Amawulire Amalungi eri Abantu ab’Amawanga Gonna
‘Munaabanga bajulirwa bange okutuusa ku nkomerero y’ensi.’—Ebikolwa 1:8.
1. Bwe tuba tuyigiriza abantu Baibuli, kiki kye tufaako era lwaki?
ABASOMESA abalungi tebakoma ku kufaayo ku bye bayigiriza byokka naye era bafaayo ne ku ngeri gye bayigirizaamu. Naffe bwe tutyo bwe tukola nga tuyigiriza abantu amazima ga Baibuli. Tufaayo ku bubaka bwe tubuulira ne ku ngeri gye tubuuliramu. Wadde Amawulire ag’Obwakabaka bwa Katonda ge tubuulira tegakyuka, tukyusakyusa mu engeri gye tugabuuliramu. Lwaki? Tusobole okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka.
2. Bwe tutuukanya bye tubuulira n’embeera z’abantu, tuba tukoppa ani?
2 Bwe tukyusakyusa mu ngeri gye tubuuliramu, tuba tukoppa abaweereza ba Katonda ab’edda. Lowooza ekyokulabirako ky’omutume Pawulo. Yagamba: ‘Eri abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya. Eri abatalina mateeka nnafuuka ng’atalina mateeka. Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu. Eri bonna nfuuse byonna, mu byonna ndyoke ndokolenga abamu.’ (1 Abakkolinso 9:19-23) Engeri Pawulo gye yabuulirangamu yali nnungi nnyo era yavaamu ebibala. Naffe tujja kufuna ebibala singa tutuukanya bye tubuulira n’embeera y’abantu be tuba tubuulira.
‘Okutuuka ku Nkomerero y’Ensi’
3. (a) Kizibu ki kye twolekaganye nakyo mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira? (b) Mu ngeri ki ebigambo bya Isaaya 45:22 gye bituukiriramu leero?
3 Ekizibu eky’amaanyi ababuulizi b’amawulire amalungi kye basanga kwe kuba nti ekitundu kye babuuliramu kinene nnyo, kwe kugamba, ‘mu nsi yonna.’ (Matayo 24:14) Mu kyasa kye twakakuba emabega, abaweereza ba Yakuwa bangi baakola n’obunyiikivu okusobola okutuusa amawulire amalungi mu nsi ezaali tezibuulirwangamu. Biki ebyavaamu? Amawulire g’Obwakabaka gaatuuka mu bitundu bingi. Ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, ensi ntono nnyo ezaali zibuulirwamu, naye kati Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu nsi 235! Awatali kubuusabuusa, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuuliddwa ‘mu nsi yonna.’—Isaaya 45:22.
4, 5. (a) Baani abakoze ennyo mu kubunyisa amawulire amalungi? (b) Ofiisi z’amatabi zoogedde ki ku b’oluganda abava mu nsi endala ne bagenda okuweereza mu nsi ofiisi ezo zirabirira?
4 Kiki ekiviiriddeko okukulaakulana kuno? Waliwo ebintu bingi. Abaminsani abatendekebwa mu Ssomero lya Watchtower Bible School of Gilead n’ab’oluganda abassuka 20,000 abatendekeddwa mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweerereza, balina kinene kye bakoze mu kukulaakulanya omulimu guno. Ate era waliwo n’Abajulirwa abalala bangi abagenze mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Abakristaayo ng’abo abalaga omwoyo gw’okwefiiriza—abasajja n’abakazi, abakulu n’abato, abali obwannamunigina n’abafumbo, balina kinene nnyo kye bakoze mu kubuulira obubaka bw’Obwakabaka mu nsi yonna. (Zabbuli 110:3; Abaruumi 10:18) Mu butuufu baganda baffe abo Basiimibwa nnyo. Weetegereze ebyo ofiisi z’amatabi bye zaawandiika ku abo abava mu nsi endala ne baweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako.
