LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 1/1 lup. 18-22
  • Okukkiriza Kwo mu Katonda Kunywevu Kwenkana Wa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukkiriza Kwo mu Katonda Kunywevu Kwenkana Wa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Mulekere awo Okweraliikirira’
  • Endowooza Etagudde Lubege
  • “Temweraliikiranga”
  • Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu
  • “Musooke Munoonye Obwakabaka”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Noonya Bwakabaka, So Si Bintu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Oli Mwetegefu Kuwaayo Ki Okufuna Obulamu Obutaggwawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 1/1 lup. 18-22

Okukkiriza Kwo mu Katonda Kunywevu Kwenkana Wa?

“Musooke munoonye obwakabaka.”​—MATAYO 6: 33.

1, 2. Lwaki ow’oluganda yaleka omulimu gwe n’afuna omulala?

OW’OLUGANDA omu yali ayagala okwongera ku kiseera ky’amala nga yeenyigira mu mirimu gy’Ekikristaayo. Kyokka omulimu gwe gwali tegumusobozesa kubeerawo mu nkuŋŋaana zonna. Kiki kye yakola? Omulimu ogwo yaguleka n’afuna omulala ogumusobozesa okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’Ekikristaayo. Wadde nga kati ssente zaafuna ntono nnyo ku ezo ze yalinga afuna, asobola bulungi okulabirira ab’omu maka ge n’okutuukiriza emirimu gy’Ekikristaayo.

2 Omanyi ensonga lwaki ow’oluganda oyo yasalawo okukola bw’atyo? Naawe osobola okukola nga ye singa weesanga mu mbeera ng’eyo? Kya ssanyu okulaba nti Abakristaayo bangi bakoze kye kimu. Ekyo kye basazeewo okukola kiraga nti bakkiriziganya n’ekisuubizo kya Yesu ekiri mu bigambo bino: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.” (Matayo 6:33) Bamanyi nti Yakuwa ye yekka asobola okubawa kye beetaaga.​—Engero 3:23, 26.

3. Lwaki abamu tebakkiriza nti kya magezi okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda?

3 Olw’okuba ebiseera bye tulimu bizibu nnyo, abamu bayinza okulowooza nti ekyo ow’oluganda oyo kye yakola tekyali kya magezi n’akamu. Leero abantu abamu baavu lunkupe, ate abalala bagagga nnyo. Abantu abasinga obungi abali mu nsi enjavu bakozesa akakisa konna ke bafuna okulongoosa ku mbeera y’obulamu bwabwe. Ku luuyi olulala, abo abali mu nsi engagga bawulira nti balina okuba n’ebintu eby’omulembe wadde ng’eby’enfuna bigenda bizibuwala, ebbula ly’emirimu lyeyongera, era nga n’ababakozesa babeetaagisa okukola ekiseera ekiwanvu. Olw’okuba kiba kyetaagisa omuntu okukola ennyo okusobola okweyimirizaawo, abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Kya magezi okusooka okunoonya eby’Obwakabaka?’ Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kino, lowooza ku mbeera y’abantu Yesu be yayogera nabo.

‘Mulekere awo Okweraliikirira’

4, 5. Byakulabirako ki Yesu bye yakozesa okulaga nti abaweereza ba Katonda tebasaanidde kweraliikirira bya bulamu?

4 Ng’ali mu Ggaliraaya, Yesu yayogera n’abantu abaava mu bitundu eby’enjawulo. (Matayo 4:25) Batono nnyo ku bantu abo abaali abagagga, era kabe kasinge wayinza okuba tewaaliwo mugagga n’omu. Abasinga obungi baali baavu nnyo. Kyokka, Yesu teyabakubiriza kusooka kwenoonyeza bya bugagga, wabula yabakubiriza okunoonya ekintu ekisingira ddala okuba eky’omuwendo​—obugagga obw’eby’omwoyo. (Matayo 6:19-21, 24) Yabagamba nti: “[Mulekere awo okweraliikirira, ebikwata ku, NW] bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki; newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebukira mmere, n’omubiri tegukira byakwambala?”​—Matayo 6:25.

