Kirisoboka Kitya ‘Abawombeefu Okusikira Ensi’?
“OBOOLYAWO omanyi ebigambo bya Yesu bino ebibuguumiriza nti ‘abawombeefu balisikira ensi.’ Naye bw’otunuulira engeri abantu gye bayisaamu bannaabwe era n’engeri gye boonoonyemu ensi, olowooza abawombeefu balisikira ki?”—Matayo 5:5; Zabbuli 37:11.
Ekyo kye kibuuzo Myriam, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, kye yabuuza omusajja ng’atandika okukubaganya naye ebirowoozo ku Baibuli. Omusajja oyo yaddamu nti bwe kiba nga Yesu ye yakisuubiza, ensi egwanira okuyitibwa eky’obusika so si ekifo ekitasobola kutuulwamu bantu.
Mazima ddala kye yaddamu kyayoleka endowooza ennuŋŋamu. Naffe tulina ensonga okubeera n’endowooza ng’eyo? Yee tugirina, kubanga Baibuli etuwa ensonga ennungi etuleetera okukkiriza nti ekisuubizo eky’okusikira ensi kijja kutuukirizibwa. Mu butuufu, okutuukirizibwa kw’ekisuubizo ekyo kukwataganyizibwa n’ebigendererwa bya Katonda eri abantu n’ensi. Era tukakasibwa nti Katonda ky’asuubiza ajja kukituukiriza. (Isaaya 55:11) Kati olwo, ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eri abantu kye kiruwa, era kirituukirizibwa kitya?
Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi eky’Olubeerera
Yakuwa Katonda yatonda ensi ng’alina ekigendererwa. “Bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.” (Isaaya 45:18) Bwe kityo, ensi yatondebwa abantu okugituulamu. Ate era, Katonda ayagala abantu babeere ku nsi emirembe gyonna. ‘Yasimba emisingi gy’ensi eremenga okusagaasagana emirembe gyonna.’—Zabbuli 104:5; 119:90.
Ekigendererwa kya Katonda eri ensi era kyeyolekera mu mulimu gwe yawa abafumbo abaasooka. Yakuwa yagamba Adamu ne Kaawa nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28) Ensi Katonda gye yakwasa Adamu ne Kaawa, yali ya kubeera maka gaabwe ag’olubeerera awamu n’ezzadde lyabwe. Oluvannyuma lw’ebyasa ebiwerako, omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Eggulu lye ggulu lya Mukama, naye ensi yagiwa abaana b’abantu.”—Zabbuli 115:16.
Okusobola okufuna emikisa egyo egy’ekitalo, Adamu ne Kaawa awamu n’ezzadde lyabwe, kinnoomu baali balina okukkiriza nti Yakuwa Katonda, ye Mutonzi waabwe, ye Mugabi w’Obulamu, era nti ye Mufuzi waabwe era nga beetegefu okumugondera. Kino Yakuwa yakyoleka bulungi bwe yawa omusajja etteeka lino: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Adamu ne Kaawa okusobola okweyongera okubeera mu lusuku Adeni, baali bateekwa okugondera etteeka lino eryali lirambikiddwa obulungi. Bwe bandirigondedde kyandiraze nti basiima ebyo Kitaabwe ow’omu ggulu bye yabakolera.
Adamu ne Kaawa bwe baamenya etteeka lya Katonda mu bugenderevu, beekutula ku oyo eyali abawadde buli kimu. (Olubereberye 3:6) Bwe baakola bwe batyo, baafiirwa amaka gaabwe agaali mu Lusuku lwa Katonda era ne bagafiiriza n’ezzadde lyabwe. (Abaruumi 5:12) Kati olwo, obujeemu bw’abafumbo abaasooka bwalemesa Katonda okutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi?
Katonda Atakyukanga
Okuyitira mu nnabbi Malaki, Katonda yagamba bw’ati: “Nze Mukama sijjulukuka [“sikyuka,” NW].” (Malaki 3:6) Ng’ayogera ku lunyiriri luno, omwekenneenya wa Baibuli Omufalansa ayitibwa L. Fillion yagamba nti ebigambo ebyo bikwataganyizibwa n’okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. Yawandiika bw’ati: “Yakuwa yandibadde yazikiriza dda abantu abajeemu, naye olw’okuba takyuka ku bikwata ku bisuubizo bye, ka kibe ki oba ki, aggya kutuukiriza bye yasuubiza edda.” Katonda by’asuubiza omuntu kinnoomu, eggwanga, oba abantu bonna, tayinza kubyerabira naye ajja kubituukiriza mu kiseera kye ekigereke. “Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi.”—Zabbuli 105:8.
