LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 1/1 lup. 14-17
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KABAKA AZIMBIRA YAKUWA ENNYUMBA
  • (2 Ebyomumirembe 1:1–​9:31)
  • BAKABAKA AB’OMU LUNYIRIRI LWA DAWUDI
  • (2 Ebyomumirembe 10:1–​36:23)
  • Ebyali mu Kitabo Byamuleetera Okubaako ky’Akolawo
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Yagala Nnyo Ennyumba ya Yakuwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Yosiya Yali Ayagala Nnyo Amateeka ga Katonda
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 1/1 lup. 14-17

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri

EKITABO ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri kitandika kiraga nga Sulemaani atandise okufuga nga kabaka wa Isiraeri. Ate era kimaliriza nga Kuulo Kabaka wa Buperusi agamba Abayudaaya abaali bawaŋŋangusiddwa mu Babulooni nti: “[Yakuwa] ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Mukama Katonda we abeere naye, ayambuke [e Yerusaalemi].” (2 Ebyomumirembe 36:23) Ezera yamaliriza okuwandiika ekitabo kino mu 460 B.C.E. Ebyo bye kyogerako byaliwo mu bbanga lya myaka 500​—okuva mu 1037 B.C.E. okutuuka mu 537 B.C.E.

Ekiragiro Kuulo kye yawa, kyasobozesa Abayudaaya okuddayo e Yerusaalemi n’okuzzaawo okusinza okw’amazima. Emyaka egyo emingi gye baali bamaze mu buwaŋŋanguse e Babulooni gyabaleetera okwerabira ebyafaayo by’eggwanga lyabwe. Ekitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri kyabajjukiza ebikwata ku bakabaka abaali mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. Naffe ekitabo kino kisobola okutuganyula kubanga kiraga emikisa egiva mu kubeera abawulize eri Katonda ow’amazima n’ebivaamu singa tumujeemera.

KABAKA AZIMBIRA YAKUWA ENNYUMBA

(2 Ebyomumirembe 1:1–​9:31)

Yakuwa addamu okusaba kwa Kabaka Sulemaani ng’amuwa amagezi n’okumanya era awamu n’eby’obugagga n’ekitiibwa. Kabaka azimbira Yakuwa ennyumba ennungi ennyo mu Yerusaalemi, era abantu ‘basanyuka ne bajaguza mu mitima gyabwe.’ (2 Ebyomumirembe 7:10) Sulemaani ‘aba n’amagezi mangi wamu n’obugagga okusinga bakabaka bonna.’​—2 Ebyomumirembe 9:22.

Oluvannyuma lw’okufugira Isiraeri emyaka 40, Sulemaani ‘yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we afuga mu kifo kye.’ (2 Ebyomumirembe 9:31) Ezera tatubuulira ngeri Sulemaani gye yava mu kusinza okw’amazima. Ebintu byokka ebibi by’ayogerako kabaka bye yakola kwe kuggya embalaasi nnyingi e Misiri n’okuwasa muwala wa Falaawo. Okutwalira awamu Ezera asinga kwogera ku birungi kabaka oyo bye yakola.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

2:14​—Lwaki olunyiriri lw’obuzaale bw’omuweesi ayogerwako wano lwa njawulo ku olwo oluli mu 1 Bassekabaka 7:14? Ekitabo kya Bassekabaka Ekisooka kyogera ku nnyina w’omuweesi nga “nnamwandu ow’omu kika kya Nafutaali” kubanga yali afumbiddwa omusajja ow’omu kika ekyo, naye nga ye yali wa kika kya Daani. Oluvannyuma lw’okufa kwa mwami we, yafumbirwa omusajja ow’e Tuulo, gwe yazaalamu omwana eyafuuka omuweesi.

2:18; 8:10​—Lwaki ennyiriri zino zigamba nti abalabiriranga omulimu gw’okuzimba baali 3,600 n’abalala 250, ng’ate 1 Bassekabaka 5:16; 9:23 walaga nti baali 3,300 n’abalala 550? Kirabika enjawulo eriwo eri mu ngeri gye baagabanyizibwamu. Kyandiba nti abasajja 3,600 aboogerwako mu Ebyomumirembe eky’Okubiri tebaali Baisiraeri ate 250 bo baali Baisiraeri. Ate okusinziira ku Bassekabaka Ekisooka abasajja 3,300 be bafuganga abakozi, ate nga 550 bo baali baami bakulu. Ekikulu kyo kiri nti abasajja abo bonna abalabirira omulimu gw’okuzimba baali 3,850.

