LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 9/1 lup. 18-22
  • Bakoowu Naye Tebaddirira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bakoowu Naye Tebaddirira
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obukristaayo Tebunyigiriza
  • “Twambulenga Buli Ekizitowa”
  • Amagezi n’Obuwombeefu Bikulu
  • Yakuwa Katonda Atuwa Amaanyi
  • Tolekulira
  • Tufuna Amaanyi Okuziyiza Ebikemo n’Okwaŋŋanga Ebintu Ebitumalamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri Gye Tuyinza Okwaŋŋanga Ebintu Ebimalamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yakuwa Awa Amaanyi Oyo Akooye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ozzaamu Abalala Amaanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 9/1 lup. 18-22

Bakoowu Naye Tebaddirira

“Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w’enkomerero z’ensi, . . . awa amaanyi abazirika [“abakooye,” “NW”]; n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.”​—Isaaya 40:28, 29.

1, 2. (a) Abo bonna abaagala okusinza okw’amazima bakubirizibwa kukola ki? (b) Kiki ekiyinza okuba eky’akabi eri enkolagana yaffe ne Yakuwa?

NG’ABAYIGIRIZWA ba Yesu, tumanyi bulungi ebigambo bye bino ebizzaamu amaanyi: “Mujje gye ndi, mmwe mmwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. . . . Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:28-30) Ate era, ‘Yakuwa awa Abakristaayo ebiro eby’okuwummuzibwa.’ (Ebikolwa 3:19) Awatali kubuusabuusa, naawe kennyini ofunye obuweerero olw’okuyiga amazima g’omu Baibuli, olw’okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso, n’olw’okussa mu nkola emisingi gya Baibuli mu bulamu bwo.

2 Kyokka, abamu ku abaweereza ba Yakuwa bafuna ebirowoozo ebibaleetera okukoowa. Emirundi egimu ebirowoozo ebyo bimala akaseera katono, ate oluusi biyinza okumala ekiseera kiwanvu. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, abamu bayinza okuwulira nti obuvunaanyizibwa bwabwe obw’Ekikristaayo bubafuukidde mugugu mu kifo ky’okubazzaamu amaanyi nga Yesu bwe yasuubiza. Enneewulira ng’eyo embi, eyinza okuba ey’akabi eri enkolagana Omukristaayo gy’alina ne Yakuwa.

3. Lwaki Yesu yawa okubuulirira okusangibwa mu Yokaana 14:1?

3 Ng’ebula akaseera katono akwatibwe era attibwe, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.” (Yokaana 14:1) Yesu we yayogerera ebigambo bino abayigirizwa be baali banaatera okwolekagana n’ennaku ey’amaanyi. Era ng’ekyandiddiridde kwe kuyigganyizibwa. Yesu yamanya nti abatume be bandiweddemu amaanyi. (Yokaana 16:1) Bwe batandibaddeko kye bakola ku enneewulira embi, kyandibaviiriddeko okunafuwa mu by’omwoyo era ne balekera awo okwesiga Yakuwa. Kino kiyinza n’okutuuka ku Bakristaayo leero. Omuntu bw’amala ekiseera ekiwanvu ng’aweddemu amaanyi, kiyinza okumuviirako okunyolwa ennyo era n’okuzitoowererwa mu mutima. (Yeremiya 8:18) Omuntu ow’omunda ayinza okunafuwa. Nga tunyigirizibwa mu ngeri eno, tuyinza okufuna enneewulira embi n’okunafuwa mu by’omwoyo era ne tutuuka n’okuwulira nga tetukyayagala kusinza Yakuwa.

4. Kiki ekiyinza okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero ne tutaggwaamu maanyi oba okuddirira mu by’omwoyo?

4 Okubuulirira kwa Baibuli kuno kutuukirawo nnyo: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuuma omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo ez’obulamu.” (Engero 4:23) Baibuli etuwa okubuulirira okulungi okutuyamba okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero ne tutaggwaamu maanyi oba okuddirira mu by’omwoyo. Kyokka, okusooka twetaaga okumanya ekiviirako embeera ezo.

