Yakuwa Amanyi Omuwendo ‘gw’Enviiri Zammwe’
“Tewaliba n’emu ku zo [enkazaluggya] erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna.”—MATAYO 10:29, 30.
1, 2. (a) Lwaki Yobu yalowooza nti Katonda amwabulidde? (b) Ebigambo bya Yobu byalaga nti avudde ku Yakuwa? Nnyonnyola.
“NKUKAABIRIRA so tonziramu: nnyimirira, n’ontunuulira. Okyuse okuba omukambwe gye ndi: olw’amaanyi ng’omukono gwo onjigganya.” Ng’omusajja eyayogera ebigambo ebyo yali mu nnaku ya maanyi nnyo! Yali afiiriddwa eby’obugagga bwe, ng’omuyaga gusse abaana be era ng’afunye obulwadde obw’amaanyi ennyo. Omusajja oyo ye Yobu. Ebyo ebyamutuukako byawandiikibwa mu Baibuli tusobole okubiganyulwamu.—Yobu 30:20, 21.
2 Wadde ng’ebyo Yobu bye yayogera byali ng’ebiraga nti avudde ku Yakuwa, si bwe kyali. Ennaku ey’amaanyi gye yalina, ye yamwogeza bw’etyo. (Yobu 6:2, 3) Olw’okuba yali tamanyi nti Setaani ye yali ensibuko y’ebizibu ebyo, ye nsonga lwaki yalowooza nti Katonda amwabulidde. Lumu yatuuka n’okugamba nti: “Okisiza ki amaaso go, n’ompita omulabe wo?”a—Yobu 13:24.
3. Bwe tufuna ebizibu, kiki ekiyinza okutujjira mu birowoozo?
3 Leero, bangi ku bantu ba Yakuwa bafuna ebizibu bingi ebireetebwa entalo, obwegugungo, obutyabaga, obukadde, endwadde, obwavu n’okuwerebwa gavumenti. Naawe oyinza okuba ng’olina ebizibu ebitali bimu. Ebiseera ebimu oyinza okulowooza nti Yakuwa takufaako. Ate oyinza n’okuba ng’omanyi bulungi ebigambo ebiri mu Yokaana 3:16, ebigamba nti: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.” Kyokka, bw’ofuna ebizibu nga tosuubira nti binaggwaawo, otandika okwebuuza nti: ‘Naye ddala Katonda anjagala? Alaba embeera enzibu gye ndimu? Anfaako?’
4. Kizibu ki Pawulo kye yalina okugumiikiriza, era ebyo ebyamutuukako biyinza kukukwatako bitya?
4 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mutume Pawulo. Yawandiika: ‘Nnaweebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga. Nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.’ Yakuwa yawuliriza okusaba kwe. Ate era yamulaga nti ekizibu kye yali tagenda kukiggyawo mu ngeri ya kyamagero. Wabula, Pawulo yalina okwesiga amaanyi ga Katonda okumuyamba okugumiikiriza “eriggwa mu mubiri.”b (2 Abakkolinso 12:7-9) Okufaananako Pawulo, naawe oyinza okuba ng’olina ekizibu ky’oyolekaganye nakyo. Oyinza okuba weebuuza, ‘Yakuwa bw’aba talina ky’akozewo, kitegeeza nti tamanyi mbeera yange oba nti tanfaako?’ Eky’okuddamu kiri nti nedda! Ekiraga nti Yakuwa afaayo ku buli muweereza we omwesigwa, kirabikira mu ebyo Yesu bye yagamba abayigirizwa be nga yakabalonda. Ka tulabe engeri ebigambo bye gye biyinza okutuzzaamu amaanyi mu kiseera kino.
“Temutyanga”—Lwaki?
5, 6. (a) Yesu yayamba atya abatume okugumira ebyo ebyandibatuuseeko mu biseera eby’omu maaso? (b) Pawulo yalaga atya nti Yakuwa yali amufaako?
5 Yesu yawa abatume be amaanyi agatali ga bulijjo, nga mw’otwalidde “n’obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n’okuwonyanga endwadde zonna n’obunafu bwonna.” Kino tekyategeeza nti tebandifunye bizibu. Yesu yabategeeza nti baali bajja kufuna ebizibu. Kyokka, yabagamba nti: “Temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu.”—Matayo 10:1, 16-22, 28.
