Oli Mwetegefu Kuwaayo Ki Okufuna Obulamu Obutaggwawo?
“Omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?”—MAT. 16:26.
1. Lwaki Yesu yakozesa ebigambo eby’amaanyi ng’ayanukula Peetero?
OMUTUME Peetero kye yawulira, mu kusooka teyakikkiriza. Mukama we gwe yali ayagala ennyo, Yesu Kristo, yakyogera “lwatu” nti yali agenda kubonyaabonyezebwa era attibwe! Mu mutima omulungi, Peetero yanenya Yesu n’amugamba nti: “Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n’akatono.” Amangu ago Yesu yamukuba amabega n’atunuulira abayigirizwa be abalala. Kirabika nabo baalina endowooza eyo enkyamu. Yagamba Peetero nti: “Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby’abantu.”—Mak. 8:32, 33; Mat. 16:21-23.
2. Yesu yalaga nti omugoberezi we omutuufu alina kukola ki?
2 Yesu bye yaddako okwogera byandiba nga byayamba Peetero okulaba lwaki Yesu yali amuzzeemu bw’atyo. Yesu ‘yayita ebibiina n’abayigirizwa be’ n’abagamba nti: “Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke [omuti gwe ogw’okubonyaabonya], angoberere. Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n’olw’enjiri alibulokola.” (Mak. 8:34, 35) Kyeyoleka bulungi nti yali agenda kuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, era nti n’abagoberezi be yali abasuubira okuwaayo obwabwe nga ssaddaaka mu buweereza bwabwe eri Katonda. Bwe bandikoze batyo, bandifunye empeera nnene ddala.—Soma Matayo 16:27.
3. (a) Bibuuzo ki Yesu bye yabuuza abaali bamuwuliriza? (b) Ekibuuzo kya Yesu ekyokubiri kiyinza okuba nga kyabajjukiza ki?
3 Yesu yabuuza ebibuuzo eby’amakulu ennyo bibiri, ekisooka: “Kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n’okufiirwa obulamu bwe?” n’eky’okubiri, “Omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?” (Mak. 8:36, 37) Ekibuuzo ekisooka si kizibu kuddamu. Tekirina kye kigasa muntu kulya nsi yonna ate n’afiirwa obulamu bwe. Eby’obugagga biba bya mugaso ng’omuntu mulamu era ng’abyeyagaliramu. Ekibuuzo kya Yesu ekyokubiri: “Omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?” kiyinza okuba kyajjukiza abaali bamuwuliriza ekyo Setaani kye yayogera mu kiseera kya Yobu nti: “Byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Eri abo abatali baweereza ba Yakuwa, ebigambo bya Setaani ebyo biyinza okuba ebituufu. Bangi beetegefu okukola kyonna, oba okumenya etteeka lyonna, okusobola okuwonya obulamu bwabwe. Kyokka, Abakristaayo bo ebintu babitunuulira mu ngeri ndala.
4. Lwaki ebibuuzo bya Yesu bikulu nnyo eri Abakristaayo?
4 Tukimanyi nti Yesu teyajja kutuyamba tube balamu bulungi, tube bagagga, oba tuwangaale nnyo mu nsi eno. Yajja kutuggulirawo mukisa ogw’okufuna obulamu obutaggwawo mu nsi empya, era ekyo kye tusinga okutwala ng’eky’omuwendo. (Yok. 3:16) Eri Omukristaayo, ekibuuzo kya Yesu ekisooka kitegeeza, “Kigasa ki omuntu okulya ensi yonna ne yeefiiriza okufuna obulamu obutaggwawo?” Eky’okuddamu kiri nti, Tekigasa n’akatono. (1 Yok. 2:15-17) Okusobola okuddamu ekibuuzo kya Yesu ekyokubiri, tuyinza okwebuuza, ‘Ndi mwetegefu kwefiiriza kyenkana wa mu kiseera kino, nsobole okufuna obulamu mu nsi empya?’ Kye tuddamu mu kibuuzo ekyo kisinziira ku ngeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe kati, era kiraga obanga essuubi eryo lya ddala mu mitima gyaffe.—Geraageranya Yokaana 12:25.
5. Tuyinza tutya okufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwawo?
5 Kya lwatu nti Yesu yali tategeeza nti obulamu obutaggwawo omuntu asobola okubukolerera. Obulamu—ka bube buno obw’ekiseera obuseera bwe tulina kati—butuweebwa nga kirabo. Tetusobola kubugula oba kukola kintu kyonna kubwetuusaako. Engeri yokka gye tusobola okufunamu ekirabo eky’obulamu obutaggwawo kwe ‘kukkiririza mu Kristo Yesu’ ne mu Yakuwa, ‘omugabi w’empeera eri abo abamunoonya.’ (Bag. 2:16; Beb. 11:6) Kyokka, okukkiriza kwaffe kulina okweyolekera mu bikolwa kubanga ‘okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.’ (Yak. 2:26) N’olwekyo, tusaanidde okufumiitiriza ennyo ku kibuuzo kya Yesu ekyo tulabe biki bye tulina okwefiiriza mu kiseera kino, na biki bye tulina okukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa okulaga nti ddala tulina okukkiriza.
“Kristo Teyeesanyusanga Yekka”
6. Kiki Yesu kye yakulembeza mu bulamu bwe?
6 Mu kifo ky’okwefaako yekka ne yeenoonyeza ebirungi ebyali mu nsi mu kiseera ekyo, Yesu yeemalira ku bintu ebyali bisinga obukulu. Obulamu bwe bwali bwa kwefiiriza awamu n’okukola Katonda by’ayagala. Mu kifo ky’okukola ebimusanyusa, yagamba nti: ‘Bulijjo nkola ebintu ebisanyusa Katonda.’ (Yok. 8:29, NW ) Yesu yali mwetegefu kukola ki okusobola okusanyusa Katonda?
7, 8. (a) Yesu yeefiiriza atya, era yafuna mikisa ki? (b) Kibuuzo ki kye tulina okwebuuza?
7 Lumu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omwana w’omuntu [teyajja] kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky’abangi.” (Mat. 20:28) Nga bwe twalabye, Yesu bwe yagamba abagoberezi be nti yali agenda ‘kuwaayo obulamu bwe,’ Peetero yamugamba yeesaasire. Naye, ekyo Yesu yakigaanira ddala. Bw’atyo yawaayo obulamu bwe obwali butuukiridde ku lw’abantu. Okwefiiriza mu ngeri eyo, kyaleetera Yesu emikisa mingi. Yazuukizibwa era ‘yagulumizibwa n’ateekebwa ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.’ (Bik. 2:32, 33, NW ) Mu ngeri eyo, yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo.
8 Omutume Pawulo yakuutira Abakristaayo b’omu Ruumi ‘obuteesanyusa bokka’ era yabajjukiza nti “ne Kristo teyeesanyusanga yekka.” (Bar. 15:1-3) Kati olwo, tuli beetegefu kwefiiriza kutuuka wa mu tukoppa Kristo?
Yakuwa Ayagala Tumuwe Ekisingayo Obulungi
9. Omukristaayo bwe yeewaayo eri Katonda, aba yeeyamye ki?
9 Okusinziira ku Mateeka ga Musa, abaddu Abaisiraeri baali ba ddembe okuva mu buddu oluvannyuma lw’emyaka musanvu oba mu mwaka gwa Jjubiri. Naye, waaliwo ekirala kye baali bayinza okukola. Omuddu bwe yabanga ayagala nnyo mukama we, yabanga wa ddembe okusigala naye obulamu bwe bwonna. (Soma Ekyamateeka 15:12, 16, 17.) Naffe tukola ekintu kye kimu bwe twewaayo eri Katonda. Awatali kukakibwa, tweyama okukola Katonda by’ayagala, mu kifo ky’okukola ebyaffe ku bwaffe. Mu kukola tutyo, tulaga nti twagala nnyo Yakuwa era twagala tumuweereze emirembe gyonna.[6]
10. Mu ngeri ki Katonda gy’atulinako obwannannyini, era ekyo kitukwatako kitya?
10 Bw’oba nga kati osoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, ng’obuulira amawulire amalungi, era ng’ojja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, okola bulungi nnyo. Tusuubira nti mangu ddala ojja kulaba obukulu bw’okwewaayo eri Yakuwa era weebuuze ekibuuzo Omuwesiyopya kye yabuuza Firipo nti: “Kiki ekindobera okubatizibwa?” (Bik. 8:35, 36) Olwo enkolagana yo ne Katonda ejja kuba ng’ey’Abakristaayo Pawulo be yagamba nti: “Temwerinaako bwannannyini, kubanga mwagulwa muwendo munene.” (1 Kol. 6:19, 20, NW) Ka tube nga essuubi lyaffe lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, bwe tuba twewaayo dda eri Yakuwa, ye y’atulinako obwannannyini. N’olwekyo, kikulu nnyo okwewala okwenoonyeza ebyaffe ku bwaffe, ‘n’okufuuka abaddu b’abantu.’ (1 Kol. 7:23) Nga nkizo ya maanyi okuba omuweereza omwesiga, Yakuwa gw’akozesa nga bw’ayagala!
11. Abakristaayo bakubirizibwa okuwaayo ssaddaaka za ngeri ki, era okusinziira ku Mateeka ga Musa, ekyo kitegeeza ki?
11 Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: ‘Muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi.’ (Bar. 12:1) Ebigambo ebyo biyinza okuba nga byajjukiza Abakristaayo Abayudaaya ssaddaaka ze baawangayo nga tebannafuuka bagoberezi ba Yesu. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, ensolo ze baawangayo ku kyoto kya Yakuwa zaalinanga okuba ezo ezisingayo obulungi. Ensolo eteri nnungi teyakkirizibwanga. (Mal. 1:8, 13) Bwe kityo bwe kiri ne ku kuwaayo emibiri gyaffe nga “ssaddaaka ennamu.” Tulina okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, so si ekyo kye tufissizzaawo nga tumaze okwekolera bye twagala. Bwe twewaayo eri Katonda, tumuwa “obulamu” bwaffe bwonna, nga mw’otwalidde amaanyi gaffe, ebintu bye tulina, awamu n’obusobozi bwaffe. (Bak. 3:23) Kino tuyinza okukiraga mu bulamu bwaffe obwa bulijjo?
Kozesa Ebiseera Byo mu Ngeri ey’Amagezi
12, 13. Engeri emu gye tuwaamu Yakuwa ekisingirayo ddala obulungi y’eruwa?
12 Tuwa Yakuwa ekisingayo obulungi bwe tukozesa ebiseera byaffe mu ngeri ey’amagezi. (Soma Abaefeso 5:15, 16.) Kino kyetaagisa okwefuga kwa maanyi. Ensi eno embi awamu n’obutali butuukirivu bwaffe bitukubiriza okumalira ebiseera byaffe mu kwesanyusa n’okukola bye twagala. Kituufu nti ‘buli kintu kirina ekiseera kyakyo,’ ng’omwo mw’otwalidde okwesanyusaamu n’okukola emirimu egitusobozesa okweyimirizaawo n’ab’omu maka gaffe. (Mub. 3:1) Naye, Omukristaayo alina okulaba nti akozesa ebiseera bye mu ngeri ey’amagezi.
13 Pawulo bwe yagenda mu Asene, yakizuula nti “Abaasene bonna n’abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba [o]kuwuliranga ekigambo ekiggya.” (Bik. 17:21) Ne leero abantu bangi boonoona nnyo ebiseera byabwe. Babimalira ku bintu ng’okulaba ttivi, okuzannya emizannyo gy’oku kompyuta, n’okukozesa Internet. Waliwo n’ebintu ebirala bingi ebitumalako ebiseera. Bwe tuteegendereza, tuyinza okwesanga nga tulagajjalidde ebintu eby’omwoyo. Tuyinza n’okutandika okulowooza nti eby’okukola bituyitiriddeko obungi era nti tetulina biseera bya kukola ‘bintu ebisinga obukulu’—ebikwata ku kuweereza Yakuwa.—Baf. 1:9, 10.
14. Bibuuzo ki bye tusaanidde okulowoozaako?
14 N’olwekyo, ng’omuweereza wa Yakuwa, weebuuze, ‘Nnina enteekateeka ey’okusoma Baibuli, okufumiitiriza, n’okusaba buli lunaku?’ (Zab. 77:12; 119:97; 1 Bas. 5:17) ‘Nneeteerawo ebiseera eby’okweteekerateekera enkuŋŋaana? Bwe mba mu nkuŋŋaana, nfuba okubaako kye nziramu nzizeemu ab’oluganda amaanyi?’ (Zab. 122:1; Beb. 2:12) Ekigambo kya Katonda kigamba nti Pawulo ne Balunabba ‘baamala ebiro bingi nga babuulira n’obuvumu mu Mukama waffe.’ (Bik. 14:3) Naawe osobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo okwongera ku biseera by’omala mu kubuulira, oboolyawo n’okola nga payoniya?—Soma Abaebbulaniya 13:15.
