Katonda Anfaako?
Abantu bye batera okuddamu:
▪ “Katonda wa waggulu nnyo tasobola kulowooza ku bizibu byange.”
▪ “Sirowooza nti anfaako.”
Yesu yayogera ki?
▪ “Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? naye tewali n’emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. Naye n’enviiri ez’okumitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Lukka 12:6, 7) Awatali kubuusabuusa, Yesu yayigiriza nti Katonda atufaako.
▪ “Temweraliikiranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki? Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.” (Matayo 6:31, 32) Yesu yali akimanyi bulungi nti Katonda amanyi ebyetaago byaffe.
BAIBULI ekiraga bulungi nti Katonda atufaako. (Zabbuli 55:22; 1 Peetero 5:7) Oba nga kiri kityo, lwaki waliwo okubonaabona kungi nnyo leero? Katonda bw’aba nga atwagala era nga wa maanyi nnyo, lwaki takomya kubonaabona kwonna?
Eky’okuddamu kizingiramu ensonga abantu abasinga gye batamanyi—Setaani Omulyolyomi ye mufuzi w’ensi eno embi. Bwe yali akema Yesu, Setaani yasuubiza okumuwa obwakabaka bwonna obw’omu nsi ng’agamba nti: “Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n’ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala.”—Lukka 4:5-7.
Ani yafuula Setaani omufuzi w’ensi? Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baajeemera Katonda ne bagondera Setaani, era mu kukola ekyo baalonda Setaani okuba omufuzi waabwe. Okuva ku olwo, Yakuwa Katonda yaleka ekiseera okuyitawo kisobole okweyoleka obulungi nti mu bufuzi bwa Setaani temuli kalungi konna. Yakuwa takaka bantu kumuweereza, naye yateekawo enteekateeka, abo abaagala okudda gy’ali mwe bayinza okuyitira.—Abaruumi 5:10.
Olw’okuba Katonda atufaako, yakola enteekateeka okutununula okuva mu bufuge bwa Setaani ng’ayitira mu Yesu. Mu bbanga si ddene, Yesu ajja ‘kuzikiriza oyo alina amaanyi ag’okufa, Setaani.’ (Abaebbulaniya 2:14) Mu kukola ekyo, ajja ‘kumalawo ebikolwa bya Setaani.’—1 Yokaana 3:8.
Ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Olwo Katonda ‘ajja kusangula buli zziga mu maaso g’abantu, okufa tekujja kubaawo nate, era tewajja kubaawo nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa. Eby’olubereberye bijja kuba biweddewo.’—Okubikkulirwa 21:4, 5.a
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku nsonga lwaki Katonda yakkiriza wabeewo okubonaabona, laba essuula 11 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]
Ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda