LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 12/1 lup. 4-7
  • Omulabe wa Kristo Ayanikibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omulabe wa Kristo Ayanikibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omulabe wa Kristo, Mulabe wa Bakristaayo
  • Basaasaanya Enjigiriza ez’Obulimba
  • Abalabe ba Kristo Tebakkiriza Bwakabaka bwa Katonda
  • Omulabe wa Kristo ‘Atakula Amatu’
  • “Mukemenga Omwoyo”
  • Omulabe wa Kristo y’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Lwaki Kikulu Okutegeera Omulabe wa Kristo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 12/1 lup. 4-7

Omulabe wa Kristo Ayanikibwa

WANDIKOZE ki okwekuuma singa omanya nti ekitundu mw’obeera kizindiddwa obulwadde obw’akabi? Oboolyawo wandifuddeyo okulya emmere eyamba omubiri gwo okulwana obutakwatibwa bulwadde obwo era n’okwewala abo ababulina. Tuteekwa okukola kye kimu mu ngeri ey’eby’omwoyo. Ebyawandiikibwa bitugamba nti omulabe wa Kristo ‘kaakano wali mu nsi.’ (1 Yokaana 4:3) Okusobola okwewala okukwatibwa “obulwadde,” kyetaagisa okumanya “abo ababulina” era ne tubeewala. Ekirungi Baibuli etuyamba okutegeera ensonga eno.

Amakulu g’ebigambo “omulabe wa Kristo” gazingiramu abo bonna abaziyiza Kristo, abeefuula ye, oba abeegamba nti bamukiikirira. Yesu yagamba: “Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.”​—Lukka 11:23.

Yokaana we yawandiikira ku mulabe wa Kristo waali wayise emyaka egisukka mu 60 oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukira. N’olwekyo kitegeeza nti ebikolwa by’omulabe wa Kristo abyolekeza bagoberezi ba Yesu abeesigwa abali ku nsi.​—Matayo 25:40, 45.

Omulabe wa Kristo, Mulabe wa Bakristaayo

Yesu yalabula abagoberezi nti ensi okutwalira awamu yandibakyaye. Yabagamba: “Balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange. Ne bannabbi bangi ab’obulimba balijja, balikyamya bangi.”​—Matayo 24:9, 11.

Olw’okuba abayigirizwa ba Yesu bayigganyizibwa ‘okubalanga erinnya lye,’ abo ababayigganya ddala balabe ba Kristo. ‘Bannabbi ab’obulimba’ ng’abamu ku bano baaliko Abakristaayo, nabo bali mu ttuluba lino. (2 Yokaana 7) Yokaana yawandiika nti ‘abalabe ba Kristo bangi bava mu ffe balabisibwe bonna nga si b’ewaffe’​—1 Yokaana 2:18, 19.

Ebigambo bya Yesu ne Yokaana bikiraga bulungi nti omulabe wa Kristo si muntu omu naye bangi. Ate era, olw’okuba bannabbi ba bulimba, ekimu ku bigendererwa byabwe ebikulu kwe kubuzaabuza abantu ku bikwata ku Katonda. Bukodyo ki bwe bakozesa?

Basaasaanya Enjigiriza ez’Obulimba

Omutume Pawulo yalabula muweereza munne Timoseewo okwegendereza enjigiriza za bakyewaggula nga Kumenayo ne Fireeto, abaayogeranga ‘ebigambo ebirya nga kookolo.’ Yagattako nti: “[Abasajja bano] baakyama mu mazima, nga boogera ng’okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.” (2 Timoseewo 2:16-18) Kirabika, Kumenayo ne Fireeto baali bayigiriza nti okuzuukira kwali kwa kabonero era nti Abakristaayo baali baazuukira dda mu ngeri ey’eby’omwoyo. Kituufu nti omuntu bw’afuuka omuyigirizwa wa Yesu owa nnamaddala aba afuuse mulamu mu maaso ga Katonda nga Pawulo bwe yakiraga. (Abaefeso 2:1-5) Kyokka, enjigiriza ya Kumenayo ne Fireeto yali ewakanya ekisuubizo kya Yesu eky’okuzuukiza abafu mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda.​—Yokaana 5:28, 29.

