LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 10/1/05 lup. 18-22
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ERISA ADDA MU BIGERE BYA ERIYA
  • (2 Bassekabaka 1:1–8:29)
  • ISRAERI NE YUDA BATWALIBWA MU BUWAŊŊANGUSE
  • (2 Bassekabaka 9:1–25:30)
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro​—Naawe Ogalaba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kozesa Embeera Ezitali Zimu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 10/1/05 lup. 18-22

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri

EKITABO kya Bassekabaka eky’Okubiri kyongereza ku byafaayo bya Isiraeri ne Yuda ebyogerwako mu kitabo kya Bassekabaka Ekisooka. Kyogera ku bakabaka 29, nga 12 bafugira mu bwakabaka bwa Isiraeri obwa bukiika kkono ate nga 17 bafugira mu bwakabaka bwa Yuda obwa bukiika ddyo. Ekitabo kino kyogera ne ku bannabbi nga Eriya, Erisa, ne Isaaya. Wadde tekisengeka bintu nga bwe byagenda biddiriŋŋana, kyogera ku kuzikirizibwa kwa Samaliya ne Yerusaalemi. Byonna ebiri mu kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri byaliwo mu bbanga lya myaka 340​—okuva mu 920 B.C.E. okutuuka mu 580 B.C.E., nnabbi Yeremiya we yamalira okukiwandiika.

Bya kuyiga ki ebiri mu kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri? Kituyigiriza ki ku Yakuwa n’engeri gye yakolaganangamu n’abantu? Ebyo bakabaka, bannabbi n’abalala bye baakola ebyogerwako mu kitabo kino, bituyigiriza ki? Ka tulabe eky’okuyiga ekiri mu kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri.

ERISA ADDA MU BIGERE BYA ERIYA

(2 Bassekabaka 1:1–8:29)

Kabaka wa Isiraeri Akaziya agwa ekigwo mu nnyumba ye, era alwala. Afuna obubaka okuva eri nnabbi Eriya nti agenda kufa. Akaziya afa, era muganda we Yekolaamu amuddira mu bigere. Mu kiseera kye kimu, Yekosofaati y’afuga mu Yuda. Eriya atwalibwa embuyaga, era omuweereza we Erisa, amuddira mu bigere. Erisa akola ebyamagero bingi mu myaka gy’obuweereza bwe 60 egiddirira.​—Laba akasanduuko akaliko omutwe, “Ebyamagero Erisa bye Yakola.”

Kabaka w’Abamowaabu bw’ajeemera kabaka wa Isiraeri, Yekolaamu, Yekosofaati, ne kabaka w’Abedomu bagenda okumutabaala. Olw’okuba Yekosofaati yeesiga Yakuwa, bawangula. Oluvannyuma kabaka wa Busuuli akola enteekateeka okulumba Isiraeri. Kyokka, Erisa enteekateeka ezo azirinnyamu eggere. Kabaka wa Busuuli asunguwala nnyo era ‘atuma embalaasi n’amagaali, n’eggye lingi’ okukwata Erisa. (2 Bassekabaka 6:14) Bwe batuuka eyo Erisa akola ebyamagero bibiri era aleka amagye ga Busuuli ne gaddayo mirembe. Oluvannyuma lw’ekiseera, Kabaka wa Busuuli Benikadadi azingiza Samaliya. Kino kiviirako enjala ey’amaanyi okugwa naye Erisa alagula nti ejja kuggwaawo.

Nga wayiseewo ekiseera, Erisa agenda e Damasiko. Olw’okuba Kabaka Benikadadi mulwadde, atuma Kazayeeri okugenda okwebuuza ku Erisa obanga anaawona. Erisa amugamba nti ajja kufa era Kazayeeri amuddire mu bigere. Ku lunaku oluddirira, Kazayeeri addira ‘bulangiti’ embisi n’asiba kabaka omumwa n’ennyindo n’afa ekiziyiro, era ne yeddiza obwakabaka. (2 Bassekabaka 8:15) Mu Yuda, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati afuulibwa kabaka, era oluvannyuma Akaziya mutabani we amuddira mu bigere.​—Laba akasanduuko akaliko omutwe, “Bakabaka ba Yuda n’aba Isiraeri.”

