LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 7/15 lup. 15-19
  • Koppa Yesu ng’Oyigiriza n’Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Koppa Yesu ng’Oyigiriza n’Okwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwagala Ye Ngeri Esinga Obukulu
  • Tulina Okuba nga Twagala Yakuwa
  • Tulina Okuba nga Twagala Bye Tuyigiriza
  • Tulina Okuba nga Twagala Abantu
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Mutambulirenga mu Kwagala”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/15 lup. 15-19

Koppa Yesu ng’Oyigiriza n’Okwagala

“Tewali muntu eyali ayogedde ng’ono.”​—YOK. 7:46.

1. Abantu baakwatibwangako batya nga Yesu abayigiriza?

LOWOOZA ku ssanyu abantu lye baawulira nga Yesu abayigiriza! Baibuli eraga nti baakwatibwangako nnyo nga bamusisinkanye. Ng’ekyokulabirako omuwandiisi w’Enjiri Lukka agamba nti abantu b’omu kibuga Yesu gye yakulira ‘beewuunya ebigambo ebirungi bye yayogera.’ Matayo agamba nti abantu abaaliwo nga Yesu ayigiriza mu Kubuulira okw’Oku Lusozi ‘baawuniikirira olw’engeri gye yayigirizaamu.’ Ate Yokaana agamba nti abaserikale abaali batumiddwa okukwata Yesu baddayo ngalo nsa nga bagamba nti: “Tewali muntu eyali ayogedde ng’ono.”​—Luk. 4:22; Mat. 7:28; Yok. 7:46.

2. Yesu yayigirizanga mu ngeri ki?

2 Abasirikale abo bye baayogera tebyali bya bulimba. Yesu ye Muyigiriza asingirayo ddala eyali abadde ku nsi. Yayigirizanga ebintu ebyangu okutegeera era ebitaliiko kubuusabuusa. Yakozesanga ebyokulabirako n’ebibuuzo ebituukirawo. Ebintu bye yayigiriza yabituukanyanga n’abantu b’ayogera nabo, ka babe nga baali ba wansi oba ba waggulu. Amazima ge yayigirizanga gaali mangu okutegeera era gaali ga muwendo nnyo eri abantu. Naye ebintu bino si bye byokka ebyafuula Yesu Omuyigiriza omukulu.

Okwagala Ye Ngeri Esinga Obukulu

3. Ng’omuyigiriza, lwaki Yesu yali wa njawulo ku bakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye?

3 Abawandiisi n’Abafalisaayo abamu bateekwa okuba nga baali bagezi era nga bye bamanyi basobola okubiyigiriza abalala. Kiki ekyafuula Yesu ow’enjawulo ennyo ku bo? Abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera ekyo tebaalina kwagala eri abantu aba bulijjo, era baabayisangamu amaaso nga babayita ‘abaakolimirwa.’ (Yok. 7:49) Kyokka ye Yesu yasaasiranga abantu olw’okuba baali “babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Yali wa kisa era yalumirirwanga abalala. Ate era abakulembeze b’eddiini tebaalina kwagala eri Katonda. (Yok. 5:42) Kyokka ye Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe era kyamusanyusanga okukola by’ayagala. Abakulembeze b’eddiini baakyusakyusanga ebigambo bya Katonda basobole okubituukanya n’ebigendererwa byabwe, ng’ate ye Yesu yali ayagala nnyo “ekigambo kya Katonda”​—yakiyigirizanga, yakinnyonnyolanga, yakirwaniriranga era yakitambulirangako mu bulamu bwe. (Luk. 11:28) Yee, okwagala kweyolekera mu bulamu bwa Kristo bwonna, era yakwoleka mu ngeri gye yayigirizangamu abantu ne gye yabakwatangamu.

4, 5. (a) Lwaki kikulu nnyo okuyigiriza n’okwagala? (b) Lwaki okumanya n’obumanyirivu nabyo bintu bikulu mu kuyigiriza?

