LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 7/1 lup. 12-16
  • ‘Amateeka Go nga Ngaagala Nnyo!’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Amateeka Go nga Ngaagala Nnyo!’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okukola ku Bwetaavu Bwaffe obw’Eby’Omwoyo
  • Etteeka lya Katonda Erikwata ku Kukuŋŋaanya Ebifikidde
  • Okwewala Okwegomba
  • “Amateeka ga Yakuwa Gaatuukirira”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 7/1 lup. 12-16

‘Amateeka Go nga Ngaagala Nnyo!’

“Amateeka go nga ngaagala [nnyo]! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.”​—ZABBULI 119:97.

1, 2. (a) Omuwandiisi wa Zabbuli 119 eyaluŋŋamizibwa yayolekagana na mbeera ki? (b) Yakola ki mu mbeera eyo era lwaki?

OMUWANDIISI wa Zabbuli 119 yayolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi. Abalabe be abaali batagoberera mateeka ga Katonda baamusekereranga era baamwogerangako eby’obulimba. Abalangira baamusalira enkwe era ne bamuyigganya. Yali yeetooloddwa abantu ababi era obulamu bwe bwali mu kabi. Bino byonna byamuleetera ‘okunyiikaala.’ (Zabbuli 119:9, 23, 28, 51, 61, 69, 85, 87, 161) Wadde yayolekagana n’ebyo byonna, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Amateeka go nga ngaagala [nnyo]! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.”​—Zabbuli 119:97.

2 Oyinza okwebuuza nti, “Amateeka ga Katonda gaasobola gatya okubudaabuda omuwandiisi wa Zabbuli?” Yabudaabudibwa bwe yamanya nti Yakuwa amufaako. Wadde nga waaliwo abaali bamuyigganya, omuwandiisi wa zabbuli yali musanyufu olw’okuba yali amanyi emiganyulo egiva mu kugoberera amateeka ga Katonda. Yakitegeera nti Yakuwa yali amukoledde ebirungi. Olw’okuba yagoberera amateeka ga Katonda, yali mugezi okusinga abalabe be era kino kyawonyawo obulamu bwe. Ate era, amateeka ago gaamusobozesa okufuna emirembe n’okuba n’omuntu ow’omunda omulungi.​—Zabbuli 119:1, 9, 65, 93, 98, 165.

3. Lwaki si kyangu Abakristaayo okugoberera emitindo gya Baibuli mu kiseera kino?

3 Ne leero, waliwo abaweereza ba Katonda abamu aboolekaganye n’okugezesebwa okw’amaanyi. Wadde ng’obulamu bwaffe buyinza obutaba mu kabi nga bwe kyali eri omuwandiisi wa Zabbuli, tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku.’ Bangi ku bantu be tubeera nabo tebaagala bintu bya mwoyo​—beefaako bokka, banoonya bya bugagga, ba malala era tebawa balala kitiibwa. (2 Timoseewo 3:1-5) Abavubuka Abakristaayo batera okwolekagana n’ebintu ebimu ebiyinza okubalemesa okugoberera emitindo gy’empisa ennungi. Mu mbeera ng’eyo kiyinza okuba ekizibu okunywerera ku Yakuwa n’okukola ekituufu. Kati olwo tuyinza tutya okwekuuma?

4. Omuwandiisi wa Zabbuli yalaga atya nti asiima amateeka ga Katonda, era lwaki n’Abakristaayo bandikoze kye kimu?

4 Ekyayamba omuwandiisi wa Zabbuli okugumira ebizibu, kwe kuba nti yawaayo ebiseera okusoma amateeka ga Katonda n’okugafumiitirizaako. Ekyo kye kyamusobozesa okugaagala. Mu butuufu, kumpi buli lunyiriri mu Zabbuli 119 lulina kye lwogera ku mateeka ga Yakuwa.a Leero, Abakristaayo tebali wansi wa Mateeka ga Musa Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri ery’edda. (Abakkolosaayi 2:14) Kyokka, emisingi egiri mu Mateeka ago gikyali gya muganyulo nnyo ne mu kiseera kino. Emisingi gino gyayamba nnyo omuwandiisi wa Zabbuli, era gisobola n’okuyamba abaweereza ba Katonda aboolekaganye n’ebizibu mu kiseera kino.

