LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Ssebutemba lup. 3
  • ‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Weesige Ekigambo kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Leka Ekigambo kya Katonda Kimulise Ekkubo Lyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Amateeka Go nga Ngaagala Nnyo!’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Amateeka ga Katonda Gaganyula Ffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Ssebutemba lup. 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 119

‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’

Okutambulira mu mateeka ga Yakuwa kitegeeza okugoberera obulagirizi bwe awatali kuwalirizibwa. Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaatambulira mu mateeka ga Yakuwa era ne bamwesiga ng’omuwandiisi wa zabbuli 119 bwe yakola.

Omuwandiisi wa Bayibuli ng’atambuza omuggo

Bwe tutambulira mu mateeka ga Katonda tufuna essanyu erya nnamaddala

119:1-8

Yoswa ng’asoma omuzingo

Yoswa yakiraga nti yali yeesiga obulagirizi bwa Yakuwa. Yali akimanyi nti okusobola okuba omusanyufu n’okutuuka ku buwanguzi, yalina okwesiga Yakuwa n’omutima gwe gwonna

Ekigambo kya Katonda kituyamba okugumira ebizibu

119:33-40

Yeremiya ng’asaba

Yeremiya yayoleka obuvumu era yeesiga Yakuwa mu mbeera enzibu. Yeewala okuba n’ebintu ebingi ne kimuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa

Okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda kituwa obuvumu okubuulira

119:41-48

Pawulo ng’abuulira Gavana Felikisi

Pawulo yali tatya kubuulira muntu yenna Kigambo kya Katonda. Yagenda okubuulira Gavana Ferikisi nga mukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba

Wa we kiyinza okunneetaagisa okwongera okwoleka obuvumu nga mbuulira?
Omuwandiisi wa Bayibuli ng’atambuza omuggo

  • Ku ssomero

  • Ku mulimu

  • Ab’eŋŋanda

  • Embeera endala

Zabbuli 119 yasengekebwa okusinziira ku nnukuta nga bwe ziddiriŋŋana mu walifu y’Olwebbulaniya. Kino kyakolebwa bwe kityo okuyamba abantu okukwata zabbuli eyo. Zabbuli eyo erimu ebitundu 22, era buli kitundu kirimu ennyiriri 8. Buli lunyiriri mu kitundu lutandika n’ennukuta y’emu eya walifu y’Olwebbulaniya. Olw’okuba walifu y’Olwebbulaniya erimu ennukuta 22, zzabbuli eno erina ennyiriri 176, era yeesinga obunene mu Bayibuli.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share