LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 5/1/05 lup. 8-13
  • Leka Ekigambo kya Katonda Kimulise Ekkubo Lyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Leka Ekigambo kya Katonda Kimulise Ekkubo Lyo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Twandisiimye Ekigambo kya Katonda?
  • Ttabaaza eri Ebigere Byaffe
  • Tuwanirirwa Ekigambo kya Katonda
  • Saba ng’Olina Obwesige
  • Tuyambibwa Amateeka ga Yakuwa
  • Tulina Obukuumi n’Emirembe
  • Ekitangaala eky’Olubeerera Ekimulisa Ekkubo Lyaffe
  • Weesige Ekigambo kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Oyagala Nnyo Okujjukizibwa Okuva eri Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitundu Ekyokutaano eky’Ekitabo kya Zabbuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 5/1/05 lup. 8-13

Leka Ekigambo kya Katonda Kimulise Ekkubo Lyo

“Ekigambo kyo ye ttabaaza eri . . . ekkubo lyange.” ​—ZABBULI 119:105.

1, 2. Ekigambo kya Yakuwa kinaasobola kitya okumulisa ekkubo lyaffe?

EKIGAMBO kya Yakuwa kijja kumulisa ekkubo lyaffe singa tukikozesa. Okusobola okuganyulwa mu kitangaala ekyo eky’eby’omwoyo, tulina okunyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukolera ku kubuulirira okukirimu. Ekyo bwe tunaakikola, tujja kusobola okwogera ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba: “Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, n’omusana eri ekkubo lyange.”​—Zabbuli 119:105.

2 Kati ka twekenneenye Zabbuli 119:89-176. Ng’ennyiriri ezo ezaawuddwamu mu bitundu 11 zirimu obubaka obulungi ennyo! Ebiri mu nnyiriri ezo bisobola okutuyamba okunywerera mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.​—Matayo 7:13, 14.

Lwaki Twandisiimye Ekigambo kya Katonda?

3. Zabbuli 119:89, 90, walaga watya nti tusobola okwesiga ekigambo kya Katonda?

3 Singa omuntu ayagala ekigambo kya Yakuwa kimuyamba okunywera mu by’omwoyo. (Zabbuli 119:89-96) Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Emirembe gyonna, ai Mukama, ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu. Obwesigwa bwo bwonna bubeerera emirembe gyonna: wanyweza ensi n’ebeerawo.” (Zabbuli 119:89, 90) Olw’ekigambo kya Katonda, kwe kugamba, ‘ebiragiro eby’omu ggulu’​—enjuba, omwezi n’emmunyeenye bigoberera amateeka agabifuga, era n’ensi tesobola kusagaasagana. (Yobu 38:31-33; Zabbuli 104:5) Tusobola okwesiga buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa. Buli ky’ayogera kijja ‘kutuukirizibwa.’​—Isaaya 55:8-11.

4. Okuba nti abaweereza ba Katonda baagala ekigambo kye, kibayamba kitya nga babonyaabonyezebwa?

4 Singa tekyali nti omuwandiisi wa zabbuli yali ‘ayagala amateeka ga Katonda, yandizikiridde olw’abo abaali bamubonyaabonya.’ (Zabbuli 119:92) Ab’amawanga si be baali bamubonyaabonya; wabula Abaisiraeri abamenyi b’amateeka. (Eby’Abaleevi 19:17) Kyokka ekyo tekyamumalaamu maanyi, kubanga yayagala nnyo amateeka ga Katonda. Ng’ali e Kkolinso, n’omutume Pawulo yali ‘mu kabi olw’ab’oluganda ab’obulimba,’ oboolyawo nga mw’otwalidde ‘n’abo abeetwalanga okuba abatume abakulu,’ abaali bamukonjera ebigambo. (2 Abakkolinso 11:5, 12-14, 26) Wadde kyali kityo, Pawulo teyaggwaamu maanyi mu by’omwoyo olw’okuba yali ayagala nnyo ekigambo kya Katonda. Olw’okuba naffe twagala nnyo Ekigambo kya Yakuwa era nga tugoberera bye kigamba, twagala baganda baffe. (1 Yokaana 3:15) Ensi ne bw’etukyawa tetusobola kwerabira mateeka ga Katonda. Tukola by’ayagala nga tuli bumu ne baganda baffe nga bwe twesunga okuweereza Yakuwa emirembe gyonna.​—Zabbuli 119:93.