5. Bintu ki ebiri mu Mateeka ga Musa bye tugenda okwekenneenya?

5 Kati ka tulabe bye tuyinza okuyiga okuva ku bintu bisatu ebyali mu Mateeka ga Musa: okukuuma Ssabbiiti, okukuŋŋaanya ebifikidde, n’obuteegomba. Kikulu nnyo okutegeera emisingi egiri emabega w’amateeka ago bwe tuba ab’okuvvuunuka ebizibu bye twolekaganye nabyo mu kiseera kino.

Okukola ku Bwetaavu Bwaffe obw’Eby’Omwoyo

6. Bintu ki abantu bonna bye beetaaga?

6 Omuntu yatondebwa ng’alina ebintu bingi bye yeetaaga. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’aba wa kuba mulamu bulungi, yeetaaga emmere, eby’okunywa, n’aw’okusula. Ng’oggyeko ebyo, omuntu alina okukola ku ‘bwetaavu bwe obw’eby’omwoyo.’ Tasobola kufuna ssanyu lya nnamaddala okuggyako ng’akoze ku bwetaavu obwo. (Matayo 5:3, NW) Olw’okuba Yakuwa yali akimanyi nti kikulu nnyo okukola ku bwetaavu obwo, yalagira abantu be obutakola mulimu gwonna olunaku lumu mu wiiki basobole okukola ku bintu eby’omwoyo.

7, 8. (a) Katonda yalaga atya enjawulo eri wakati wa Ssabbiiti n’ennaku endala? (b) Ssabbiiti yalina kigendererwa ki?

7 Eteeka ery’okukwata Ssabbiiti lyalaga obukulu bw’okufaayo ku bintu eby’omwoyo. Ekigambo “ssabbiiti” kisooka kukozesebwa mu Baibuli nga kikwataganyizibwa n’emmaanu Katonda gye yawa abantu be mu ddungu. Abaisiraeri baalagirwa okukuŋŋaanya emmaanu okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw’omukaaga, baagambibwa okukuŋŋaanya ‘emmaanu ya nnaku bbiri,’ kubanga ku lunaku olw’omusanvu teyandibaweereddwa. Olunaku olw’omusanvu lwabanga ‘Ssabbiiti ntukuvu eri Mukama,’ era ku lunaku olwo buli muntu yasigalanga waka we. (Okuva 16:13-30) Erimu ku Mateeka Ekkumi lyagaana omuntu okukola omulimu gwonna ku Ssabbiiti. Olunaku olwo lwalinga lutukuvu. Omuntu yenna ataagobereranga tteeka eryo, yattibwanga.​—Okuva 20:8-11; Okubala 15:32-36.

8 Etteeka lya Ssabbiiti lyalaga nti Yakuwa afaayo ku mbeera y’abantu ey’eby’omubiri ne ey’eby’omwoyo. Yesu yagamba nti, “Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti.” (Makko 2:27) Olunaku olwo telwasobozesanga Baisiraeri kuwummula kyokka, naye era lwabasobozesanga okunyweza nkolagana yaabwe n’Omutonzi waabwe era n’okumulaga okwagala. (Ekyamateeka 5:12) Lwali lunaku lwa kukolerako bintu bya mwoyo byokka. Mu bino mwalimu okusinziza awamu ng’amaka, okusaba n’okufumiitiriza ku Mateeka ga Katonda. Eteeka eryo lyayambanga Abaisiraeri obutamalira biseera byabwe byonna n’amaanyi gaabwe gonna mu kuluubirira eby’obugagga. Ssabbiiti yabajjukizanga nti enkolagana yaabwe ne Yakuwa kye kintu ekyali kisingayo obukulu mu bulamu bwabwe. Yesu naye yayogera ku musingi oguli mu tteeka eryo bwe yagamba nti: “Kyawandiikibwa nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”​—Matayo 4:4.