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

2:9​​—Lwaki Erisa yasaba ‘ebitundu bibiri eby’omwoyo gwa Eriya’? Okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga nnabbi wa Isiraeri, Erisa yali yeetaaga okuba omuvumu nga Eriya. Kino bwe yakitegeera, yasaba ebitundu bibiri eby’omwoyo gwa Eriya. Olw’okuba Eriya yali alonze Erisa okumuddira mu bigere, era ng’abadde muweereza we okumala emyaka mukaaga, Erisa yali atwala Eriya nga kitaawe mu by’omwoyo era naye yali nga mutabani we omubereberye mu by’omwoyo. (1 Bassekabaka 19:19-21; 2 Bassekabaka 2:12) Ng’omwana omubereberye bw’afuna ebitundu bibiri eby’obusika bwa kitaawe, ne Erisa naye yasaba era n’aweebwa ebitundu bibiri eby’obusika bwa Eriya obw’eby’omwoyo.

2:11​​—‘Embuyaga bwe yasitula Eriya,’ yamutwala mu “ggulu” ki? Eggulu eryogerwako wano si bwe bwengula oba ekifo Katonda ne bamalayika gye babeera. (Ekyamateeka 4:19; Zabbuli 11:4; Matayo 6:9; 18:10) ‘Eggulu,’ embuyaga gye zaatwala Eriya lyali bbanga. (Zabbuli 78:26; Matayo 6:26) Eggaali ery’omuliro lyayisa Eriya mu bbanga, ne limutwala mu kifo ekirala eky’oku nsi, gye yabeera okumala akaseera. Nga wayiseewo emyaka, Eriya yawandiikira Yekolaamu kabaka wa Yuda ebbaluwa.​—2 Ebyomumirembe 21:1, 12-15.

5:15, 16​​—Lwaki Erisa yagaana ekirabo Naamani kye yamuwa? Erisa yagaana ekirabo ekyo kubanga yali amanyi nti Yakuwa y’amusobozesezza okuwonya Naamani mu ngeri ey’ekyamagero. Yali tasobola kukozesa nkizo Katonda gye yali amuwadde okusobola okwefunira eby’obugagga. Bwe kityo, n’Abakristaayo ab’amazima leero tebaweereza Yakuwa lwa kwagala kwefunira bintu. Bakolera ku kubuulirira kwa Yesu okugamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.”​—Matayo 10:8.

5:18, 19​​—Naamani yali yeetonda lwa kuba yavuunamiranga bakatonda ab’obulimba? Olw’okuba kabaka wa Busuuli yali akaddiye nnyo era nga teyeesobola, Naamani ye yakolanga omulimu gw’okumuwanirira. Kabaka bwe yafukamiranga okusinza Limmoni, ne Naamani ng’akola kye kimu. Kyokka, kino Naamani teyakikolanga lwa kusinza wabula yali awanirira kabaka aleme okugwa. Naamani yasaba Yakuwa amusonyiwe olw’okukkiriza okukola omulimu ng’ogwo. Erisa bwe yalaba nga Naamani mwesimbu, yamugamba nti: “Genda mirembe.”

Bye Tuyigamu:

1:13, 14. Okuba abeetoowaze n’okuyigira ku ebyo ebiba bituuse ku balala, kiyinza okuyamba omuntu okuwonya obulamu.

2:2, 4, 6. Wadde nga Erisa yali aweerezza Eriya okumala emyaka mukaaga, yamwegayirira aleme kumulekawo. Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okunywerera ku mikwano gyaffe!​—Engero 18:24.

2:23, 24. Kirabika abaana baasekerera Erisa lwa kuba yali ayambadde ekyambalo kya Eriya ng’ate alina ekiwalaata. Abaana baali bakimanyi nti Erisa nnabbi wa Yakuwa naye nga tebaagala agende mu kitundu kyabwe. Bamugamba nti “yambuka,” nga bategeeza nti genda e Beseri oba twalibwa mu ngeri y’emu nga Eriya bwe yatwalibwa. Mazima ddala abaana abo baayoleka obukyayi bwa bazadde baabwe. Nga kiba kirungi abazadde okuyigiriza abaana baabwe okuwa ekitiibwa abo Katonda b’alonze okutwala obukulembeze!

