Lwaki Kikulu Okutegeera Omulabe wa Kristo?
Edda ennyo, omutume yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mwawulira ng’omulabe wa Kristo ajja.” (1 Yokaana 2:18) Ebigambo ebyo nga biwuniikiriza! Okumala ebyasa, abantu babadde beebuuza kye bitegeeza. Omulabe wa Kristo y’ani? Alijja ddi? Alikola ki ng’azze?
ABANTU bangi bagambiddwa okuba abalabe ba Kristo. Edda, mu baayitibwa “abalabe ba Kristo” mwalimu Abayudaaya, Bappaapa, ne bakabaka ba Ruumi. Ng’ekyokulabirako, Empula Frederick II (1194-1250) bwe yagaana okulwanirako Abakatoliki, Ppaapa Gregory IX yamuyita omulabe wa Kristo era n’amugoba mu Bukatoliki. Ne Innocent IV eyaddira Gregory mu bigere, naye yamugoba. Kino kyaleetera Frederick naye okuyita Innocent omulabe wa Kristo.
Mu Baibuli omutume Yokaana ye yekka eyakozesa ebigambo “omulabe wa Kristo.” Mu bbiri ku bbaluwa ze, akozesa ebigambo bino emirundi etaano, egimu nga biraga nti ali omu ate awalala nga asukka mu omu. Ennyiriri ebigambo bino mwe biri, ziri mu kasanduuko akali ku lupapula oluddako. Ennyiriri zino ziraga nti omulabe wa Kristo mulimba, era nti aluubirira okwonoona enkolagana y’omuntu ne Kristo era ne Katonda. Y’ensonga lwaki omutume yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi.”—1 Yokaana 4:1.
Ne Yesu yayogera ku balimba, oba bannabbi ab’obulimba, ng’agamba nti: “[Bajjira] mu byambalo by’endiga gye muli, naye munda gy’emisege egisikula. Mulibategeerera ku bibala byabwe.” (Matayo 7:15, 16) Yesu naye yali alabula abagoberezi be ku mulabe wa Kristo ono? Ka tulabe engeri gye tusobola okutegeera omulimba ono ow’ettima.