9. Kiki Abakristaayo kye bayigira ku tteeka lya Ssabbiiti?

9 Abantu ba Katonda tekikyabeetaagisa kukwata ssabbiiti ey’essaawa 24. Wadde kiri kityo, tulina kye tugiyigirako. (Abakkolosaayi 2:16) Etujjukiza nti naffe tulina okusoosa ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe. Tetwandikkiriza okunoonya eby’obugagga n’eby’amasanyu okutulemesa okukola ku bintu eby’omwoyo. (Abaebbulaniya 4:9, 10) N’olwekyo tuyinza okwebuuza nti: “Kiki kye nkulembeza mu bulamu bwange? Okwesomesa, okusaba, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bye bintu bye nkulembeza mu bulamu bwange? Oba waliwo ebintu ebirala ebinnemesa okutuukiriza ebintu ng’ebyo?” Singa tusoosa ebintu eby’omwoyo, Yakuwa atukakasa nti tetujja kubulwa bye twetaaga mu bulamu.​—Matayo 6:24-33.

10. Tuganyulwa tutya bwe tuwaayo ekiseera okukola ku bintu eby’omwoyo?

10 Ebiseera bye tumala nga twesomesa Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola awamu n’okufumiitiriza ku bye tusomye, biyinza okutuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Yakobo 4:8) Susan eyatandika okwesomesa Baibuli obutayosa emyaka nga 40 egiyise, agamba nti mu kusooka teyanyumirwanga kugisoma. Gwali mugugu gy’ali. Kyokka, bwe yeeyongera okugisoma, yatandika okunyumirwa. Mu kiseera kino, awulira bubi singa wabaawo ensonga yonna emulemesa okugisoma. Agamba: “Okwesomesa kunyambye nnyo okutwala Yakuwa nga Kitange. Kati mwesiga, era sitya kumutuukirira mu kusaba. Kisanyusa nnyo okulaba engeri Yakuwa gy’ayagalamu abaweereza be, gy’andabiriramu, ne gy’anyambamu.” Nga naffe tuyinza okufuna essanyu ppitirivu singa tetwosa kwesomesa Kigambo kya Katonda!

Etteeka lya Katonda Erikwata ku Kukuŋŋaanya Ebifikidde

11. Etteeka erikwata ku kukuŋŋaanya ebifikidde lyalagira ki?

11 Okukuŋŋaanya ebifikidde kye kintu eky’okubiri ekyali mu Mateeka ga Musa ekyalaga nti Katonda afaayo ku abantu be. Yakuwa yalagira Omuisiraeri omulimi okukkiriza omuntu ali mu bwetaavu okutwala ebirime abakunguzi be bye baba balese mu nnimiro. Abalimi tebaalinanga kukungula ebirime ebyalinga ku mabbali g’ennimiro, era tebaalina kuddayo kukungula zabbibu n’ettiini ezaasigaliranga. Ebinywa eby’eŋŋaano ebyalekebwanga mu nnimiro mu butali bugenderevu nabyo tebaalinanga kuddayo kubikima. Enteekateeka eno yayambanga nnyo abaavu, abagwira, bamulekwa ne bannamwandu. Wadde nga kyali kyetaagisa okufuba ennyo okukuŋŋaanya ebifikidde, enteekateeka eno yasobozesanga abo abaali mu bwetaavu okwewala okusabiriza.​—Eby’Abaleevi 19:9, 10; Ekyamateeka 24:19-22; Zabbuli 37:25.