Enjigiriza y’okuzuukira okw’akabonero oluvannyuma yatumbulwa ekibiina ky’eddiini ekyali kikkiriza nti okumanya kusobola kufunibwa mu ngeri abantu gye batayinza kutegeera. Ab’ekibiina kino baagattika obufirosoofo bw’Abayonaani, enjigiriza z’Obukristaayo obw’obulimba, n’ez’amadiini ag’omu nsi z’omu buva njuba bwa Asiya. Ng’ekyokulabirako, baali bakkiriza nti buli kintu ekirina omubiri kiba kibi, n’olwekyo Yesu teyajja na mubiri naye yalabika bulabisi nga agulina. Ezo ze njigiriza ze nnyini omutume Yokaana ze yali alabuddeko.​—1 Yokaana 4:2, 3; 2 Yokaana 7.

Enjigiriza endala ey’obulimba eyatandikibwawo nga wayise ebyasa by’emyaka ye Tiriniti, amakulu nti Yesu Mwana wa Katonda ate era nga ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Mu kitabo kye ekiyitibwa The Church of the First Three Centuries, Dr. Alvan Lamson agamba nti enjigiriza ya Tiriniti “tesibuka mu Byawandiikibwa by’Abayudaaya oba eby’Abakristaayo; era nti yakulaakulanyizibwa era n’eyingizibwa mu Bukristaayo abantu abaali bayitibwa Platonizing Fathers.” Bano be baali baani? Baali abakulembeze b’eddiini bakyewaggula abaali baagala ennyo enjigiriza za Plato, omufirosoofo Omuyonaani.

Okuyingizibwa kw’enjigiriza ya Tiriniti mu Bukristaayo kwaviirako abantu okulemererwa okutegeera ekifo kya Katonda n’eky’Omwana we. (Yokaana 14:28; 15:10; Abakkolosaayi 1:15) Teeberezaamu, omuntu ayinza atya ‘okusemberera Katonda,’ ng’Ebyawandiikibwa bwe bitukubiriza, ng’ate tategeerekeka?​—Yakobo 4:8.

Ekirala, abavvuunuzi bangi erinnya Katonda, Yakuwa, baliggye mu nkyusa zaabwe eza Baibuli, wadde nga mu kusooka lyalimu emirundi egisukka mu 7,000! Ng’ogyeko okugamba nti Katonda ali mu Busatu, okuyigiriza nti talina linnya kiba kikolwa kya bunyoomi bwa maanyi nnyo eri Omutonzi waffe n’Ekigambo kye. (Okubikkulirwa 22:18, 19) Ate era, okussa ebitiibwa nga Mukama oba Katonda mu bifo awabadde erinnya lye, kiba kikontana ne ssaala ya Yesu egamba nti: “Erinnya lyo litukuzibwe.”​—Matayo 6:9.

Abalabe ba Kristo Tebakkiriza Bwakabaka bwa Katonda

Abalabe ba Kristo babuzaabuzizza nnyo abantu naddala “mu nnaku ez’oluvannyuma” ze tulimu kati. (2 Timoseewo 3:1) Ekimu ku bigendererwa byabwe kwe kulimba abantu ku bikwata ku kifo kya Yesu mu Bwakabaka bwa Katonda, gavumenti y’omu ggulu eneetera okufuga ensi yonna.​—Danyeri 7:13, 14; Okubikkulirwa 11:15.

Ng’ekyokulabirako, bannaddiini abamu bayigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gya bantu, ng’ate Ebyawandiikibwa si bwe bigamba. (Danyeri 2:44) Abalala bagamba nti Yesu afuga ng’ayitira mu gavumenti z’abantu. So ng’ate, Yesu yagamba nti: ‘Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.’ (Yokaana 18:36) Mu butuufu, Setaani ye ‘mufuzi w’ensi’ era ye “katonda ow’emirembe gino,” so si Kristo. (Yokaana 14:30; 2 Abakkolinso 4:4) Eno ye nsonga lwaki Yesu anaatera okuzikiriza gavumenti z’abantu zonna, ye afuuke Omufuzi w’ensi yonna. (Zabbuli 2:2, 6-9; Okubikkulirwa 19:11-21) Abantu basaba ekyo okubaawo mu Ssaala ya Mukama waffe nga bagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.”​—Matayo 6:10.

Olw’okuba bawagira eby’obufuzi, abakulembeze b’amadiini bangi baziyizza era ne bayigganya abo abalangirira Obwakabaka bwa Katonda. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku mwenzi ow’akabonero​—“Babulooni Ekinene”​—‘atamidde omusaayi gw’abatukuvu, n’omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu.’ (Okubikkulirwa 17:4-6) Era eyenda mu ngeri ey’eby’omwoyo ng’awagira “bakabaka” b’ensi, oba abafuzi, asobole okubaako by’abafunamu. Omukazi ono ow’akabonero ge madiini ag’obulimba agali mu nsi. Omukazi ono, y’omu ku balabe ba Kristo lukulwe.​—Okubikkulirwa 18:2, 3; Yakobo 4:4.