5 “Abajulirwa bano abeesigwa bawomye omutwe mu kubuulira mu bitundu ebyesudde, batandiseewo ebibiina ebippya, era bayambye ab’oluganda okukulaakulana.” (Ecuador) “Singa ebikumi n’ebikumi by’ab’oluganda abajja okuweereza wano baddayo ewaabwe, ebibiina biyinza okukosebwa. Bwe babeera naffe tuganyulwa nnyo.” (Dominican Republic) “Mu bibiina byaffe bingi bannyinaffe be basingamu obungi, kumpi balinga 70 ku buli kikumi. (Zabbuli 68:11) Wadde nga bannyinnaffe abo abasinga obungi bakyali bappya mu mazima, bannyinaffe abavudde mu nsi endala babayambye okukulaakulana. Bannyinaffe bano abava mu nsi endala bali ng’ebirabo gye tuli!” (Ensi emu ey’omu Bulaaya ow’e Buvanjuba) Wali olowoozezza ku ky’okuweereza mu nsi endala?a—Ebikolwa 16:9, 10.
‘Abantu Kkumi Okuva mu Nnimi Zonna’
6. Zekkaliya 8:23 lulaga kizibu ki eky’amaanyi ababuulizi kye basanga?
6 Ekizibu ekirala eky’amaanyi ababuulizi kye basanga mu buweereza kwe kuba nti ennimi ezoogerwa abantu mu nsi za njawulo. Ekigambo kya Katonda kyalagula nti: “Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zekkaliya 8:23) Mu kiseera kyaffe, abasajja ekkumi bakiikirira ekibiina ekinene ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9. Weetegereze nti okusinziira ku bunnabbi bwa Zekkaliya, “abasajja ekkumi” tebandivudde mu mawanga gokka naye era bandivudde ne “mu nnimi zonna ez’amawanga.” Tulabye okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno obukulu? Awatali kubuusabuusa tukulabye.
7. Byakulabirako ki ebiraga nti abantu “okuva nnimi zonna” batuusibwako amawulire amalungi?
7 Weetegereze ebyokulabirako bino. Emyaka ataano emabega, ebitabo byaffe byakubibwanga mu nnimi 90. Kyokka, leero bikubibwa mu nnimi ezisukka mu 400. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” akoze kyonna ekisoboka okukuba ebitabo ebyo ne mu nnimi ezoogerwa abantu abatono ennyo. (Matayo 24:45) Ng’ekyokulabirako, ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli bikubibwa mu lulimi Olupaluwa (olwogerwa abantu 15,000), Oluyapese (olwogerwa abantu abatawera 7,000) n’olulimi olwogerwa abantu 47,000 mu Greenland.
“Oluggi Olunene” Olugguddwawo
8, 9. Biki ebiviiriddeko “oluggi olunene” okuggulwawo, era Abajulirwa nkumi na nkumi bakozeewo ki?
8 Ennaku zino, kiyinza obutatwetaagisa kugenda mu nsi ndala okusobola okubuulira abantu aboogera ennimi endala. Emabegako, abantu bukadde na bukadde basenze mu nsi ezaakulaakulana edda oba abamu bagenzeeyo okunoonya obubuddamo. Ng’ekyokulabirako, ennimi ezoogerwa mu Paris, eky’omu Bufalansa ziri nga 100. Mu Toronto eky’omu Canada, ennimi ezoogerwa ziri 125; ate mu London eky’omu Bungereza, balina ennimi engwira ezisukka mu 300! Olw’okuba mu bitundu bingi ebibiina gye bibuulira eriyo abagwira bangi kigguddewo “oluggi olunene” olw’okubuulira amawulire amalungi eri abantu ab’amawanga gonna—1 Abakkolinso 16:9.
9 Okusobola okubuulira abantu ab’amawanga gonna enkumi n’enkumi z’Abajulirwa basazeewo okuyiga ennimi engwira. Eri abasinga obungi ekyo tekibabeeredde kyangu. Kyokka, olw’okuba mu kuyamba abagwira n’abanoonyi b’obubudamo okuyiga amazima g’omu Kigambo kya Katonda mulimu essanyu, bafuba okukikola. Mu myaka egiyise, kumpi abantu bana ku buli bantu kkumi ku abo abaabatizibwa mu nkuŋŋaana ennene mu Bulaaya ow’ebugwanjuba, baali bagwira.
