayo 9:37, 38) Bino byonna byetaagisa okwefiiriza. Naye, okusobola okuyamba obulungi abalala okufuuka abayigirizwa waliwo n’ebirala ebyetaagisa.

Beera Mugumiikiriza Naye nga Toyonoona Biseera

12, 13. Lwaki obugumiikiriza bwetaagisa nnyo mu kufuula abalala abayigirizwa?

12 Obugumiikiriza y’engeri endala etuyamba mu kufuula abalala abayigirizwa. Wadde ng’obubaka bwaffe obw’Ekikristaayo bwetaagisa omuntu okukukola enkyukakyuka mu bwangu, okufuula abalala abayigirizwa kitera okwetaagisa ebiseera n’obugumiikiriza. (1 Abakkolinso 7:29) Yesu yali mugumiikiriza eri muganda we Yakobo. Wadde nga kirabika nti Yakobo yali amanyi bulungi omulimu gwa Yesu ogw’okubuulira, mu kusooka waliwo ekyali kimulemesa okufuuka omuyigirizwa. (Yokaana 7:5) Kyokka kirabika nti Yakobo yafuuka omuyigirizwa mu kiseera ekyo ekitono wakati w’okufa kwa Yesu ne Pentekoote 33 C.E. kubanga Ebyawandiikibwa biraga nti yali wamu ne nnyina, baganda be, n’abatume nga basaba. (Ebikolwa 1:13, 14) Yakobo yakulaakulana mu by’omwoyo era oluvannyuma n’aweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina Ekikristaayo.​—Ebikolwa 15:13; 1 Abakkolinso 15:7.

13 Omukristaayo afaananako omulimi asimbye ebintu ebirwawo okukula mu ngeri nti kitwalira omuntu ebbanga okutegeera Ekigambo kya Katonda, okwagala Yakuwa, n’okufuna endowooza ng’eya Kristo. Kino kyetaagisa obugumiikiriza. Yakobo yawandiika nti: “Ab’oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja [“okubeerawo,” NW] kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby’ensi eby’omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo. Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe: kubanga okujja [“okubeerawo,” NW] kwa Mukama waffe kuli kumpi.” (Yakobo 5:7, 8) Yakobo yali akubiriza bakkiriza banne ‘okugumiikiriza okutuusa ku kubeerawo kwa Mukama waffe.’ Bwe waabangawo ekintu abayigirizwa kye batategedde, Yesu yabannyonnyolanga n’obugumiikiriza oba ng’abawa ekyokulabirako. (Matayo 13:10-23; Lukka 19:11; 21:7; Ebikolwa 1:6-8) Engeri kati gye tuli mu kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe, naffe tulina okuba abagumiikiriza nga tuyamba abalala okufuuka abayigirizwa. Abo abafuuka abagoberezi ba Yesu mu kiseera kino beetaaga okuyigirizibwa n’obugumiikiriza.​—Yokaana 14:9.

14. Wadde nga tulina okuba abagumiikiriza, tuyinza tutya okukozesa ebiseera byaffe obulungi nga tuyiga n’abantu?

14 Ne bwe tuba abagumiikiriza, abantu be tusoma nabo Baibuli abasinga tebabala bibala. (Matayo 13:18-23) N’olwekyo, oluvannyuma lw’okukola buli ekisoboka okubayamba, kiba kya magezi okunoonyayo abalala abatwala amazima ga Baibuli ng’ekikulu mu kifo ky’okumalira ebiseera ku abo abatafaayo. (Omubuulizi 3:1, 6) Kya lwatu nti n’abo abaagala amazima bayinza okwetaaga okuyamba mu ngeri ezitali zimu okusobola okukyusa endowooza zaabwe n’ebiruubirirwa byabwe mu bulamu. Olw’ensonga eyo, tulina okuba abagumiikiriza nga Yesu bwe yali eri abayigirizwa be abaalwawo okukyusa endowooza yaabwe.​—Makko 9:33-37; 10:35-45.

Yiga Okusomesa Obulungi

15, 16. Lwaki okuyigiriza abantu mu ngeri ennyangu n’okuteekateeka obulungi bikulu nga tufuula abalala abayigirizwa?

15 Okwagala Katonda, okufaayo ku bantu, okuba n’omwoyo gw’okwefiiriza, n’obugumiikiriza bikulu mu kuyamba obulungi abalala okufuuka abayigirizwa. Kyokka okuyiga okusomesa obulungi nakyo kyetaagisa kubanga kitusobozesa okunnyonnyola ebintu mu ngeri ennyangu okutegeera. Ng’ekyokulabirako, bingi Omuyigiriza Omukulu, Yesu Kristo, bye yayigiriza byatuuka abantu ku mitima kubanga byali byangu okutegeera. Oboolyawo ojjukira ebigambo bya Yesu nga bino: “Mweterekeranga ebintu mu ggulu.” “Temuwanga mbwa ekintu ekitukuvu.” “Amagezi gaweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa byago.” “Musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.” (Matayo 6:20; 7:6; 11:19; 22:21) Kya lwatu si byonna Yesu bye yayogera nti byali bimpimpi. Yayigirizanga mu ngeri etegeerekeka era ng’annyonnyola buli lwe kyabanga kyetaagisa. Oyinza otya okukoppa engeri Yesu gye yayigirizangamu?