5 Eri abasinga obungi, ebigambo bya Yesu ebyo byalabika ng’ebizibu okukolerako. Baali bamanyi nti balina kukola nnyo okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka gaabwe. Okusobola okubayamba okutegeera obulungi ensonga, Yesu yabajjukiza nti ebinyonyi tebirima naye Yakuwa abirabirira. Ate era Yesu yabalaga nti Yakuwa alabirira ebimuli ne birabika bulungi n’okusinga engoye Sulemaani ze yayambalanga. Bwe kiba nti Yakuwa alabirira bulungi ebinyonyi n’ebimuli, talisinga nnyo okutulabirira ffe? (Matayo 6:26-30) Nga Yesu bwe yagamba, obulamu bwaffe n’emibiri gyaffe bya muwendo nnyo okusinga emmere n’eby’okwambala. N’olwekyo, bwe tumalira amaanyi gaffe gonna mu kunoonya eby’okulya n’eby’okwambala ne tutafaayo kuweereza Yakuwa, tetuba na kigendererwa mu bulamu.​—Omubuulizi 12:13.

Endowooza Etagudde Lubege

6. (a) Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina? (b) Ani gwe bataddemu obwesige?

6 Kya lwatu, Yesu yali takubiriza bantu kulera ngalo nga balowooza nti eby’okulya Katonda ajja kubibasanza awo. Gwe ate olaba n’ebinyonyi birina okwenoonyeza emmere era n’okunoonya ey’abaana baabyo! N’olwekyo, abaali bamuwuliriza baali balina okukola okusobola okufuna eky’okuzza eri omumwa. Baalina okulabirira ab’omu maka gaabwe. Abakristaayo abaali bakozesebwa ng’abaddu baalina okukola ennyo basobole okusanyusa bakama baabwe. (2 Abasessaloniika 3:10-12; 1 Timoseewo 5:8; 1 Peetero 2:18) Omutume Pawulo naye yakolanga weema asobole okweyimirizaawo. (Ebikolwa 18:1-4; 1 Abasessaloniika 2:9) Wadde kyali kityo, Abakristaayo abo tebeesiga mirimu gyabwe wabula beesiga Yakuwa. N’ekyavaamu, baafuna emirembe mu mitima abantu abalala gye batalina. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Abeesiga Mukama baliŋŋanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.”​—Zabbuli 125:1.

7. Ndowooza ki omuntu ateesiga Yakuwa gy’ayinza okufuna?

7 Singa omuntu aba teyeesiga Yakuwa, kyangu nnyo okufuna endowooza eteri nnuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako abantu abasinga obungi balowooza nti omuntu okusobola okuba obulungi alina kuba mugagga. Kino kiviiriddeko abazadde okukubiriza abaana baabwe okufuna obuyigirize obwa waggulu ennyo basobole okufuna emirimu eginaabasobozesa okufuna ssente ennyingi. Eky’ennaku, n’abazadde Abakristaayo abamu bakoze kye kimu ne kiviirako abaana baabwe okuddirira mu by’omwoyo olw’okuluubirira eby’obugagga.

8. Mu ngeri ki Abakristaayo gye batagwa lubege?

8 N’olwekyo, Abakristaayo bo bategedde nti okubuulirira kwa Yesu okwo ne mu kiseera kino kutukwatako nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka era bafuba okuba n’endowooza etagudde lubege. Ne bwe kiba kibeetaagisa okukola ennyo okufuna ssente ezinaabasobozesa okulabirira ab’omu maka gaabwe, tekibaleetera kulagajjalira bya mwoyo.​—Omubuulizi 7:12.

