Essanyu Eriva mu Kutambulira mu Bugolokofu
“Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”—ENGERO 10:22.
1, 2. Lwaki twandyewaze okumalira ebirowoozo byaffe ku ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?
OMUFIROSOOFO omu Omwamerika yagamba nti “Ebirowoozo byaffe byonna bwe tubimalira ku ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso . . . kitulemesa okusiima ebyo bye tulina.” Kino kitera okutuuka ku baana abalowooza ennyo ku ebyo bye bayinza okukola nga bakuze ne beerabira nti ne mu myaka gyabwe egy’obuto, balina ebintu eby’omugaso bye bayinza okukola.
2 Ebiseera ebimu, abaweereza ba Yakuwa nabo bayinza okuba n’endowooza ng’eno. Lowooza ku kiyinza okubeerawo. Twesunga nnyo okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Katonda eky’okufuula ensi ekifo ekirabika obulungi ennyo. Ate era, twesunga ekiseera lwe watalibaawo bulwadde, kukaddiwa, bulumi n’okubonaabona. Wadde nga kirungi okwesunga ebintu ng’ebyo, kiki ekiyinza okubaawo singa tulowooza nnyo ku ebyo bye tunaafuna mu biseera eby’omu maaso ne kituviirako okubuusa amaaso emikisa egy’eby’omwoyo gye tufuna mu kiseera kino? Ng’ekyo kiba kya kabi nnyo! Kiyinza okutuviirako okuggwaamu amaanyi ‘n’okulumwa mu mitima kubanga bye tusuubira tetubifunye’ nga bwe tubadde tulowooza. (Engero 13:12) Ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu biyinza okutuleetera okwennyamira. Mu kifo ky’okuba abagumiikiriza nga twolekaganye n’ebizibu ebyo, tuyinza okutandika okwemulugunya. Bino byonna tuyinza okubyewala singa tufumiitiriza ku mikisa gye tufuna mu kiseera kino.
3. Biki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
3 Engero 10:22 wagamba: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.” Tetusanyuka nnyo olw’embeera ennungi ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’awadde abaweereza be ab’omu kiseera kino? Ka twekenneenye ezimu ku mbeera ezo era tulabe engeri gye tuganyulwamu kinnoomu. Bwe tufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’awadde ‘abatuukirivu abatambulira mu butayonoona,’ kijja kutuyamba okuba abamalirivu okweyongera okuweereza Kitaffe ow’omu ggulu n’essanyu.—Engero 20:7.
Ebintu Ebituleetera Essanyu
4, 5. Njigiriza ki eya Baibuli gy’otwala nga nkulu nnyo era lwaki?
4 Okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli. Amadiini ga Kristendomu gagamba nti gakkiririza mu Baibuli. Kyokka, tegakkiriza ebyo by’eyigiriza. N’abantu abali mu ddiini emu batera okuba n’endowooza ez’enjawulo ku ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Nga baawukana nnyo ku baweereza ba Yakuwa! Ka tube nga tetuli ba ggwanga lye limu oba nga twakulira mu mbeera za njawulo, ffenna tusinza Katonda ow’amazima gwe tumanyi erinnya. Katonda oyo gwe tusinza tali mu busatu. (Ekyamateeka 6:4; Zabbuli 83:18; Makko 12:29) Ate era, tukimanyi bulungi nti ensonga enkulu ekwata ku bufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna eri kumpi kugonjoolebwa era nti singa tusigala nga tuli beesigwa gy’ali, tuba tulaga nti tuwagira obufuzi bwa Katonda. Tumanyi amazima agakwata ku bafu, era Katonda tetumutya olw’okuba abantu bagamba nti ayokya aboonoonyi mu muliro ogutazikira oba nti abatwala mu puligaatooli.—Omubuulizi 9:5, 10.
5 Ate era tukimanyi nti tetwajjawo mu butanwa, wabula tuli bitonde Katonda bye yakola mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:26; Malaki 2:10) Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku Katonda: “Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.”—Zabbuli 139:14.
6, 7. Nkyukakyuka ki z’okoze mu bulamu bwo oba abalala b’omanyi ze bakoze ezibadde ez’omuganyulo?
6 Twewala ebikolwa n’emize eby’akabi eri obulamu bwaffe. Emikutu gy’empuliziganya giwa okulabula kungi ku kabi akali mu bwenzi, okunywa sigala, n’okunywa omwenge omungi. Emirundi mingi, okulabula kuno kusuulibwa muguluka. Naye ate kiba kitya, singa omuntu ayagala amazima ayiga nti Katonda avumirira ebintu ng’ebyo era nti tasanyukira babikola? Nga kyandibadde kirungi nnyo omuntu oyo n’alekayo ebikolwa ng’ebyo! (Isaaya 63:10; 1 Abakkolinso 6:9, 10; 2 Abakkolinso 7:1; Abaefeso 4:30) Wadde nga kino akikola okusanyusa Yakuwa Katonda, naye era waliwo n’emiganyulo emirala gy’afuna. Afuna obulamu obulungi era n’emirembe mu mutima.
