LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • yc essomo 8 lup. 18-19
  • Yosiya Yalina Emikwano Emirungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yosiya Yalina Emikwano Emirungi
  • Yigiriza Abaana Bo
  • Similar Material
  • Yosiya Yali Ayagala Nnyo Amateeka ga Katonda
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kabaka wa Isiraeri Omulungi Eyasembayo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abato—Bulamu bwa Ngeri Ki Bwe Mwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Yigiriza Abaana Bo
yc essomo 8 lup. 18-19
Kabaka Yosiya ng’awuliriza mukwano gwe Yeremiya

ESSOMO 8

Yosiya Yalina Emikwano Emirungi

Olowooza kyangu okukola ebintu ebirungi?— Abantu abasinga obungi bagamba nti si kyangu. Bayibuli etutegeeza ebikwata ku mwana eyali ayitibwa Yosiya. Eraga nti Yosiya tekyamubeerera kyangu okukola ebintu ebirungi. Naye yalina emikwano emirungi egyamuyamba okukola ebintu ebirungi. Ka tulabe ebikwata ku Yosiya ne mikwano gye.

Amoni, kabaka wa Yuda ye yali taata wa Yosiya. Yali mubi nnyo era yali asinza bifaananyi. Bwe yafa, Yosiya ye yafuuka kabaka wa Yuda. Mu kiseera ekyo Yosiya yalina emyaka munaana gyokka! Olowooza yali mubi nga taata we?— Nedda!

Nnabbi Zeffaniya ng’abuulira abantu b’omu Yuda obubaka obuva eri Yakuwa

Zeffaniya yagamba abantu balekere awo okusinza ebifaananyi

Yosiya ne bwe yali akyali muto, yali ayagala okugondera Yakuwa. Bwe kityo abo be yalonda okuba mikwano gye beebo abaali baagala Yakuwa. Era baamuyamba okukola ebintu ebirungi. Abamu ku bo be baani?

Omu ku mikwano gye yali ayitibwa Zeffaniya. Zeffaniya yali nnabbi wa Yakuwa. Yalabula abantu ba Yuda nti bwe bandisinzizza ebifaananyi, ebintu ebibi byandibatuuseeko. Yosiya yawuliriza Zeffaniya, n’asinza Yakuwa so si bifaananyi.

Mukwano gwa Yosiya omulala yali Yeremiya. Baali kumpi benkana emyaka, era ng’ebibuga bye baakuliramu byali biriraanaganye. Baali ba mukwano nnyo, era Yosiya bwe yafa Yeremiya yayiiya oluyimba olwali lulaga nti yali alumiddwa nnyo mukwano gwe Yosiya. Yeremiya ne Yosiya buli omu yayambanga munne okukola ebintu ebirungi n’okugondera Yakuwa.

Yosiya ne Yeremiya buli omu yakubiriza munne okukola ebintu ebirungi

Ebyo bye tusoma ku Yosiya bikuyigiriza ki?— Yosiya ne bwe yali akyali muto yali ayagala okukola ebintu ebirungi. Yali akimanyi nti abantu be yali asaanidde okufuula mikwano gye beebo abaali baagala Yakuwa. Naawe fuba okulaba nti abo abaagala Yakuwa era abayinza okukuyamba okukola ebintu ebirungi b’ofuula mikwano gyo.

SOMA MU BAYIBULI

  • 2 Ebyomumirembe 33:21-25; 34:1, 2; 35:25

EBIBUUZO:

  • Taata wa Yosiya ye yali ani? Yakolanga ebintu ebirungi?

  • Kiki Yosiya kye yali ayagala okukola ne bwe yali akyali mwana muto?

  • Mikwano gya Yosiya ababiri be baali baani?

  • Kiki ky’oyigira ku Yosiya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share