LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 11/1 lup. 13-19
  • ‘Tambulatambula mu Nsi’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Tambulatambula mu Nsi’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okumanya Obuwanvu bw’Olugendo Kyongera ku Kutegeera Kwo
  • Okutegeera Endowooza y’Abantu ne Kye Baakola
  • Yoleka Omwoyo gw’Okwefiiriza
  • Yiga Ebikwata ku Nsi Ensuubize n’Eyo gye Tulindirira
  • ‘Ensi Ennungi era Engazi’
    ‘Laba Ensi Ennungi’
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Ensi y’Abasajja ab’Edda Abaali Batya Katonda
    ‘Laba Ensi Ennungi’
  • Gidiyoni Yawangula Abamidiyaani
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 11/1 lup. 13-19

‘Tambulatambula mu Nsi’

‘Golokoka otambuletambule mu nsi olabe obuwanvu bwayo n’obugazi bwayo.’​—OLUBEREBERYE 13:17.

1. Kiki Katonda kye yagamba Ibulayimu okukola?

MU NSI ezimu, abantu abamu banyumirwa okutambulako mu byalo, oboolyawo ku wiikendi nga bali mu mmotoka zaabwe. Abalala bavuga bugaali okusobola okugolola ku magulu n’okulaba ebifo ebisanyusa. Ate abalala balinnya ensozi okusobola okulaba ebifo ebimu. Okutambula ng’okwo kuba kwa kaseera katono. Naye teebereza engeri Ibulayimu gye yawuliramu nga Katonda amugambye nti: ‘Golokoka, otambuletambule mu nsi olabe obuwanvu bwayo n’obugazi bwayo; kubanga ndigikuwa ggwe’!​—Olubereberye 13:17.

2. Bwe yava e Misiri, Ibulayimu yagenda wa?

2 Lowooza ku mbeera eyaliwo. Ibulayimu ne mukazi we awamu n’abalala, baali bagenze mu Misiri okubeerayo akaseera katono. Olubereberye essuula 13 etubuulira nti baava mu Misiri era ne batwala ebisolo byabwe mu “bukiika ddyo [Negebu].” Ibulayimu yeeyongera ‘okutambula n’ava mu Negebu n’atuuka e Beseri.’ Ekizibu bwe kyabalukawo wakati w’abasumba be n’aba Lutti omwana wa muganda we era ne kirabika nga buli omu yalina okufuna w’alundira ebisolo bye, Ibulayimu yasaba Lutti okusooka okulonda ekifo ky’ayagala. Lutti yalonda “olusenyi olwa Yoludaani,” olwali olugimu nga “lufaanana ng’olusuku lwa Mukama,” era ekiseera bwe kyayitawo yatandika okubeera mu Sodomu. Katonda yagamba bw’ati Ibulayimu: “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng’oyima mu kifo mw’oli, obukiika obwa kkono n’obwa ddyo n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba.” Kirabika ng’ayimiridde ku kasozi mu Beseri, Ibulayimu yasobola okulaba ebitundu ebirala eby’ensi eyo. Naye teyandikomye ku kutunuulira butunuulizi nsi eyo. Katonda yamugamba ‘okutambulatambula mu nsi eyo’ era amanye engeri gy’efaananamu n’ebifo byayo.

3. Lwaki kiyinza okuba ekizibu okukuba ekifaananyi eky’ebifo Ibulayimu bye yagendamu?

3 Ebifo ka bibe bimeka Ibulayimu bye yatuukamu nga tannatuuka Kebbulooni, ateekwa okuba nga yamanya bulungi Ensi Ensuubize okusinga bangi ku ffe. Lowooza ku bifo ebyogerwako mu ssuula eno, gamba nga Negebu, Beseri, olusenyi lwa Yoludaani, Sodomu ne Kebbulooni. Kikuzibuwalira okukuba ekifaananyi eky’ebifo ebyo we byali bisangibwa? Abantu ba Yakuwa abasinga obungi kibazibuwalira okukuba ekifaananyi ekyo kubanga batono nnyo ku bo abasobodde okutuukako mu bifo bye basomako mu Baibuli, ne batambula mu buli kanyomero k’ebifo ebyo. Wadde kiri kityo, twagala nnyo okumanya wa ebifo ebyogerwako mu Baibuli we bisangibwa. Lwaki?