5. Kabaka Asa yanoonya atya Yakuwa?

5 Tusobola okulaga nti twagala Yakuwa nga tusaba: “Nze ndi wuwo, ondokole; kubanga naanoonyanga ebiragiro byo.” (Zabbuli 119:94) Kabaka Asa yanoonya Katonda era n’aggyawo okusinza ebifaananyi mu Yuda. Mu lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu mwaka ogw’e 15 ogw’obufuzi bwa Asa (963 B.C.E.), abatuuze b’omu Yuda ‘baakola endagaano okunoonya Yakuwa.’ ‘Baamuzuula’ era ‘n’abawa emirembe mu nsi yonna.’ (2 Ebyomumirembe 15:10-15) Ekyo Asa kye yakola kyandikubirizza abo bonna abaava mu kibiina Ekikristaayo okuddamu okunoonya Katonda. Ajja kubawa omukisa n’obukuumi bwe baddamu okukolagana n’abantu be.

6. Kiki ekinaatuyamba obutaggwaamu maanyi mu by’omwoyo?

6 Ekigambo kya Yakuwa kituwa amagezi agasobola okutukuuma mu by’omwoyo. (Zabbuli 119:97-104) Amateeka ga Katonda gatufuula ba magezi okusinga abalabe baffe. Bwe tugagondera kituyamba okufuna okutegeera, era ‘ne kitusobozesa okweyisa n’amagezi okukira abakadde.’ (Zabbuli 119:98-100) Ate era, singa ekigambo kya Yakuwa ‘kituwoomera okusinga omubisi gw’enjuki,’ tujja kukyawa era twewale “buli kkubo ery’obulimba.” (Zabbuli 119:103, 104) Ekyo kijja kutuyamba obutaggwaamu maanyi mu by’omwoyo singa tuba twolekaganye n’abantu abakambwe era abatatya Katonda mu nnaku zino ez’oluvannyuma.​—2 Timoseewo 3:1-5.

Ttabaaza eri Ebigere Byaffe

7, 8. Okusinziira ku Zabbuli 119:105, kiki kye tulina okukola?

7 Ekigambo kya Katonda ye nsibuko y’ekitangaala eky’eby’omwoyo. (Zabbuli 119:105-112) Ka kibe nti tuli Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba ‘ab’endiga endala,’ twogera nti: “Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, [n’ekitangaala] eri ekkubo lyange.” (Yokaana 10:16; Zabbuli 119:105) Ekigambo kya Katonda kiringa ettabaza emulisa ekkubo lyaffe, tuleme kwesittala mu by’omwoyo. (Engero 6:23) Kyokka, ffe ffenyini tulina okukikozesa kisobole okumulisa ekkubo lyaffe.

8 Tulina okuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli 119 eyamalirira okunywerera ku mateeka ga Katonda. Yagamba: ‘Nnalayira, era nkikakasizza nti nnaakwatanga ebiragiro byo.’ (Zabbuli 119:106, NW) Ka tuleme kubuusa maaso bukulu bwa kwesomesa Baibuli n’okwenyigira mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo.

9, 10. Kiki ekiraga nti abaweereza ba Yakuwa bayinza ‘okuwaba okuva ku mateeka ge,’ era ekyo tuyinza tutya okukyewala?

9 Wadde ng’omuwandiisi wa zabbuli ‘teyawaba kuva ku mateeka ga Katonda,’ ekyo kiyinza okutuuka ku muweereza wa Yakuwa yenna. (Zabbuli 119:110) Kabaka Sulemaani yawaba, wadde nga yali mu ggwanga eryali lyewaddeyo eri Yakuwa era nga mu kusooka yakoleranga ku magezi agava eri Katonda. ‘Abakazi abagwiira baamuleetera okwonoona’ nga bamusendasenda okusinza bakatonda ab’obulimba.​—Nekkemiya 13:26; 1 Bassekabaka 11:1-6.

10 “Omuyizzi,” kwe kugamba, Setaani, ateze emitego mingi. (Zabbuli 91:3) Ng’ekyokulabirako, eyali musinza munnaffe ayinza okugezaako okutusendasenda tuve mu kkubo ery’ekitangaala tufuuke bakyewaggula. Mu Bakristaayo ab’omu Suwatira, waaliyo “omukazi Yezeberi,” nga kirabika bano baali bakazi abaali basendasenda abalala okusinza ebifaananyi n’okwenyigira mu bugwenyufu. Ebibi eby’ekika ekyo Yesu teyabittira ku liiso, era naffe twandikoze kye kimu. (Okubikkulirwa 2:18-22; Yuda 3, 4) N’olwekyo, ka tusabe Yakuwa atuyambe tuleme kuwaba kuva ku mateeka ge, wabula tusigale mu kitangaala kye.​—Zabbuli 119:111, 112.

