Olina ky’Osinziirako Okukkiriza Nti Walibaawo Olusuku Lwa Katonda?
“Mmanyi omuntu mu Kristo, . . . [e]yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda.”—2 ABAKKOLINSO 12:2-4.
1. Bisuubizo ki ebya Baibuli ebisikiriza abantu bangi?
OLUSUKU lwa Katonda. Ojjukira engeri gye wawuliramu lwe wasooka okumanya nti Katonda asuubiza okuleetawo olusuku lwe ku nsi? Oyinza okujjukira bwe wayiga nti ‘amaaso g’omuzibe w’amaaso galizibuka, amatu g’omuggavu w’amatu galigguka, era nti olukoola luliba lugimu.’ Ate kiri kitya ku bunnabbi obukwata ku musege okuliira awamu n’omwana gw’endiga n’engo okugalamira awamu n’omwana gw’embuzi? Tewabugaana essanyu bwe wayiga nti abafu bajja kuzuukira era babeere n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda?—Isaaya 11:6; 35:5, 6; Yokaana 5:28, 29.
2, 3. (a) Lwaki kiyinza okugambibwa nti essuubi ly’olina eryesigamiziddwa ku Baibuli kkakafu? (b) Kintu ki ekirala ekinyweza essuubi lyaffe?
2 Essuubi ly’olina lirina kwe lyesigamiziddwa. Olina ensonga ennywevu kw’osinziira okukkiririza mu kisuubizo kya Baibuli ekikwata ku Lusuku lwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, okkiririza mu bigambo bino Yesu bye yagamba omumenyi w’amateeka eyakomererwa ku muti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43, NW) Olina n’obwesige mu kisuubizo kino: “Tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.” Era tobuusabuusa kisuubizo kya Katonda nti alisangula amaziga mu maaso gaffe, tewalibaawo kufa, nnaku, kukaaba, wadde okulumwa. Bino byonna biraga nti olusuku lwa Katonda olw’oku nsi lujja kuzzibwawo!—2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 21:4.
3 Ekintu ekirala kwe tusinziira okusuubira Olusuku lwa Katonda ky’ekyo Abakristaayo okwetooloola ensi yonna kye balimu kati. Kye kiki ekyo? Katonda ataddewo olusuku lwe olw’eby’omwoyo era alutaddemu abantu be. Ebigambo “olusuku olw’eby’omwoyo” biyinza okulabika ng’ebizibu okutegeera, naye olusuku olwo lwalagulwako, era ddala weeruli.
Okwolesebwa Okukwata ku Lusuku lwa Katonda
4. Kwolesebwa ki okwogerwako mu 2 Abakkolinso 12:2-4, era kirabika ani eyayolesebwa?
4 Omutume Pawulo yawandiika bw’ati ku lusuku olw’eby’omwoyo: ‘Mmanyi omuntu mu Kristo eyatwalibwa mu ggulu ery’okusatu. Era mmanyi omuntu ali bw’atyo oba mu mubiri oba awatali mubiri, eyatwalibwa mu lusuku lwa Katonda n’awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.’ (2 Abakkolinso 12:2-4) Ebigambo ebyo Pawulo yabyogera amangu ddala nga yaakamala okweyogerako ng’omutume. Baibuli terina muntu mulala yenna gw’eyogerako eyatwalibwa mu ggulu ery’okusatu, era Pawulo yekka ye yalyogerako. N’olwekyo, kirabika Pawulo yennyini ye yafuna okwolesebwa okwo. Mu kwolesebwa kuno, yatwalibwa mu “lusuku” ki?—2 Abakkolinso 11:5, 23-31.
5. Ggulu ki Pawulo ly’ataalaba, era yalaba “lusuku” lwa ngeri ki?
5 Ennyiriri eziriraanyewo teziraga nti ‘eggulu ery’okusatu’ bwe bwengula oba ebbanga ng’abakugu abeekenneenya eby’obwengula bwe bateebereza. Baibuli etera okukozesa nnamba satu okuggumiza. (Omubuulizi 4:12; Isaaya 6:3; Matayo 26:34, 75; Okubikkulirwa 4:8) N’olwekyo, Pawulo kye yalaba mu kwolesebwa kyali kintu ekigulumiziddwa. Kyali kya bya mwoyo.