4, 5. (a) Engero 18:15, lukwata lutya ku kufuna okumanya n’okutegeera ebifo ebyogerwako mu Baibuli? (b) Zeffaniya essuula 2 eyogera ku ki?

4 Ekigambo kya Katonda kigamba: “Omutima gw’omutegeevu gufuna okumanya; n’okutu kw’ab’amagezi kunoonya okumanya.” (Engero 18:15) Waliwo ebintu bingi omuntu by’ayinza okumanya, kyokka ekisinga obukulu kwe kufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda n’ebigendererwa bye. Kya lwatu, Baibuli esobola okutuwa okumanya okutuufu. (2 Timoseewo 3:16) Weetegereze nti okumanya kuno kuzingiramu okutegeera. Okutegeera bwe busobozi bw’okulaba ensonga n’omanya byonna ebizingirwamu. Bwe kityo bwe kiri ne ku bifo ebyogerwako mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, ffenna tumanyi Misiri weeri, naye tutegeera kyenkana wa bwe kigambibwa nti Ibulayimu yava mu Misiri n’agenda ‘e Negebu,’ oluvannyuma n’agenda e Beseri, ate n’e Kebbulooni? Otegeera obuwanvu obuliwo wakati w’ebifo ebyo?

5 Oba oyinza okuba nga mu kusoma kwo okwa Baibuli wasoma Zeffaniya essuula 2. Mu ssuula eyo wasoma ku mannya g’ebibuga, ag’abantu era n’ag’ebifo. Mulimu Ggaaza, Asukulooni, Asudodi, Ekuloni, Sodomu, Nineeve, Kanani, Mowaabu, Amoni ne Bwasuli. Wasobola kyenkana wa okukuba ekifaananyi eky’ebifo ebyo ebyabeerangamu abantu abaazingirwa mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Katonda?

6. Lwaki Abakristaayo abamu basiima nnyo omugaso gwa mmaapu? (Laba akasanduuko.)

6 Abasomi b’Ekigambo kya Katonda bangi baganyuddwa nnyo mu kukozesa mmaapu eziraga ensi ezoogerwako mu Baibuli. Tebakikola olw’okuba nti mmaapu zisanyusa okulaba, naye olw’okuba bakitegeera nti bwe bakozesa mmaapu, bongera okutegeera Ekigambo kya Katonda. Era mmaapu zisobola okubayamba okwongera ku kutegeera kwabwe, bwe balaba engeri ebintu bye bamanyi gye bikwataganamu n’ebirala. Nga twekeneenya ebyokulabirako ebimu, oboolyawo naawe ojja kwongera okusiima Yakuwa era weeyongera okutegeera ebintu ebyogerwako mu Kigambo kye.​—Laba akasanduuko ku lupapula 14.)

Okumanya Obuwanvu bw’Olugendo Kyongera ku Kutegeera Kwo

7, 8. (a) Kintu ki ekyewuunyisa Samusooni kye yakola mu Ggaaza? (b) Biki ebifuula olugendo Samusooni lwe yatindigga okuba olw’amakulu? (c) Okutegeera ennyiriri zino ezikwata ku Samusooni kituyamba kitya?

7 Ekyabalamuzi 16:2, woogera ku Mulamuzi Samusooni ng’ali mu kibuga Ggaaza. Erinnya Ggaaza teriva ku mawulire ennaku zino, n’olwekyo oyinza okumanya ekifo Samusooni gye yali, mu nsi y’Abafirisuuti okumpi n’olubalama lw’Ennyanja Meditereniyani. [11] Kati weetegereze Ekyabalamuzi 16:3 kye lugamba: “Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n’agolokoka mu ttumbi, n’akwata enzigi [z’ekibuga] n’emifuubeeto [oba emyango] gyombi, n’abisimbulira ddala byonna era n’ekisiba, n’abiteeka ku kibegabega kye, n’abitwala ku ntikko y’olusozi oluli mu maaso g’e Kebbulooni.”

