LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 5/1 lup. 3-4
  • Mulina Empuliziganya Ennungi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mulina Empuliziganya Ennungi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Similar Material
  • Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Abajulirwa ba Yakuwa Baleetera Obufumbo Okusattulukuka?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Katonda Kye Yagatta Awamu Tokyawulanga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 5/1 lup. 3-4

Mulina Empuliziganya Ennungi?

“EBBALUWA y’omukwano eya Nnamukadde ow’Emyaka 60.” Ogwo gwe gwali omutwe gw’empaka ezaategekebwa banka emu ey’omu Japan emyaka mitono emabega. Mu mpaka zino, abafumbo b’omu Japan abali mu myaka 50 ne mu 60 baasabibwa okwoleka “mu bwesimbu enneewulira” zaabwe eri bannaabwe mu bufumbo. Omu ku abo abeenyigira mu mpaka zino yawandiikira bw’ati mukazi we: “Kiyinza okukusesa, naye nja kuwulira bubi singa sikyogera. Kale ka nkyasanguze: Weebale kukkiriza kubeera munnange mu bufumbo.”

Mu nsi nnyingi nga mw’otwalidde n’ezo eziri mu buvanjuba bwa Asiya, tekirabika bulungi omufumbo okubuulirira munne enneewulira ye. Wadde kiri kityo, abantu abasukka mu 15,000 be beenyigira mu mpaka ezo. Abantu bangi baayagala nnyo empaka ezo era ne basaba wategekebwewo empaka endala. Zaabanyumira nnyo ne kiba nti ebbaluwa ezaawandiikibwa zaakubibwamu ebitabo. Kino kyalaga nti bangi baagala nnyo okwoleka enneewulira zaabwe eri bannaabwe mu bufumbo. Kyokka, kino waliwo abamu abatakikola. Lwaki? Ensonga eyinza okuba eri nti kyetaagisa obuvumu n’okumanya ebigambo eby’okukozesa okusobola okutegeezaamu abalala enneewulira zaabwe, gamba nga bannaabwe mu bufumbo.

Hitoshi Kato, eyawandiika ekitabo ekikwata ku kuwummuzibwa ku mulimu agamba nti, mu bafumbo ab’omu Japan abakuze mu myaka, abakyala be batera okuleeta ekirowoozo ky’okugattululwa mu bufumbo kubanga baba balina ebizibu bingi bye basirikidde okumala emyaka mingi. Ayongera n’agamba nti: “Kino kiva ku kuba nti bafumbo bwe bafuna ebizibu tebatuula kubigonjoola.”

Omwami bw’aba yakawummuzibwa ku mulimu, kiyinza okumwewunyisa omukyala bw’amugamba nti bagattululwe mu bufumbo. Abafumbo abo bayinza okuba nga bamaze emyaka mingi nga buli omu tabuulira munne nneewulira ye. Oba bayinza okuba baali batudde buli omu n’abuulira munne ekimuluma, naye ne batakkaanya. Buli lwe baagezangako okuzzaawo enkolagana, baayombanga buyombi.

Kati olwo buli omu ayinza atya okubuulira munne ekimuli ku mutima era ne bagonjoola obutategeeragana bwe baba bafunye? Eky’okuddamu mu kibuuzo kino tekisangibwa mu kitabo kyonna ekyakawandiikibwa abawi b’amagezi ku bufumbo, naye kisangibwa mu Baibuli ekitabo ekyawandiikibwa edda, ekirimu amagezi agayambye abantu bangi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share