4:2-4​—Lwaki ebibumbe by’ente ennume byakozesebwa okumuwanirira tanka ennene gye baayita ennyanja ensaanuuse? Mu byawandiikibwa, ente ennume ekozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza amaanyi. (Ezeekyeri 1:10; Okubikkulirwa 4:6, 7) N’olwekyo, kyali kituukirawo okuba nti bwe baali bazimba ennyanja ensaanuuse, wansi baateekayo ebibumbe by’ente ennume 12 ze baakola mu kikomo okuwanirira “ennyanja,” eyo ennene era ng’eweza ttani 30. Eky’okubumba ente ennume okusobola okuwanirira ennyanja eno kyali tekimenya tteeka erigaana okukola ebifaananyi eby’okusinza.​—Okuva 20:4, 5.

4:5​—Mazzi genkana wa agaali gasobola okugya mu nnyanja ensaanuuse? Ennyanja eyo bwe yabanga ejjudde bulungi yasobolanga okugyamu lita z’amazzi 66,000, nga bye bidomola 3,300. Kyokka baateranga kuteekamu lita 44,000 nga bye bidomola 2,200. Bassekabaka Ekisooka 7:26 wagamba: Ennyanja yali egyamu “ensuwa enkumi bbiri” ze lita 44,000 oba ebidomola 2,200.

5:4, 5, 10​—Ku bintu byonna ebyali mu weema eyasooka kiki kyokka ekyatwalibwa mu yeekaalu ya Sulemaani? Ekintu kyokka ekyali mu weema eyo ekyatwalibwa mu yeekaalu ya Sulemaani ye Ssanduuko y’Endagaano. Oluvannyuma lw’okuzimba yeekaalu, weema yaggibwa e Gibyoni n’etwalibwa e Yerusaalemi era eyo gye baagitereka.​—2 Ebyomumirembe 1:3, 4.

Bye Tuyigamu:

1:11, 12. Okusaba kwa Sulemaani kwalaga Yakuwa nti kabaka oyo yali ayagala nnyo okufuna amagezi n’okumanya. Naffe bye tusaba Katonda byoleka ekiri ku mitima gyaffe. N’olwekyo, kiba kya magezi okufumiitiriza ku ebyo bye tusaba.

6:4. Okusiima kwe tulina eri Yakuwa olw’okwagala kwe okw’ensusso n’obulungi bwe byandituleetedde okumutendereza n’okumwagala.

6:18-21. Olw’okuba Katonda talina kizimbe mwasobola kugya, yeekaalu gye baamuzimbira yali ya kukola ng’ekifo eky’okusinzizaamu. Ne leero Ebizimbe by’Obwakabaka eby’Abajulirwa ba Yakuwa bikola ng’ekifo omubeera okusinza okw’amazima.

6:19, 22, 32. Yakuwa yawuliriza okusaba kw’abantu bonna​—okuviira ddala ku kabaka okutuukira ddala ku bantu aba wansi​—nga mw’otwalidde n’okwa bannaggwanga.a​—Zabbuli 65:2.

BAKABAKA AB’OMU LUNYIRIRI LWA DAWUDI

(2 Ebyomumirembe 10:1–​36:23)

Obwakabaka bwa Isiraeri bwagabanyizibwamu emirundi ebiri​—Obwakabaka bw’ebukiika kkono obw’ebika ekkumi n’obwakabaka bw’ebukiika ddyo obw’ebika ebibiri, nga buno ye Yuda ne Benyamini. Bakabona n’Abaleevi mu Isiraeri yenna banywerera ku ndagaano y’Obwakabaka era ne bawagira Lekobowamu mutabani wa Sulemaani. Oluvannyuma lw’emyaka nga 30 nga yeekaalu emaze okuzimbibwa, ebintu byamu eby’omuwendo byabbibwa.