8 Kya lwatu, enzigi n’emyango gyakwo eby’ekibuga nga Ggaaza biteekwa okuba nga byali binene nnyo era nga bizitowa. Teeberezaamu ng’ogezaako okubyetikka! Kyokka, Samusooni ye yabyetikka, naye wa gye yabitwala, era olugendo lwe yatindigga lwenkana wa obuwanvu? Ggaaza kiri ku lubalama lw’ennyanja. [15] Kyokka, Kebbulooni kiri ku luuyi olw’ebuvanjuba ku bugulumivu bwa ffuuti 3,000. Mazima ddala kasozi ka maanyi! Tetusobola kumanyira ddala kifo ‘olusozi oluli mu maaso g’e Kebbulooni’ we luli, naye ekibuga ekyo kiri mayilo nga 37 okuva e Ggaaza era nga kiri waggulu ku lusozi! Bwe tumanya olugendo Samusooni lwe yatindigga, ekyo kye yakola tekitwewuunyisa nnyo? Ate jjukira nti ekyasobozesa Samusooni okwetikka ebintu ebyo gwe ‘mwoyo gwa Yakuwa ogwamujjako.’ (Ekyabalamuzi 14:6, 19; 15:14) Ng’Abakristaayo leero, tetusuubira mwoyo gwa Katonda kutuwa maanyi nga Samusooni ge yalina. Kyokka, omwoyo ogwo guyinza okutuyamba okweyongera okutegeera ebintu eby’omwoyo eby’omunda era ne tweyongera okuba abanywevu. (1 Abakkolinso 2:10-16; 13:8; Abaefeso 3:16; Abakkolosaayi 1:9, 10) N’olwekyo, okutegeera ennyiriri zino ezikwata ku Samusooni kituyamba okuba abakakafu nti omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba.

9, 10. (a) Obuwanguzi bwa Gidiyoni eri Abamidiyaani bwazingiramu ki? (b) Okumanya ebifo gye baalwanira kyongera kitya amakulu mu ebyo ebyogerwako?

9 Engeri Gidiyoni gye yawangulamu Abamidiyaani kye kintu ekirala ekyogerwako mu Baibuli ekituleetera okumanya obuwanvu bw’olugendo. Abasomi ba Baibuli abasinga obungi bamanyi nti Omulamuzi Gidiyoni n’abasajja be 300 baawangula eggye ly’abaserikale 135,000, omwali Abamidiyaani, Abamaleki, n’abalala abaali basiisidde mu kiwonvu kya Yezureeri okumpi n’olusozi Mole. [18] Abasajja ba Gidiyoni baafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa zaabwe okuggyamu ebitawuliro era ne boogerera waggulu nti: “Ekitala kya Mukama era kya Gidiyoni!” Kino kyaviirako abalabe okutabulwatabulwa era ne batya, n’ekyavaamu baatandika okuttiŋŋana. (Ekyabalamuzi 6:33; 7:1-22) Naye ekyo kyokka kye kyakolebwa mu kiro ekyo? Weeyongere osome Ekyabalamuzi essuula 7 ne 8. Ojja kukiraba nti Gidiyoni yeeyongera okuwondera abalabe. Ku bifo ebingi ebyayogerwako, ebimu tebimanyiddwa we bisangibwa leero, n’olwekyo biyinza obutaba ku mmaapu za Baibuli. Wadde kiri kityo, ebisinga obungi bimanyiddwa ne kiba nti tusobola okumanya Gidiyoni bye yaddako okukola.

10 Gidiyoni yawondera abaserikale abaasigalawo n’ayita e Besusitta wuuyo mu bukiika ddyo bwa Aberumekola okumpi ne Yoludaani. (Ekyabalamuzi 7:22-25) Baibuli egamba: ‘Gidiyoni n’atuuka ku Yoludaani, n’asomoka, ye n’abasajja ebikumi bisatu abaali naye, nga bakooye, naye nga bakyabagoberera.’ Nga bamaze okusomoka Yoludaani, Abaisiraeri baawondera abalabe okutuuka mu bukiika ddyo wa Sukkosi ne Penueri ebiri okumpi ne Yaboki, ate ne bambuka akasozi okutuuka e Yogubeka (okumpi n’ekibuga kati ekiyitibwa Amman, Jordan). Okuwondera okwo n’okulwana by’atwala mayilo 50. Gidiyoni yawamba era n’atta bakabaka Abamidiyaani babiri, olwo n’alyoka akomawo mu kibuga kye, Ofula, ekiri okumpi n’ekifo olutalo we lwatandikira. (Ekyabalamuzi 8:4-12, 21-27) Kya lwatu, Gidiyoni teyalwanira budakiika butonotono omwali okufuuwa amakondeere, okuwuuba ebitawuliro, n’okuwoggana. Ate oluvannyuma lw’okutegeera ebyo ebigambo bino ebyogerwa ku basajja ab’okukkiriza byongera okuba n’amakulu: “Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyoni, [n’abalala] okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo.” (Abaebbulaniya 11:32-34) Abakristaayo nabo bayinza okukoowa mu mubiri, naye si kikulu nnyo obutalekulira kukola Katonda ky’ayagala?​—2 Abakkolinso 4:1, 16; Abaggalatiya 6:9.