7 Bangi bazibuwalirwa nnyo okulekayo emize emibi. Kyokka, buli mwaka, waliwo abantu nkumi na nkumi abalekayo emize egyo. Bawaayo obulamu bwabwe eri Yakuwa era ne babatizibwa mu mazzi, mu ngeri eyo ne bakiraga mu lujjudde nti baleseeyo ebikolwa ebitasanyusa Katonda. Ekyo nga kituzzaamu nnyo amaanyi ffenna! Era kituyamba okweyongera okuba abamalirivu okwekutula ku mpisa embi.
8. Kubuulirira ki okw’omu Baibuli okusobozesa amaka okubaamu essanyu?
8 Obulamu bw’amaka obw’essanyu. Mu nsi nnyingi amaka mangi galimu ebizibu. Obufumbo bungi busasika ne kiviirako abaana okunakuwala. Mu nsi ezimu eza Bulaaya, amaka omuli omuzadde omu kumpi gali ebitundu 20 ku buli kikumi. Mu ngeri ki Yakuwa gy’atuyambamu okukuuma obwesigwa mu bufumbo? Tukusaba osome Abaefeso 5:22–6:4, olabe okubuulirira okulungi Ekigambo kya Katonda kye kuwa abaami, abakyala n’abaana. Okussa mu nkola okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa ebyo awamu n’ebirala, kinyweza obufumbo, kiyamba abazadde okukuza obulungi abaana baabwe era kisobozesa amaka okubaamu essanyu. Ogwo si mukisa gwa maanyi ogwandituleetedde essanyu?
9, 10. Engeri gye tutunuuliramu ebiseera eby’omu maaso eyawukana etya ku y’abantu b’ensi?
9 Tukakasibwa nti ebizibu by’ensi biri kumpi kuggwaawo. Wadde ng’abantu bakulaakulanye nnyo mu byasayansi ne tekinologiya era nga waliwo n’abafuzi abafuba okufuga obulungi, wakyaliwo ebizibu bingi eby’amaanyi. Klaus Schwab, eyatandikawo ekibiina ekiyitibwa World Economic Forum, gye yagamba bw’ati gye buvuddeko awo, “ebizibu by’ensi byeyongera bweyongezi naye ate tewaliiwo kiseera kimala kubigonjoola.” Ate era yagamba nti: “Waliwo emitawaana egibunye mu nsi yonna, gamba ng’ebikolwa bya bannalukalala, okwonoona obutonde, n’ebizibu by’eby’enfuna.” Schwab yafundikira ng’agamba: “Kaakano n’okusinga bwe kyali kibadde, abantu beetaga okwegatta era babeeko kye bakolawo mu bwangu okusobola okugonjoola ebizibu ebiri mu nsi.” Wadde ne mu kyasa kino ekya 21, abantu tebamanyi biki binaabaawo mu biseera eby’omu maaso.
10 Nga kisanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa akoze enteekateeka okugonjoola ebizibu by’abantu byonna—ng’eteekateeka eno bwe Bwakabaka bwa Masiya. Okuyitira mu Bwakabaka obwo, Katonda ow’amazima ajja ‘kuggyawo entalo’ era aleetewo “emirembe emingi.” (Zabbuli 46:9; 72:7) Kabaka eyafukibwako amafuta, Yesu Kristo, ‘ajja kuwonya omwavu n’atalina mubeezi, n’omunafu ajja kumulokola mu kujoogebwa.’ (Zabbuli 72:12-14) Wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, tewajja kubaawo bbula lya mmere. (Zabbuli 72:16) Yakuwa ajja ‘kusangula buli zziga mu maaso gaffe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.’ (Okubikkulirwa 21:4) Obwakabaka obwo bwateekebwawo dda mu ggulu era mu kiseera ekitali kya wala bujja kugonjoola ebizibu by’ensi yonna.—Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 11:15.
11, 12. (a) Ddala okuluubirira eby’amasanyu kuleeta essanyu ery’olubeerera? Nnyonnyola. (b) Kiki ekireeta essanyu erya nnamaddala?
