LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 4/1/05 lup. 8-12
  • Obutaba Balamu Nate ku Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obutaba Balamu Nate ku Bwaffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebiyinza Okutuyamba!
  • Tetusobola Kuweereza Baami Babiri
  • Kwagala kw’Ani Okutukubiriza?
  • Oli Mwetegefu Kuwaayo Ki Okufuna Obulamu Obutaggwawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • ‘Jjangu Ongoberere’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Batendekebwa Okuwa Obujulirwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 4/1/05 lup. 8-12

Obutaba Balamu Nate ku Bwaffe

“[Kristo] yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka.”​—2 ABAKKOLINSO 5:15.

1, 2. Tteeka ki ery’omu Byawandiikibwa eryayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okuvvuunuka omwoyo gw’okwerowoozaako?

KYE kyali ekiro kya Yesu ekisembayo ku nsi, era mu ssaawa mbale yali agenda kuwaayo obulamu bwe ku lw’abo bonna abandimukkiririzzaamu. Mu kiro ekyo, alina ebintu bingi ebikulu bye yategeeza abatume be abeesigwa. Mu ebyo bye yayogera mwe mwali etteeka erikwata ku ekyo ekyandibaawuddewo ng’abagoberezi be. Yabagamba: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”​—Yokaana 13:34, 35.

2 Abakristaayo ab’amazima balina okulagaŋŋana okwagala okw’okwefiiriza n’okukulembeza ebyetaago bya bakkiriza bannaabwe mu kifo ky’ebyabwe ku bwabwe. Balina okuba abeetegefu ‘okuwaayo obulamu bwabwe ku lwa mikwano gyabwe.’ (Yokaana 15:13) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baatwala batya etteeka eppya? Mu kitabo kye ekiyitibwa Apology, omuwandiisi omu ow’omu kyasa eky’okubiri ayitibwa Tertullian yawandiika bw’ati ku ebyo abantu bye baayogera ku Bakristaayo: ‘Laba engeri gye baagalanamu; buli omu mwetegefu okufiirira munne.’

3, 4. (a) Lwaki twandyewaze omwoyo gw’okwerowoozaako? (b) Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

3 Naffe tulina ‘okwetikka emigugu gya bannaffe, tusobole okutuukiriza etteeka lya Kristo.’ (Abaggalatiya 6:2) Naye, okwerowoozaako kye kimu ku bintu ebitulemesa okugondera etteeka lya Kristo ‘n’okwagala Yakuwa Katonda waffe n’omutima gwaffe gwonna, n’emmeeme yaffe yonna, n’amagezi gaffe gonna era n’okwagala baliraanwa baffe nga bwe tweyagala ffekka.’ (Matayo 22:37-39) Olw’okuba tetutuukiridde, kya mu butonde okwerowoozaako. Ate era, okweraliikirira eby’obulamu, omwoyo gw’okuvuganya ogukubirizibwa mu masomero oba ku mirimu gye tukola, era n’okufuba okweyimirizaawo, byongera ku mwoyo guno ogw’okwerowoozaako. Omwoyo gw’okwerowoozaako gweyongera bweyongezi. Omutume Pawulo yalabula: “Mu nnaku ez’oluvannyuma . . . abantu baliba nga beeyagala bokka.”​—2 Timoseewo 3:1, 2.

4 Ng’anaatera okukomekkereza buweereza bwe ku nsi, Yesu yategeeza abayigirizwa be ebintu bisatu ebyandibayambye okuvvuunuka omwoyo gw’okwerowoozaako. Ebintu ebyo bye biruwa, era naffe tusobola tutya okuganyulwa mu ebyo bye yabagamba?

Ebiyinza Okutuyamba!

5. Bwe yali abuulira mu bukiika kkono bw’e Ggaliraaya, kiki Yesu kye yategeeza abayigirizwa be, era lwaki kyabanakuwaza nnyo?

