“Bikolebwe mu Nsi, nga bwe Bikolebwa mu Ggulu”
“Eddiini y’Ekikatuliki, eteeka essira ku Bintu Bina: Okufa, Omusango, Omuliro Ogutazikira, n’Eggulu.”—akatabo Catholicism, akaawandiikibwa George Brantl.
WEETEGEREZE nti mu lukalala olwo, ensi teriimu. Ekyo tekyewuunyisa kubanga, Eddiini y’Ekikatuliki, okufaananako eddiini endala, ekkiriza nti lumu ensi ejja kuzikirizibwa. Ekitabo ekiyitibwa Dictionnaire de Théologie Catholique kinnyonnyola bulungi ensonga eno wansi w’omutwe “Enkomerero y’Ensi”: “Eddiini y’Ekikatuliki ekkiriza era eyigiriza nti ensi eriwo kati, nga Katonda bwe yagitonda, tejja kubaawo mirembe gyonna.” Katikiisimu y’Ekikatuliki eyafulumizibwa gye buvuddeko awo nayo ekkiriziganya n’endowooza eyo. Egamba: “Ensi yaffe . . . ejja kusaanawo.” Naye bwe kiba nti ensi yaffe egenda kusaanawo, ate olwo byo ebisuubizo bya Baibuli ebikwata ku lusuku lwa Katonda ku nsi?
Baibuli ekyoleka bulungi nti mu biseera eby’omu maaso ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Isaaya yayogera bw’ati ku nsi n’abo abagituulako: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku ez’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku z’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu gw’engalo zaabwe.” (Isaaya 65:21, 22) Abayudaaya Katonda be yawa ebisuubizo bino, baali bakakafu nti ensi yaabwe—mazima ddala ensi yonna—lumu yandifuuse olusuku lwa Katonda abantu mwe bandyeyagalidde emirembe gyonna.
Zabbuli 37 ekakasa ekisuubizo kino. Egamba: “Abawombeefu balisikira ensi.” (Zabbuli 37:11) Olunyiriri luno terwogera bwogezi ku kuzzibwayo kw’eggwanga lya Isiraeri mu Nsi Ensuubize. Zabbuli y’emu egamba: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Weetegereze nti zabbuli eno egamba nti “abawombeefu” bajja kufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo ku nsi. Mu Baibuli y’Olufalansa, ebigambo ebinnyonnyola olunyiriri luno bigamba nti ekigambo “abawombeefu” “kirina amakulu agasingawo ku ago agali mu nkyusa za Baibuli endala; kizingiramu abali mu mbeera embi, ababonaabona oba abayigganyizibwa olw’okuweereza Yahweh (Yakuwa), n’abawombeefu abagondera Katonda.”
Ku Nsi oba mu Ggulu?
Mu kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yawa ekisuubizo ekitujjukiza ebyawandiikibwa ebyo ebijuliziddwa waggulu. Yagamba: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Nate, ensi ejja kuweebwa abeesigwa ng’ekirabo era bagibeereko emirembe gyonna. Kyokka, Yesu yakyoleka kaati eri abatume nti yali abateekerateekera ebifo “mu nnyumba ya [Kitaawe]” era nti bandibadde naye mu ggulu. (Yokaana 14:1, 2; Lukka 12:32; 1 Peetero 1:3, 4) Kati olwo, twanditutte tutya ekisuubizo ky’okubeera ku nsi? Kya makulu leero, era kikwata kw’ani?
Abeekenneenya ba Baibuli ab’enjawulo bagamba nti “ensi” eyogerwako mu Kubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi ne mu Zabbuli 37, ya kabonero. Mu bigambo bye ebiri mu kitabo Bible de Glaire, F. Vigouroux agamba nti, ennyiriri ezo zooleka “akabonero ak’eggulu n’ekkanisa.” M. Lagrange, omwekenneenya wa Baibuli Omufalansa, agamba nti ekisuubizo kino “tekitegeeza nti abawombeefu bajja kusikira ensi gye baliko, ka kibe mu nteekateeka y’ebintu eno oba mu biseera eby’omu maaso mu nsi etegekeddwa obulungi, wabula ekisuubizo ekyo kitegeeza nti abawombeefu bajja kusikira ekifo, ka kibe nga kinaaba ludda wa, era ng’ekifo ekyo bwe bwakabaka obw’omu ggulu.” Okusinziira ku mwekenneenya wa Baibuli omulala, “ensi ekozesebwa ng’akabonero okutegeeza eggulu.” Era okusinziira ku beekenneenya abalala, “ensi ensuubize, Kanani, ya kabonero era ekiikirira ensi eya waggulu, kwe kugamba, obwakabaka bwa Katonda, obujja okuweebwa abawombeefu. Era nti ago ge makulu agali mu Zabbuli 37 ne mu byawandiikibwa ebirala.” Naye twandyanguyiriza okugamba nti, Katonda teyasuubiza kuwa bantu nsi?