11 Tumanyi ekisobola okuleeta essanyu erya nnamaddala. Kiki ddala ekisobola okuleeta essanyu erya nnamaddala? Kakensa omu eyeekenneenya endowooza z’abantu yagamba nti waliwo ebintu bisatu ebireeta essanyu—eby’amasanyu, okuba n’obuvunaanyizibwa (gamba ng’olina omulimu gw’okola oba ng’olina amaka g’olabirira), era n’okuba n’ekigendererwa (okubaako ky’okolera abalala). Yalaga nti ku bintu ebyo ebisatu, eby’amasanyu si kye kintu ekikulu ennyo, era n’agamba nti: “Kyewuunyisa nnyo okuba nti abantu kye basinga okwettanira.” Naye kiki Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno?
12 Kabaka Sulemaani yagamba: “N[n]ayogera mu mutima gwange nti Kale nno, naakukema n’ebinyumu; kale beera n’essanyu: era, laba, n’ekyo nga bwe butaliimu. N[n]ayogera ku nseko nti Ziraluse: ne ku binyumu nti Bikola ki?” (Omubuulizi 2:1, 2) Okusinziira ku Baibuli, essanyu lye tufuna mu by’amasanyu lya kaseera buseera. Naye ate kiri kitya ku kukola emirimu? Tuweereddwa omulimu ogusingirayo ddala obukulu—omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Bwe tubuulira abantu obubaka obuli mu Baibuli, tuba tukola omulimu oguyinza okulokola obulamu bwaffe n’obw’abalala. (1 Timoseewo 4:16) Okuva bwe kiri nti ‘okugaba kuleeta essanyu okusinga okuweebwa,’ bwe ‘tukolera awamu ne Katonda’ tufuna essanyu ng’eryo. (1 Abakkolinso 3:9; Ebikolwa 20:35) Omulimu guno gutuyamba okuba n’ekigendererwa mu bulamu era gusobozesa Omutonzi waffe okuddamu oyo amuvuma, Setaani Omulyolyomi. (Engero 27:11) Mazima ddala, Yakuwa atulaze nti bwe tumwemalirako tusobola okufuna essanyu erya nnamaddala era ery’olubeerera.—1 Timoseewo 4:8.
13. (a) Lwaki twandyenyumiririzza mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda? (b) Oganyuddwa otya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda?
13 Tulina enteekateeka ennungi ey’okutendekebwa. Gerhard aweereza ng’omukadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa, ayogera bw’ati ku myaka gye egy’obuvubuka: “Bwe nnali nkyali muvubuka, nnali sisobola kwogera bulungi. Bwe nnatyanga, saasobolanga kwogera mu ngeri etegeerekeka era nnatandikanga okunanaagira. Nnawulira nti siri mwogezi mulungi era ekyo kyammalangamu amaanyi. Bazadde bange baakola enteekateeka ne bantwala mu ssomero eriyigiriza okwogera naye ekyo tekyannyamba. Ekizibu kyange kyali ku ndowooza gye nnalina so si ku kuba nti nnali simanyi kwogera. Kyokka, waaliwo enteekateeka ennungi ennyo okuva eri Yakuwa—Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Okuyingira mu ssomero lino kyanyamba okufuna obuvumu. Nnafubanga nnyo okussa mu nkola bye nnali njiga era ekyo kyanyamba nnyo. Nnaggwamu okutya ne ntandikwa okwogera obulungi, era ekyo kyansobozesa okubuulira n’obuvumu. Era kati nsobola bulungi okuwa emboozi za bonna. Nneebaza nnyo Yakuwa eyannyamba okuyiga okwogera obulungi okuyitira mu ssomero eryo.” Tetusanyuka nnyo olw’engeri Yakuwa gy’atutendekamu okukola omulimu gwe?
14, 15. Kiki ekiyinza okutuyamba bwe tubeera mu biseera ebizibu? Waayo ekyokulabirako.
14 Tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa n’obuwagizi bwa baganda baffe mu nsi yonna. Katrin abeera mu Bugirimaani, yeeraliikirira nnyo bwe yawulira alipoota ekwata ku mataba agaali mu kitundu ekimu eky’omu Asia agaaleetebwa musisi ow’omu nnyanja. Akatyabaga ako we kaabeererawo, muwala we yali akyaddeko mu Thailand. Okumala essaawa 32 Katrin yali tamanyi obanga muwala we yali akyali mulamu obanga yali omu ku abo abaali batuusiddwako ebisago oba abafudde. Nga Katrin yasanyuka nnyo bwe baamukubira essimu ne bamutegeeza nti muwala we akyali mulamu!