3:14, 18, 24. Ekigambo kya Yakuwa bulijjo kituukirira.

3:22. Kirabika ettaka ebidiba we byali byakasimibwa lyali limyufu, eno ye nsonga lwaki ekitaangala ky’enjuba bwe kyakuba ku mazzi ku makya gaalabika ng’omusaayi. Yakuwa asobola okukozesa ekintu kyonna okutuukiriza ebigendererwa bye.

4:8-11. Olw’okuba yakimanya nti Erisa yali ‘musajja wa Katonda omutukuvu,’ omukazi ow’omu Sunemu yamusembeza mu maka ge. Naffe tetwandikoze kye kimu eri abaweereza ba Yakuwa abeesigwa?

5:3. Omuwala omuto Omuisiraeri yalina okukkiriza nti Katonda asobola okukola ebyamagero. Ate era yalina obuvumu obwamusobozesa okubuulira abalala ku ebyo bye yali akkiriza. Abato, nammwe mufuba okunyweza okukkiriza kwammwe mu bisuubizo bya Katonda, era mulina obuvumu obunaabasobozesa okubuulira abasomesa bammwe ne bayizi bannammwe?

5:9-19. Okusinziira ku kyokulabirako kya Naamani, si kituufu nti omuntu ow’amalala asobola okufuuka omuwombeefu?​—1 Peetero 5:5.

5:20-27. Ng’ebiva mu kulimba biba bibi nnyo! Singa tufumiitiriza ku kabi akali mu kutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri, kijja kutuyamba okwewala okutambulira mu bulamu obw’engeri eyo.

ISRAERI NE YUDA BATWALIBWA MU BUWAŊŊANGUSE

(2 Bassekabaka 9:1–25:30)

Yeeku alondebwa okuba kabaka wa Isiraeri. Mangu ddala asaanyawo ab’ennyumba ya Akabu. Mu ngeri ey’amagezi ‘amalawo ensinza ya Baali mu Isiraeri.’ (2 Bassekabaka 10:28) Asaliya maama wa Akaziya bw’akimanya nti Yeeku asse mutabani we, naye ‘agolokoka n’azikiriza ezzadde lyonna ery’obwakabaka bwa Yuda’ era ne yeddiza entebe y’obwakabaka. (2 Bassekabaka 11:1) Mutabani wa Akaziya omuto, Yowaasi, akwekebwa era oluvannyuma lw’emyaka mukaaga, afuulibwa kabaka wa Yuda. Ng’agoberera obulagirizi bwa Yekoyaada kabona, Yowaasi yeeyongera okukola Yakuwa by’ayagala.

Oluvannyuma lwa Yeeku, bakabaka bonna abafuga Isiraeri bakola ebibi mu maaso ga Yakuwa. Erisa afa nga muzzukulu wa Yeeku y’ali ku ntebe. Kabaka ow’okuna eyafuga oluvannyuma lwa Yowaasi yali Akazi era ‘bye yakola tebyali birungi mu maaso ga Yakuwa.’ (2 Bassekabaka 16:1, 2) Kyokka, mutabani we Keezeekiya, ‘teyalekayo kugoberera Yakuwa.’ (2 Bassekabaka 17:20; 18:6) Mu 740 B.C.E., nga Keezeekiya y’afuga Yuda ate nga Koseya y’afuga Isiraeri, Salumaneseri Kabaka w’e Bwasuli ‘awamba Samaliya era atwala Isiraeri mu buwambe e Bwasuli.’ (2 Bassekabaka 17:6) Oluvannyuma bannaggwanga baleetebwa mu Isiraeri, era batandikawo eddiini y’Ekisamaliya.

Ku bakabaka ba Yuda omusanvu abaddirira Keezeekiya, Yosiya ye yekka amalawo okusinza okw’obulimba mu Yuda. Ku nkomerero ya byonna, Abababulooni bawamba Yerusaalemi mu 607 B.C.E., era ‘Yuda atwalibwa mu buwaŋŋanguse okuva mu nsi ye.’​—2 Bassekabaka 25:21.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

13:20, 21​​—Ekyamagero kino kiraga nti kituufu okusinza ebisigala by’abafu? N’akatono. Baibuli terina weeragira nti amagumba ga Erisa gaasinzibwanga. Amaanyi ga Katonda ge gaasobozesa ekyamagero ekyo okubaawo ng’era bwe gaasobozesanga Erisa okukola ebyamagero ng’akyali mulamu.