6 Okusobola okuyamba abatume be okutegeera ensonga lwaki tebanditidde, Yesu yabawa ebyokulabirako bibiri. Yabagamba: “Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n’emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna. Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29-31) Weetegereze nti Yesu yakwataganya obutatya nga twolekaganye n’ebizibu n’okuba abakakafu nti Yakuwa afaayo ku buli muntu kinnoomu. Omutume Pawulo yali mukakafu ku nsonga eyo. Yawandiika: “Katonda bw’abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani? Ataagaana Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?” (Abaruumi 8:31, 32) K’obe ng’ofunye kizibu ki, naawe oyinza okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako kasita osigala ng’oli mwesigwa gyali. Kino tujja kukitegeera bulungi nga twetegereza ebyo Yesu bye yagamba abatume be.
Engeri Gye Baatwalangamu Enkazaluggya
7, 8. (a) Enkazaluggya zaatwalibwanga zitya mu biseera bya Yesu? (b) Lwaki, Matayo 10:29 lukozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “enkazaluggya entono”?
7 Ebyokulabirako bya Yesu biraga bulungi engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza be kinnoomu. Okusooka, lowooza ku ekyo kye yayogera ku nkazaluggya. Mu biseera bya Yesu enkazaluggya zaaliibwanga. Ekika ky’enkazaluggya Yesu kye yayogerako kyonoona nnyo ebirime. Zaalinga nyingi nnyo era ng’enkazaluggya bbiri zigula ssente ezitassuka nnusu kikumi. Ssente ezo bwe wazikubisangamu emirundi ebiri, wali osobola okugula enkazaluggya ttaano—ng’emu bagikuwa ng’ennyongeza, nga gy’obeera nti ya bwereere!—Lukka 12:6.
8 Ate lowooza ku bunene bw’akanyonyi ako. Ne bwe kaba kakulu, kaba katono nnyo bw’okageraageranya ku binyonyi ebirala.Ekigambo ky’oluyonaani ekivvuunulwa “enkazaluggya” ekikozesebwa mu Matayo 10:29, kitegeeza enkazaluggya entono. N’olwekyo Yesu bwe yakozesa ekigambo ekyo yali ayagala abatume be balowooze ku kanyonyi akasingayo obutono.
9. Kyakuyiga ki ekikulu ekiri mu kyokulabirako kya Yesu eky’enkazaluggya?
9 Ekyokulabirako kya Yesu eky’enkazaluggya kirina ensonga enkulu gye kituyigiriza: Ekintu abantu kye batwala ng’ekitali kya muwendo, Yakuwa Katonda ye akitwala nga kya muwendo nnyo. Yesu yaggumiza ensonga eno ng’agamba nti, enkazaluggya entono ‘teyinza kugwa wansi’ Yakuwa n’atakitegeera.c Eky’okuyiga kyeyoleka kaati. Bwe kiba nti Yakuwa Katonda afaayo ku kanyonyi akasingayo obutono, akatwalibwa ng’akatali ka muwendo, talisinga nnyo okufaayo ku muweereza we ng’ayolekaganye n’ebizibu!
10. Ebigambo: ‘Enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna’ birina makulu ki?
10 Ng’amaze okwogera ku nkazaluggya Yesu yagamba nti: ‘Enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna.’ (Matayo 10:30) Ebigambo ebyo biggyayo bulungi ensonga eri mu kyokulabirako kya Yesu eky’enkazaluggya. Kirowoozeko: Omutwe gw’omuntu guliko enviiri nga 100,000. Olw’okuba enviiri zonna ez’oku mutwe ziba zifaanagana, tewali na lumu lututwalira budde kwetegereza. Kyokka, Yakuwa Katonda ye amanyi buli luviiri era amaanyi omuwendo gwazo. Kati olwo, waliwo ekintu kyonna ekitukwatako Yakuwa ky’atamanyi? Amazima gali nti, Yakuwa amanyi bulungi byonna ebikwata ku baweereza be kinnoomu. Mazima, ddala ‘alaba ekiri mu mutima.’—1 Samwiri 16:7.
11. Dawudi yalaga atya nti Yakuwa amufaako?
11 Dawudi, eyayita mu bizibu ebingi, yalina obwesige nti Yakuwa amufaako. Yawandiika: “Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya. Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.” (Zabbuli 139:1, 2) Naawe osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akumanyi bulungi. (Yeremiya 17:10) N’olwekyo, toyanguyiriza kulowooza nti toli wa mugaso era nti Yakuwa tasobola kukulaba!
‘Teeka Amaziga Gange mu Kasumbi Ko’
12. Tumanya tutya nti Yakuwa amanyi ebizibu by’abantu be?
12 Yakuwa takoma ku kumanya bumanya buli muweereza we kinnoomu, naye era amaanyi n’ebizibu bya buli omu. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali mu buddu, Yakuwa yagamba Musa nti: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe.” (Okuva 3:7) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti bwe tufuna ekizibu Yakuwa amanya era nti awuliriza bwe tumukaabirira okutuyamba! Mazima ddala atufaako bwe tuba tubonaabona.