Obukristaayo Tebunyigiriza

5. Bigambo ki ebirabika ng’ebikontana ebikwata ku kubeera Omukristaayo?

5 Kyo kituufu nti okubeera Omukristaayo kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. (Lukka 13:24) Ne Yesu yagamba nti: “Buli ataasitulenga [muti] gwe ye, n’ajja ennyuma wange, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.” (Lukka 14:27) Bw’oba tofumiitirizza nnyo, ebigambo bino biyinza okulabika ng’ebikontana n’ekyo Yesu kye yayogera ekikwata ku kikoligo kye okuba nti kiwewuka era nti kizzaamu amaanyi. Naye ekituufu kiri nti, tebikontana.

6, 7. Lwaki kiyinza okugambibwa nti okusinza kwaffe tekukooya?

6 Wadde ng’okukola ennyo kikooya mu mubiri, naye kireeta okumatira era kizzaamu amaanyi kasita kiba nti ebivaamu biganyula. (Omubuulizi 3:13, 22) Kintu ki ekiganyula okusinga okubuulira abalala amazima g’omu Baibuli? Kyo kituufu nti si kyangu okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Katonda egy’eby’empisa, naye emiganyulo egivaamu mingi nnyo. (Engero 2:10-20) Ne bwe tuba nga tuyigganyizibwa, tukitwala nti nkizo okubonaabona ku lw’Obwakabaka bwa Katonda.​—1 Peetero 4:14.

7 Mazima ddala, omugugu gwa Yesu guwummuza naddala bw’olowooza ku kizikiza eky’eby’omwoyo abo abali mu kikoligo ky’amadiini ag’obulimba kye balimu. Katonda atwagala nnyo era tatusaba kukola bye tutasobola kutuukiriza. ‘Ebiragiro bya Yakuwa tebizitowa.’ (1 Yokaana 5:3) Nga bwe kiragibwa mu Byawandiikibwa, Obukristaayo obw’amazima tebunyigiriza. Kya lwatu, okusinza kwaffe tekukooya, era tekumalaamu maanyi.

“Twambulenga Buli Ekizitowa”

8. Biki ebitera okutuleetera okukoowa mu by’omwoyo?

8 Ekintu kyonna ekitukooya mu by’omwoyo kitera kuva ku buzito obulala obuleetebwa embeera zino embi. Olw’okuba “ensi yonna eri mu mubi,” twolekagana n’embeera embi ezituleetera okukoowa era n’okuddirira mu by’omwoyo. (1 Yokaana 5:19) Ebintu ebitali bikulu biyinza okukalubya era n’okutaataganya enteekateeka yaffe ey’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo. Emigugu gino emirala egyeyongerako giyinza okutuviirako okukoowa era n’okunyigirizibwa mu by’omwoyo. Nga kituukirawo, Baibuli etukubiriza ‘okwambulanga buli ekizitowa.’​—Abaebbulaniya 12:1-3.

9. Okuluubirira eby’obugagga kiyinza kitya okuleetera obulamu bwaffe okuzitoowererwa?

9 Ng’ekyokulabirako, endowooza ensi gy’erina ku ttutumu, ssente, eby’okwesanyusa, okutambulako, n’ebiruubirirwa ebirala eby’omubiri, esobola okubaako ky’etukolako. (1 Yokaana 2:15-17) Abamu ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaaluubirira okugaggawala, baakalubya nnyo obulamu bwabwe. Omutume Pawulo annyonnyola nti: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.”​—1 Timoseewo 6:9, 10.