5 Yesu yali abuulira okumpi ne Kayisaliya eky’omu Firipi mu bukiika kkono bw’e Ggaliraaya. Ekifo kino ekyali kirabika obulungi kyalabika ng’ekigwaana okuwummuliramu so si okuyigiramu ebikwata ku kwefiiriza. Kyokka, eyo Yesu gye yategeereza abayigirizwa be nti kyali “kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi, n’okuttibwa, ne ku lunaku olw’okusatu okuzuukizibwa.” (Matayo 16:21) Nga kino kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo abayigirizwa be abaali baasuubira nti Omukulembeze waabwe yali agenda kussaawo Obwakabaka bwe ku nsi kuno!​—Lukka 19:11; Ebikolwa 1:6.

6. Lwaki Yesu yanenya Peetero?

6 Nga Yesu yakamala okubabuulira ebigambo ebyo, Peetero ‘y’amuzza ku bbali n’amunenya ng’agamba nti: ‘Mukama wange teweerumya, ekyo tekirikubaako n’akatono.’ Yesu yakolawo ki? “[Ya]kyuka, n’agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby’abantu.” Nga Yesu ne Peetero baalina endowooza za njawulo nnyo! Yesu yakkiriza obulamu obw’okwefiiriza n’akola omulimu Katonda gwe yamukwasa, ekyandimuviiriddeko okuttibwa ku muti mu myezi mitono. Kyokka, ye Peetero yali amwagaliza obulamu obwangu. Yamugamba: ‘Teweerumya.’ Mu kwogera bw’atyo, Peetero yali talina biruubirirwa bikyamu. Wadde kyali kityo, Yesu yamunenya olw’okuba yali akkirizza okukozesebwa Setaani. Peetero teyalina ‘ndowooza ya Katonda, wabula ey’abantu.’​—Matayo 16:22, 23, NW.

7. Okusinziira ku Matayo 16:24, biki Yesu bye yakubiriza abagoberezi be okukola?

7 Ne leero waliwo abantu abalina endowooza ng’eya Peetero. Ensi ekubiriza nnyo abantu ‘obuteerumya’ oba ‘okuba n’obulamu obwangu.’ Kyokka, ye Yesu yakubiriza endowooza ya njawulo. Yagamba abayigirizwa be: ‘Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka era yeetikke omuti gwe angobererenga.’ (Matayo 16:24, NW) Ekitabo ekiyitibwa The New Interpreter’s Bible, kigamba: “Ebigambo bino byali tebikubiriza bantu kufuuka bayigirizwa, wabula byali bikubiriza abo abamaze okufuuka abayigirizwa okulowooza ku makulu g’okubeera abayigirizwa ba Kristo.” N’olwekyo, ebintu ebisatu Yesu bye yayogerako mu lunyiriri olwo birina kukolebwa bagoberezi be. Ka tubyekenneenye kinnakimu.

8. Nnyonnyola kye kitegeeza okwefiiriza.

8 Okusooka, tulina okwefiiriza. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa “okwefiiriza” kirina amakulu ag’obuteerowoozaako. Kyokka, okwefiiriza tekitegeeza kwerekereza bintu bitusanyusa oba okwerumya. ‘Tetuli ku bwaffe’ mu ngeri nti tuwaayo obulamu bwaffe kyeyagalire eri Yakuwa. (1 Abakkolinso 6:19, 20) Mu kifo ky’okwerowoozaako ffekka, tussa essira ku kuweereza Katonda. Okwefiiriza kitegeeza okuba abamalirivu okukola Katonda by’ayagala, ne bwe kiba nga si kye twandyagadde. Bwe twewaayo eri Katonda ne tubatizibwa, tulaga nti twemalidde ku Katonda. Oluvannyuma tufuba okutuukiriza okwewaayo kwaffe obulamu bwaffe bwonna.

9. (a) Mu kiseera kya Yesu, omuti ogw’okubonyaabonya gwali gukiikirira ki? (b) Tuyinza tutya okwetikka omuti gwaffe ogw’okubonyaabonya?