6. Bunnabbi ki obw’emabega obutangaaza ku ekyo Pawulo kye yalaba?
6 Obunnabbi bwa Baibuli obw’emabegako bututangaaza ku nsonga eyo. Olw’okuba abantu be ab’edda tebaali beesigwa, Katonda yasalawo okuleka Abababulooni okulumba Yuda ne Yerusaalemi. Kino kyaviirako ebibuga ebyo okuzikirizibwa mu 607 B.C.E., ng’embala ya Baibuli bw’eraga. Obunnabbi bwalaga nti ensi eyo yandibadde matongo okumala emyaka 70; oluvannyuma Katonda yandikkirizza Abayudaaya abeenenyezza okuddayo mu nsi yaabwe ne bazzaawo okusinza okw’amazima. Kino kyaliwo okuva mu 537 B.C.E. n’okweyongerayo. (Ekyamateeka 28:15, 62-68; 2 Bassekabaka 21:10-15; 24:12-16; 25:1-4; Yeremiya 29:10-14) Ate kiki ekyandituuse ku nsi yaabwe? Mu myaka egyo 70, ensi eyo yandizise, ettaka lyandikaze, era yandifuuse kisulo kya bibe. (Yeremiya 4:26; 10:22) Kyokka, waaliwo ekisuubizo kino: “Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n’afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n’eddungu lye okuba ng’olusuku lwa Mukama.”—Isaaya 51:3.
7. Kiki ekyali eky’okubaawo oluvannyuma lw’emyaka 70 ng’ensi eri matongo?
7 Ekisuubizo ekyo kyatuukirizibwa oluvannyuma lw’emyaka 70. Olw’emikisa gya Katonda, embeera yalongooka. Lowooza ku bino: “Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti. Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n’essanyu n’okuyimba; . . . Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba: kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n’emigga mu ddungu. N’omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n’ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi: mu kifo eky’ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n’essaalu n’ebitoogo.”—Isaaya 35:1-7.
Abantu Abakomezzeddwawo era Abakyusiddwa
8. Tumanya tutya nti Isaaya essuula 35 ekwata ku bantu?
8 Nga yali nkyukakyuka ya maanyi nnyo! Ensi eyali amatongo okufuuka olusuku olulungi. Kyokka, obunnabbi obwo era n’obulala obwesigika bwalaga nti wandibaddewo n’enkyukakyuka mu bantu, ng’ekifo ekyali amatongo bwe kyafuuka olusuku olulungi. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Isaaya yali ayogera ku abo ‘Yakuwa be yagula,’ abandikomyewo mu nsi yaabwe ‘nga bayimba n’essanyu era nga bajaguza.’ (Isaaya 35:10) Ekyo kyali tekikwata ku ttaka, wabula ku bantu. Ate era, mu ssuula endala, Isaaya yayogera bw’ati ku bantu abazzibwayo mu Sayuuni: “Bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, . . . kuba ng’ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, . . . Mukama Katonda bw’alimeza obutuukirivu n’okutendereza mu maaso g’amawanga gonna.” Era Isaaya yayogera bw’ati ku bantu ba Katonda: “Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, . . . n’anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng’olusuku olufukirirwa amazzi.” (Isaaya 58:11; 61:3, 11; Yeremiya 31:10-12) Bwe kityo nno, ng’ettaka bwe lyalongooka, n’Abayudaaya abandizziddwayo bandikoze enkyukakyuka.
9. ‘Lusuku’ ki Pawulo lwe yalaba mu kwolesebwa, era okwolesebwa okwo kwatuukirizibwa ddi?
9 Obunnabbi obwo butuyamba okutegeera Pawulo kye yalaba mu kwolesebwa. Kyandikutte ku kibiina Ekikristaayo, kye yayita ‘ennimiro ya Katonda’ eyandibadde ebala ebibala. (1 Abakkolinso 3:9) Okwolesebwa okwo kwandituukiriziddwa ddi? Ekyo Pawulo kye yalaba yakiyita ‘okubikkulirwa,’ era nga kwandituukiriziddwa mu biseera eby’omu maaso. Yakimanya nti oluvannyuma lw’okufa kwe wandizeewo bakyewaggula. (2 Abakkolinso 12:1; Ebikolwa 20:29, 30; 2 Abasessaloniika 2:3, 7) Olw’okuba bakyewaggula baatutumuka era ne balabika ng’ababuutikidde Abakristaayo, Abakristaayo ab’amazima baali tebayinza kugeraageranyizibwa ku nnimiro engimu. Kyokka, ekiseera kyandituuse okusinza okw’amazima ne kuddamu okugulumizibwa. Abantu ba Katonda bandizzeemu okugulumizibwa ne kiba nti ‘abatuukirivu bandimasamasizza ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe.’ (Matayo 13:24-30, 36-43) Ekyo kyaliwo nga wayiseewo emyaka mitono oluvannyuma lw’Obwakabaka bwa Katonda okusibwawo mu ggulu. Era emyaka bwe gyagenda gyekulungulula, kyeyoleka kaati nti abantu ba Katonda baali mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo, Pawulo lwe yalaba mu kwolesebwa.
10, 11. Lwaki tuyinza okugamba nti tuli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo wadde nga tetutuukiridde?
10 Kyo kituufu nti tuli bantu abatatuukiridde, era tekitwewuunyisa oluusi n’oluusi ebizibu bwe bibalukawo, nga bwe kyali eri Abakristaayo abaaliwo mu kiseera kya Pawulo. (1 Abakkolinso 1:10-13; Abafiripi 4:2, 3; 2 Abasessaloniika 3:6-14) Kyokka, lowooza ku lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo lwe tweyagaliramu kati. Bwe tulugeraageranya ku mbeera embi gye twalimu mu by’omwoyo, tulaba nti tuwonyezeddwa mu by’omwoyo. Ate era geraageranya enjala ey’ebyomwoyo gye twalina n’engeri gye tuliisibwamu obulungi ennyo mu by’omwoyo kati. Mu kifo ky’okuba ng’abali mu lukoola mu by’omwoyo, Katonda asiima abantu be era abawadde emikisa mingi nnyo. (Isaaya 35:1, 7) Mu kifo ky’okubeera mu kizikiza eky’eby’omwoyo, tulina ekitangaala eky’eby’omwoyo era Katonda atusiima. Bangi abaali batawulirangako ku bunnabbi bwa Baibuli kati babuwulidde era bategeera Ebyawandiikibwa kye bigamba. (Isaaya 35:5) Ng’ekyokulabirako, obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baasoma obunnabbi bwa Danyeri lunyiriri ku lunyiriri. Oluvannyuma beekenneenya buli ssuula y’ekitabo kya Baibuli ekya Isaaya. Emmere eno ey’eby’omwoyo ezimba si bujulizi obulaga nti tuli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo?
11 Ate lowooza ku nkyukakyuka mu nneeyisa abantu ze bakoze nga bafuba okussa mu nkola emisingi gy’Ekigambo kya Katonda. Tebakyeyisa mu ngeri ey’obukambwe ng’ensolo. Oboolyawo naawe okoze enkyukakyuka ng’ezo era ebivuddemu bibadde birungi, era baganda bo ne bannyoko bakoze kye kimu. (Abakkolosaayi 3:8-14) Bwe kityo, bw’okuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa, obeera n’abantu ab’emirembe era abasanyufu. Kituufu nti tebatuukiridde, naye tebasobola kugeraageranyizibwa ku mpologoma oba ensolo enkambwe. (Isaaya 35:9) Embeera eyo ennungi ey’eby’omwoyo eyoleka ki? Mazima ddala eyoleka nti tweyagalira mu mbeera ennungi ey’eby’omwoyo gye tuyita olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Era olusuku lwaffe olw’eby’omwoyo lukiikirira olusuku lwa Katonda olw’oku nsi lwe tujja okweyagaliramu singa tunaasigala nga tuli beesigwa eri Katonda.
12, 13. Kiki kye tulina okukola okusobola okusigala mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo?
12 Wadde kiri kityo, waliwo ekintu kye tutalina kubuusa maaso. Katonda yagamba bw’ati Abaisiraeri: “Kale muneekumanga ekiragiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n’amaanyi, muyingire mulye ensi gye musomokera okugendamu okugirya.” (Ekyamateeka 11:8) Mu Eby’Abaleevi 20:22, 24, ensi eyo y’emu eyogerwako bw’eti: “Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n’emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingizaamu okutuula omwo, eremenga okubasesemera ddala. Naye n[n]abagamba mmwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nange ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki.” Yee, okubeera mu Nsi Ensuubize kyesigama ku kubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda. Olw’okuba Abaisiraeri tebaamugondera, Katonda yaleka Abababulooni okubawamba era ne babaggya mu nsi yaabwe.