15. Abakadde bakozesa batya ebiseera byabwe mu ngeri ey’amagezi?
15 Omutume Pawulo ne Balunabba bwe baakyalira ekibiina ky’omu Antiyokiya, ‘baamala ebiro bingi nga bali n’abayigirizwa’ okusobola okubazzaamu amaanyi. (Bik. 14:28) Mu ngeri y’emu, leero abakadde bakozesa ebiseera bingi nga bazzaamu ab’oluganda amaanyi. Ng’oggyeko okwenyigira mu kubuulira, abakadde balunda ekisibo, banoonya endiga eziba zibuze, bayamba abalwadde, era bakola n’emirimu emirala mingi mu kibiina. Bw’oba oli wa luganda omubatize, ofuba okulaba nti otuukiriza ebisaanyizo osobole okuyambako mu kwetikka obuvunaanyizibwa obwo?
16. Tuyinza tutya ‘okukolera ebirungi abo be tuli nabo mu kukkiriza’?
16 Bangi bafunye essanyu mu kuyamba ab’oluganda abakoseddwa obutyabaga. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu atemera mu 60 era ng’aweereza ku Beseri, yatambula olugendo oluwanvu emirundi egiwerako asobole okuyamba abaali bagwiriddwa akatyabaga. Lwaki yakozesa ennaku ze ez’okuwummula mu ngeri eyo? Agamba nti: “Wadde saalina bumanyirivu bwonna, yali nkizo ya maanyi okukola kyonna kye nsobola. Kyanzizaamu nnyo amaanyi okulaba okukkiriza okw’amaanyi baganda bange ne bannyinaze kwe baalaga nga bafiiriddwa kumpi buli kimu.” Ate era, ab’oluganda bangi okwetooloola ensi bayamba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’Ebizimbe eby’Enkuŋŋaana Ennene. Bwe twenyigira mu kukola emirimu ng’egyo, tuba ‘tukoledde ebirungi abo be tuli nabo mu kukkiriza.’—Bag. 6:10.
“Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”
17. Ggwe oli mwetegefu kuwaayo ki osobole okufuna obulamu obutaggwawo?
17 Abantu bonna abatatya Katonda banaatera okuzikirizibwa. Ekyo tetumanyi ddi lwe kinaabaawo. Naye, tumanyi nti ‘ekiseera kisigaddeyo kitono’ era nti “embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” (Soma 1 Abakkolinso 7:29-31.a) Kino kyongera okulaga obukulu bw’ekibuuzo kya Yesu: “Omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?” Mu buli ngeri tulina okuba abeetegefu okukola kyonna Yakuwa ky’atulagira tusobole okufuna ‘obulamu obwa namaddala.’ (1 Tim. 6:19) Nga Yesu bwe yatukubiriza, kikulu nnyo ‘okumugoberera,’ era ‘n’okusooka okunoonya obwakabaka.’—Mat. 6:31-33; 24:13.
18. Tuli bakakafu ku ki, era lwaki?
18 Kituufu nti okugoberera Yesu si kyangu, era nga Yesu kennyini bwe yalabula, kituusizza n’abamu okuttibwa. Kyokka okufaananako Yesu, tulina okwewala ‘okwesaasira.’ Tukkiririza mu kisuubizo kino kye yawa abagoberezi be abaafukibwako amafuta ab’omu kyasa ekyasooka nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Mat. 28:20) N’olwekyo, ka tufube nga bwe tusobola, tukozese ebiseera byaffe n’obusobozi bwaffe mu buweereza obutukuvu. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti twesiga Yakuwa okutuwonyawo mu kibonyoobonyo ekinene oba okutuzuukiza mu nsi empya. (Beb. 6:10) Mu ngeri eyo, tujja kuba tulaze nti ekirabo ky’obulamu obutaggwawo ddala tukitwala nga kya muwendo.
[[Obugambo obuli wansi]
a 1 Abakkolinso 7:29-31 (NW): “Ate era ab’oluganda, mbagamba nti ekiseera ekisigaddeyo kitono. N’olwekyo, abo abalina abakyala babe ng’abatabalina, n’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka, abagula babe ng’abatalina bintu, era n’abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu; kubanga embeera y’ensi eno ekyukakyuka.”
Oyinza Kuddamu Otya?
• Yesu yalaga atya nti yali ayagala nnyo okuweereza Katonda era n’abantu?
• Lwaki omuntu alina okwefiiriza yekka, era kino akikola atya?
• Mu Isiraeri ey’edda, ssaddaaka za ngeri ki Yakuwa ze yakkirizanga, era ekyo tukiyigirako ki leero?
• Tusobola tutya okukozesa ebiseera byaffe mu ngeri ey’amagezi?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Yesu yakolanga ebintu ebisanyusa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Abaisiraeri abeesigwa baawangayo ekisingayo obulungi okuwagira okusinza okw’amazima
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
Tusanyusa Katonda bwe tukozesa ebiseera byaffe mu ngeri ey’amagezi