9 Eky’okubiri tulina okwetikka omuti gwaffe. Mu kyasa ekyasooka, omuti gwali gukiikirira okubonaabona, okuswala n’okufa. Abazzi b’emisango be bokka abaawanikibwanga ku muti oba emirambo gyabwe. Yesu bwe yagamba okwetikka omuti, yali ategeeza nti Omukristaayo alina okubeera omwetegefu okuyigganyizibwa, okuvumibwa oba okuttibwa, okuva bw’atali kitundu kya nsi. (Yokaana 15:18-20) Okuva emitindo gyaffe egy’Ekikristaayo bwe giri egy’enjawulo ku gy’ensi, ensi eyinza ‘okutuvumirira.’ (1 Peetero 4:4) Kino kisobola okututuukako ku ssomero, ku mulimu, oba mu maka. (Lukka 9:23) Wadde kiri kityo, tuli beetegefu okugumira okukyayibwa ensi kubanga tetukyali balamu ku bwaffe. Yesu yagamba: “Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe [nnene] mu ggulu.” (Matayo 5:11, 12) Mazima ddala, okusiimibwa Katonda kye kisinga obukulu.

10. Kiki ekizingirwa mu kugobereranga Yesu?

10 Eky’okusatu, Yesu Kristo yagamba nti tulina okumugobereranga. Okusinziira ku kitabo An Expository Dictionary of New Testament Words, ekya W. E. Vine, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa okugoberera kirina amakulu ag’okutambula n’omuntu​—“nga mukwata ekkubo lye limu.” Yokaana Ekisooka 2:6 lugamba nti: “Ayogera ng’abeera mu [Katonda] kimugwanira naye yennyini okutambulanga [nga Kristo] bwe yatambula.” Yesu yatambula atya? Olw’okuba yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu n’abayigirizwa be, Yesu teyalina mwoyo gwa kwerowoozaako. Pawulo yawandiika: “Kristo teyeesanyusanga yekka.” (Abaruumi 15:3) Ne bwe yabanga akooye oba ng’alumwa enjala, Yesu yakulembezanga ebyetaago by’abalala. (Makko 6:31-34) Ate era Yesu yali munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okuyigiriza. Naffe tetwandikoze kye kimu nga tutuukiriza omulimu gwaffe ‘ogw’okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna, nga tubayigiriza okukwata byonna Yesu bye yatulagira’? (Matayo 28:19, 20) Mu bino byonna, Yesu yatuteerawo ekyokulabirako eky’okugoberera, era naffe tulina ‘okutambulira mu bigere bye.’​—1 Peetero 2:21.

11. Lwaki kikulu okwefiiriza, okwetikka omuti gwaffe ogw’okubonyaabonya n’okweyongera okugoberera Yesu Kristo?

11 Kikulu nnyo okwefiiriza, okwetikka omuti gwaffe ogw’okubonyaabonya n’okweyongera okugoberera Yesu. Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuyamba okwewala omwoyo gw’okwerowoozaako tusobole okwoleka okwagala okw’okwefiiriza. Ate era Yesu yagamba: “Buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba. Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng’afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?”​—Matayo 16:25, 26.

Tetusobola Kuweereza Baami Babiri

12, 13. (a) Kiki omusajja omugagga kye yabuuza Yesu? (b) Magezi ki Yesu ge yawa omusajja oyo, era lwaki?

12 Nga wayiseewo emyezi mitono oluvannyuma lwa Yesu okukubiriza abayigirizwa be okwefiiriza, omusajja omugagga yamutuukirira n’amubuuza: “Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n’obulamu obutaggwaawo?” Yesu yamuddamu nti ‘kwatanga amateeka’ era n’amutegeeza agamu ku go. Omusajja yagamba: “Ebyo byonna [n]nabikwata.” Kirabika omusajja oyo yali mwesimbu era ng’akoze kyonna ky’asobola okukwata Amateeka. Bwe kityo, yabuuza Yesu: ‘Ekimpeebuuseeko oba kye mbuzzaayo kye kiruwa?’ Mu kumuddamu, Yesu yamugamba ekintu ekitaali kya bulijjo: “Bw’oyagala okuba eyatuukirira, [“omujjuvu,” New American Standard Bible], genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.”​—Matayo 19:16-21.