13. Kiki ekiraga nti Yakuwa alumirwa wamu n’abaweereza be?
13 Engeri Yakuwa gy’afaayo ku abo abalina enkolagana ennungi naye, yeeyolekera ku ngeri gye yawuliramu ng’Abaisiraeri babonaabona. Wadde ng’ebiseera ebisinga baabonaabonanga lwa bujeemu, Isaaya yawandiika bw’ati ku Yakuwa: “Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna.” (Isaaya 63:9) Ng’omuweereza wa Yakuwa omwesigwa, osobola okuba omukakafu nti, bw’oba mu bulumi ne Yakuwa alumirwa wamu naawe. Ekyo tekyandikuleetedde okuguma ng’oyolekaganye n’ebizibu ne weeyongera okukola kyonna ky’osobola okumuweereza?—1 Peetero 5:6, 7.
14. Dawudi yali mu mbeera ki we yawandiikira Zabbuli 56?
14 Ate era, obwesige Kabaka Dawudi bwe yalina nti Yakuwa amufaako era nti alumirwa wamu naye bweyolekera mu Zabbuli 56 gye yawandiika ng’adduka Kabaka Sawulo eyali ayagala okumutta. Dawudi yadduka n’agenda e Gaasi, naye Abafirisuuti bwe baamutegeera yatya kubanga yali amanyi nti baali bagenda kumukwata. Yawandiika: “Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: kubanga abalwana nange n’amalala bangi.” Ng’ali mu mbeera enzibu ennyo, Dawudi yasaba Yakuwa. “Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw’obubi.”—Zabbuli 56:2, 5.
15. (a) Dawudi yali ategeeza ki bwe yasaba Yakuwa okussa amaziga ge mu kasumbi oba okugawandiika mu kitabo? (b) Bwe tuba twolekaganye n’ekizibu ekigezesa okukkiriza kwaffe, kiki kye twandijjukidde?
15 Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli 56:8, Dawudi yagamba: “Gwe obala okutambulatambula kwange: oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; tegaawandiikibwa mu kitabo kyo?” Ng’ebigambo ebyo biraga bulungi nnyo nti Yakuwa afaayo! Bwe tuba n’ebizibu, tuyinza okukaabirira Yakuwa atuyambe. Ne Yesu omusajja eyali atuukiridde yakaabirira Yakuwa amuyambe. (Abaebbulaniya 5:7) Dawudi bwe yali abonaabona, yali mukakafu nti Yakuwa alaba embeera ye era nti amufaako, ne kiba nti amaziga ge yali ng’atadde mu kasumbi oba agawandiise mu kitabo. Oboolyawo naawe oyinza okuwulira nti amaziga go gayinza okujjuza mu kasumbi oba okujjuza empapula eziwerako ez’ekitabo ekyo. Bwe kiba nti bw’otyo bw’owulira, beera mugumu. Baibuli etukakasa nti: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.”—Zabbuli 34:18.
Okufuuka Mukwano gwa Katonda
16, 17. (a) Tumanya tutya nti Yakuwa afaayo ku bantu be nga bafunye ebizibu? (b) Kiki Yakuwa ky’akoze ekisobozesa abantu okuba mikwano gye?
16 Okuva bwe kiri nti Yakuwa amanyi omuwendo ‘gw’enviiri eziri ku mitwe’ gyaffe, kitukakasa nti Katonda gwe tusinza alaba embeera yaffe era atufaako. Wadde nga tulina okugumiikiriza okutuusa obulumi n’okubonaabona lwe biriggwaawo mu nsi empya, Yakuwa alina ky’akolera abantu be mu kiseera kino. Dawudi yawandiika: ‘Mukama aba mukwano gw’abo abamutya, era abategeeza endagaano ye.’—Zabbuli 25:14.
17 ‘Okuba mukwano gwa Yakuwa.’ Abantu abatatuukiridde bayinza okulowooza nti tekisoboka kuba mukwano gwa Yakuwa. Wadde kiri kityo, Yakuwa ayita abo abamutya okumukyalira mu weema ye. (Zabbuli 15:1-5) Yakuwa akolera ki abagenyi be? Abamanyisa endagaano ye gye yakola ne Dawudi. Abategeeza ebimukwatako ng’abuulira bannabbi be “ekyama kye,” basobole okumanya ebigendererwa bye n’ekyo kye basaanidde okukola okusobola okutuukana n’ebigendererwa ebyo.—Amosi 3:7.