10. Okozesezza otya akatabo Good News for People of All Nations? (Laba akasanduuko “Ebiri mu Katabo Good News for People of All Nations,” ku lupapula 32.)
10 Kyo kituufu nti, abasinga obungi tetuli beetegefu kuyiga lulimi lugwira. Wadde kiri kityo, tusobola okubuulira abagwira nga tweyambisa akatabo akaakafulumizibwa akayitibwa Good News for People of All Nations,b akalimu obubaka bwa Baibuli obusikiriza obuwandiikiddwa mu nnimi ez’enjawulo. (Yokaana 4:37) Akatabo kano okakozesa mu buweereza?
Abantu Bwe Batawuliriza
11. Kizibu ki ekirala kye tusanga mu bitundu ebimu gye tubuulira?
11 Olw’okuba Setaani yeeyongera okubuzaabuza abantu, waliwo ekizibu ekirala kye tutera okwolekagana nakyo—mu bitundu ebimu gye tubuulira abantu tebaagala kuwuliriza. Kino tekitwewuunyisa okuva Yesu bwe yalagula nti embeera ng’eyo yandibaddewo. Ng’ayogera ku ekyo ekyandibaddewo mu biseera byaffe yagamba, “Okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.” (Matayo 24:12) Mazima ddala, abantu abasinga obungi tebakyakkiririza mu Katonda era tebakyawa Baibuli ekitiibwa. (2 Peetero 3:3, 4) N’ekivuddemu, mu nsi ezimu bantu batono nnyo abafuuka abayigirizwa ba Kristo. Kyokka, ekyo tekitegeeza nti okufuba kwa baganda baffe ababuulira mu bitundu ng’ebyo kwa bwereere. (Abaebbulaniya 6:10) Lwaki? Weetegereze ebyokulabirako bino wammanga.
12. Ensonga ebbiri lwaki tubuulira ze ziruwa?
12 Enjiri ya Matayo eraga ensonga bbiri enkulu lwaki tubuulira. Ensonga emu, kwe ‘kufuula abantu ab’amawanga gonna abayigirizwa.’ (Matayo 28:19) Endala eri nti, bwe tubuulira obubaka bw’Obwakabaka tuba tuwa “obujulirwa.” (Matayo 24:14) Ku nsonga zino zombi ey’okubiri y’esinga obukulu. Lwaki?
13, 14. (a) Kintu ki ekikulu ekiri mu kabonero k’okubeerawo kwa Kristo? (b) Kiki kye tulina okujjukira naddala nga tubuulira mu bitundu abantu abasinga gye batayagala kuwuliriza?
13 Matayo, omu ku bawandiisi wa Baibuli, yawandiika nti abatume baabuuza Yesu nti: ‘Tubuulire akabonero ak’okujja kwo bwe kaliba n’ak’emirembe gino okugwaawo?’ (Matayo 24:3) Mu kubaddamu Yesu yalaga nti omulimu gw’okubuulira ogwandikoleddwa mu nsi yonna, gwandibadde kitundu kikulu nnyo eky’akabonero ak’okubeerawo kwe. Yali ayogera ku kufuula abantu abayigirizwa? Nedda. Yagamba: “Amawulire gano ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba omujulirwa eri amawanga gonna.” (Matayo 24:14) N’olwekyo, Yesu yalaga nti omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gwandibadde kitundu kikulu nnyo eky’akabonero ak’ennaku ez’oluvannyuma.