15 Kiki ekyayamba Katrin mu biseera ebyo ebizibu bye yalimu? Agamba bw’ati: “Ekiseera ekyo kyonna nnalinga nsaba Yakuwa. Buli lwe nnasabanga Yakuwa, nnafuna amaanyi n’emirembe mu mutima. Ate era ab’oluganda baankyaliranga ne banzizaamu amaanyi.” (Abafiripi 4:6, 7) Nga yandiweddemu nnyo amaanyi singa teyatuukirira Yakuwa mu kusaba mu kiseera ekyo ekizibu era singa ab’oluganda tebaamubudaabuda! Kikulu nnyo okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era n’Omwana we awamu ne Bakristaayo bannaffe.
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti essuubi ery’okuzuukira lya muwendo nnyo.
16 Essuubi ery’okuddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa. (Yokaana 5:28, 29) Omuvubuka ayitibwa Matthias yakulira mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa. Olw’okuba teyasiima mazima, yava mu kibiina Ekikristaayo ng’akyali mu myaka gye egy’obutiini. Agamba bw’ati: “Ssaatulako ne kitange ne tukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu. Buli lwe twatuulanga okwogera, twakaayananga bukaayanyi. Wadde kyali kityo, taata wange yanjagalizanga ebirungi. Kyokka, mu kiseera ekyo nnalemererwa okukitegeera nti yali anjagala nnyo. Mu 1996, bwe nnali nga ntudde okumpi n’ekitanda kye, nnamukwata ku mukono ne nnyungula amaziga, era ne musaba ansonyiwe olw’ebyo byonna bye nnali nkoze era ne mugamba nti mwagala nnyo. Kyokka, yali takyasobola kuwulira kye mugamba. Oluvannyuma lw’okulwalira akabanga katono, yassa ogw’enkomerero. Bwe ndisisinkana kitange ng’azuukidde, ndimwetondera era ndimwebaza olw’ebirungi bye yankolera. Ate era ajja kuba musanyufu okukimanya nti mpeereza ng’omukadde era nti nze awamu ne mukyala wange tuweereza nga ba payoniya.” Ng’essuubi ery’okuzuukira lya muwendo nnyo gye tuli!
“Tagatta Buyinike Bwonna Wamu Nagwo”
17. Tuganyulwa tutya bwe tufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa?
17 Ng’ayogera ku Kitaawe ow’omu ggulu, Yesu Kristo yagamba nti: “Enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Matayo 5:45) Bwe kiba nti Yakuwa Katonda alabirira abatali batuukirivu n’ababi, talisinga nnyo okulabirira abo abatambulira mu bugolokofu? Zabbuli 84:11, NW wagamba nti: “Yakuwa tammenga kintu kirungi kyonna abo abatambulira mu bugolokofu.” Bwe tufumiitiriza ku ngeri ey’enjawulo Yakuwa gy’alabiriramu abo abamwagala, kituleetera okubugaana essanyu.
18. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti emikisa gya Yakuwa tegireeta buyinike bwonna? (b) Lwaki abaweereza ba Katonda abeesigwa babonaabona?
18 “Omukisa gwa [Yakuwa]”—gwe gusobozesezza abantu be okukulaakulana mu by’omwoyo. Ate era tukakasibwa nti “tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.” (Engero 10:22) Kati ate lwaki abantu ba Katonda abeesigwa bangi bafuna ebizibu? Tufuna ebizibu lwa nsonga satu enkulu. (1) Olw’okuba tetutuukiridde. (Olubereberye 6:5; 8:21; Yakobo 1:14, 15) (2) Olwa Setaani ne dayimooni be. (Abaefeso 6:11, 12) (3) Olw’ensi embi. (Yokaana 15:19) Wadde nga Yakuwa akkiriza ebintu ebibi okututuukako, si y’abireeta. Mu butuufu “buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow’ebyaka.” (Yakobo 1:17) Emikisa gya Yakuwa tegireeta buyinike bwonna.
19. Kiki abo abatambulira mu bugolokofu kye bajja okufuna?
19 Okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo, kitwetaagisa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Bwe tuba n’enkolagana ennungi naye, tuba ‘tweteerawo eky’okuyimako ekirungi eky’ebiro ebigenda okujja, tulyoke tunywezenga obulamu obwa nnamaddala,’ kwe kugamba obulamu obutaggwaawo. (1 Timoseewo 6:12, 17-19) Mu nsi ya Katonda empya, tujja kufuna emikisa gy’eby’omwoyo n’obulamu obulungi. Abo ‘abawuliriza eddoboozi lya Yakuwa’ bajja kufuna obulamu obwa nnamaddala. (Ekyamateeka 28:2) Ka tweyongere okuba abamalirivu okutambulira mu bugolokofu.
Biki by’Oyize?
• Lwaki si kya magezi okumalira ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso?
• Mikisa ki gye tufuna mu kiseera kino?
• Lwaki abaweereza ba Katonda abeesigwa babonaabona?