12. Etteeka erikwata ku kukuŋŋaanya ebifikidde lyawanga abalimi omukisa ki?

12 Etteeka erikwata ku kukuŋŋaanya ebifikidde telyalaga bungi bwa makungula omulimi ge yalinanga okulekera abali mu bwetaavu. Kyali eri omulimi okusalawo obunene bw’ekitundu kye yandirese nga takungudde ku mabbali g’ennimiro. Kino kyayigirizanga abantu okuba abagabi. Ate era, kyawa abalimi omukisa okussa ekitiibwa mu oyo eyabasobozesanga okubaza emmere, okuva bwe kiri nti ‘asaasira oyo eyeetaaga assa ekitiibwa mu Mutonzi we.’ (Engero 14:31) Bowaazi y’omu ku abo abaagoberera eteeka eryo. Yakakasa nti Luusi, nnamwandu eyali akuŋŋaanya ebifikidde mu nnimiro ye, akuŋŋaanya emmere emumala. Yakuwa yasasula Bowaazi olw’okuba omugabi.​—Luusi 2:15, 16; 4:21, 22; Engero 19:17.

13. Etteeka ery’edda erikwata ku kukuŋŋaanya ebifikidde lituyigiriza ki?

13 Omusingi oguli emabega w’etteeka erikwata ku kukuŋŋaanya ebifikidde tegukyukanga. Yakuwa ayagala abaweereza be okusingira ddala bagabire abo abali mu bwetaavu. Gye tukoma okugabira abalala gye tukoma okufuna emikisa. Yesu yagamba nti: “Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.”​—Lukka 6:38.

14, 15. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo gw’okugaba, era miganyulo ki gye tufuna awamu n’abo be tuba tugabidde?

14 Omutume Pawulo yatukubiriza nti: “Tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Bwe kityo, tulina okukakasa nti Bakristaayo bannaffe bafuna obuyambi obw’eby’omwoyo buli lwe baba boolekaganye n’ebizibu ebigezesa okukkiriza kwabwe. Kyandiba nti beetaaga okutwalibwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba okubayamba okugula ebintu? Mu kibiina kyammwe mulimu ow’oluganda yenna akaddiye, omulwadde oba atasobola kuva waka olw’obulwadde, eyandyetaaze okumukyalirako okumuzzaamu amaanyi oba okumuyamba ku mirimu gy’awaka? Singa tufuba okumanya ab’oluganda abeetaaga obuyambi ng’obwo, Yakuwa ayinza okuddamu okusaba kwabwe ng’atukozesa okubayamba. Wadde nga buvunaanyizibwa bwa buli Mukristaayo okuyamba munne, oyo ayamba naye aganyulwa. Bwe tulaga basinza bannaffe okwagala, tufuna essanyu n’okumatira era Yakuwa atusiima.​—Engero 15:29.

15 Engeri endala Abakristaayo gye balagamu nti bafaayo ku balala kwe kuwaayo ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okubuulira abalala ebigendererwa bya Katonda. (Matayo 28:19, 20) Ow’oluganda yenna eyafuna essanyu olw’okuyamba omuntu okwewaayo eri Yakuwa, ategedde nti ebigambo Yesu bye yayogera bituufu. Yagamba nti: ‘Okugaba kuleeta essanyu okusinga okuweebwa.’​—Ebikolwa 20:35.

Okwewala Okwegomba

16, 17. Ekiragiro eky’ekkumi kyali kigaana ki, era lwaki?

16 Ekintu eky’okusatu kye tugenda okwekenneenya mu Mateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri kye kiragiro eky’ekkumi, ekyali kigaana okwegomba. Ekiragiro ekyo kyali kigamba nti: “Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.” (Okuva 20:17) Tewali muntu asobola kukwasisa bantu kiragiro ng’ekyo okuva bwe kiri nti tewali asobola kumanya ekiri ku mutima gw’abalala. Kyokka, ekiragiro ekyo kyaleetera Amateeka ga Musa okubeera aga waggulu okusinga ag’abantu. Kyaleetera buli Muisiraeri okumanya nti yali avunaanyizibwa eri Yakuwa, asobola okumanya ebiri ku mutima. (1 Samwiri 16:7) Ate era, ekiragiro ekyo kyalaga ekiviirako abantu okwenyigira mu bikolwa ebibi.​—Yakobo 1:14.