“Temweraliikiranga”

9. Kiki Yesu kye yakakasa abo abeesiga Yakuwa?

9 Mu Kubuulira kwe okw’oku Lusozi, Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki? Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.” (Matayo 6:31, 32) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi! Bwe twesiga Yakuwa, naye ajja kutuyambanga mu buli kimu. Ebigambo bya Yesu bino bituwa eky’okulowoozaako. Bitujjukiza nti singa ebiseera byaffe byonna tubimalira mu ‘kunoonya’ eby’obugagga, tujja kuba tufaananako ‘ab’amawanga’ abatamanyi Katonda.

10. Omusajja omugagga bwe yatuukirira Yesu ng’aliko ky’amubuuza, Yesu yatuuka atya okumanya omusajja oyo kye yali asinga okwagala?

10 Lumu, omusajja omu omugagga yabuuza Yesu ky’alina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu yamujjukiza ebyo ebyali mu Mateeka agaali gakyagobererwa mu kiseera ekyo. Omusajja oyo yagamba Yesu nti: “Ebyo byonna [n]nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate?” Ekyo Yesu kye yamuddamu abamu bayinza okulowooza nti tekyali kya magezi. Yamugamba nti: “Bw’oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.” (Matayo 19:16-21) Omusajja oyo yagenda anakuwadde nnyo kubanga yali tayagala kufiirwa bya bugagga bwe. Ne bwe kiba nti omusajja oyo yali ayagala Yakuwa, kyeyoleka kaati nti eby’obugagga bye yali asinga okwagala.

11, 12. (a) Kiki Yesu kye yayogera ku bagagga? (b) Eby’obugagga biyinza bitya okulemesa omuntu okuweereza Yakuwa?

11 Ekyo omusajja oyo kye yakola kyaleetera Yesu okugamba nti: “Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. . . . Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Matayo 19:23, 24) Wano Yesu yali ategeeza nti abagagga tebasobola kusikira Bwakabaka bwa Katonda? Nedda, kubanga yeeyongera n’agamba nti: “Katonda tewali kimulema.” (Matayo 19:25, 26, NW) Amazima gali nti, waliwo abagagga Yakuwa be yayamba okufuuka Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (1 Timoseewo 6:17) N’olwekyo Yesu okwogera ebigambo ebyo yali alabula abaaliwo baleme kukola ng’omusajja omugagga.

12 Singa omuntu atandika okwagala eby’obugagga ng’omusajja oli bwe yakola, kiyinza okumuzibuwalira okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Ekyo kiyinza okutuuka ku bagagga wamu n’abo “abaagala okugaggawala.” (1 Timoseewo 6:9, 10) Okwesiga ennyo eby’obugagga kiyinza okuviirako omuntu okulagajjalira ‘obwetaavu bwe obw’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3, NW) N’ekivaamu ayinza okutandika okuwulira nti teyeetaaga buyambi bwa Yakuwa. (Ekyamateeka 6:10-12) Ayinza n’okutuuka okwagala okuweebwa ekitiibwa eky’enjawulo mu kibiina. (Yakobo 2:1-4) Ate era ayinza n’okutandika okumala ebiseera bye ebisinga obungi nga yeesanyusaamu mu kifo ky’okuweereza Yakuwa.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu

13. Abakristaayo b’omu kibiina ky’e Lawodikiya baalina ndowooza ki enkyamu?

13 Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Lawodikiya baalina endowooza enkyamu ku by’obugagga. Yesu yabagamba nti: “Oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng’oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w’amaaso era ali obwereere.” Eby’obugagga si bye byaleetera ab’oluganda abo okuba mu mbeera embi ey’eby’omwoyo. Kyava ku kuba nti baateeka obwesige bwabwe mu by’obugagga mu kifo ky’okwesiga Yakuwa. N’ekyavaamu, baali ba kibuguumirize mu by’omwoyo era Yesu yali anaatera ‘okubasesema.’​—Okubikkulirwa 3:14-17.