13 Wayinza okubaawo ebintu bingi ebitusanyusa mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Embeera nnungi nnyo era ezzaamu amaanyi. Tuli mu mirembe ne Bakristaayo bannaffe abafubye okulekayo engeri eziringa ez’ensolo. Bafuba okubeera ab’ekisa era abantu abayamba abalala. Wadde kiri kityo, okusobola okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo kyetaagisa ekisingawo ku kuba n’enkolagana ennungi n’abantu abo. Tulina okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne tukola by’ayagala. (Mikka 6:8) Twajja kyeyagalire mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, naye tuyinza okuluvaamu oba okulugobwamu singa tetufuba kukuuma nkolagana yaffe ne Katonda nga nnungi.
14. Kiki ekinaatuyamba okusigala mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo?
14 Ekintu ekikulu ekijja okutuyamba okulusigalamu kwe kunywerera ku Kigambo kya Katonda. Weetegereze olulimi olw’akabonero olukozesebwa mu Zabbuli 1:1-3: “Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi . . . Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.” Okugatta ku ekyo, waliwo ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli omuddu omwesigwa era ow’amagezi by’akozesa okututuusaako emmere ey’eby’omwoyo mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo.—Matayo 24:45-47.
Manya Ebisingawo ku Lusuku lwa Katonda
15. Lwaki Musa teyakkirizibwa kukulembera Baisiraeri kuyingira Nsi Nsuubize, naye ki kye yalaba?
15 Lowooza ku kintu ekirala ekisonga ku Lusuku lwa Katonda. Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okubundabundira mu ddungu okumala emyaka 40, Musa yabatuusa ku Nsenyi za Mowaabu, eziri ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani. Olw’ensobi Musa gye yakola emabegako, Yakuwa teyamukkiriza kukulembera Baisiraeri kusomoka Yoludaani. (Okubala 20:7-12; 27:12, 13) Musa yeegayirira bw’ati Katonda: “Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani.” Wadde nga teyakkirizibwa kugiyingiramu, oluvannyuma lw’okulinnya Olusozi Pisuga n’okulaba ebitundu by’ensi eby’enjawulo, Musa ateekwa okuba nga yakiraba nti ‘ensi eyo yali nnungi.’ Olowooza ensi eyo yali efaanana etya?—Ekyamateeka 3:25-27.
16, 17. (a) Engeri Ensi Ensuubize gye yali efaananamu eyawukana etya ku ngeri ekifo ekyo gye kifaananamu leero? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Ensi Ensuubize yali efaanana ng’olusuku lwa Katonda?
16 Singa ensi eyo ogirowoozaako ng’osinziira ku ngeri gy’efaananamu kati, oyinza okukitwala nti ensi eyo yali ddungu eryalimu enjazi era omwayakanga akasana ak’amaanyi ennyo. Kyokka, waliwo obukakafu obulaga nti ensi eyo yali efaanana bulungi nnyo mu biseera bya Baibuli. Mu katabo Scientific American, omukugu mu by’ettaka n’amazzi ayitibwa Dr. Walter C. Lowdermilk yagamba nti ensi eyo “eyonooneddwa okumala enkumi n’enkumi z’emyaka.” Omukugu ono yawandiika bw’ati: “Eddungu eryalya ensi eyo eyali erabika obulungi lyaleetebwawo bantu, so si mbeera ya butonde.” Mu butuufu, okunoonyereza kwe kwalaga nti “ensi eyo lyali ddundiro erirabika obulungi ennyo.” N’olwekyo, abantu be boonoonye ekifo ekyali “eddundiro erirabika obulungi.”a
17 Bw’olowooza ku by’osomye mu Baibuli, oyinza okukiraba lwaki kituukirawo okugamba nti Ensi Ensuubize yalinga olusuku lwa Katonda. Jjukira Yakuwa bye yagamba abantu ng’ayitira mu Musa: “Ensi gye musomokera okugendamu okugirya ye nsi ey’ebiwonvu n’ensozi, enywa amazzi ag’enkuba eva mu ggulu: ensi Mukama Katonda wo gy’ayagala.”—Ekyamateeka 11:8-12.