14 Bwe tuba tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka tukijjukire nti abantu ne bwe batafuuka bayigirizwa, tuba tubawadde “obujulirwa.” Ne bwe baba tebawulirizza, bamanyi kye tukola era tuba tutuukiriza obunnabbi bwa Yesu. (Isaaya 52:7; Okubikkulirwa 14:6, 7) Omujulirwa omuto ayitibwa Jordy ow’omu Bulaaya agamba: “Kimpa essanyu okumanya nti Yakuwa ankozesa okutuukiriza Matayo 24:14.” (2 Abakkolinso 2:15-17) Awatali kubuusabuusa naawe oteekwa okuba ng’owulira bw’otyo.
Omulimu Gwaffe Bwe Guziyizibwa
15. (a) Yesu yalabula ki abagoberezi be? (b) Kiki ekitusobozesa okubuulira wadde nga waliwo okuziyizibwa?
15 Ekizibu ekirala ababuulizi kye boolekaganye nakyo nga babuulira amawulira g’Obwakabaka kwe kuziyizibwa. Yesu yalabula abayigirizwa be nti: “Mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.” (Matayo 24:9) Okufaananako Abakristaayo abasooka, abagoberezi ba Yesu leero nabo bakyayibwa, baziyizibwa, era bayigganyizibwa. (Ebikolwa 5:17, 18, 40; 2 Timoseewo 3:12; Okubikkulirwa 12:12, 17) Mu nsi ezimu gavumenti zibagaanye okubuulira. Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima mu nsi ezo bagondera Katonda ne beeyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Amosi 3:8; Ebikolwa 5:29; 1 Peetero 2:21) Kiki ekisobozesa Abajulirwa bano n’abalala mu nsi yonna okweyongera okubuulira? Yakuwa abawa amanyi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.—Zekkaliya 4:6; Abaefeso 3:16; 2 Timoseewo 4:17.
16. Yesu yalaga atya akakwate akaliwo wakati w’okubuulira n’omwoyo gwa Katonda?
16 Yesu yalaga akakwate akaliwo wakati w’omwoyo gwa Katonda n’omulimu gw’okubuulira bwe yagamba abagoberezi be nti: ‘Muliweebwa amaanyi omwoyo omutukuvu bw’alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ (Ebikolwa 1:8; Okubikkulirwa 22:17) Weetegereze engeri ebiri mu kyawandiikibwa kino gye byagenda bituukirizibwamu. Okusooka abayigirizwa baafuna omwoyo omutukuvu, oluvannyuma ne batandika okuwa obujulirwa mu nsi yonna. Omwoyo gwa Katonda gwe gwokka ogwandibayambye okufuna amaanyi, n’okugumiikiriza nga bawa ‘obujulirwa mu amawanga gonna.’ (Matayo 24:13, 14; Isaaya 61:1, 2) N’olwekyo, kyali kituukirawo Yesu okuyita omwoyo omutukuvu “omubeezi.” (Yokaana 15:26) Yagamba nti omwoyo gwa Katonda gwandiyigirizza abayigirizwa era ne gubawa obulagirizi.—Yokaana 14:16, 26; 16:13.
17. Bwe tuba tuyigganyizibwa, omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya?
17 Mu ngeri ki omwoyo gwa Katonda gye gutuyamba leero bwe tuba tuziyizibwa okubuulira amawulire amalungi? Omwoyo gwa Katonda gutuwa amaanyi, era guziyiza abo abatuyigganya. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Sawulo.
Baziyizibwa Omwoyo gwa Katonda
18. (a) Sawulo yafuuka atya omuntu omubi? (b) Sawulo yayigganya atya Dawudi?