Okutegeera Endowooza y’Abantu ne Kye Baakola

11. Olugendo lw’Abaisiraeri olw’okugenda e Kadesi n’okuvaayo kwabwe lwali lutya?

11 Abamu bayinza okukebera mmaapu za Baibuli okusobola okuzuula ebifo, naye olowooza mmaapu ziyinza okutuyamba okutegeera endowooza y’abantu? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Baisiraeri abaatambula okuva ku Lusozi Sinaayi okwolekera Ensi Ensuubize. Baagenda bawummulamu okutuusa lwe baatuuka e Kadesi (oba Kadesubanea). [9] Ekyamateeka 1:2, lulaga nti kyabatwalira ennaku 11 okutambula olugendo luno oluweza mayilo nga 170. Nga bali mu kifo ekyo, Musa yatuma abakessi 12 okugenda mu Nsi Ensuubize. (Okubala 10:12, 33; 11:34, 35; 12:16; 13:1-3, 25, 26) Abakessi baakwata luuyi olw’ebukiika kkono ne bayita e Negebu, era kirabika ne baayita e Beeruseba, baabo mu Kebbulooni, ne batuuka mu bukiika kkono bw’Ensi Ensuubize. (Okubala 13:21-24) Olw’okukkiriza alipoota embi ey’abakessi ekkumi, kyaviirako Abaisiraeri okubundabundira mu ddungu okumala emyaka 40. (Okubala 14:1-34) Ekyo kiraga ki ku kukkiriza kwabwe n’okuba abeetegefu okwesiga Yakuwa?​—Ekyamateeka 1:19-33; Zabbuli 78:22, 32-43; Yuda 5.

12. Kiki kye tuyinza okwogera ku kukkiriza kw’Abaisiraeri, era ekyo lwaki twandikirowoozezaako?

12 Olugendo olwo lulowoozeeko ng’ofumiitiriza ku bifo bye baayitamu. Singa Abaisiraeri baayoleka okukkiriza ne bagoberera amagezi ga Yoswa ne Kalebu, bandibadde beekooloobya okusobola okutuuka mu Nsi Ensuubize? Kadesi kyali mayilo nga kkumi okuva e Beerilakairo, ekifo Isaaka ne Lebbeeka gye baabeeranga. [7] Waali tewawera na mayilo 60 okutuuka e Beeruseba, ekifo ekyali ku nsalo ya bukiika ddyo bw’Ensi Ensuubize. (Olubereberye 24:62; 25:11; 2 Samwiri 3:10) Oluvannyuma lw’okutambula okuva e Misiri ne batuuka ku Lusozi Sinaayi ate ne batambula mayilo 170 okutuuka e Kadesi, awo kyenkana baali batuuse mu Nsi Ensuubize. Naffe tunaatera okuyingira mu Lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Kiki kye tuyiga mu kino? Ng’alowooza ku mbeera y’Abaisiraeri, Omutume Pawulo yawa okubuulirira kuno: “Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo [ey’obutaba muwulize].”​—Abaebbulaniya 3:16–4:11.

13, 14. (a) Mbeera ki eyaleetera Abagibyoni okubaako kye basalawo? (b) Endowooza y’Abagibyoni yeeyoleka etya, era tubayigirako ki?