15:1-6​​—Lwaki Yakuwa yakuba Azaliya (Uzziya) ebigenge? “Lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa . . . , n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obububaane.” Bakabona bwe ‘baziyiza Uzziya’ ne bamugamba ‘okuva mu kiggwa,’ yabasunguwalira nnyo era ekyavaamu yakubwa ebigenge.​—2 Ebyomumirembe 26:16-20.

18:19-21, 25​​—Keezeekiya yali yeesiga Misiri? Nedda. Labusake okwogera bw’atyo n’okugamba nti ‘Yakuwa ye yali amukkirizza’ okutabaala Yuda tebyali bituufu. Kabaka Keezeekiya yali yeesiga Yakuwa yekka.

Bye Tuyigamu:

9:7, 26. Olw’okuba Yakuwa yasalira ennyumba ya Akabu omusango ogw’amaanyi, kiraga nti akyawa okusinza okw’obulimba n’okuyiwa omusaayi.

9:20. Olw’okuba Yeeku yawulumulanga nnyo eggaali lye, kiraga nti yali munyiikivu mu kukola omulimu ogwali gumuweereddwa. Naawe omanyiddwa ng’omubuulizi w’amawulire g’Obwakabaka omunyiikivu?​—2 Timoseewo 4:2.

9:36, 37; 10:17; 13:18, 19, 25; 14:25; 19:20, 32-36; 20:16, 17; 24:13. Tusobola okuba abakakafu nti buli ‘kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa kirina okutuukirira.’​—Isaaya 55:10, 11.

10:15. Nga Yekonadabu bwe yakkiriza okwegatta ku Yeeku n’omutima gwe gwonna, n‘ab’ekibiina ekinene’ beewaddeyo okuwagira Yesu Kristo, Yeeku ow’omu biseera byaffe, n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta.​—Okubikkulirwa 7:9.

10:30, 31. Wadde Yeeku alina ensobi ze yakola, Yakuwa yamusiima olw’ebirungi bye yakola. Mazima ddala ‘Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe.’​—Abaebbulaniya 6:10.

13:14-19. Olw’okuba Yowaasi muzzukulu wa Yeeku bwe yagambibwa okulasa obusaale yalasa emirundi esatu gyokka, kyalaga nti si munyiikivu era nti yali tasobola kuzikiririza ddala Busuuli. Yakuwa atusuubira okukola omulimu gwe n’obunyiikivu n’okugukola n’omutima gwaffe gwonna.

20:2-6. Yakuwa “awulira okusaba.”​—Zabbuli 65:2.

24:3, 4. Olw’okuba Manase yali ayiye omusaayi mungi, Yakuwa ‘teyasonyiwa’ Yuda. Katonda atwala omusaayi gw’abatalina musango nga gwa muwendo nnyo. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuzikiriza abo abayiwa omusaayi gw’abantu abatalina musango.​—Zabbuli 37:9-11; 145:20.

Bye Tuyigamu

Ekitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri kyogera ku Yakuwa ng’oyo Atuukiriza ebisuubizo bye. Abatuuze b’omu Yuda ne Isiraeri bwe baatwalibwa mu buwambe kyatuukiriza obunnabbi obuli mu Ekyamateeka 28:15–29:28. Ate era ekitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri kiraga nti nnabbi Erisa yali munyiikivu mu kutukuza erinnya lya Yakuwa n’okutumbula okusinza okulongoofu. Kitulaga nti Keezeekiya ne Yosiya baali bakabaka bawombeefu era nti baakuuma Amateeka ga Katonda.