18. Tumanya tutya nti Yakuwa ayagala tube mikwano gye?
18 Mazima ddala, kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti ffe abantu abatatuukiridde tusobola okuba mikwano gya Yakuwa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Mu butuufu, ekyo ky’atukubiriza okukola. Baibuli egamba: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.” (Yakobo 4:8) Yakuwa ayagala tube mikwano gye. Mu butuufu alina ky’akoze okusobozesa enkolagana ng’eyo okubaawo. Ekinunulo kya Yesu kitusobozesa okuba mikwano gya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Baibuli egamba: “Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe.”—1 Yokaana 4:19.
19. Okugumiikiriza kunyweza kutya enkolagana yaffe ne Yakuwa?
19 Enkolagana yaffe ey’okulusegere naye yeeyongera okunywera bwe tugumiikiriza ebizibu. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Era omulimu gw’okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna.” (Yakobo 1:4) ‘Mulimu’ ki ogutuukirizibwa bwe tugumiikiriza ebizibu? Jjukira ‘eriggwa eryali mu mubiri’ gwa Pawulo. Bwe yagumiikiriza ebizibu kyatuukiriza ki? Pawulo yayogera bw’ati ku bizibu bye yayitamu: “N’aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n’essanyu eringi olw’eby’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze. Kyenva nsanyukira eby’obunafu, okugirirwanga ekyejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.” (2 Abakkolinso 12:9, 10) Ebyo Pawulo bye yayitamu bitulaga nti Yakuwa yamuwa “amaanyi amangi” n’asobola okugumiikiriza. N’ekyavaamu, yafuna enkolagana ey’oku lusegere ne Kristo awamu ne Yakuwa Katonda.—2 Abakkolinso 4:7; Abafiripi 4:11-13.
20. Tusobola tutya okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba era atubudeebude nga twolekaganye n’ebizibu?
20 Yakuwa ayinza okuba ng’alese ekizibu ky’olina okweyongera mu maaso. Bwe kiba bwe kityo, jjukira ekyo ky’asuubiza abamutya, agamba: “Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.” (Abaebbulaniya 13:5) Naawe osobola okufuna obuyambi n’okubudaabudibwa ng’okwo. Yakuwa ‘amanyi omuwendo gw’enviiri eziri ku mutwe gwo.’ Alaba nti ogumiinkirizza era alumirwa wamu naawe. Akufaako. “Tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.”—Abaebbulaniya 6:10.
[Footnotes]
a Dawudi omutuukirivu n’abaana ba Koola abaali abeesigwa nabo baali boogeddeko ebigambo ebifaananako ng’ebyo.—Zabbuli 10:1; 44:24.
b Baibuli tetubuulira ‘liggwa lya ngeri ki Pawulo lye yalina mu mubiri.’ Ayinza okuba yali mulwadde, gamba, ng’amaaso ge tegalaba bulungi. Oba ebigambo “eriggwa mu mubiri” biyinza okuba nga byali bitegeeza abatume ab’obulimba, n’abalala abaali bawakana nti Pawulo teyali mutume.—2 Abakkolinso 11:6, 13-15; Abaggalatiya 4:15; 6:11.
c Abeekenneenya ba Baibuli abamu bagamba nti, ebigambo enkazaluggya okugwa wansi tekitegeeza kufa kyokka. Bagamba nti mu lulimi olwasooka ebigambo ebyo biyinza okutegeeza akanyonyi okukka wansi nga kanoonya emmere. N’olw’ekyo kiba kitegeeza nti, Katonda afaayo ku buli kimu akanyonyi kye kakola so si lwe kaba kafudde lwokka.—Matayo 6:26.
Ojjukira?
• Biki ebiyinza okuleetera omuntu okuwulira nti Katonda tamufaako?
• Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu eky’enkazaluggya n’okuba nti omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyaffe gumanyiddwa?
• Yakuwa okuteeka amaziga gaffe “mu kasumbi” oba ‘okugawandiika mu kitabo kye’ kitegeeza ki?
• Tuyinza tutya ‘okuba mikwano gya Yakuwa’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Lwaki Yakuwa yaleka Pawulo okusigala ‘n’eriggwa mu mubiri’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Ekyokulabirako kya Yesu eky’enkazaluggya kituyigiriza ki?
[Ensibuko y’ekifaananyi]
© J. Heidecker/VIREO
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Bwe tusoma Baibuli obutayosa, tuba bakakafu nti Katonda atufaako kinnoomu