Ekigendererwa eky’Emirembe Gyonna eri Ensi
Okuviira ddala ku ntandikwa, ensi yalina akakwate n’ekigendererwa kya Katonda eri abantu. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Eggulu lye ggulu lya Mukama; naye ensi yagiwa abaana b’abantu.” (Zabbuli 115:16) N’olwekyo, ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eri abantu kyalina akakwate n’ensi so si na ggulu. Yakuwa yawa abantu ababiri abaasooka omulimu gw’okugaziya olusuku Adeni lubune ensi yonna. (Olubereberye 1:28) Ekigendererwa kino tekyali kya kaseera buseera. Yakuwa akakasa mu Kigambo kye nti ensi ejja kubeerawo emirembe gyonna: “Emirembe emirala gigenda, n’emirembe emirala gijja; ensi n’ebeerera awo ennaku zonna.”—Omubuulizi 1:4; 1 Ebyomumirembe 16:30; Isaaya 45:18.
Ebisuubizo bya Katonda tebiyinza butatuukirizibwa, kubanga y’ali Waggulu Ennyo, era akakasa nti bijja kutuukirizibwa. Ng’ekozesa ekyokulabirako ky’enkuba, Baibuli ennyonnyola nti ebisuubizo bya Katonda birina okutuukirizibwa: “Kuba enkuba nga bw’ekka n’omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, . . . Bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange [ekigambo kya Katonda] ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” (Isaaya 55:10, 11) Katonda alina by’asuubiza abantu. Wayinza okuyitawo ekiseera ng’ebisuubizo ebyo tebinnatuukirizibwa, naye tebirema kutuukirira. ‘Bidda’ gy’ali nga bimaze okutuukiriza kye yayogera.
Awatali kubuusabuusa Yakuwa ‘yasanyuka’ bwe yatondera abantu ensi. Ku nkomerero y’olunaku olw’omukaaga olw’okutonda, yagamba nti buli kintu kyali “kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Okufuula ensi olusuku lwa Katonda olw’olubeerera kye kimu ku bigendererwa bya Katonda ekitannatuukirizibwa. Wadde kiri kityo, ebisuubizo bya Katonda ‘tebiridda gy’ali nga byereere.’ Ebisuubizo byonna ebikwata ku bulamu obutuukiridde ku nsi, abantu gye banaabeera mu mirembe era nga balina obukuumi emirembe gyonna, bijja kutuukirira.—Zabbuli 135:6; Isaaya 46:10.
Ekigendererwa kya Katonda Kijja Kutuukirizibwa
Ekibi kya bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, tekyaggyawo kigendererwa kya Katonda ekyasooka eky’okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Oluvannyuma lw’okujeema, baagobebwa mu lusuku. Bwe kityo, baafiirwa enkizo y’okwenyigira mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda eky’okuba n’abantu abatuukiridde ku lusuku lwa Katonda ku nsi. Wadde kyali kityo, Katonda yakola enteekateeka okutuukiriza ekigendererwa kye. Mu ngeri ki?—Olubereberye 3:17-19, 23.
Embeera eyaliwo mu Adeni efaananako n’ey’omusajja atandika okuzimba ennyumba ku kibanja ekirungi ennyo. Nga yakatandika okuzimba omusingi, wabaawo ajja n’ayonoona omusingi oguba guzimbiddwa. Mu kifo ky’okulekera awo okuzimba, omusajja oyo abaako ky’akolawo okusobola okumaliriza ennyumba ye. Wadde ng’ekyo kijja kumwetaagisa sente endala nnyingi, ekyo tekitegeeza nti tajja kugimaliriza.