18 Sawulo kabaka wa Isiraeri eyasooka yali muwulize naye oluvannyuma n’ajeemera Yakuwa. (1 Samwiri 10:1, 24; 11:14, 15; 15:17-23) N’ekyavaamu, Katonda yalekera awo okuwa kabaka ono omwoyo gwe. Sawulo yasunguwalira Dawudi eyali afukiddwako amafuta okumuddira mu bigere era eyalina obuwagizi bw’omwoyo gwa Katonda. (1 Samwiri 16:1, 13, 14) Kyalabika ng’ekyangu Sawulo okutta Dawudi. Dawudi yali alina nnanga yokka, kyokka ng’ate ye Sawulo alina effumu. Lwali lumu Dawudi bwe yali akuba ennanga, ‘Sawulo yamukasukira effumu ng’ayogera nti Ka nfumite Dawudi nkwase n’ekisenge! Kyokka, Dawudi yalyewoma emirundi ebiri.’ (1 Samwiri 18:10, 11) Oluvannyuma Sawulo yawuliriza mutabani we Yonasaani eyali mukwano gwa Dawudi era n’alayira nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu [Dawudi] talittibwa.” Nga wayiseewo ekiseera ‘Sawulo yagezaako nate okufumita Dawudi effumu likwase n’ekisenge.’ Kyokka Dawudi ‘yalyewoma, ne likwasa ekisenge.’ Dawudi yadduka era Sawulo yamuwoondera. Okuva olwo, omwoyo gwa Katonda gwatandika okuziyiza Sawulo. Mu ngeri ki?—1 Samwiri 19:6, 10.
19. Omwoyo gwa Katonda gwakuuma gutya Dawudi?
19 Wadde Dawudi yadduka n’agenda ewa nnabbi Samwiri, Sawulo yasindika abasajja bamukwate. Bwe baatuuka mu kifo Dawudi we yali yeekwese, ‘omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo ne batandika okulagula.’ Omwoyo gwa Katonda gwabeerabiza ensonga eyali ebatutte. Emirundi emirala ebiri Sawulo yatuma abasajja okugenda bakwate Dawudi, era ekintu kye kimu kyabatuukako. Oluvannyuma Kabaka Sawulo yeesitukira n’agenda okukwata Dawudi, naye yali tasobola kuziyiza mwoyo gwa Katonda. Omwoyo omutukuvu gwamumalamu amaanyi ‘ekiro kyonna’—ne kisobozesa Dawudi okudduka.—1 Samwiri 19:20-24.
20. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Sawulo ne Dawudi?
20 Ebikwata ku Dawudi ne Sawulo bituwa eky’okuyiga ekituzzaamu amaanyi: Abayigganya abaweereza ba Katonda tebasobola kutuuka ku buwanguzi ng’omwoyo gwa Katonda gubaziyiza. (Zabbuli 46:11; 125:2) Yakuwa yali ayagala Dawudi okubeera kabaka wa Isiraeri. Tewali n’omu eyali asobola kukyusa kigendererwa ekyo. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yagamba nti ‘enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa’ mu kiseera kyaffe. Tewali n’omu asobola okuziyiza ekyo okutuukirizibwa.—Ebikolwa 5:40, 42.
21. (a) Abo abatuziyiza leero bakozesa ki? (b) Tuli bakakafu ku ki?
21 Abakulembeze b’amadiini ne bannabyabufuzi abamu bakozesa obulimba n’obukambwe okugezaako okutulemesa kubuulira. Kyokka, nga Yakuwa bwe yakuuma Dawudi mu by’omwoyo, naffe ajja kutukuuma. (Malaki 3:6) N’olwekyo, okufaananako Dawudi, twogera n’obuvumu nti: “Katonda gwe nneesize, siritya. Abantu bayinza kunkola ki?” (Zabbuli 56:11; 121:1-8; Abaruumi 8:31) Nga tulina obuyambi bwa Yakuwa, ka tweyongere okwaŋŋanga okuziyizibwa kwonna kwe tuyinza okufuna nga tukola omulimu gwe yatuwa ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka eri abantu ab’amawanga gonna.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akabokisi “Bawulira nga Bamativu,” ku lupapula 28.
b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okujjukira?
• Lwaki twetaaga okukyusakyusa mu ngeri gye tubuuliramu?
• “Oluggi olunene” olugguddwawo lutuwa mikisa ki egy’okubuulira?
• Biki ebituukiddwako mu kubuulira kwaffe, ne mu bitundu abantu abasinga gye batayagala kuwuliriza?
