Ssebutemba 12-18
ZABBULI 120-134
Oluyimba 33 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obuyambi Bwange Buva eri Yakuwa”: (Ddak. 10)
Zb 121:1, 2—Yakuwa tumwesiga olw’okuba ye yatonda ebintu byonna (w05 1/1 8 ¶3)
Zb 121:3, 4—Yakuwa afaayo ku byetaago by’abaweereza be (w05 1/1 8 ¶4)
Zb 121:5-8—Yakuwa akuuma abantu be (w05 1/1 9 ¶5-7)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 123:2—Ekyokulabirako ekikwata ku ‘maaso g’abaweereza,’ kirina makulu ki? (w06 10/1 31 ¶4)
Zb 133:1-3—Ekimu ku ebyo bye tuyiga mu zabbuli eno kye kiruwa? (w06 10/1 32 ¶2)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 127:1–129:8
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) wp16.5 omutwe oguli kungulu—Engeri y’okukwatamu omuntu atukambuwalidde.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) wp16.5 omutwe oguli kungulu—Muyite abeewo mu nkuŋŋaana.
Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) fg essomo 8 ¶6—Laga omuyizi engeri gy’ayinza okussa mu nkola by’ayize.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Ankoledde Ebirungi Bingi: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo, Yakuwa Ankoledde Ebirungi Bingi. (Genda ku jw.org/lg, EBITABO > VIDIYO.) Mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Yakuwa yayamba atya mwannyinaffe Crystal, era ekyo kyamukubikiriza kukola ki? Akola ki ebirowoozo bwe bimuyitirirako? Kiki ky’oyigidde ku mwannyinaffe Crystal?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia Okufundikira ¶1-13
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 119 n’Okusaba