Bwe tufumiitiriza ku ndowooza n’ebikolwa bya bakabaka, bannabbi n’abalala aboogerwako mu Bassekabaka eky’Okubiri, tetuyiga bye tulina okuluubirira ne bye tusaanidde okwewala? (Abaruumi 15:4; 1 Abakkolinso 10:11) Yee, “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi.”​—Abaebbulaniya 4:12.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

EBYAMAGERO ERISA BYE YAKOLA

1. Amazzi ga Yoludaani gaawulibwamu.​—2 Bassekabaka 2:14

2. Amazzi ga Yeriko agatali malungi galongoosebwa.​—2 Bassekabaka 2:19-22

3. Abaana ab’eddalu bataagulwataagulwa amalubu.​—2 Bassekabaka 2:23, 24

4. Amagye gafuna amazzi.​—2 Bassekabaka 3:16-26

5. Nnamwandu afuna omuzigo.​—2 Bassekabaka 4:1-7

6. Omukazi Omusunammu eyali omugumba afuna olubuto era azaala omwana.​—2 Bassekabaka 4:8-17

7. Omwana azuukizibwa.​—2 Bassekabaka 4:18-37

8. Abantu balya enva ezaateekebwamu amaboga ag’obutwa ne zitabakolako kabi.​—2 Bassekabaka 4:38-41

9. Abasajja kikumi balya emigaati 20 gyokka ne bakkuta.​—2 Bassekabaka 4:42-44

10. Naamani awonyezebwa ebigenge.​—2 Bassekabaka 5:1-14

11. Gekazi akubwa ebigenge bya Naamani.​—2 Bassekabaka 5:24-27

12. Embazzi ebbulukuka.​—2 Bassekabaka 6:5-7

13. Omuweereza alaba eggye lya bamalayika.​—2 Bassekabaka 6:15-17

14. Amaggye ga Busuuli gaziba amaaso.​—2 Bassekabaka 6:18

15. Amaggye ga Busuuli bazibulwa amaaso.​—2 Bassekabaka 6:19-23

16. Omusajja eyali afudde azuukira.​—2 Bassekabaka 13:20, 21

[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]

BAKABAKA BA YUDA N’ABA ISIRAERI

Sawulo/Dawudi/Sulemaani: 1117/1077/1037 B.C.E.a

OBWAKABAKA BWA YUDA OMWAKA (B.C.E.) OBWAKABAKA BWA ISIRAERI

Lekobowaamu ․․․․․․ 997 ․․․․․․ Yerobowaamu

Abiyah/Asa ․․․․ 980/978 ․․․․

․․ 976/975/952 ․․ Nadabu/Baasa/Era

․․ 951/951/951 ․․ Zimuli/Omuli/Tibuni

․․․․․․ 940 ․․․․․․ Akabu

Yekosofaati ․․․․․․ 937 ․․․․․․

․․․․ 920/917 ․․․․ Akaziya/Yekolaamu

Yekolaamu ․․․․․․ 913 ․․․․․․

Akaziya ․․․․․․ 906 ․․․․․․

(Asaliya) ․․․․․․ 905 ․․․․․․ Yeeku

Yowaasi ․․․․․․ 898 ․․․․․․

․․․․ 876/859 ․․․․ Yekoyakaazi/Yowaasi

Amaziya ․․․․․․ 858 ․․․․․․

․․․․․․ 844 ․․․․․․ Yerobowaamu II

Azaliya(Uzziya) ․․․․․․ 829 ․․․․․․

․․ 803/791/791 ․․ Zekkaliya/Sallumu/Menakemu

․․․․ 780/778 ․․․․ Pekakiya/Peka

Yosamu/Akazi ․․․․ 777/762 ․․․․

․․․․․․ 758 ․․․․․․ Koseya

Keezeekiya ․․․․․․ 746 ․․․․․․

․․․․․․ 740 ․․․․․․ Samaliya kiwambibwa

Manase/Amoni/Yosiya ․․ 716/661/659 ․․

Yekoyakaazi/Yekoyakimu ․․․․ 628/628 ․․․․

Yekoyakini/Zeddekiya ․․․․ 618/617 ․․․․

Yerusaalemi kizikirizibwa ․ 607 ․․․․․․

[Obugambo obuli wansi]

a Emyaka egimu si gyegyo gyennyini we baatandikira okufuga, wabula giteeberezebwa buteeberezebwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Naamani bwe yeetowaza Yakuwa yamuwonya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Kiki ekyatuuka ku Eriya bwe ‘yalinnya mu ggulu n’embuyaga’?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share