4 Ate kiri kitya ku ffe? Ng’abagoberezi ba Kristo, tusaanidde okumukoppa mu buweereza bwaffe ne mu bulamu bwaffe. (1 Peet. 2:21) N’olwekyo, tetulina kukoma ku kuyigiriza mazima agali mu Baibuli kyokka, wabula tulina n’okwoleka engeri za Yakuwa, naddala okwagala kwe. Ka tube nga tumanyi bingi oba bitono, nga tulina obusobozi bw’okusomesa bwa maanyi oba butono, okwoleka okwagala kijja kutuyamba nnyo mu kutuuka ku mitima gy’abo be tubuulira. Okusobola okutuukiriza obulungi omulimu gwaffe ogw’okufuula abalala abayigirizwa, tuteekwa okukoppa Yesu nga tuyigiriza n’okwagala.

5 Kya lwatu nti okusobola okuba abayigiriza abalungi, tulina okuba nga bye tuyigiriza tubitegeera era nga tusobola n’okubiyigiriza abalala. Yesu yayamba abayigirizwa be okutuuka ku bintu ebyo byombi, era naffe Yakuwa atuyamba okubituukako ng’ayitira mu kibiina kye. (Soma Isaaya 54:13; Lukka 12:42.) Naye era naffe tusaanidde okufuba okussaayo ennyo omwoyo nga tuyigiriza. Okumanya, obumanyirivu n’okwagala bwe bikolera awamu, ebivaamu biba birungi byereere. Kati olwo tuyinza tutya okulaga okwagala nga tuyigiriza? Kino Yesu n’abayigirizwa be baakikola batya? Ka tulabe.

Tulina Okuba nga Twagala Yakuwa

6. Tutera kwogera tutya ku muntu gwe twagala?

6 Bulijjo kituwa essanyu okwogera ku bintu bye twagala. Bwe tuba twogera ku kintu eky’omuwendo gye tuli, tukyogerako na bbugumu era kino abalala baba basobola bulungi okukiraba. Bwe kityo bwe kiba naddala nga twogera ku muntu gwe twagala ennyo. Tutera okukozesa buli kakisa okubuulira abalala ebimukwatako. Tetulonzalonza kumutendereza, kumuwa kitiibwa oba kumuwolereza, era ebyo byonna tubikola nga twagala n’abalala bamwagale era bamanye engeri ze ennungi.

7. Okwagala Yesu kwe yalina eri Katonda kwamuleetera kukola ki?

7 Nga tetunnayamba balala kwagala Yakuwa, ffe ffennyini tuteekwa okumumanya obulungi n’okumwagala. Ekyo kiri kityo olw’okuba okusinza okw’amazima kwesigamye ku kwagala Katonda. (Mat. 22:36-38) Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekituukiridde ku nsonga eno. Yayagala Yakuwa n’omutima gwe gwonna, n’amagezi ge gonna, n’obulamu bwe bwonna, n’amaanyi ge gonna. Olw’okuba Yesu yali amaze emyaka butabalika ng’ali ne Kitaawe ow’omu ggulu, yali amumanyi bulungi nnyo. Kiki ekyavaamu? Yesu yagamba nti: “Njagala Kitange.” (Yok. 14:31) Okwagala okwo kweyolekera mu buli kintu Yesu kye yayogera ne kye yakola. Kwamukubiriza okukolanga ebintu ebisanyusa Katonda. (Yok. 8:29) Kwamuleetera okwatuukiriza abakulembeze b’eddiini abaali beefuula abakiikirira Katonda. Okwagala era kwakubiriza Yesu okubuulira abantu ebikwata ku Yakuwa, basobole okumumanya n’okumwagala.

