LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Ssebutemba lup. 2
  • Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Lwaki Abantu Tebakyawaŋŋana Kitiibwa mu Maka?
    Zuukuka!—2024
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Ssebutemba lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza

Bannyinaffe babiri babuulira omukyala n’omwana we

Bwe tugenda mu maka omwana n’atwaniriza, tusaanide okumugamba nti twagala kwogera ne bazadde be. Kino kiraga nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze mu maka. (Nge 6:20) Omwana bw’atugamba nti tuyingire mu nnyumba, tetuyingira. Bazadde be bwe baba tebaliiwo, tumugambe nti tujja kudda olulala.

Omwana ne bw’aba nga mukulu, oboolyawo nga ali wakati w’emwaka nga 15 ne 19, kyandibadde kya magezi okumugamba nti twagala kwogera ne bazadde be. Bwe baba tebaliiwo, tuyinza okumubuuza oba bazadde be bamukkiriza okwesalirawo by’alina okusoma. Bwe baba bamukkiriza, tusobola okumuwa eky’okusoma era oboolyawo ne tumulagirira omukutu gwaffe ogwa jw.org.

Bwe tuba tuzzeeyo okukyalira omuvubuka eyasiima obubaka bwaffe, tusaanidde okumubuuza obanga kisoboka okwogera ne bazadde be. Kino kijja kutuyamba okubannyonnyola ensonga etuleese era n’okubalaga amagezi agasangibwa mu Bayibuli agasobola okuyamba amaka. (Zb 119:86, 138) Bwe tulaga nti tuwa abazadde ekitiibwa, kiwa obujulirwa era kiyinza okutusobozesa okwogera n’abo mu maka ago ku bikwata ku Bayibuli omulundi omulala.​—1Pe 2:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share