13 Endowooza eyawukana ku eyo, kwe kugamba, ey’okwesiga Katonda n’okutuukiriza by’ayagala, yeeyolekera mu kyokulabirako ky’Abagibyoni ekyogerwako mu Baibuli. Oluvannyuma lwa Yoswa okukulembera Abaisiraeri ne basomoka Omugga Yoludaani ne batuuka mu nsi Katonda gye yasuubiza okuwa bazzukulu ba Ibulayimu, ekiseera kyali kituuse egobebwemu Abakanani. (Ekyamateeka 7:1-3) N’Abagibyoni baali baakugobwamu. Abaisiraeri baawamba Yeriko ne Ayi era ne basiisira e Girugaali. Abagibyoni tebaayagala kufa ng’Abakanani abakolimire, bwe kityo baatumira Yoswa ababaka ng’ali e Girugaali. Beefuula ng’abavudde ebweru wa Kanani basobole okukola endagaano ey’emirembe n’Abebbulaniya.

14 Ababaka abo baagamba: ‘Abaddu bo bavudde mu nsi ey’ewala ennyo okujja wano olw’erinnya lya Mukama Katonda wo.’ (Yoswa 9:3-9) Engoye zaabwe enkadde n’emmere eyali ekukudde byalaga nti bavudde wala, kyokka Gibyoni kyali mayilo 20 okuva e Girugaali. [19] Nga bamaze okubamatiza, Yoswa n’abaami be baakola endagaano ey’emirembe ne Gibyoni era n’ebibuga ebikiriraanye. Abagibyoni baakola akakodyo ako olw’okuba baali tebaagala bwagazi kuzikirizibwa? Nedda, kaalaga nti baali baagala okusiimibwa Katonda wa Isiraeri. Yakuwa yakkiriza Abagibyoni okufuuka “abaasi b’enku era abasenyi b’amazzi eri ekibiina n’eri ekyoto kya Mukama.” (Yoswa 9:11-27) Abagibyoni beeyongera okukola emirimu egya wansi mu buweereza bwa Yakuwa. Kirabika, baali bamu ku Banesinimu abaakomawo okuva e Babulooni era ne baweereza mu yeekaalu ezziddwaawo. (Ezera 2:1, 2, 43-54; 8:20) Tuyinza okukoppa endowooza yaabwe nga tufuba okuba mu mirembe ne Katonda era nga tuba beetegefu okukola emirimu egya wansi mu buweereza bwe.

Yoleka Omwoyo gw’Okwefiiriza

15. Lwaki twandifuddeyo okumanya ebikwata ku bifo ebyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani?

15 N’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, gamba ebyo ebikwata ku ŋŋendo n’obuweereza bwa Yesu n’omutume Pawulo byogera ku bifo ebitali bimu. (Makko 1:38; 7:24, 31; 10:1; Lukka 8:1; 13:22; 2 Abakkolinso 11:25, 26) Mu bitundu ebiddako, gezaako okuteebereza eŋŋendo bwe zaali.

16. Abakristaayo ab’omu Beroya baalaga batya nti basiima Pawulo?

16 Ng’ali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri, (olukoloboze olwa kakobe ku mmaapu) Pawulo yatuuka mu Firipi, kati ekisangibwa mu Buyonaani. [33] Yawa obujulirwa ng’ali eyo, yasibibwa mu kkomera era oluvannyuma n’ateebwa, awo n’agenda mu Ssesaloniika. (Ebikolwa 16:6–17:1) Abayudaaya bwe beecwacwana, ab’oluganda Abasessaloniika baakubiriza Pawulo okugenda e Beroya, ekyali kisangibwa mayilo 40 okuva awo. Abantu b’omu Beroya baasiima obubaka bwa Pawulo, naye Abayudaaya bajja ne basasamaza abantu. N’olwekyo, ‘ab’oluganda baagamba Pawulo okugenda ku nnyanja,’ era ‘abo abaamuwerekerako baamutuusa mu Asene.’ (Ebikolwa 17:5-15) Kirabika, abamu ku abo abaali baakafuuka Abakristaayo, baali beetegefu okutambula mayilo 25 okugenda ku Nnyanja Agineya, ne basasulira ebisale by’emmeeri, era ne basaabala olugendo lwa mayilo 300. Baali basobola okutuukibwako akabi nga bali ku lugendo ng’olwo, naye ab’oluganda bakkiriza okussa obulamu bwabwe mu kabi bwe kityo ne basobola okwongera okubeera n’omubaka wa Katonda eyali agenda akyalira ebibiina.