8. Okwagala abayigirizwa ba Yesu kwe baalina eri Katonda kwabakubiriza kukola ki?

8 Okufaananako Yesu, abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka baali baagala nnyo Yakuwa, era ekyo kyabakubiriza okuba abanyiikivu era abavumu mu kubuulira amawulire amalungi. Baabuna ekibuga Yerusaalemi kyonna nga bayigiriza, wadde ng’abakulembeze b’eddiini baali babaziyiza. Abayigirizwa abo baali tebasobola kulekayo kwogera ku bintu bye baali balabye ne bye baali bawulidde. (Bik. 4:20; 5:28) Baali bakakafu nti baalina obuwagizi bwa Yakuwa era nti yandibawadde emikisa​—era bwe kityo bwe kyali! Mu butuufu, ng’emyaka teginnawera 30 bukya Yesu afa, omutume Pawulo yagamba nti amawulire amalungi gaali gabuuliddwa mu “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”​—Bak. 1:23.

9. Tuyinza tutya okweyongera okwagala Katonda?

9 Bwe tuba twagala okuba abayigiriza abalungi, naffe tulina okufuba okweyongera okwagala Katonda. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tukikola nga twogera ne Katonda mu kusaba. Era tweyongera okwagala Katonda nga tusoma Ekigambo kye, nga tusoma ebitabo ebikinnyonnyola, era nga tubaawo mu nkuŋŋaana. Gye tukoma okweyongera okumanya Katonda, gye tukoma okweyongera okumwagala. Bwe twoleka okwagala Yakuwa mu bigambo ne mu bikolwa, abalala baba basobola okukiraba era bayinza okusikirizibwa okumusemberera.​—Soma Zabbuli 104:33, 34.

Tulina Okuba nga Twagala Bye Tuyigiriza

10. Ekintu ekikulu ekiraga nti omuntu musomesa mulungi kye kiruwa?

10 Omusomesa omulungi yenna ateekwa okuba nga by’ayigiriza abyagala. Ateekwa okuba ng’akkiriza nti by’ayigiriza bituufu, bikulu era bya mugaso. Omusomesa bw’aba ng’afaayo ku by’ayigiriza, ajja kubiyigiriza n’ebbugumu kireetere n’abo b’ayigiriza okukwatibwako. Ku luuyi olulala, omusomesa ayinza atya okusuubira abayizi be okutwala by’abayigiriza ng’ebikulu, nga ye kennyini si bw’abitwala? Kijjukire nti kikulu nnyo ggwe ng’omuyigiriza w’Ekigambo kya Katonda okuteekawo ekyokulabirako ekirungi. Yesu yagamba nti: “Buli ayigirizibwa obulungi aliba ng’oyo amuyigiriza.”​—Luk. 6:40.

11. Lwaki Yesu bye yayigirizanga yali abyagala nnyo?

11 Ebintu Yesu bye yayigirizanga yali abyagala nnyo. Yali akimanyi nti alina ebintu eby’omuwendo by’alina okubuulira abalala​—amazima agakwata ku Kitaawe ow’omu ggulu, ‘ebigambo bya Katonda,’ era ‘ebigambo eby’obulamu obutaggwawo.’ (Yok. 3:34; 6:68) Okufaananako ekitangaala eky’amaanyi, amazima Yesu ge yayigiriza gaamulisiza abantu ne basobola okulaba ekirungi n’ekibi. Amazima ago gaawa essuubi era gaabudaabuda abantu abawombeefu abaali babuzaabuziddwa abakulembeze b’eddiini era abaali babonyaabonyezebwa Omulyolyomi. (Bik. 10:38) Ebintu Yesu bye yayigiriza awamu n’ebyo byonna bye yakola byalaga bulungi nti yali ayagala nnyo amazima.

12. Pawulo yawuliranga atya ku ky’okubuulira amawulire amalungi?

12 Okufaananako Yesu, abayigirizwa be nabo baali baagala nnyo amazima agakwata ku Yakuwa ne Kristo era ekyo kyabasobozesa okugabuulirako balala, wadde ng’abalabe baafuba okubalemesa. Pawulo yawandiikira bw’ati Bakristaayo banne ab’omu Rooma: “Njagala nnyo okubabuulira amawulire amalungi. Amawulire amalungi tegankwasa nsonyi; ge maanyi ga Katonda mw’ayitira okulokola buli muntu alina okukkiriza.” (Bar. 1:15, 16) Pawulo yali akitwala nga nkizo ya maanyi okulangirira amazima ago. Yawandiika nti: “Nze . . . nnaweebwa ekisa kino eky’ensusso nsobole okubuulira ab’amawanga amawulire amalungi agakwata ku bugagga bwa Kristo obutanoonyezeka.” (Bef. 3:8) Kyangu okukiraba nti Pawulo yayogeranga na bbugumu ng’ayigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa Bye.