14. Lwaki Pawulo yasiima Abakristaayo Abaebbulaniya?

14 Ku luuyi olulala, Pawulo yasiima Abakristaayo Abaebbulaniya olw’engeri gye beeyisaamu mu kiseera eky’okuyigganyizibwa. Yabagamba nti: “Mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby’olubeerera.” (Abaebbulaniya 10:34) Abakristaayo abo tebaggwaamu maanyi olw’okufiirwa ebintu byabwe. Baasigala basanyufu kubanga baalina ‘ekintu ekisingayo obulungi era eky’olubeerera.’ Okufaananako omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu eyatunda ebintu bye byonna asobole okufuna luulu ey’omuwendo, n’Abakristaayo abo baali bamalirivu okukola kyonna ekisoboka okufuna Obwakabaka. (Matayo 13:45, 46) Nga baalina endowooza ennuŋŋamu!

15. Mwannyinaffe omu ow’omu Liberia yasoosa atya eby’Obwakabaka?

15 Leero, waliwo bangi abalina endowooza efaananako ng’eyo. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu ow’omu Liberia, baamuyita ku yunivasite. Mu nsi eyo, abantu bakitwala nti omuntu bwagenda ku yunivasite aba ajja kubeera bulungi mu biseera eby’omu maaso. Mwannyinaffe oyo eyali akola nga payoniya, yali aweereddwa enkizo ey’okugenda okuweereza mu kitundu ekyesudde. Yasalawo okusoosa eby’Obwakabaka nga yeeyongera okuweereza nga payoniya. Yagenda gye baali bamutumye okubuulira era mu myezi esatu gyokka yasobola okufuna abayizi ba Baibuli 21. Okufaananako mwannyinaffe oyo, waliwo n’abalala bangi abeefiiriza ebintu ebiwerako basobole okusoosa Obwakabaka. Kiki ekibasobozesezza okuba n’endowooza ennuŋŋamu mu nsi eno ekubiriza ennyo abantu okwefunira eby’obugagga? Bakulaakulanyizza engeri ennungi eziwerako. Ka tulabeyo ezimu ku zo.

16, 17. (a) Lwaki kikulu nnyo okuba abeetoowaze bwe tuba ab’okwesiga Yakuwa? (b) Lwaki tusaanidde okussa obwesige mu bisuubizo bya Katonda?

16 Obwetoowaze: Baibuli egamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. Tobanga na magezi mu maaso go ggwe.” (Engero 3:5-7) Ebiseera ebimu, ekintu ekimu kiyinza okulabika ng’ekituufu mu ndaba ey’obuntu. (Yeremiya 17:9) Wadde kiri kityo, Omukristaayo asaanidde okunoonya obulagirizi okuva eri Yakuwa. (Zabbuli 48:14) ‘Mu makubo ge gonna,’ kwe kugamba, ensonga ezikwata ku kibiina, eby’obuyigirize, eby’emirimu, okwesanyusaamu oba ekintu ekirala kyonna​—asaanidde okuba omwetoowaze n’agoberera obulagirizi bwa Yakuwa.​—Zabbuli 73:24.

17 Okussa obwesige mu bisuubizo bya Yakuwa: Pawulo yagamba nti: “Ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Singa tuba tubuusabuusa ebisuubizo bya Yakuwa, ekyo kiyinza okutuviirako ‘okukozesa ebintu by’ensi eno mu bujjuvu.’ (1 Abakkolinso 7:31, NW) Kyokka bwe tuba n’okukkiriza okunywevu, tujja kuba bamalirivu okusoosa Obwakabaka. Omuntu ayinza atya okukulaakulanya okukkiriza okunywevu? Ekiyinza okumuyamba kwe kusabanga Yakuwa n’okwesomesa obutayosa. (Zabbuli 1:1-3; Abafiripi 4:6, 7; Yakobo 4:8) Naffe tusobola okusaba nga Kabaka Dawudi eyagamba nti: “N[a]akwesiga ggwe, ai Mukama: na[a]yogera nti Ggwe Katonda wange. Obulungi bwo nga bungi!”​—Zabbuli 31:14, 19.