13 Yesu yakimanya nti omusajja oyo omugagga okusobola okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, kyali kimwetaagisa okweggyako ebintu byonna ebyali biyinza okumulemesa okuweereza Katonda, kwe kugamba, eby’obugagga bwe. Omuyigirizwa wa Kristo owa nnamaddala tasobola kuweereza baami babiri. ‘Tasobola kuweereza Katonda na bya bugagga.’ (Matayo 6:24) Alina okuba ‘n’eriiso eriraba awamu,’ kwe kugamba, ng’akulembeza ebintu eby’omwoyo. (Matayo 6:22) Omuntu bwe yeggyako eby’obugagga bwe n’abigabira abaavu aba alaze omwoyo gw’okwefiiriza. Omusajja oyo bwe yandyefiirizza eby’obugagga bwe, Yesu yamugamba nti yandyeterekedde eby’obugagga mu ggulu mu ngeri nti, kyandimuviiriddemu okufuna obulamu obutaggwaawo n’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Omusajja oyo teyali mwetegefu kwefiiriza bya bugagga bwe. “[Y]agenda ng’anakuwadde: kubanga yali alina obugagga bungi.” (Matayo 19:22) Kyokka, abagoberezi ba Yesu abalala bo tebaakola bwe batyo.

14. Abavubi abana baakola ki nga Yesu abagambye okumugoberera?

14 Emyaka ng’ebiri emabega, Yesu yali agambye Peetero, Andereya, Yakobo ne Yokaana, abaali abavubi, okumugoberera. Mu kaseera ako, babiri ku bo baali bavuba ate ng’abalala baanika butimba bwabwe. Yesu yabagamba: “Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” Bonna abana baaleka omulimu gwabwe ogw’okuvuba ne bagoberera Yesu ekiseera kyonna eky’obulamu bwabwe.​—Matayo 4:18-22.

15. Mu ngeri ki omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino gye yeefiiriza okusobola okugoberera Yesu?

15 Abakristaayo bangi leero tebakoze ng’omusajja omugagga bwe yakola naye bagoberedde ekyokulabirako ky’abavubi abana. Beerekerezza eby’obugagga n’ettuttumu bye bandifunye mu nsi eno ne basalawo okuweereza Yakuwa. “Bwe nnalina emyaka 22 egy’obukulu, nnayolekagana n’okusalawo okw’amaanyi,” bw’atyo Deborah bw’agamba. Annyonnyola nti: “Nnali nsomye Baibuli okumala emyezi mukaaga era nga njagala okwewaayo eri Yakuwa, naye ab’awaka tebaakisanyukira. Baali bagagga nnyo, era nga balowooza nti bwe nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa kijja kubaswaza nnyo. Bampa essaawa 24 nnondeko kimu, kwe kugamba, okubeera mu bulamu obulungi oba okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Baŋŋamba nti singa sikomya nkolagana yange na Bajulirwa ba Yakuwa, baali bagenda kunzaalukuka. Yakuwa yannyamba okusalawo obulungi era n’ansobozesa okunywerera ku kusalawo okwo. Kati mmaze emyaka 42 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, era ssejjusangako n’akatono. Okugaana obulamu obw’okwejalabya kyamponya okubeera mu bulamu obutalina kigendererwa era obutaliimu ssanyu abasinga obungi ku b’eŋŋanda zange bwe balimu. Nze n’omwami wange, tusobodde okuyamba abantu abasukka mu kikumi okuyiga amazima. Abaana bange bano mu by’omwoyo ba muwendo nnyo okusinga eby’obugagga.” N’Abajulirwa ba Yakuwa abalala bangi nnyo balina endowooza y’emu. Kiri kitya gy’oli?

16. Tusobola tutya okulaga nti tetukyali balamu ku bwaffe?

16 Olw’okuba tebakyayagala kuba balamu ku bwabwe, Abajulirwa ba Yakuwa nkumi na nkumi baweereza ng’abalangirizi b’Obwakabaka ab’ekiseera kyonna. Abalala abatasobola olw’embeera zaabwe, booleka omwoyo gw’obwapayoniya era bakola kyonna kye basobola mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Abazadde nabo booleka omwoyo gwe gumu bwe bawaayo ebiseera byabwe era ne beerekereza ebintu bye baagala okusobola okutendeka abaana baabwe mu by’omwoyo. Mu ngeri emu, ffenna tusobola okulaga nti tukulembeza eby’Obwakabaka mu bulamu bwaffe.​—Matayo 6:33.