13. Lwaki tusaanidde okwagala ennyo amawulire amalungi?

13 Amawulire amalungi agali mu Kigambo kya Katonda gatuyamba okutegeera obulungi Omutonzi waffe n’okufuna enkolagana ennungi naye. Amawulire ago gatuyamba okuddamu ebibuuzo ebikulu bye twebuuza mu bulamu, gatuyamba okutereeza obulamu bwaffe, gatuwa essuubi, era gatugumya nga twolekanye n’ebizibu. Okugatta ku ebyo, gatuyamba okumanya eky’okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwawo. Tewali kumanya kulala kwonna kuyinza kuba kwa muganyulo kusinga mawulire malungi. Amawulire gano kirabo kya muwendo nnyo ekyatuweebwa era kituleetera essanyu. Essanyu lino lyeyongera obungi ng’ekirabo ekyo tukigabiddeko abalala.​—Bik. 20:35.

14. Tuyinza tutya okweyongera okwagala ebintu bye tuyigiriza?

14 Oyinza kukola ki okweyongera okwagala amawulire amalungi? Bw’oba osoma Ekigambo kya Katonda, siriikiriramu ofumiitirize ku by’osoma. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’oli omu ku abo abaayitanga ne Yesu ng’ali mu buweereza ku nsi, oba ng’otambula n’omutume Pawulo. Fumiitirizaamu ng’oli mu nsi empya, era lowooza ku bulamu bwe buliba. Lowooza ku mikisa gy’ofunye olw’okugondera amawulire amalungi. Bw’onoosigala ng’oyagala nnyo amawulire amalungi, abo b’oyigiriza bajja kukiraba. N’olwekyo tusaanidde okufumiitiriza ennyo ku bintu bye tuyiga, era n’okussaayo omwoyo ku ebyo bye tuyigiriza.​—Soma 1 Timoseewo 4:15, 16.

Tulina Okuba nga Twagala Abantu

15. Lwaki omusomesa asaanidde okwagala abayizi be?

15 Omusomesa omulungi akwata abayizi be mu ngeri ebaleetera okussaayo omwoyo ku bye bayiga n’okwogera ekibali mu mutima. Omusomesa alina okwagala afuba okuyigiriza abayizi be olw’okuba abafaako. By’abayigiriza abituukanya n’obwetaavu bwe balina awamu n’obusobozi bwabwe obw’okutegeera. Afaayo ne ku mbeera y’abayizi be era aba amanyi bye basobola ne bye batasobola. Omusomesa bw’aba n’okwagala ng’okwo, abayizi be bakiraba mangu, era kiviiramu omusomesa n’abo b’ayigiriza essanyu.

16. Yesu yalaga atya nti ayagala nnyo abantu?

16 Yesu yalaga okwagala ng’okwo. Ekintu kye yakola ekyasingayo okulaga okwagala kwe kuwaayo obulamu bwe obutuukiridde abantu basobole okulokolebwa. (Yok. 15:13) Mu buweereza bwe, Yesu yakola butaweera okuyamba abantu, naddala mu by’omwoyo. Mu kifo ky’okusuubira abantu okujja gy’ali, yatambula mayiro bikumi na bikumi ku bigere okubatuusaako amawulire amalungi. (Mat. 4:23-25; Luk. 8:1) Yali mugumiikiriza era yali ategeera embeera yaabwe. Bwe kyabanga kimwetaagisa okugolola abayigirizwa be, yakikolanga mu kwagala. (Mak. 9:33-37) Yabassaamu obwesige nti bandisobodde bulungi okubuulira amawulire amalungi, era ekyo kyabazzaamu nnyo amaanyi. Tewali musomesa yenna yali alaze kwagala kusinga kwa Yesu. Okwagala kwe yalaga abayigirizwa be nabo kwabaleetera okumwagala n’okukwata ebiragiro bye.​—Soma Yokaana 14:15.

