Abasomi Baffe Babuuza . . .
Olusuku lwa Katonda Olwogerwako mu Baibuli Luli Ludda Wa?
▪ Yesu yasuubiza omusajja eyali anaatera okufa eyalina okukkiriza okw’amaanyi nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) Omusajja oyo yandiraze wa? Olusuku olwo lwandibadde mu ggulu, ku nsi, oba mu kifo ekirala abantu gye bakuumirwa nga balindirira omusango?
Bajjajjaffe baaliko mu Lusuku lwa Katonda. Baibuli egamba nti: “Mukama Katonda n’asimba olusuku mu Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba; n’ateeka omwo omuntu gwe yabumba . . . Mukama Katonda n’atwala omuntu n’amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga.” (Olubereberye 2:8, 15) Ebigambo ebyo bwe byavvuunulwa mu Luyonaani, olusuku olwo lwayitibwa “olusuku lwa Katonda.”
Ng’omwami n’omukyala bwe bayinza okugaziya amaka gaabwe nga bafunye abaana abawerako, ne bazadde baffe abaasooka nabo baali basuubirwa okugaziya Olusuku lwa Katonda Adeni ng’abantu beeyongedde obungi. Katonda yabagamba nti: “Mujjuze ensi mugirye.”—Olubereberye 1:28.
Ekigendererwa ky’Omutonzi waffe kyali nti abantu bazaale abaana era babeere mu Lusuku lwe wano ku nsi. Baali ba kuba balamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi nga tekibeetaagisa kuba na kifo waziikibwa bantu. Ensi yalina okuba amaka ag’enkalakkalira ag’abantu bonna. Tekyewuunyisa nti ebintu ebiri mu nsi bitusanyusa nnyo! Twatondebwa kubeera wano ku nsi erabika obulungi.
Ekigendererwa kya Katonda kyakyuka? Nedda. Kubanga Yakuwa atukakasa nti: “Bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala.” (Isaaya 55:11) Nga wayiseewo emyaka egisoba 3,000 oluvannyuma lw’okutondebwa kw’omuntu, Baibuli yayogera bw’eti ku Oyo “eyabumba ensi n’agikola” nti, “yagitonda obutaba ddungu,” wabula “yagibumba okutuulwamu.” (Isaaya 45:18) Ekigendererwa kya Katonda tekikyukanga. Ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda.
Eky’essanyu kiri nti Ebyawandiikibwa bingi ebyogera ku Lusuku lwa Katonda byogera ku bulamu bwa ku nsi. Ng’ekyokulabirako, obunnabbi bwa Isaaya bugamba nti: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu.” (Isaaya 65:21) Ennyumba zizimbibwa ludda wa, ensuku ez’emizabbibu zisimbibwa wa, era n’ebibala babiriira wa? Ebyo byonna bikolebwa wano ku nsi. Engero 2:21 woogera kaati nti: “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi.”
Yesu naye yayogera ku lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Kituufu yasuubiza nti abantu abamu bajja kufuna obulamu mu ggulu. (Lukka 12:32) Oluvannyuma lw’okufa, abantu abo bazuukizibwa basobole okufuna obulamu mu ggulu era beegatta ku Kristo okufuga abantu abanaabeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. (Okubikkulirwa 5:10; 14:1-3) Abantu abo abanaafuga ne Yesu bajja kukakasa nti Olusuku lwa Katonda olw’oku nsi lulabirirwa era lukuumibwa bulungi okusinziira ku mitindo gya Katonda.
Yesu yali akimanyi nti ekyo kye kyali ekigendererwa kya Katonda eri ensi eno kubanga yali mu ggulu ne Kitaawe ng’olusuku Adeni lutondebwa. Abantu bonna abaagala okunyumirwa obulamu mu lusuku lwa Katonda olunaabaawo ku nsi balina okuba nga booleka okukkiriza kwabwe leero. (Yokaana 3:16) Eri abantu ng’abo Yesu asuubiza nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—Lukka 23:43.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
© FORGET Patrick/SAGAPHOTO.COM/Alamy