Kwagala kw’Ani Okutukubiriza?

17. Kiki ekitukubiriza okwefiiriza?

17 Tekitera kuba kyangu okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Naye lowooza ku ekyo ekitukubiriza okukikola. Pawulo yawandiika: “Okwagala kwa Kristo [kwe kutukubiriza], nga tulowooza bwe tuti ng’omu yabafiirira bonna . . . Naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira n’azuukira.” (2 Abakkolinso 5:14, 15) N’olwekyo, okwagala kwa Kristo kwe kutukubiriza obutaba balamu ku bwaffe. Okwo nga kwagala kwa maanyi nnyo! Okuva bwe kiri nti Kristo yatufiirira, tetuwulira nga naffe tuvunaanyizibwa okuba abalamu ku bubwe? Mazima ddala, olw’okuba tusiima okwagala Katonda ne Kristo kwe baatulaga kyatukubiriza okuwaayo obulamu bwaffe eri Katonda era ne tufuuka abayigirizwa ba Kristo.​—Yokaana 3:16; 1 Yokaana 4:10, 11.

18. Lwaki okwefiiriza kuvaamu emiganyulo?

18 Ddala obutabeera balamu ku bwaffe kirimu emiganyulo? Oluvannyuma lw’omusajja omugagga okugaana okugoberera Kristo, Peetero yagamba Yesu: “Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tuliba na ki?” (Matayo 19:27) Mazima ddala, Peetero n’abatume abalala baayoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Baali ba kufuna mpeera ki? Okusooka, Yesu yayogera ku nkizo gye bandifunye ey’okufugira awamu naye mu ggulu. (Matayo 19:28) Ate era Yesu yayogera ku mikisa buli omu ku bagoberezi be gye yandifunye. Yagamba: “Tewali eyaleka ennyumba, oba ab’oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n’olw’enjiri, ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano . . . ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.” (Makko 10:29, 30) Emiganyulo gye tufuna mu kwefiiriza gisingira wala ebyo bye tuba twefiirizza. Bataata, bamaama, ab’oluganda, bannyinaffe n’abaana be tufunye mu by’omwoyo tebasingira wala ebyo byonna bye twaleka olw’Obwakabaka? Ku Peetero n’omusajja omugagga ani yafuna obulamu obusinga obulungi?

19. (a) Essanyu erya nnamaddala liva mu ki? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

19 Mu bigambo ne mu bikolwa, Yesu yakiraga nti essanyu liva mu kugaba na kuweereza abalala so si mu kwerowoozaako. (Matayo 20:28; Ebikolwa 20:35) Bwe tulekera awo okuba abalamu ku bwaffe era ne tweyongera okugoberera Kristo, tufuna obumativu n’ekigendererwa mu bulamu era ne tufuna essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna mu biseera eby’omu maaso. Kya lwatu, bwe twerekereza, tufuuka bantu ba Yakuwa. Bwe kityo, tufuuka baddu ba Katonda. Lwaki obuddu buno bulimu emiganyulo? Bukwata butya ku bye tusalawo? Mu kitundu ekiddako tujja kwekenneenya ebibuuzo ebyo.

Ojjukira?

• Lwaki tulina okweggyamu omwoyo gw’okwerowoozaako?

• Kitegeeza ki okwefiiriza, okwettika omuti gwaffe ogw’okubonyaabonya, n’okweyongera okugoberera Yesu?

• Kiki ekitukubiriza obutaba balamu ku bwaffe?

• Lwaki okwefiiriza kulimu emiganyula?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

‘Mukama wange teweerumya’

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]

Okwagala kwe kukubiriza Abajulirwa ba Yakuwa okuweereza ng’abalangirizi b’Obwakabaka abanyiikivu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share