17. Abayigirizwa ba Yesu baalaga batya abalala okwagala?

17 Okufaananako Yesu, abayigirizwa be baalaga okwagala okw’amaanyi eri abantu be baabuuliranga. Baagumira okuyigganyizibwa era baateeka obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuweereza abalala n’okubuulira amawulire amalungi. Nga baalaga okwagala kwa maanyi eri abo abaakkiriza amawulire amalungi! Kino kyeyoleka bulungi mu bigambo by’omutume Pawulo eyawandiika nti: “Bwe twali mu mmwe twali bakwatampola nga maama bw’aba ng’alabirira abaana be. N’olwekyo, olw’okuba twali tubaagala nnyo, twasanyuka okubawa amawulire amalungi aga Katonda. Si ekyo kyokka, naye era twasanyuka n’okubawa obulamu bwaffe, kubanga mwali baagalwa gye tuli.”​—1 Bas. 2:7, 8.

18, 19. (a) Lwaki twefiiriza tusobole okukola omulimu gw’okubuulira? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti bwe twoleka okwagala abalala bakiraba.

18 Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa leero batambula okubuna ensi yonna nga banoonya abo abaagala okumanya Katonda n’okumuweereza. Mu butuufu, buli mwaka okumalira ddala emyaka 17 egiyise, tubadde tumala essaawa ezisukka mu kawumbi nga tukola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa​—era tugenda mu maaso n’omulimu ogwo. Tugukola kyeyagalire, wadde nga kitwetaagisa okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga byaffe. Okufaananako Yesu, tukimanyi nti Kitaffe ow’omu ggulu ayagala abantu bafune okumanya okunaabatuusa mu bulamu obutaggwawo. (Yok. 17:3; 1 Tim. 2:3, 4) Okwagala kutukubiriza okuyamba abantu ab’emitima emirungi, nabo basobole okumanya Yakuwa n’okumwagala.

19 Bwe tulaga okwagala, abalala basobola okukiraba. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe aweereza nga payoniya mu Amerika awandiikira abantu abafiiriddwa amabaluwa agababudaabuda. Omusajja omu eyaddamu ebbaluwa ye yagamba nti: “Kye nnasoose okwewuunya kwe kulaba nti wawandiikidde omuntu gw’otomanyi osobole okumuyamba okuguma mu kiseera ekizibu. Kino kindaze nti olina okwagala eri bantu abalala n’eri Katonda abaluŋŋamya mu kkubo ery’obulamu.”

20. Okulaga okwagala nga tuyigiriza kikulu kwenkana wa?

20 Kigambibwa nti okwagala bwe kugattibwako obumanyirivu, omulimu ogukolebwa guba mulungi nnyo. Bwe tuba tuyigiriza, tufuba okuyamba abayizi baffe okutegeera obulungi Yakuwa n’okumwagala. Yee, bwe tuba ab’okuba abayigiriza abalungi, tulina okwagala Katonda, okwagala amazima, n’okwagala abantu. Gye tunaakoma okukulaakulanya okwagala okwo n’okukwoleka mu buweereza bwaffe, gye tujja okukoma okufuna ssanyu eriva mu kugaba, n’okuba abamativu olw’okuba tumanya nti tukoppa Yesu era tusanyusa Yakuwa.

Wandizzeemu Otya?

Bwe tuba tuyigiriza abalala amawulire amalungi, lwaki kikulu okuba nga . . .

twagala Katonda?

twagala bye tuyigiriza?

twagala abantu be tuyigiriza?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Lwaki engeri Yesu gye yayigirizangamu yali ya njawulo ku y’abawandiisi n’Abafalisayo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Okuyigiriza obulungi kyetaagisa okuba n’okumanya, obumanyirivu, n’okusingira ddala, okwagala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share