Mu ngeri y’emu, Katonda yakola enteekateeka okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirizibwa. Mangu ddala oluvannyuma lw’okwonoona kw’abazadde baffe abasooka, yawa ezzadde lyabwe essuubi—“ezzadde” eryandimazeewo byonna ebyava mu kibi. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabi buno, Omwana wa Katonda, Yesu eyajja ku nsi n’awaayo obulamu bwe nga ssaddaaka okununula abantu, ye yali ekitundu ekikulu eky’ezzadde eryo. (Abaggalatiya 3:16; Matayo 20:28) Oluvannyuma lw’okuzuukira n’okugenda mu ggulu, Yesu yandifuuse Kabaka w’Obwakabaka. Okusingira ddala, Yesu ye muwombeefu asikira ensi awamu n’abeesigwa abazuukirira obulamu obw’omu ggulu okufugira awamu naye mu Bwakabaka buno. (Zabbuli 2:6-9) Ekiseera bwe kinaatuuka, gavumenti eno ejja kufuga ensi yonna okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eky’okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Obukadde n’obukadde bw’abantu abawombeefu bajja “kusikira ensi” mu ngeri nti, bajja kuganyulwa mu Bwakabaka buno obunaafugibwa Yesu Kristo ne banne.—Olubereberye 3:15; Danyeri 2:44; Ebikolwa 2:32, 33; Okubikkulirwa 20:5, 6.
“Bikolebwe mu Nsi, nga bwe Bikolebwa mu Ggulu”
Obulokozi buno bujja kusobozesa ebintu bibiri okubaawo, okugenda mu ggulu n’okubeera ku nsi era ekyo kyogerwako mu kwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna. Yalaba bakabaka abaalondebwa okuva mu bayigirizwa ba Kristo abeesigwa nga bali ku ntebe ez’obwakabaka mu ggulu. Banne ba Kristo Baibuli eboogerako nti bajja ‘kufuga nga bakabaka ku nsi.’ (Okubikkulirwa 5:9, 10) Weetegereze ebintu ebibiri mu kutuukirizibwa kw’ekigenderwa kya Katonda—Obwakabaka obw’omu ggulu obufugibwa Yesu Kristo ne basika banne n’ensi ezziddwa obuggya efugibwa Obwakabaka obwo. Enteekateeka za Katonda zino zonna zijja kusobozesa okuzzaawo olusuku lwa Katonda ku nsi, ekikwatagana n’ekigendererwa kye ekyasooka.
Mu ssaala ye ey’okulabirako, Yesu yagamba abayigirizwa be okusaba nti Katonda by’ayagala “bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Ebigambo ebyo byandibadde n’amakulu singa ensi ezikirizibwa oba yali kabonero bubonero akakiikirira eggulu? Ate era, byandibadde biwa amakulu gonna singa abantu abatuukirivu bonna bagenda mu ggulu? Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kirabika bulungi mu Byawandiikibwa, okuviira ddala ku ebyo ebikwata ku kutonda, okutuukira ddala ku kwolesebwa okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Ensi ejja kubeera nga Katonda bwe yayagala ebeere—olusuku lwa Katonda. Ekyo Katonda kyasuubiza okutuukiriza. Abantu abeesigwa abali ku nsi basaba ekyo kituukirizibwe.
Omutonzi, Katonda ‘atakyuka,’ okuviira ddala ku lubereberye, yakigenderera abantu babeere n’obulamu obutaggwaawo ku nsi. (Malaki 3:6; Yokaana 17:3; Yakobo 1:17) Mu myaka egisoba mu kikumi, ka magazini kano, Omunaala gw’Omukuumi, kannyonnyodde ebintu ebyo ebibiri ebiri mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Kino kitusobozesa okutegeera ebisuubizo ebikwata ku nsi ezziddwa obuggya ebisangibwa mu Byawandiikibwa. Tukusaba okweyongera okwekenneenya ensonga eno, ng’osoma n’Abajulirwa ba Yakuwa oba ng’owandiikira abakuba magazini eno.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Baibuli ekyoleka nti mu biseera eby’omu maaso, ensi ejja kufuulibwa Olusuku lwa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Essaala ya Yesu ey’okulabirako yandibadde n’amakulu singa ensi yali ya kuzikirizibwa?