Tuwanirirwa Ekigambo kya Katonda

11. Okusinziira ku Zabbuli 119:119, ababi Katonda abatunuulira atya?

11 Singa tetuwaba kuva ku mateeka ga Katonda, ajja kutuwanirira. (Zabbuli 119:113-120) Tetusanyukira ‘abo abataweereza na mutima gwabwe gwonna,’ nga ne Yesu bw’atakkiriza Bakristaayo ab’ekibuguumirize. (Zabbuli 119:113, NW; Okubikkulirwa 3:16) Olw’okuba tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, atuwanirira era akola ‘ng’ekifo kyaffe eky’okwekwekamu.’ Ajja ‘kwesamba abo bonna abakyama okuva ku mateeka ge’ nga bakola eby’obukuusa. (Zabbuli 119:114, 117, 118; Engero 3:32) Ababi ng’abo abatunuulira “ng’amasengere,” agagibwa mu ffeeza ne zzaabu nga zirongoosebwa. (Zabbuli 119:119; Engero 17:3) Ka bulijjo tulagenga nti twagala amateeka ga Katonda, kubanga tetwagala kuba mu babi abagenda okuzikirizibwa!

12. Lwaki kikulu okutya Yakuwa?

12 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: ‘Omubiri gwange gukankana olw’okutya Yakuwa.’ (Zabbuli 119:120) Yakuwa bw’anaaba ow’okutuwanirira, tulina okumutya, nga kino kyeyolekera mu kuba nti twewala okukola ekintu kyonna ky’atwala nga kibi. Okutya Yakuwa kyaleetera Yobu okwewala ebikolwa ebitali bya butuukirivu. (Yobu 1:1; 23:15) Naffe okutya Katonda kutuyamba okunywerera mu kkubo lye ka tubeere mu mbeera ki. Kyokka, tulina okusaba Katonda okutuyamba okugumiikiriza.​—Yakobo 5:15.

Saba ng’Olina Obwesige

13-15. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti okusaba kwaffe kujja kuddibwamu? (b) Kiki kye tuyinza okukola singa tuba tetumanyi kya kwogera nga tusaba? (c) Laga engeri Zabbuli 119:121-128 gy’eyinza okutuyamba singa tuba ‘n’okusinda.’

13 Tusobola okusaba Katonda nga tuli bakakafu nti ajja kutuyamba. (Zabbuli 119:121-128) Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, tuli bakakafu nti essaala zaffe zijja kuddibwamu. Lwaki? Kubanga twagala amateeka ga Katonda “okusinga ezaabu ennungi.” Ate era, ‘tutwala ebiragiro bya Katonda byonna okuba nga bya mugaso.’​—Zabbuli 119:127, 128.

14 Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe kubanga tumussaamu obwesige era ne tukwata ebiragiro bye. (Zabbuli 65:2) Naye, kiri kitya ebiseera ebimu ebizibu lwe bituyinga obungi ne tuba nga tetumanyi na kya kwogera mu kusaba? Mu mbeera ng’eyo, “omwoyo atuwolereza n’okusinda okutayogerekeka.” (Abaruumi 8:26, 27) Mu mbeera ng’ezo, Katonda atwala okusaba okuli mu Kigambo kye okutuukana n’ebyetaago byaffe ng’okuvudde gye tuli.

15 Mu Byawandiikibwa mulimu essaala z’abantu abaalina ebizibu ebiyinza okufaananako ‘n’okusinda kwaffe.’ Ng’ekyokulabirako, weetegereze Zabbuli 119:121-128. Ebiri mu nnyiriri zino biyinza okutuukana n’embeera yaffe. Singa tuba tutya abalabe baffe, tuyinza okusaba Katonda mu ngeri y’emu ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yakola. (Ennyiriri 121-123) Ate kiri kitya singa tuba twolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi? Tuyinza okusaba omwoyo gwa Yakuwa gutuyambe okujjukira amateeka ge n’okugakolerako. (Ennyiriri 124, 125) Wadde ‘tukyawa amakubo amakyamu,’ kitwetaagisa okusaba Katonda atuyambe tuleme kumenya mateeka ge. (Ennyiriri 126-128) Singa tusoma Baibuli buli lunaku, tujja kusobola okujjukira ebyawandiikibwa ng’ebyo bwe tuba tusaba Yakuwa.

Tuyambibwa Amateeka ga Yakuwa

16, 17. (a) Lwaki twetaaga amateeka ga Katonda, era twandigatutte tutya? (b) Abalala bayinza kututwala batya, naye kiki ekisinga obukulu?