10. Olugero lwa Yesu olw’omusizi lutuyigiriza ki ku by’obugagga?

10 Bwe tuwulira nga tukooye era nga tetukyayagala kuweereza Katonda, kyandiba nti okuluubirira eby’obugagga kye kigenda kitunnafuya mu by’omwoyo? Ekyo kituufu ddala nga Yesu bwe yalaga mu lugero lw’omusizi. Yesu yageraageranya ‘okweraliikirira kw’ensi, obulimba bw’obugagga, n’okwegomba kw’ebirala byonna,’ ku maggwa ‘agazisa’ ensigo y’Ekigambo kya Katonda eri mu mitima. (Makko 4:18, 19) N’olwekyo, Baibuli etukubiriza: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye kennyini yagamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.”​—Abaebbulaniya 13:5.

11. Tusobola tutya okweggyako ebintu ebituleetera okukoowa?

11 Oluusi, okuluubirira ebintu ebingi si kye kikalubya obulamu bwaffe, wabula engeri gye tukozesaamu ebyo bye tulina. Abamu bayinza okwewulira nga baweddemu amaanyi olw’okulwala, okufiirwa abaagalwa, oba olw’ebizibu ebirala eby’amaanyi. Bakirabye emirundi n’emirundi nga kibeetaagisa okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Omugogo ogumu ogw’abafumbo baasalawo okulekayo okukola ebintu ebimu ebibanyumira era n’ebyo ebitaali bikulu. Baakebera mu bintu byabwe era ne beggyako ebyo byonna ebyali biteetaagisa. Ffenna kisobola okutuganyula bwe twekebera buli luvannyuma lwa kiseera ne tweggyako ebintu ebiteetaagisa ne kitusobozesa obutakoowa n’obutaddirira.

Amagezi n’Obuwombeefu Bikulu

12. Kiki kye tusaanidde okumanya ku bikwata ku nsobi zaffe?

12 Ensobi ze tukola, ka kibe mu busonga obutono, mpolampola ziyinza okukalubya obulamu bwaffe. Ng’ebigambo bya Dawudi bino butuufu nnyo: “Obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng’omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.” (Zabbuli 38:4) Emirundi mingi, okukolamu enkyukakyuka entonotono kituwewula ku migugu emizito.

13. Amagezi gasobola gatya okutuyamba okuba n’endowooza ennungi mu buweereza bwaffe?

13 Baibuli etukubiriza okufuna ‘amagezi n’obusobozi bw’okulowooza.’ (Engero 3:21, 22, NW) “Amagezi agava waggulu . . . mawombeefu,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Yakobo 3:17) Abamu bazitoowereddwa olw’okwagala okwenkanankana n’abalala mu buweereza bw’Ekikristaayo. Kyokka Baibuli etubuulirira nti: “Buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n’okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala. Kubanga buli muntu alyetikka mutwalo gwe ye.” (Abaggalatiya 6:4, 5) Kyo kituufu nti eky’okulabirako ekirungi eky’Abakristaayo bannaffe kisobola okutukubiriza okuweereza Yakuwa n’omutima gwonna, kyokka, amagezi n’obuwombeefu bijja kutuyamba okussaawo ebiruubirirwa ebirungi nga tusinziira ku mbeera zaffe bwe ziri.

14, 15. Tusobola tutya okwoleka amagezi nga tukola ku bwetaavu bwaffe obw’omubiri n’obw’enneewulira?

14 Okukozesa amagezi ne mu bintu ebiyinza okulabika ng’ebitali bikulu kisobola okutuyamba obutakoowa. Ng’ekyokulabirako, tulina enteekateeka ennungi gye tugoberera esobozesa obulamu bwaffe okuba mu mbeera ennungi? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bafumbo abaweereza ku limu ku matabi ga ofiisi z’Abajulirwa ba Yakuwa. Bakirabye nti kikulu okukozesa amagezi okwewala okukoowa ekisukkiridde. Omukyala agamba: “Ka tube nga tulina emirimu mingi nnyo, tugezaako okwebaka ku ssaawa ze zimu buli kiro. Ate era tuzannya emizannyo egiyamba emibiri gyaffe obutaba minafu. Mazima ddala kino kituyambye. Tumanyi amaanyi gaffe we gakoma, era tukola ebintu okusinziira ku busobozi bwaffe. Tetwegeraageranya n’abo abalabika ng’abalina amaanyi amangi ennyo.” Bulijjo tulya emmere ezimba era ne tuwummula ekimala? Bwe tufaayo ku bulamu bwaffe kisobola okukendeeza ku bukoowu obw’engeri ezitali zimu.