Ku bakabaka 19 abaddirira Lekobowamu, bataano ku bo baali beesigwa, basatu mu kusooka baali balungi naye oluvannyuma ne boonooneka; kabaka omu yekka ye yaleka amakubo ge amabi. Abasigadde bonna baakola bibi byereere mu maaso ga Yakuwa.b Ebikolwa bya bakabaka abataano abeesiga Yakuwa byogerwako nnyo mu kitabo kino. Abayudaaya abaali baagala okuzzaawo okusinza okw’amazima mu Yerusaalemi bateekwa okuba nga bazzibwamu nnyo amaanyi bwe baasoma ku ngeri Keezeekiya gye yazzaawo emirimu gy’omu yeekaalu n’engeri Yosiya gye yateekateekamu embaga gaggadde ey’Okuyitako.

a Okumanya engeri bakabaka ba Yuda gye bagenda baddiriŋŋana, laba Omunaala gw’Omukuumi aka, Okitobba 1, 2005, olupapula 22.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

13:5​—Ebigambo ‘endagaano ey’omunnyo’ bitegeeza ki’? Olw’okuba omunnyo gusobola okukuuma ebintu ne bitayonooneka, gukozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza ekintu eky’enkalakkalira era ekitakyukakyuka. N’olwekyo, ebigambo ‘endagaano ey’omunnyo,’ byali bitegeeza endagaano etajjulukuka.

14:2-5; 15:17​—⁠Kabaka Asa yamalawo “ebifo ebigulumivu” byonna? Kirabika teyabimalawo byonna. Kyandiba nti Asa yaggyawo ebifo ebigulumivu ebyali bikozesebwa okusinza bakatonda ab’obulimba byokka, naye ebyo ebyakozesebwanga mu kusinza Yakuwa teyabiggyawo. Ate era kyandiba nti ebifo ebigulumivu byaddamu ne bizimbibwa mu myaka egy’obufuzi bwa Asa egyasembayo. Ebifo ebyo mutabani we Yekosofaati ye yabiggyawo. N’olwekyo, ebifo ebigulumivu tebyaviirawo ddala kubanga ne mu bufuzi bwa Yekosofaati byali bikyaliwo.​—2 Ebyomumirembe 17:5, 6; 20:31-33.

15:9; 34:6​—Obwakabaka bwa Isiraeri bwe bwayawulwamu, ekika kya Simyoni baakibalira mu bwakabaka ki? Olw’okuba ab’ekika kya Simyoni baali baweereddwa obusika mu bitundu bya Yuda eby’enjawulo, ebitundu bye baali babeeramu byali mu bwakabaka bwa Yuda ne Benyamini. (Yoswa 19:1) Kyokka, okusinza kwe baagobereranga kwe kwo okwali mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebukiika kkono era baali wansi wa bwakabaka obwo. (1 Bassekabaka 11:30-33; 12:20-24) N’olwekyo, ekika kya Simyoni baakibalira mu obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi.

35:3​—Essanduuko y’Endagaano yali ludda wa Yosiya alyoke agambe nti bagizzeeyo mu yeekaalu? Ekyo Baibuli tekitubuulira. Kyandiba nti waliwo omu ku bakabaka ababi eyali aggye Essanduuko eyo mu yeekaalu oba nga Yosiya ye yali agiggyemu n’abaako wagiteeka nga yeekaalu eddaabirizibwa. Okuva Essanduuko y’Endagaano lwe yayogerwako mu kiseera kya Sulemaani, teyaddamu kwogerwako mu Baibuli okutuusa ku lunaku Yosiya lwe yagizzaayo mu yeekaalu.

Bye Tuyigamu:

13:13-18; 14:11, 12; 32:9-23. Ng’ebiri mu nnyiriri zino bitulaga obukulu bw’okwesiga Yakuwa!

16:1-5, 7; 18:1-3, 28-32; 21:4-6; 22:10-12; 28:16-22. Ebiva mu kukolagana n’abantu abatali basinza ba Yakuwa tebiba birungi. N’olwekyo, kiba kya magezi okwewala okukola omukwano n’abantu b’ensi.​—Yokaana 17:14, 16; Yakobo 4:4.

16:7-12; 26:16-21; 32:25, 26. Amalala ge gaaleetera Kabaka Asa okweyisa mu ngeri etali ya magezi mu myaka egyasembayo egy’obulamu bwe. Ate era amalala ge gaviirako Uzziya okukubwa ebigenge n’aba nga takyasobola kukola mirimu gya bwa kabaka okutuusa lwe yafa. Kirabika ne Keezeekiya amalala ge gaamuviirako okukola ekintu ekitaali kya magezi n’alaga abakungu b’e Babulooni eby’obugagga bwe. (Isaaya 39:1-7) Baibuli etulabula nti “amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.”​—Engero 16:18.

16:9. Yakuwa ayamba abo abamwagala era mwetegefu okubalwanirira.

18:12, 13, 23, 24, 27. Okufaananako Mikaaya, naffe tusaanidde okuba abavumu nga tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye.

19:1-3. Wadde ebiseera ebimu tukola ebibi, Yakuwa atunuulira ebirungi bye tukola.