18. Kifaananyi ki ekikwata ku Nsi Ensuubize, Isaaya 35:2 kye lwawa Abaisiraeri abaali mu buwambe?
18 Ensi Ensuubize yali erabika bulungi nnyo ne kiba nti okwogera ku bifo byayo ebimu kyaleeteranga omuntu okulowooza ku lusuku lwa Katonda. Kino kyeyoleka bulungi nnyo mu bunnabbi obuli mu Isaaya essuula 35, obwatuukirizibwa omulundi ogusooka ng’Abaisiraeri bakomyewo okuva e Babulooni. Isaaya yagamba: “Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n’essanyu n’okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni: baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe.” (Isaaya 35:2) Lebanooni, Kalumeeri ne Saloni ebyogerwako biteekwa okuba nga byaleetera Abaisiraeri okukuba ekifaananyi ekirungi ennyo.
19, 20. (a) Nnyonnyola ebikwata ku Saloni eky’edda. (b) Engeri emu gye tuyinza okunywezaamu essuubi lyaffe ery’Olusuku lwa Katonda y’eruwa?
19 Lowooza ku Saloni, ekitundu ekyali kisangibwa wakati w’ensozi z’e Samaliya n’Ennyanja Ennene, oba Meditereniyani. (Laba ekifaananyi ku lupapula 10.) Kyali kimanyiddwa ng’ekifo ekirabika obulungi ennyo era ekibaza ebirime. Olw’okuba n’amazzi agamala, kyali kirungi okulundiramu ebisibo, era mu bitundu byakyo ebimu eby’omu bukiika kkono waaliyo ebibira ebiggumivu. (1 Ebyomumirembe 27:29; Oluyimba 2:1; Isaaya 65:10) Bwe kityo, Isaaya 35:2 lwali lulagula ku kulongoosa ensi erabika obulungi efuukire ddala ng’olusuku lwa Katonda. Ate era obunnabbi obwo bwali busonga ku lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, nga kituukagana n’ekyo Pawulo kye yalaba mu kwolesebwa. Mazima ddala, obunnabbi buno awamu n’obulala bunyweza essuubi lyaffe erikwata ku lusuku lwa Katonda olw’oku nsi abantu lwe bajja okubeeramu.
20 Nga tuli mu lusuku lwaffe olw’eby’omwoyo, tusobola okweyongera okulusiima era ne tunyweza essuubi lyaffe erikwata ku Lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Tutya? Nga twongera okumanya amakulu g’ebyo bye tusoma mu Baibuli. Baibuli eyogera ku bifo ebitali bimu. Wandyagadde okumanya ebifo ebyo gye byali bisangibwa era n’okumanya ebbanga eririwo okuva ku kifo ekimu okutuuka ku kirala? Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gy’oyinza okubizuula.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kitabo kye ekiyitibwa The Geography of the Bible, Denis Baly, agamba bw’ati: “Okuva mu biseera Baibuli we yawandiikibwa, ebimera by’omu kifo ekyo bigenze byonooneka.” Lwaki? “Abantu baali beetaaga enku n’emiti egy’okuzimbisa, n’olwekyo . . . baatandika okutema emiti era kino ne kiviirako embeera y’obudde ey’ensi eyo okwonooneka. Okutaataaganya embeera y’obudde . . . kye kyaviirako ensi eyo okugenda ng’eyonooneka.”
Ojjukira?
• “Lusuku” ki Pawulo lwe yalaba mu kwolesebwa?
• Okutuukirizibwa kwa Isaaya essuula 35 okwasooka kwaliwo ddi, era erina kakwate ki n’ekyo Pawulo kye yalaba mu kwolesebwa?
• Tuyinza tutya okwongera okusiima n’okutegeera olusuku lwaffe olw’eby’omwoyo era n’okunyweza essuubi lyaffe ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Olusenyi lwa Saloni, ekifo ekyali ekigimu mu Nsi Ensuubize
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Musa yakiraba nti yali ‘nsi nnungi’