15 Abamu ku ffe tulina obwetaavu obw’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu abadde mu buweereza obw’ekiseera kyonna ayolekaganye n’okusoomooza okutali kumu mu buweereza bwe. Afunye obulwadde obw’amaanyi nga mw’otwalidde ne kookolo. Kiki ekimuyamba okugumiikiriza embeera zino enzibu? Agamba: “Kikulu nnyo gye ndi okufunayo ekiseera ne mbeera nzekka mu kifo ekisirifu. Gye nkoma okwewulira obubi, gye nkoma okwetaaga okubeera nzekka mu kifo ekisirifu ne mba nga nsobola okusoma n’okuwummulako.” Okukozesa amagezi kituyamba okumanya obwetaavu bwaffe era n’okubukolako bwe kityo ne twewala okukoowa mu by’omwoyo.

Yakuwa Katonda Atuwa Amaanyi

16, 17. (a) Lwaki kikulu nnyo okufaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo? (b) Kiki kye tulina okuzingira mu bye tukola buli lunaku?

16 Kikulu nnyo okufaayo ku mbeera yaffe ey’ebyomwoyo. Bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda, tuyinza okukoowa mu mubiri naye tetuyinza kukoowa kumusinza. Yakuwa ‘awa amaanyi abazirika; n’oyo atakyeyinza amuzzaamu amaanyi.’ (Isaaya 40:28, 29) Omutume Pawulo kennyini, eyakakasa obutuufu bw’ebigambo ebyo, yawandiika: “Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow’okungulu ng’aggwaawo, naye omuntu waffe ow’omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo.”​—2 Abakkolinso 4:16.

17 Weetegereze ebigambo “bulijjo bulijjo.” Ebigambo ebyo bitegeeza nti buli lunaku tulina okukozesa ebyo Yakuwa by’atuwa. Omuminsani omu, eyaweereza n’obwesigwa okumala emyaka 43, ebiseera ebimu yeewuliranga ng’aweddemu amaanyi. Naye teyaddirira. Agamba: “Ngifudde mpisa okuzuukuka nga bukyali ng’emirimu teginnatandika, ne mmala ekiseera nga nsaba Yakuwa era nga nsoma Ekigambo kye. Enteekateeka eno eya buli lunaku ennyambye okugumiikiriza okutuuka kaakano.” Mazima ddala tusobola okwesiga Yakuwa okutuwa amaanyi singa tumutuukirira mu kusaba “buli lunaku” era ne tufumiitiriza ku ngeri ze ez’ekitalo era n’ebisuubizo bye.

18. Kubudaabuda ki Baibuli kw’ewa abo abeesigwa abakaddiye oba abalwadde?

18 Okusingira ddala, kino kiyamba nnyo abo abawulira nga baweddemu amaanyi olw’obukadde oba obulwadde. Abali ng’abo, bayinza okuggwaamu amaanyi si lwa kuba nti beegeraageranya n’abalala, naye lwa kuba nti bageraageranya bye bakola kati n’ebyo bye baakolanga edda. Nga kibudaabuda nnyo okumanya nti Yakuwa atwala bannamukadde nga ba muwendo! Baibuli egamba: “Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa. Gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu.” (Engero 16:31) Yakuwa amanyi ekkomo lyaffe, era, wadde nga tulina obunafu, asiima nnyo bwe tumusinza n’omutima gwaffe gwonna. Era ebirungi bye tukoze Katonda abijjukira. Ebyawandiikibwa bitukakasa nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatuukirivu, era mukyaweereza.” (Abaebbulaniya 6:10) Nga ffenna tuli basanyufu nnyo okubeera awamu n’abo abasigadde nga beesigwa eri Yakuwa okumala emyaka mingi!