16 Katonda okusobola okuwuliriza okusaba kwaffe n’okutusiima, tulina okukwata amateeka ge. (Zabbuli 119:129-136) Okuva bwe kiri nti twerabira, twetaaga Yakuwa okutujjukiza amateeka ge n’ebiragiro. Kya lwatu, bwe tufuna okuteegera okuppya okw’ekigambo kya Katonda tukusiima. (Zabbuli 119:129, 130) Ate era tuli basanyufu olw’okuba Yakuwa ‘atukwatirwa ekisa,’ n’atusiima, wadde ng’amaaso gaffe ‘gakulukuta amaziga’ bwe tulaba ng’abalala bamenya amateeka ge.​—Zabbuli 119:135, 136; Okubala 6:25.

17 Tuli bakakafu nti Katonda ajja kwongera okutusiima singa tukwata amateeka ge. (Zabbuli 119:137-144) Ng’abaweereza ba Yakuwa, tukimanyi nti alina obuyinza okutuwa amateeka ge era n’atusuubira okugagondera. (Zabbuli 119:138) Okuva omuwandiisi wa zabbuli bwe yali agondera amateeka ga Katonda, lwaki ate yagamba nti ‘taliiko bw’ali era nti anyoomebwa’? (Zabbuli 119:141) Kirabika yali ayogera ku ngeri abalabe be gye baali bamutwalamu. Bwe tunywerera ku misingi egy’obutuukirivu, abalala bayinza okutunyooma. Kyokka, ekisinga obukulu kwe kuba nti Yakuwa atusiima olw’okuba tukwata amateeka ge ag’obutuukirivu.

Tulina Obukuumi n’Emirembe

18, 19. Miganyulo ki egiva mu kukwata amateeka ga Katonda?

18 Bwe tukwata amateeka ga Katonda kituleetera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Zabbuli 119:145-152) Olw’okuba tugondera amateeka ga Yakuwa, tetutya kumutuukirira mu kusaba, era tuba bakakafu nti ajja kutuwuliriza. Tuyinza ‘okukeera ng’emmambya tennasala’ ne tumusaba. Ng’ekyo kiba kiseera kirungi nnyo okusabiramu! (Zabbuli 119:145-147) Katonda abeera kumpi naffe olw’okuba twewala empisa ez’obugwenyufu, era tutwala ekigambo kye nga ge mazima nga Yesu bwe yakola. (Zabbuli 119:150, 151; Yokaana 17:17) Bwe tuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa ajja kutukuuma mu nsi eno ejjudde ebizibu era atuyise mu lutalo lwe olukulu olwa Kalumagedoni.​—Okubikkulirwa 7:9, 14; 16:13-16.

19 Olw’okuba tussa ekitiibwa mu kigambo kya Katonda, tufuna obukuumi obwa nnamaddala. (Zabbuli 119:153-160) Okwawukana ku babi, ffe ‘tetuvudde ku mateeka ga Yakuwa.’ Olw’okuba twagala amateeka ge, atulaga ekisa kye ekitatusaanira. (Zabbuli 119:157-159) Amateeka ga Yakuwa gatulaga engeri gye tusaanidde okweyisaamu mu mbeera ezimu. Ate era amateeka ga Katonda biragiro, era tubigondera olw’okuba tukimanyi nti Omutonzi waffe y’alina obuyinza okutuwa obulagirizi. Olw’okuba tukimanya nti ‘ekigambo kya Katonda ge mazima,’ era nti tetusobola kuluŋŋamya bigere byaffe, tukkiriza obulagirizi obuva eri Katonda.​—Zabbuli 119:160; Yeremiya 10:23.

20. Kiki ekituviirako okuba ‘n’emirembe mingi’?

20 Bwe twagala amateeka ga Yakuwa tufuna emirembe mingi. (Zabbuli 119:161-168) Okuyigganyizibwa tekutumalaako ‘mirembe gya Katonda.’ (Abafiripi 4:6, 7) Olw’okuba twagala nnyo amateeka ga Yakuwa tumutendereza​—“emirundi musanvu buli lunaku.” (Zabbuli 119:161-164) Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; so tebalina kibeesittaza.” (Zabbuli 119:165) N’olwekyo, bwe tukwata amateeka ga Yakuwa, omuntu yenna tajja kutwesittaza mu bya mwoyo olw’ekyo ky’akoze oba ekintu ekirala kyonna.

21. Byakulabirako ki okuva mu Byawandiikibwa ebiraga nti tetwandyesitadde singa tufuna obutategeeragana n’omuntu mu kibiina?