18, 19. (a) Mu ngeri ki okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe gye kinyweza obwesige bwaffe mu Yakuwa? (b) Lwaki Omukristaayo asaanidde okuba omwetegefu okwefiiriza?

18 Okuba abanyiikivu mu buweereza: Pawulo yakwataganya okussa obwesige mu bisuubizo bya Yakuwa n’obunyiikivu mu buweereza. Yagamba: “Era twagala nnyo buli muntu ku mwe okulaganga obunyiikivu obwo olw’okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero.” (Abaebbulaniya 6:11) Bwe tubeera abanyiikivu mu buweereza, Yakuwa ajja kutuwanirira. N’ekinaavaamu, tujja kweyongera okumussaamu obwesige, tube ‘banywevu era nga tetusagaasagana.’ (1 Abakkolinso 15:58) Mu ngeri eyo okukkiriza kwaffe kuba kuzziddwa buggya era n’essuubi lyaffe mu bisuubizo bya Katonda liba linywezeddwa.​—Abaefeso 3:16-19.

19 Okuba abeetegefu okwerekereza: Pawulo yeefiiriza ebintu bingi okusobola okugoberera Yesu. Wadde ng’ebiseera ebimu obulamu tebwabanga bwangu, kye yasalawo kye kyali kisinga obulungi. (1 Abakkolinso 4:11-13) Yakuwa tatusuubiza nti bwe tufuuka abaweereza be tujja kuba mu ssanyu jjereere era nti tetujja kufuna bizibu. N’olwekyo, bwe tuba abeetegefu okwefiiriza kiba kiraga nti tuli bamalirivu okumuweereza.​—1 Timoseewo 6:6-8.

20. Lwaki kikulu Abakristaayo okuba abagumiikiriza?

20 Obugumiikiriza: Omuyigiriza Yakobo yakubiriza bw’ati Bakristaayo banne: “Kale, ab’oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe.” (Yakobo 5:7) Mu nsi ey’akakyo kano si kyangu omuntu okuba omugumiikiriza. Abantu baagala bintu bya mangu. Kyokka, Pawulo atukubiriza okukoppa ‘abo abalina okukkiriza era abaagumiikiriza ne bafuna ebyasuubizibwa.’ (Abaebbulaniya 6:12) N’olwekyo, bwe tugumiikiriza, Yakuwa ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.

21. (a) Bwe tusooka okunoonya Obwakabaka kiba kiraga ki? (b) Kiki kye tujja okukubaganyako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?

21 Mazima ddala, ffenna tusaanidde okugoberera okubuulirira kwa Yesu okukwata ku kusooka okunoonya Obwakabaka. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga nti ddala tussa obwesige mu Yakuwa, era kye kintu ekisingayo okuba eky’amagezi Abakristaayo kye bayinza okukola. Ate era, Yesu yatukubiriza ‘okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda.’ Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ensonga lwaki kino kikulu nnyo mu kiseera kino.

Osobola Okunnyonnyola?

• Ndowooza ki etagudde lubege ekwata ku kwagala ebintu Yesu gye yatukubiriza okuba nayo?

• Yesu bwe yagamba nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso yali ategeeza ki?

• Ngeri ki ez’Ekikristaayo ze tulina okukulaakulanya bwe tuba twagala okusoosa Obwakabaka bwa Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Bangi ku abo abaawulira ebigambo bya Yesu tebaali bagagga

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Omusajja omugagga yali ayagala nnyo eby’obugagga bwe okusinga Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu yatunda ebintu bye byonna asobole okufuna luulu ey’omuwendo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Singa tubeera banyiikivu mu buweereza, Yakuwa ajja kutuwanirira

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share