LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 56 lup. 134-lup. 135 kat. 1
  • Yosiya Yali Ayagala Nnyo Amateeka ga Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yosiya Yali Ayagala Nnyo Amateeka ga Katonda
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yosiya Yalina Emikwano Emirungi
    Yigiriza Abaana Bo
  • Kabaka wa Isiraeri Omulungi Eyasembayo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abato—Bulamu bwa Ngeri Ki Bwe Mwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 56 lup. 134-lup. 135 kat. 1
Safani ng’asomera Kabaka Yosiya omuzingo

ESSOMO 56

Yosiya Yali Ayagala Nnyo Amateeka ga Katonda

Yosiya yafuuka kabaka wa Yuda nga wa myaka munaana. Mu kiseera ekyo abantu baali basinza ebifaananyi era nga beenyigira mu bikolwa eby’obusamize. Yosiya bwe yali wa myaka 16, yatandika okunoonya engeri entuufu ey’okusinzaamu Yakuwa. Bwe yaweza emyaka 20, yatandika okusaanyaawo ebifaananyi byonna n’ebyoto bya bakatonda ab’obulimba mu Yuda. Ate Yosiya bwe yaweza emyaka 26, yakola enteekateeka okudaabiriza yeekaalu ya Yakuwa.

Kabona asinga obukulu, Kirukiya, yazuula mu yeekaalu omuzingo ogwaliko Amateeka ga Yakuwa, oboolyawo nga gwe muzingo gwennyini Musa gwe yawandiika. Omuwandiisi wa kabaka eyali ayitibwa Safani yatwala omuzingo ogwo ewa Yosiya n’asoma Amateeka mu ddoboozi ery’omwanguka. Yosiya bwe yawulira Amateeka nga gasomebwa, yakiraba nti abantu baali bamaze emyaka mingi nga bajeemera Yakuwa. Kabaka Yosiya yagamba Kirukiya nti: ‘Yakuwa musunguwavu. Genda weebuuze ku Yakuwa atubuulire kye tusaanidde okukola.’ Yakuwa yaddamu ng’ayitira mu nnabbi omukazi ayitibwa Kuluda. Yabagamba nti: ‘Abantu b’omu Yuda banvaako. Nja kubabonereza, naye ekyo sijja kukikola nga Yosiya akyafuga nga kabaka, kubanga yeetoowazza mu maaso gange.’

Kirukiya azuula omuzingo ogulimu Amateeka ga Yakuwa

Kabaka Yosiya bwe yawulira obubaka obwo, yagenda mu yeekaalu era n’ayita abantu b’omu Yuda bonna bakuŋŋaane. Yasomera abantu bonna Amateeka ga Yakuwa mu ddoboozi ery’omwanguka. Yosiya n’abantu bonna baasuubiza okugondera Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna.

Okumala emyaka mingi, eggwanga lya Yuda lyali terikwata mbaga ey’Okuyitako. Naye Yosiya bwe yasoma Amateeka ga Yakuwa n’akiraba nti embaga ey’Okuyitako yalina okukwatibwa buli mwaka, yagamba abantu bonna nti: ‘Tugenda kukwata embaga ey’Okuyitako.’ Yosiya yateekateeka ebiweebwayo bingi era n’ateekateeka n’abayimbi ab’okuyimbira ku yeekaalu. Abantu b’omu Yuda baakwata embaga ey’Okuyitako, oluvannyuma ne bakwata n’embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. Waali tewabangawo mbaga ya Kuyitako ng’eyo okuva mu nnaku za Samwiri. Mu butuufu, Yosiya yali ayagala nnyo Amateeka ga Yakuwa. Naawe oyagala nnyo okuyiga ebikwata ku Yakuwa?

“Ekigambo kyo ye ttaala emulisiza ebigere byange, kye kitangaala ekimulisa ekkubo lyange.”​—Zabbuli 119:105

Ebibuuzo: Kabaka Yosiya yakola ki bwe yawulira Amateeka ga Katonda nga gasomebwa? Engeri Yosiya gye yeeyisaamu yakwata etya ku Yakuwa?

2 Bassekabaka 21:26; 22:1–23:30; 2 Ebyomumirembe 34:1–35:25

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share