21 Abantu bangi aboogerwako mu Baibuli abatakkiriza kintu kyonna kubeesittaza. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayitibwa Gayo ‘yeeyongera okutambulira mu mazima’ wadde nga Diyotuleefe yamuyisanga bubi. (3 Yokaana 1-3, 9, 10) Pawulo yakubiriza abakazi Abakristaayo Ewodiya ne Suntuke ‘okulowoozanga obumu,’ nga kino kirabika kyava ku kuba nti baali bafunye obutategeeragana. Kyandiba nti abakazi abo baayambibwa okumalawo obutategeeragana bwabwe ne beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Abafiripi 4:2, 3) N’olwekyo, tetwandyesitadde singa tufuna obutategeeragana n’omuntu yenna mu kibiina. Ka tube bamalirivu okukwata amateeka ga Yakuwa nga tujjukira nti ‘amakubo gaffe gonna gali mu maaso ge.’ (Zabbuli 119:168; Engero 15:3) Bwe tunaakola bwe tutyo tewali kijja kutumalako ‘mirembe gyaffe.’

22. (a) Bwe tugondera Katonda, nkizo ki gye tuyinza okufuna? (b) Twanditutte tutya abo abakyama okuva mu kibiina Ekikristaayo?

22 Singa tugondera Yakuwa, tujja kuba n’enkizo ey’okumutenderezanga. (Zabbuli 119:169-176) Bwe tutambuliza obulamu bwaffe ku mateeka ge, tuba n’emirembe mu by’omwoyo era ‘emimwa gyaffe gijja kwongera okutendereza Yakuwa.’ (Zabbuli 119:169-171, 174) Eno ye nkizo esingayo gye tuyinza okufuna mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Wadde ng’omuwandiisi wa zabbuli yayagala nnyo okutenderezanga Yakuwa, ‘yakyama ng’endiga ebuze.’ (Zabbuli 119:175, 176) Abamu abakyamye okuva mu kibiina Ekikristaayo bayinza okuba nga bakyayagala Katonda era nga baagala okumutendereza. Ka tukole kyonna kye tusobola okubayamba basobole okuddamu okufuna obukuumi obw’eby’omwoyo era batendereze Yakuwa wamu n’abantu be.​—Abaebbulaniya 13:15; 1 Peetero 5:6, 7.

Ekitangaala eky’Olubeerera Ekimulisa Ekkubo Lyaffe

23, 24. Oganyuddwa otya mu kusoma Zabbuli 119?

23 Zabbuli 119 esobola okutuganyula mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, etuyamba okunywerera ku Yakuwa, kubanga eraga nti essanyu erya nnamaddala liva mu ‘kutambulira mu mateeka ge.’ (Zabbuli 119:1) Omuwandiisi wa zabbuli atujjukiza nti ‘ekigambo kya Katonda ge mazima.’ (Zabbuli 119:160) Kino kituyamba okwongera okusiima Ekigambo kya Katonda kyonna. Okufumiitiriza ku Zabbuli 119 kyandituleetedde okwagala okusoma Ebyawandiikibwa. Enfunda n’enfunda omuwandiisi wa zabbuli yasaba Katonda: “Onjigirizenga amateeka go.” (Zabbuli 119:12, 68, 135) Ate era yagamba: ‘Ompe amagezi n’okutegeera kubanga nneesiga ebiragiro byo.’ (Zabbuli 119:66) Kyandibadde kirungi naffe okusaba mu ngeri y’emu.

24 Yakuwa by’atuyigiriza bituyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Enfunda n’enfunda omuwandiisi wa zabbuli yeeyita omuweereza wa Katonda. Mu butuufu, agamba Yakuwa: “Nze ndi wuwo.” (Zabbuli 119:17, 65, 94, 122, 125; Abaruumi 14:8) Nga nkizo ya maanyi nnyo okutendereza Yakuwa ng’omu ku Bajulirwa be! (Zabbuli 119:7) Oweereza Katonda n’essanyu ng’omulangirizi w’Obwakabaka? Bwe kiba bwe kityo, beera mukakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okukuwa emikisa gye ng’okola omulimu guno omukulu singa weesiga ekigambo kye era n’okireka okumulisa ekkubo lyo.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki twandyagadde ekigambo kya Katonda?

• Mu ngeri ki ekigambo kya Katonda gye kituwanirira?

• Amateeka ga Katonda gatuyamba gatya?

• Lwaki abantu ba Yakuwa balina obukuumi n’emirembe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Ekigambo kya Katonda ye nsibuko y’ekitangaala eky’eby’omwoyo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Bwe twagala amateeka ga Yakuwa, tajja kututwala “ng’amasengere”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]

Bwe tusoma Baibuli buli lunaku, tujja kusobola okujjukira ebyawandiikibwa nga tusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share