Naye, tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa takyusanga mu kigendererwa kye ekikwata ku nsi? Tuyinza okuba abakakafu kubanga mu kigambo kye Baibuli, asuubiza nti ensi ajja kugiwa abantu abawulize. (Zabbuli 25:13; 37:9, 22, 29, 34) Ate era, Ebyawandiikibwa byogera ku abo Yakuwa b’awadde omukisa, ng’abatebenkedde, nga buli omu atudde “mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe,” nga ‘tewaliiwo abakanga.’ (Mikka 4:4; Ezeekyeri 34:28) Abo Yakuwa b’alironda “balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu.” Ebisolo eby’omu nsiko tebijja kubakolako kabi.—Isaaya 11:6-9; 65:21, 25.
Baibuli etulengezaako ku bisuubizo bya Katonda mu ngeri endala. Mu biseera by’obufuzi bwa Kabaka Sulemaani, eggwanga lya Isiraeri lyalina emirembe n’obutebenkevu. Mu bufuzi bwe, “Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, emirembe gyonna egya Sulemaani.” (1 Bassekabaka 4:25) Baibuli egamba nti Yesu “asinga Sulemaani” era ng’ayogera ku bufuzi bwa Yesu, omuwandiisi wa zabbuli yawa obunnabbi buno: “Mu nnaku ze, abatuukirivu banaalabanga omukisa, era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.” Mu kiseera ekyo, “wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”—Lukka 11:31; Zabbuli 72:7, 16.
Okusobola okutuukiriza ekigambo kye, Yakuwa Katonda ajja kukakasa nti takoma ku kussaawo bussa busika bwe yasuubiza, naye era nti abuzzaawo mu kitiibwa kyabwo kyonna. Mu Okubikkulirwa 21:4, Ekigambo kya Katonda kitubuulira nti mu nsi empya gye yasuubiza, Katonda “alisangula buli zziga mu maaso [g’abantu]; era okufa tekulibaawo nate so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” Mu butuufu ekyo ekyasuubizibwa lwe Lusuku lwa Katonda.—Lukka 23:43.
Engeri gy’Oyinza Okufuna Obusika Obwasuubizibwa
Obwakabaka obw’omu ggulu obufugibwa Yesu Kristo bwe bujja okufuula ensi olusuku lwa Katonda. (Matayo 6:9, 10) Okusookera ddala, Obwakabaka bujja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18; Danyeri 2:44) Oluvannyuma, ‘omulangira ow’emirembe,’ Yesu Kristo ajja kutuukiriza ebigambo bino eby’obunnabbi: “Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongera.” (Isaaya 9:6, 7) Wansi w’Obwakabaka obwo, obukadde n’obukadde bw’abantu, nga mw’otwalidde n’abo abajja okuzuukizibwa, bajja kusikira ensi.—Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15.
Baani abajja okufuna obusika buno obw’ekitalo? Lowooza ku bigambo bya Yesu: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Kitegeeza ki okuba omuteefu, oba omuwombeefu? Enkuluze zitera okunnyonnyola “obuteefu” oba “obuwombeefu,” ng’obukkakkamu, obuwulize, obusirise, oba okuba n’ensonyi. Kyokka, mu Luyonaani olwasooka, ekigambo kino kirina amakulu agasingawo. Kirimu amakulu ag’okuba n’eggonjebwa, bw’atyo William Barclay bwe yagamba mu kitabo ekiyitibwa, New Testament Wordbook. Era yayongera n’agamba nti “engeri eyo ey’eggonjebwa eyoleka amaanyi.” Era y’esobozesa omuntu okugumira ebizibu n’atanyiiga oba okuwoolera eggwanga. Ekireetera omuntu okweyisa bwatyo kwe kuba nti alina enkolagana ennungi ne Katonda, era ng’enkolagana eyo y’emufuula ow’amaanyi.—Isaaya 12:2; Abafiripi 4:13.
Omuntu omuwombeefu agoberera emitindo gya Katonda mu bulamu bwe bwonna; tagoberera ndowooza ye oba ey’abalala. Era ayagala okuyigirizibwa Yakuwa. Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yawandiika bw’ati: “Abawombeefu [Yakuwa] anaabaluŋŋamyanga mu musango: era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.”—Zabbuli 25:9; Engero 3:5, 6.
Onooba omu ku ‘bawombeefu’ abalisikira ensi? Bw’onoomanya Yakuwa n’ebyo by’ayagala ng’onyiikira okuyiga Ekigambo kye era n’ossa mu nkola by’oba oyize, naawe ojja kusobola okusikira olusuku lwa Katonda era olubeereko emirembe gyonna.—Yokaana 17:3.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kyeyolekera mu mulimu gwe yawa Adamu ne Kaawa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6, 7]
Emirembe n’obutebenkevu ebyaliwo mu bufuzi bwa Sulemaani byalaga ebyo ebiribeerawo ekisuubizo eky’obusika bwe kirituukirira
[Ensibuko y’ebifaananyi]
Sheep and background hill: Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.; Arabian oryx: Hai-Bar, Yotvata, Israel; farmer plowing: Garo Nalbandian
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Ensi empya ey’obutuukirivu eneetera okutuuka—onoobeerayo?