16 Okuteekateeka obulungi kye kiyamba omuntu okuyigiriza mu ngeri ennyangu era etegeerekeka. Omubuulizi bw’aba teyeeteeseteese atera okwogera ennyo. Ayinza n’okubuutikira ensonga enkulu ng’ayogera byonna by’agimanyiiko. Naye omubuulizi bw’aba yeeteeseteese bulungi alowooza ku muntu gw’asomesa, afumiitiriza ku bintu by’ayigiriza, era n’alambika bulungi ensonga eziba zeetaagisa. (Engero 15:28; 1 Abakkolinso 2:1, 2) Amanya ebyo omuyizi by’ategeera obulungi n’ebyo ebyetaaga okukkaatiriza mu kusoma. Omubuulizi ayinza okuba ng’amaanyi bingi ku nsonga eyogerwako, naye ensonga eyo okutegeerekeka obulungi alina kwogera ku ebyo byokka ebyetaagisa.

17. Tuyinza tutya okuyamba abantu okufumiitiriza ku Byawandiikibwa?

17 Yesu era yayambanga abantu okufumiitiriza ku nsonga mu kifo ky’okubabuulira obubuulizi buli kimu. Ng’ekyokulabirako, lumu yabuuza: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b’ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga?” (Matayo 17:25) Bwe tuba tunyumirwa nnyo okunnyonnyola Baibuli kiyinza okutwetaagisa okwekomako tusobole okuwa omuyizi akakisa naye okwogera ky’alowooza oba okubaako ky’annyonnyola nga tuyiga naye Baibuli. Si kirungi kubuuza bantu bibuuzo bya kumukumu. Wabula, era nga tusobola okukozesa ebyokulabirako n’ebibuuzo ebirungi, okubayamba okutegeera Ebyawandiikibwa nga tweyambisa ebitabo byaffe.

18. “Okuyigiriza” kuzingiramu ki?

18 Ebyawandiikibwa byogera ku ‘kuyigiriza’ obulungi. (2 Timoseewo 4:2, NW) Okuyigiriza ng’okwo kusingawo ku kuyamba omuntu okujjukira obujjukizi ekintu ekituufu. Tusaanidde okuyamba omuyizi wa Baibuli okutegeera enjawulo eriwo wakati w’ekituufu n’ekikyamu, ekirungi n’ekibi, eky’amagezi n’eky’obusirusiru. Bwe tukola kino era ne tufuba okuyamba omuntu okufuna omukwano ne Yakuwa, ayinza okulaba ensonga lwaki asaanidde okumugondera.

Beera Munyiikivu mu Kufuula Abalala Abayigirizwa

19. Abakristaayo bonna beenyigira batya mu kuyamba abalala okufuuka abayigirizwa?

19 Ekibiina Ekikristaayo kirina omulimu ogw’okufuula abalala abayigirizwa. Omuntu bw’afuuka omuyigirizwa, Omujulirwa wa Yakuwa aba amuyambye okuyiga Baibuli si y’asanyuka yekka. Bwe wabaawo ekibinja ky’abantu ekinoonya omwana abuze, oyinza okukisanga ng’omuntu omu yekka mu kibinja ekyo y’amuzuula. Naye omwana oyo bw’azzibwa eri bazadde be, buli eyennyiggidde mu kumunoonya asanyuka. (Lukka 15:6, 7) Mu ngeri y’emu, omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa tugukolera wamu ffenna. Abakristaayo bonna beenyigira mu kunoonya abo abayinza okufuuka abayigirizwa ba Yesu. Omuntu bw’atandika okujja mu nkuŋŋaana, buli Mukristaayo alina engeri gy’amuyamba okweyongera okusiima okusinza okw’amazima. (1 Abakkolinso 14:24, 25) N’olwekyo, Abakristaayo bonna basanyuka okulaba enkumi n’enkumi z’abantu abafuuka abayigirizwa buli mwaka.

20. Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba oyagala okuyigiriza abalala Baibuli?

20 Abakristaayo abeesigwa bangi baba basanyufu okubaako gwe bayigiriza ebikwata ku Yakuwa n’okusinza okw’amazima. Kyokka, kino kiyinza obutasoboka wadde nga bakoze buli ekisoboka. Bw’oba omu ku abo, weeyongere okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, faayo ku bantu, ba n’omwoyo gw’okwefiiriza, ba mugumiikiriza, era longoosa engeri gy’oyigirizaamu. Okusinga byonna, eky’okufuna gw’oyigiriza amazima kiteeke mu kusaba kwo. (Omubuulizi 11:1) Weenyumirize mu kukimanya nti buli ky’okola ng’oweereza Yakuwa kirina kye kiyamba mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa oguweesa Katonda ekitiibwa.

Osobola Okunnyonnyola?

• Okufuula abalala abayigirizwa kiraga kitya nti twagala Katonda?

• Ngeri ki ezeetaagisa mu kufuula abalala abayigirizwa?

• “Okuyigiriza” kuzingiramu ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Abakristaayo balaga nti baagala nnyo Katonda nga bafuula abalala abayigirizwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Lwaki ababuulizi bateekwa okufaayo ku balala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Ezimu ku ngeri ezeetaagisa mu kufuula abalala abayigirizwa ze ziruwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Abakristaayo bonna basanyuka okulaba abantu nga bafuuse abayigirizwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share