17 Etteeka erigaana okwegomba lyakubiriza abantu ba Katonda okwewala omululu, okwemulugunya n’okuluubirira eby’obugagga. Ate era lyabayamba okwewala obubbi n’obutenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bulijjo wajja kubaawo abalina ebintu bye tuyinza okwegomba oba abalabika ng’abali obulungi okutusinga mu bintu ebimu. Singa tulemererwa okufuga ebirowoozo byaffe mu mbeera ng’ezo, kiyinza okutuviirako obutaba basanyufu oba okukwatirwa abantu ng’abo obuggya. Baibuli eraga nti omuntu eyeegomba aba ‘n’endowooza etakkirizibwa.’ N’olwekyo, kiba kirungi ne twewala okwegomba.​—Abaruumi 1:28-30.

18. Mwoyo ki oguli mu nsi leero, era lwaki guyinza okuba ogw’akabi?

18 Omwoyo oguli mu nsi leero gukubiriza abantu okuluubirira eby’obugagga n’okuvuganya. Okulanga eby’amaguzi, kiviiriddeko abantu okuyaayaanira ebintu ebiri ku mulembe era ekyo oluusi kibaleetera okulowooza nti tebayinza kuba basanyufu nga tebabirina. Guno gwe mwoyo gwennyini Yakuwa gwe yagaana mu Mateeka ge. Ekintu ekirala ekifaanaganako n’ekyo Yakuwa kye yagaana mu Mateeka ge, kwe kuluubirira eby’obugagga era n’okuba obulungi ennyo mu nsi eno. Omutume Pawulo yalabula: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.”​—1 Timoseewo 6:9, 10.

19, 20. (a) Abo abaagala amateeka ga Yakuwa, kiki kye batwala ng’eky’omuwendo? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?

19 Abo abaagala amateeka ga Katonda bamanyi akabi akali mu kuba n’omwoyo gw’okwagala okugaggawala era beewala omwoyo ogwo. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Zabbuli yasaba Yakuwa bw’ati: “Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, so si eri okwegomba. Amateeka ag’akamwa ko gampoomera nze okusinga ebitundu eby’ezaabu n’effeeza enkumi n’enkumi.” (Zabbuli 119:36, 72) Bwe tuba abakakafu nti ebigambo ebyo bituufu, kijja kutuyamba okwewala okuluubirira eby’obugagga, okuba n’omululu, n’obutaba bamativu mu bulamu. “Okutya Katonda,” so si okutuuma eby’obugagga, kye kintu ekisobola okutuleetera emiganyulo emingi ennyo.​—1 Timoseewo 6:6.

20 Emisingi egiri emabega w’Amateeka Yakuwa ge yawa eggwanga lya Isiraeri ery’edda, gya muganyulo nnyo mu kiseera kyaffe ekizibu era nga bwe gyali egy’omuganyulo mu kiseera Katonda we yaweera Musa Amateeka. Gye tukoma okugigoberera mu bulamu bwaffe, gye tukoma n’okugitegeera obulungi, okugyagala era n’okubeera abasanyufu. Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku Mateeka ago, era omugaso gwabyo gulabikira mu ebyo ebyatuuka ku bantu aboogerwako mu Baibuli. Abamu ku bo bajja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Ku nnyiriri 176 eziri mu zabbuli eno, ennyiriri 4 zokka ze zitayogera ku mateeka ga Yakuwa, emisango gye, ebiragiro bye, okujjukiza kwe, ebigambo bye, amakubo ge, oba ekigambo kye.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki omuwandiisi wa Zabbuli 119 yali ayagala nnyo amateeka ga Yakuwa?

• Kiki Abakristaayo kye bayinza okuyigira ku tteeka ly’okukwata Ssabbiiti?

• Muganyulo ki ogw’olubeerera oguli mu tteeka ery’okukuŋŋaanya ebifikidde?

• Etteeka erikwata ku kwewala okwegomba litukuuma litya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Etteeka ery’okukwata Ssabbiiti lyalaga kintu ki ekikulu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Etteeka erikwata ku kukuŋŋaanya ebifikidde lituyigiriza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share