• Lwaki tewali asobola kuziyiza mulimu gwa kubuulira mawulire malungi ag’Obwakabaka?
[Akasaduuko akali ku lupapula 28]
Bawulira nga Bamativu
“Basanyufu era banyumirwa okuweerereza awamu Yakuwa.” Ebigambo ebyo byoleka enneewulira y’ab’omu maka agamu agaava mu Spain ne gasengukira mu Bolivia. Omwana omu mu maka ago yali agenze okuyamba akabinja k’ababuulizi akaali keesudde. Essanyu lye yafuna lyaleetera bazadde be nga mw’otwalidde abalenzi bana abali wakati w’emyaka 14 ne 25, okugenda okuweereza mu kifo ekyo. Mu kiseera kino basatu ku balenzi abo baweereza nga bapayoniya era omulenzi eyasooka okugenda okuyamba akabinja ako, gye buvuddeko yagenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza.
Angelica, ow’emyaka 30, eyava mu Canada n’agenda okuweereza mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba agamba nti: “Wadde nga waliwo ebizibu bingi, nfuna essanyu olw’okuyamba abantu be nsanga mu buweereza. Nziramu nnyo amaanyi Abajulirwa abali mu kitundu kino bwe banneebaza olw’okujja okubayamba.”
Ab’oluganda babiri abanaatera okuweza emyaka 30 abaava mu Amerika ne bagenda okuweereza mu Dominican Republic, bagamba: “Waliwo empisa z’omu kitundu ezaali enzibu okuyiga. Wadde kyali kityo, tweyongera okugumiikiriza mu buweereza bwaffe era kati abayizi baffe musanvu bajja mu nkuŋŋaana.” Bannyinaffe abo ababiri baakola kinene nnyo mu kuyamba ababuulizi b’Obwakabaka abaali mu kibuga ekyo okumanya engeri ekibiina gye kiddukanyizibwamu.
Laura, mwannyinaffe anaatera okuweza emyaka 30 aweerezza mu nsi endala okumala emyaka ena agamba: “Obulamu bwange mbufudde bwangu. Kino kiyambye ababuulizi okumanya nti omuntu okuba n’obulamu obwangu tekitegeeza nti mwavu wabula kiraga nti mutegeevu. Okusobola okuyamba abalala naddala abavubuka, kimpadde essanyu erinneerabizza n’ebizibu bye nfuna olw’okuweereza mu nsi endala. Sandyagadde kintu kyonna kundetera kuleka buweereza bwange, bwe kuba nga kwe kwagala kwa Yakuwa, nja kusigala eno nga mpeereza.”
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Ebiri mu Katabo Good News for People of All Nations
Akatabo Good News for People of All Nations kalina empapula 92 era nga ku buli lumu kuliko obubaka obuli mu lulimi olw’enjawulo. Obubaka obwo buwandiikiddwa ngeri nti omuntu bw’aba abusoma, kibanga gwe aba ayogera naye.
Bw’obikkula ku lupapula olusooka kuliko mmaapu y’ensi yonna. Kozesa mmaapu eno okusobola okutandika okunyumya n’omuntu. Oyinza okusonga ku nsi gy’obeeramu, era n’okola akabonero akalaga nti wandyagadde okumanya ensi gy’avaamu. Mu ngeri eyo, osobola okumusikiriza era n’omuleetera okussaayo omwoyo ku ky’omulaga.
Ennyanjula y’akatabo kano ewa ebintu ebiwerako bye tuyinza okugoberera okusobola okuyamba omuntu ayogera olulimi lwe tutategeera. Osabibwa okusoma ebintu bino n’obwegendereza era obikozese bulungi.
Olukalala olulaga ebirimu teruliiko nnimi zokka naye era luliko n’ennukuta ezikiikirira ennimi ezo. Kino kijja kukuyamba okumanya olulimi ennukuta eziri ku katulakiti n’ebitabo eby’enjawulo ze lukiikirira.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Akatabo kano okakozesa mu buweereza?