17. Kiki kye tuyiga bwe tutegeera obuwanvu bw’olugendo oluli wakati wa Mireeto n’e Efeso?

17 Ku lugendo lwe olw’okusatu (olukoloboze olwa kiragala ku mmaapu), Pawulo yatuuka ku mwalo gw’e Mireeto. Ng’ali eyo, yatumya abakadde b’omu kibiina ky’omu Efeso, ekyali mayilo nga 30 okuva we yali. Kiteeberezeemu ng’abakadde abo baleka emirimu gyabwe okugenda eri Pawulo. Kirabika baagenda boogera ku binaaba mu lukuŋŋaana olwo. Oluvannyuma lw’okusisinkana Pawulo era ne bamuwuliriza ng’asaba, “ba [a] kaba nnyo bonna, ne bamugwa mu [kifuba era] ne bamunywegera.” Oluvannyuma ‘baamuwerekerako okutuuka ku mmeeri’ asobole okugenda e Yerusaalemi. (Ebikolwa 20:14-38) Bateekwa okuba nga baalina bingi eby’okulowoozaako n’okwogerako nga baddayo mu Efeso. Tekikuwuniikiza bw’olowooza ku kwagala kwe baalaga nga batindigga olugendo olwo basobole okusisinkana omulabirizi atambula eyandibabuulidde ebyetaagisa era n’abazzaamu amaanyi? Waliwo ky’oyiga mu kino ky’oyinza okukozesa mu bulamu bwo?

Yiga Ebikwata ku Nsi Ensuubize n’Eyo gye Tulindirira

18. Twandimaliridde kukola ki ku bikwata ku kumanya ebifo ebyogerwako mu Baibuli?

18 Ebyokulabirako bino bye tulabye biraga omugaso oguli mu kumanya obulungi ensi Katonda gye yawa Abaisiraeri era ng’eyogerwako mu bitabo bya Baibuli bingi. (Era tuyinza okugaziya ku kumanya kwaffe singa tuyiga ne ku nsi ezaali zigiriraanye ezoogerwako mu Baibuli.) Nga tweyongera okumanya ebikwata ku Nsi Ensuubize, tetwerabira ekyo Abaisiraeri kye baalina okukola okusobola okuyingira n’okweyagalira mu nsi ekulukuta ‘amata n’omubisi gw’enjuki.’ Kye baalina okukola kwe kutya Yakuwa n’okukwata amateeka ge.​—Ekyamateeka 6:1, 2; 27:3.

19. Nsuku ki ebbiri eza Katonda ze tusaanidde okulowoozaako?

19 Mu ngeri y’emu, naffe leero tulina okutya Yakuwa n’okunywerera ku makubo ge. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kubaako kye tukola mu kulungiya olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo olusangibwa mu kibiina Ekikristaayo eky’ensi yonna. Tujja kwongera okumanya ebirukwatako era n’emikisa egirulimu. Era tukimanyi nti waliwo emikisa emirala mingi egijja okufunibwa. Yoswa yakulembera Abaisiraeri okusomoka Yoludaani ne bayingira mu nsi engimu era erabika obulungi. Kati naffe tulina ensonga kwe tusinziira okulindirira Olusuku lwa Katonda oluli mu maaso awo.

Ojjukira?

• Lwaki twandyagadde okwongera okumanya ensi ezoogerwako mu Baibuli?

• Bifo ki ebyogeddwako mu kitundu kino ebirina eky’amaanyi kye bikuyigirizza?

• Kiki ky’oyize bwe weeyongedde okumanya ebisingawo ku bifo ebimu ebyogeddwako?

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

‘Laba Ensi Ennungi’

Mu nkuŋŋaana ennene ezaaliwo mu 2003 ne 2004, Abajulirwa ba Yakuwa baafuna brocuwa ‘Laba Ensi Ennungi.’ Akatabo kano akappya, akali mu nnimi 80, kalimu mmaapu n’ebipande ebisiigiddwa mu langi okusobola okulaga ebifo eby’enjawulo ebyogerwako mu Baibuli, naddala Ensi Ensuubize.