Tolekulira

19. Tuganyulwa tutya bwe tufuba okukolera abalala ebirungi?

19 Bangi bakkiriza nti okukola emirimu egy’amaanyi bulijjo kisobola okuyamba emibiri gyaffe obutakoowa mangu. Mu ngeri y’emu, obutayosa kwenyigira mu bintu eby’omwoyo, kisobola okutuyamba obutaddirira mu by’omwoyo n’obutafuna endowooza embi. Baibuli egamba: “Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula nga tetuzirise. Kale bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:9, 10) Weetegereze ebigambo ‘okukola obulungi’ ne ‘okubakola obulungi.’ Ebigambo bino bitegeeza nti tulina okubaako kye tukola. Mazima ddala, okukolera abalala ebirungi kisobola okutuyamba obutakoowa kuweereza Yakuwa.

20. Okusobola okwewala okuggwaamu amaanyi, baani be tusaanidde okwewala?

20 Kyokka, okukola emikwano n’abo abasambajja amateeka ga Katonda kisobola okutufuukira omugugu ogukooya. Baibuli etulabula: “Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito; naye okweraliikirira kw’omusirusiru kubisinga byombi obuzito.” (Engero 27:3) Okusobola okwewala okuggwaamu amaanyi n’okukoowa, tusaana okwewala okubeera n’abo abalina endowooza ezitali nnuŋŋamu era abanoonyereza ensobi mu balala.

21. Tusobola tutya okuzzaamu abalala amaanyi mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo?

21 Enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo kye kimu ku ebyo Yakuwa by’atuwa ebituzzaamu amaanyi. Mu nkuŋŋaana zino, tufuna okuyigiriza okuzzaamu amaanyi n’emikwano egizimba. (Abaebbulaniya 10:25) Bonna mu kibiina basaanidde okufuba okuzimba abalala mu ebyo bye baddamu oba bye boogera nga bali ku platifomu. Okusingira ddala, abo abalina enkizo ey’okuyigiriza bavunaanyizibwa okuzzaamu abalala amaanyi. (Isaaya 32:1, 2) Ne bwe kiba nti kyetaagisa okubuulirira omuntu oba okumunenya, engeri gye kikolebwamu erina okuba ng’ezzaamu amaanyi. (Abaggalatiya 6:1, 2) Okwagala kwe tulina eri abalala kujja kutuyamba okuweereza Yakuwa awatali kuddirira.​—Zabbuli 133:1; Yokaana 13:35.

22. Wadde nga emibiri gyaffe minafu, lwaki tusobola okuba abavumu?

22 Okusinza Yakuwa mu kiseera kino eky’enkomerero kyetaagisa okufuba ennyo. Abakristaayo nabo bafuna enneewulira embi, era n’ebintu ebibeeraliikiriza. Emibiri gyaffe egitatuukiridde minafu ng’ebibya eby’ebbumba. Kyokka Baibuli egamba: “Obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby’ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda so si eri ffe.” (2 Abakkolinso 4:7) Yee, tujja kukoowa, naye tulemenga okuddirira oba okulekulira. Mu kifo ky’ekyo, ka ‘twogere n’obuvumu nti Yakuwa ye mubeezi waffe.’​—Abaebbulaniya 13:6.

Okwejjukanya mu Bimpimpi

• Migugu ki egimu emizito gye tuyinza okweggyako?

• Tusobola tutya ‘okukolera Bakristaayo bannaffe ebirungi’?

• Yakuwa atuwa atya amaanyi nga tukooye?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Yesu yali amanyi nti kyandibadde kya kabi abatume be okumala ekiseera ekiwanvu nga baweddemu amaanyi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Abamu baleseeyo ebintu ebimu ebibanyumira era n’ebintu ebitali bikulu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Wadde nga tulina obunafu, Yakuwa asiima nnyo bwe tumusinza n’omutima gwonna

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share