Omulabe wa Kristo ‘Atakula Amatu’

Ng’oggyeko okusambajja ebyo Baibuli by’eyigiriza, bangi abeeyita Abakristaayo balese emisingi gya Baibuli egy’empisa ne bagoberera egy’ensi. Ekigambo kya Katonda kyalagula ku nsonga eno nti: “Ebiro birijja [abantu abeeyita abaweereza ba Katonda] lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo be kuli.” (2 Timoseewo 4:3) Bannaddiini bano era boogerwako ‘ng’abatume ab’obulimba, abakozi ab’obukuusa, abeefaananya ng’abatume ba Kristo.’ Baibuli era egamba nti: “Enkomerero yaabwe eribeera ng’ebikolwa byabwe.”​—2 Abakkolinso 11:13-15.

Mu bikolwa byabwe mulimu “obukaba,” ekiraga obutatwala mpisa nnungi ng’ekikulu. (2 Peetero 2:1-3, 12-14) Si kituufu nti bannaddiini n’abagoberezi baabwe abeenyigira oba abattira ku liiso ebikolwa ebitali bya Kikristaayo, gamba ng’okulya ebisiyaga oba obwenzi ebweru w’obufumbo, beeyongedde obungi? Geraageranya emitindo gy’empisa egyo n’ekyo Baibuli ky’egamba mu Eby’Abaleevi 18:22; Abaruumi 1:26, 27; 1 Abakkolinso 6:9, 10; Abaebbulaniya 13:4; ne Yuda 7.

“Mukemenga Omwoyo”

Nga bwe tulabye, tulina okufaayo ku bigambo by’omutume Yokaana ebitukubiriza okutwala enjigiriza zaffe ng’ekintu ekikulu. Yawandiika nti: “Temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi.”​—1 Yokaana 4:1.

Lowooza ku kyokulabirako ekirungi eky’abantu b’omu kibuga Beroya mu kyasa ekyasooka. Bano “bakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo [Pawulo ne Siira bye baayogera] bwe biri bwe bityo.” (Ebikolwa 17:10, 11) Yee, wadde nga abantu abo baali baagala okuyiga, baakakasa nti bye baayigirizibwa byali biviira ddala mu Byawandiikibwa.

N’olwa leero, Abakristaayo aba nnamaddala tebagendera ku ndowooza y’abasinga, wabula banywerera ku mazima ga Baibuli. Omutume Pawulo yawandiika: “Era kino kye nneeyongera okusaba nti okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga nga mulina okumanya okutuufu n’okutegeera.”​—Abafiripi 1:9, NW.

Bw’oba obadde tonnakikola, kifuule kigendererwa kyo okufuna “okumanya okutuufu n’okutegeera” ng’oyiga ekyo kyennyini Baibuli ky’eyigiriza. Abo abakoppa ekyokulabirako ky’Ababeroya tebalimbibwa ‘bigambo ebyagunjibwa’ abalabe ba Kristo. (2 Peetero 2:3) Wabula, basumululwa bwe bafuna amazima agakwata ku Kristo ow’amazima n’abagoberezi be abatuufu.​—Yokaana 8:32, 36.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

BAIBULI KY’EYOGERA KU MULABE WA KRISTO

“Abaana abato, kye kiseera eky’enkomerero, era nga bwe mwawulira ng’omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky’enkomerero.”​​—1 Yokaana 2:18.

“Omulimba y’ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n’Omwana.”​​—1 Yokaana 2:22.

“Buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw’omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi.”​​—1 Yokaana 4:3.

“Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng’ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.”​​—2 Yokaana 7.

[Akasanduuko/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

OMULIMBA EYEEYOLEKA MU NGERI EZ’ENJAWULO

Ebigambo “omulabe wa Kristo” bitegeeza abo bonna abatakkiriza Baibuli ky’eyogera ku Kristo, abaziyiza Obwakabaka bwe, n’abayigganya abagoberezi be. Era bitwaliramu abantu kinnoomu, ebibiina, n’amawanga ageegamba nti gakiikirira Kristo oba nti gasobola okukola omulimu gwa Masiya ogw’okuleeta emirembe n’obutebenkevu​—ekintu ekisobola okukolebwa Kristo yekka.

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Augustine: ©SuperStock/age fotostock

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Okufaananako ab’omu Beroya, tulina ‘okunoonya mu Byawandiikibwa buli lunaku’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share