20:1-28. Tuli bakakafu nti bwe tusaba Yakuwa n’obuwombeefu atuwe obulagirizi, ajja kuddamu okusaba kwaffe.​—Engero 15:29.

20:17, NW. Okusobola “okulaba obulokozi bwa Yakuwa,” kitwetaagisa ‘okubeera mu bifo byaffe’ nga tuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Mu kifo ky’okukola ekintu kyonna ku bwaffe, tusaanidde ‘kuyimirira butengerera,’ kwe kugamba, okussa obwesige bwaffe mu Yakuwa.

24:17-19; 25:14. Yowaasi ne mutabani we Amaziya baagwa mu kyambika eky’okusinza ebifaananyi. Ne leero, tuyinza okugwa mu kyambika eky’okusinza ebifaananyi singa tuba n’omwoyo gw’okwagala ebintu oba mwoyo gwa ggwanga.​—Abakkolosaayi 3:5; Okubikkulirwa 13:4.

32:6, 7. Naffe okusobola okuba abavumu, tusaanidde ‘okwambala eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda,’ tusobole okulwana olutalo olw’eby’omwoyo.​—Abaefeso 6:11-18.

33:2-9, 12, 13, 15, 16. Ekiraga nti omuntu yeenenyezza mu bwesimbu kwe kuleka ekkubo lye ebbi era n’afuba okukola ekituufu. Omuntu bwe yeenenya mu bwesimbu ne bw’aba nga yakola ebibi eby’amaanyi nga Kabaka Manase, Yakuwa asobola okumusonyiwa.

34:1-3. Wadde omwana ayinza okuba takulidde mu maka gatya Katonda, ekyo tekimulemesa kumanya Katonda na kumuweereza. Yosiya yakola ebyali mu maaso ga Yakuwa ebirungi kubanga jjajjaawe Manase eyali yeenenyezza yali amuteereddewo eky’okulabirako ekirungi. Naffe tusobola okuweereza Yakuwa ne tuba tetwakulira mu maka gatya Yakuwa.

36:15-17. Yakuwa wa kisa era mugumiikiriza. Kyokka ekisa kye n’obugumiikiriza biriko ekkomo. Singa abantu baagala okuwonawo nga Yakuwa azikiriza omulembe guno omubi balina okukkiriza amawulire g’Obwakabaka.

36:17, 22, 23. Bulijjo Yakuwa by’asuubiza bituukirira.​—1 Bassekabaka 9:7, 8; Yeremiya 25:9-11.

Ebyali mu Kitabo Byamuleetera Okubaako ky’Akolawo

2 Ebyomumirembe 34:33 wagamba nti “Yosiya n’aggyawo emizizo gyonna mu nsi zonna ez’abaana ba Isiraeri, n’aweerezesa bonna abaalabika mu Isiraeri, okuweereza Mukama Katonda waabwe.” Kiki ekyaleetera Yosiya okukola bw’atyo? Safani bwe yatwalira Kabaka Yosiya ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa kye baali baakazuula, kabaka yamugamba amusomere amateeka ago. Bye yawulira byamukwatako nnyo era byamuleetera okukubiriza abantu okuddamu okusinza Yakuwa.

Tujja kuganyulwa nnyo bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako. Ebyo bye twekenneenyezza ebikwata ku bakabaka ab’omu lunyiriri lwa Dawudi biteekwa okuba nga bikukubirizza okukoppa ekyokulabirako ky’abo abaali abeesigwa eri Yakuwa ate ne bikuleetera okwewala okugoberera ekkubo ly’abo abataali beesigwa? Ebyomumirembe eky’Okubiri kitukubiriza okwemalira ku Katonda n’okusigala nga tuli beesigwa gyali. Mazima ddala obubaka obukirimu bulamu era busobola okuleetera omuntu okubaako ky’akolawo.​—Abaebbulaniya 4:12.

[Obugambo obuli wansi]

b Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikwata ku kuwaayo yeekaalu n’eby’okuyiga ebiri mu kusaba kwa Sulemaani, laba Omunaala gw’Omukuumi, aka Noovemba 1, 2005, empapula 8-11.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Omanyi lwaki kyali kituukirawo okukozesa ebibumbe by’ente ennume okuwanirira ennyanja ensaanuuse?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]

Wadde nga Yosiya yafuna obuyambi butono nnyo mu by’omwoyo ng’akyali muto, bwe yakula yafuuka omuweereza wa Yakuwa omwesigwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share