LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp17 Na. 4 lup. 14-15
  • Ensi Erabika Obulungi—Kirooto Bulooto?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensi Erabika Obulungi—Kirooto Bulooto?
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABANTU BALUDDE NGA BAKIROWOZAAKO
  • OKUNOONYA OLUSUKU EDENI
  • ENDOWOOZA Y’ABANTU EKYUKA
  • ENSI ERABIKA OBULUNGI SI KIROOTO BULOOTO
  • “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Olusuku lwa Katonda Olwogerwako mu Baibuli Luli Ludda Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lwaki Katonda Yatonda Ensi?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?
    Katonda Atwetaagisa Ki?
See More
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 4 lup. 14-15
Praslin, Seychelles

Praslin, mu Seychelles, Charles Gordon gye yazuula ekifo kye yayita olusuku Edeni mu 1881

Ensi Erabika Obulungi​—Kirooto Bulooto?

Waliwo obutabo obulaga ebifaananyi eby’ebifo ebirabika obulungi, era mu butabo obwo bakubiriza abantu bagendeko mu bifo ebyo beerabire ebibeeraliikiriza. Naye nga bwe tumanyi, omuntu ne bw’agenda mu bifo ng’ebyo, bw’addayo ewuwe tewabaawo kikyuseeko.

Wadde kiri kityo, abantu baagala nnyo okubeera mu bifo ebirabika obulungi. Ekyo kituleetera okwebuuza nti: Ekiseera kirituuka ensi yonna n’eba ng’erabika bulungi?

ABANTU BALUDDE NGA BAKIROWOZAAKO

Okuva edda n’edda, abantu babaddenga baagala nnyo okubeera mu bifo ebirabika obulungi. Ekireetera abamu okwagala ennyo okubeera mu bifo ng’ebyo kwe kuba nti Bayibuli eyogera ku ‘lusuku Edeni, olwali ku ludda olw’ebuvanjuba.’ Lwaki olusuku Edeni lwali lusikiriza nnyo? Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda n’ameza ku ttaka buli muti ogulabika obulungi era omulungi okulya.” Olusuku olwo lwali lulabika bulungi nnyo era nga kifo kirungi okubeeramu. Ate era lwalimu omuti ogw’obulamu.”​—Olubereberye 2:8, 9.

Okugatta ku ekyo, ekitabo ky’Olubereberye kyogera ku migga ena egyali gikulukuta okuva mu lusuku Edeni. Emigga ebiri ku gyo, Tiguliisi (oba, Kidekeri) ne Fulaati, gikyamanyiddwa ne leero. (Olubereberye 2:10-14; obugambo obuli wansi) Emigga egyo ebiri giyita mu nsi ya Iraq, ne giyuwa mu Kyondo kya Buperusi. Ekitundu ensi ya Iraŋ w’eri edda kyali kitundu kya Buperusi.

Tekyewunyisa nti Abaperusi baalina ebintu bingi ebyalina akakwate n’olusuku Edeni. Mu kifo ekimu awakuumirwa ebintu eby’edda mu kibuga Philadelphia mu Amerika, mulimu kapeti eyakolebwa mu Buperusi eriko ekifaananyi ky’ekifo ekirabika obulungi ennyo omuli emiti n’ebimuli nga kyetooloddwa ekikomera. Ebiri mu kifaananyi ekyo bifaananako n’ebyo ebyali mu Lusuku Edeni Bayibuli by’eyogerako.

Mu butuufu, amawanga mangi galina engero nnyingi ezifaananamu n’ebyo Bayibuli by’eyogera ku lusuku Edeni. Abantu bwe baagenda basaasaanira mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, banyumizanga abalala ku byaliwo mu kusooka, era oluvannyuma lw’ebyasa bingi, bye baanyumyanga bye byavaamu engero n’enfumo ezifaananamu n’ebyo ebyali mu lusuku Edeni.

OKUNOONYA OLUSUKU EDENI

Waliwo abantu abaagamba nti baazuula olusuku Edeni. Ng’ekyokulabirako, Charles Gordon, munnamagye Omungereza bwe yagendako mu nsi eyitibwa Seychelles mu 1881, n’alaba ekifo ekiyitibwa Vallée de Mai, ekyali kirabika obulungi ennyo, yasanyuka nnyo era n’agamba nti yali azudde olusuku Edeni. Mu kyasa eky’ekkumi n’etaano, omusajja Omuyitale ayitibwa Christopher Columbus bwe yatuuka ku kizinga ekiyitibwa Hispaniola, kati nga y’ensi eyitibwa Dominican Republic ne Haiti, yalowooza nti yali anaatera okutuuka mu lusuku Edeni, kubanga waali walabika bulungi nnyo.

Ekitabo ekiyitibwa Mapping Paradise, kirimu mmaapu ez’edda ezisukka mu 190, nga nnyingi ku zo ziraga Adamu ne Kaawa nga bali mu lusuku Edeni. Ku mmaapu ezo kuliko emu ey’enjawulo eyaggibwa mu kiwandiiko kya Beatus ow’e Liébana eky’omu kyasa eky’ekkumi n’essatu. Waggulu ku kiwandiiko ekyo kuliko ekifaananyi ky’olusuku Edeni, era ng’emigga ena gikulukuta okuva mu lusuku olwo. Ogumu guyitibwa “Tiguliisi,” omulala “Fulaati,” omulala “Indus,” ate omulala “Yoludaani.” Emigga egyo gikulukuta giva mu nsonda ennya ez’olusuku, era nga bagamba nti ekyo kiraga engeri Obukristaayo gye bwasaasaanamu ne butuuka mu nsonda ennya ez’ensi. Ebifaananyi ng’ebyo biraga nti wadde ng’ekifo kyennyini olusuku Edeni we lwali kyali tekimanyiddwa, abantu baali bakyalulowoozaako.

John Milton, omuwandiisi w’ebitontome Omungereza eyaliwo mu kyasa eky’ekkumi n’omusanvu yawandiika ekitontome ekiyitibwa Paradise Lost, kye yeesigamya ku biri mu kitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye ebikwata ku kibi Adamu kye yakola n’engeri gye yagobwa mu lusuku Edeni. Mu kitontome ekyo yayogera ku kisuubizo kya Katonda eky’okuwa abantu obulamu obutaggwaawo wano ku nsi. Yagamba nti: “Mu kiseera ekyo ensi yonna ejja kuba ezziddwa buggya.” Oluvannyuma Milton yawandiika ekitontome ekirala ekiyitibwa Paradise Regained.

ENDOWOOZA Y’ABANTU EKYUKA

Tukirabye nti okumala ebyasa bingi abantu baali boogera ku lusuku Edeni olwali wano ku nsi. Naye lwaki kati terukyayogerwako nnyo? Ekitabo ekiyitibwa Mapping Paradise kigamba nti ekyo kiri bwe kityo olw’okuba ‘bannaddiini baaviira ddala ku ky’okunoonyereza ku kifo awaali olusuku Edeni.’

Amadiini agasinga obungi gayigiriza nti abantu bajja kugenda mu ggulu, so si kubeera mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi. Kyokka Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Okuva bwe kiri nti ensi eyonoonese nnyo, ddala ekisuubizo ekyo kirituukirira?a

ENSI ERABIKA OBULUNGI SI KIROOTO BULOOTO

Yakuwa Katonda eyassaawo olusuku Edeni asuubiza nti ajja kufuula ensi yonna ekifo ekirabika obulungi. Ekyo anaakikola atya? Yesu yatuyigiriza okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Obwakabaka obwo gavumenti, era bujja kufuga ensi yonna. Yesu Kristo ye kabaka ajja okufuga ensi nga gavumenti z’abantu zonna zimaze okuggibwawo. (Danyeri 2:44) Obwakabaka obwo bwe bunaaba bufuga ensi, ekigenderewa kya Katonda eky’okufuula ensi yonna ekifo ekirabika obulungi kijja kutuukirira.

Nnabbi Isaaya yaluŋŋamizibwa okulaga embeera bw’eriba ng’ensi ezziddwa buggya, era ng’ebizibu ebiriwo leero tebikyaliwo. (Isaaya 11:6-9; 35:5-7; 65:21-23) Tukukubiriza okusoma ebyawandiikibwa ebyo mu Bayibuli yo omanye ebyo Katonda by’ategekedde abantu abamugondera. Abo abalibeerawo mu kiseera ekyo bajja kubeera ku nsi erabika obulungi, era bajja kufuna emikisa Adamu gye yafiirwa.​—Okubikkulirwa 21:3.

Lwaki tusobola okuba abakakafu nti ensi yonna ejja kufuulibwa ekifo ekirabika obulungi? Kubanga Bayibuli egamba nti: “Eggulu lya Yakuwa, naye ensi yagiwa abaana b’abantu.” Ate era, “Katonda atayinza kulimba” ye yatusuubiza obulamu obutaggwaawo ku nsi. (Zabbuli 115:16; Tito 1:2) Ekyo nga kirungi nnyo!

a Ne mu Kuraani, mu Sulati 21 Aya 105, Al-Anbiya’ [Bannabbi], wagamba nti: “Ensi abaweereza bange Abatuukirivu be baligisikira.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share