Ebiddirira wammanga biraga mmaapu ezoogerwako nga bikozesa ennamba eri mu nnukuta enkwafu, gamba nga [15]. Bw’oba olina brocuwa eno empya, twala ekiseera okumanya obulungi ebintu eby’enjawulo ebiyinza okukuyamba okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda.

(1) Mmaapu nnyingi ziriko akasanduuko akannyonnyola obubonero obukozeseddwa ku mmaapu [18]. (2) Ebipimo bya mmaapu ebisinga obungi biri mu mayilo ne kiromita era nga kino kijja kukusobozesa okumanya obugazi bw’ebifo oba obuwanvu bw’eŋŋendo [26]. (3) Akalimi kasonga bukiika kkono, ne kikusobozesa okuzuula ekifo ekiragibwa [19]. (4) Mmaapu ezisinga ziri mu langi nga kino kikusobozesa okumanya obugulumivu bw’ebifo [12]. (5) Ku mabbali ga mmaapu kuliko ennukuta oba ennamba era nga bw’oteebereza we zisisinkanira osobola okuzuula ekibuga oba amannya [23]. (6) Ku mpapula ebbiri okuli olukalala olulaga amannya g’ebifo [34-5], kuliko ennamba eziri mu nnukuta enkwafu, nga ziddiriddwa ennukuta n’ennamba ebiraga olukoloboze lw’olina okugoberera okusobola okuzuula ekifo, gamba nga E2. Bw’onneeyambisa ebintu ebyo, ojja kukizuula nti bikulu nnyo mu kugaziya okumanya kwo ne mu kukusobozesa okutegeera Baibuli.

[Ekipande/Mmaapu ekiri ku lupapula 16, 17]

EKIPANDE EKIRAGA ENSI BWE YALI EFAANANA

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

A. Olubalama lw’Ennyanja Ennene

B. Ensenyi z’Ebuvanjuba bwa Yoludaani

1. Olusenyi lwa Aseri

2. Olubalama lwa Doli

3. Eddundiro lya Saloni

4. Olusenyi lwa Bufirisuuti

5. Ekiwonvu ky’Omu Masekkati (Central East-West)

a. Olusenyi lwa Megiddo

b. Olusenyi lwa Yezuleeri

C. Ensozi ez’Ebugwanjuba bwa Yoludaani

1. Obusozi bw’e Ggaliraaya

2. Obusozi bw’e Kalumeeri

3. Obusozi bw’e Samaliya

4. Ensi ey’Ensozi (ensozi ennyimpi)

5. Ekitundu ky’Ensozi Ekya Yuda

6. Eddungu lya Yuda

7. Negebu

8. Eddungu lya Palani

D. Alabba (Ekiwonvu)

1. Kula, Omuli Emigga Emingi

2. Ekitundu ky’Ennyanja ey’e Ggaliraaya

3. Ekiwonvu kya Yoludaani

4. Ennyanja ey’Omunnyo (Ennyanja Enfu)

5. Alabba (ebukiika kkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo)

E. Ensozi n’Ensi ey’Omuseetwe eri Ebuvanjuba bwa Yoludaani

1. Basani

2. Gireyaadi

3. Amoni ne Mowaabu

4. Ensozi za Edomu

F. Ensozi za Lebanooni

[Mmaapu]

Olusozi Kerumooni

Mole

Aberumekola

Sukkosi

Yogubeka

Beseri

Girugaali

Gibyoni

Yerusaalemi

Kebbulooni

Ggaaza

Beeruseba

Sodomu?

Kadesi

[Mmaapu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

KANANI

Megiddo

GIREYAADI

Dosani

Sekemu

Beseri (Eruzi)

Ayi

Yerusaalemi (Salemu)

Besirekemu (Efulasa)

Mamule

Kebbulooni (Makupeera)

Gerali

Beeruseba

Sodomu?

NEGEBU

Lekobosi?

[Ensozi]

Moliya

[Ennyanja]

Ennyanja ey’Omunnyo

[Emigga]

Yoludaani

[Kifaananyi]

Ibulayimu yatambulatambula mu nsi

[Mmaapu eri ku lupapula 18]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Tulowa

SAMOSERAKIYA

Neyapoli

Firipi

Anfipoli

Ssessaloniika

Beroya

Asene

Kkolinso

Efeso

Mireeto

RODO

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share