LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 1/1/07 lup. 18-22
  • Yakuwa Ajja ‘Kusala Omusango mu Bwenkanya’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Ajja ‘Kusala Omusango mu Bwenkanya’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okulabula eri Abo Abandibaddewo ‘ng’Omwana w’Omuntu Azze’
  • Obwetaavu ‘bw’Okusaba Bulijjo’
  • “Yoleka Obwenkanya ng’Okola ku Nsonga Zange”
  • ‘Alisala Omusango mu Bwenkanya’
  • “Ddala Alisanga Okukkiriza nga Kuno ku Nsi?”
  • Ebintu Bibiri Ebikulu—Okusaba n’Obwetoowaze
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • “Amakubo Ge Gonna ga Bwenkanya”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Yesu “Alissaawo Obwenkanya mu Nsi”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • ‘Beera Mwenkanya ng’Otambula ne Katonda’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 1/1/07 lup. 18-22

Yakuwa Ajja ‘Kusala Omusango mu Bwenkanya’

‘Katonda talisala musango ku lw’abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro?’​—LUKKA 18:7, NW.

1. Baani abakuzzaamu amaanyi, era lwaki?

MU BAJULIRWA ba Yakuwa okwetooloola yonna ensi, mu mulimu abasajja n’abakazi abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Olinayo abamu ku bano b’omanyi? Oyinza okuba omanyiiyo mwanyinnaffe omukulu mu myaka abadde aweereza okumala emyaka mingi era nga tayosa kubaawo mu nkuŋŋaana. Oba oyinza okuba ng’omanyi ow’oluganda omukulu mu myaka ng’amaze ebbanga ddene nga buli wiiki awagira obuweereza bw’ennimiro mu kibiina ky’alimu. Bangi ku b’oluganda bano abeesigwa baali balowooza nti ekiseera kye tulimu we kyandituukidde nga Kalumagedoni yajja dda. Kyokka, wadde ng’ensi eno embi ekyaliwo, tekibaleetedde kulowooza nti Yakuwa tajja kutuukiriza bisuubizo bye oba okukendeera mu bumalirivu bwabwe ‘okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero.’ (Matayo 24:13) Okukkiriza okw’amaanyi abaweereza ba Yakuwa bano abeesigwa kwe balina kuzzaamu amaanyi buli omu mu kibiina.​—Zabbuli 147:11.

2. Kiki ekitukwasa ennaku?

2 Kyokka oluusi tuyinza okulabayo bannaffe abamu ate abazze obuzzi emabega. Abajulirwa abamu baali banyiikivu okumala ekiseera naye mpolampola okukkiriza kwabwe ne kugenda nga kuddirira era ne beesalira ddala ku kibiina Ekikristaayo. Kitukwasa ennaku okulaba nga bannaffe bano baava ku Yakuwa, n’olwekyo twagala nnyo okuyamba buli ‘ndiga eyabula’ okudda mu kisibo. (Zabbuli 119:176; Abaruumi 15:1) Eky’okuba nti abamu basigala nga banywevu mu kukkiriza ate abalala ne baddirira mu kukkiriza, kireetawo ebibuuzo. Kiki ekisobozesa Abajulirwa bangi okusigala nga banyweredde ku bisuubizo bya Yakuwa ate abalala ne baddirira? Ffe kinnoomu tuyinza kukola ki okusigala nga tukyalina okukkiriza okunywevu nti ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu’ luli kumpi okujja? (Zeffaniya 1:14) Ka twekenneenye ekyokulabirako ekiri mu Njiri ya Lukka.

Okulabula eri Abo Abandibaddewo ‘ng’Omwana w’Omuntu Azze’

3. Okusingira ddala, baani abaganyulwa mu lugero lwa nnamwandu n’omulamuzi, era lwaki?

3 Mu Lukka essuula 18, mulimu olugero lwa Yesu olukwata ku nnamwandu n’omulamuzi. Lufaananamu n’ekyokulabirako ky’omusajja eyali afunye omugenyi, kye twekeneenya mu kitundu ekivuddeko. (Lukka 11:5-13) Kyokka, ennyiriri eziriraanyewo ziraga nti olugero luno okusingira ddala lukwata ku abo abandibaddewo ‘ng’Omwana w’omuntu azze’ mu buyinza bwe nga kabaka, nga kino kyaliwo okuva mu 1914.​—Lukka 18:8.a

4. Kiki Yesu kye yali ayogedde nga tannaleeta lugero oluli mu Lukka essuula 18?

4 Nga tannaleeta lugero olwo, Yesu yakiraga nti obujulizi obwandiraze nti waali nga kabaka bwali bujja kweyoleka buli wamu ‘ng’okumyansa kw’eggulu bwe kubaawo ku luuyi olumu olw’eggulu ne kutangaaza n’oluuyi olulala.’ (Lukka 17:24; 21:10, 29-33) Kyokka, abantu abasinga obungi abandibaddewo mu ‘kiseera eky’enkomerero’ tebanditaddeyo mwoyo ku bujulizi buno obw’enkukunala. (Danyeri 12:4) Lwaki? Lwa nsonga y’emu eyalemesa abantu ab’omu kiseera kya Nuuwa n’ekya Lutti okussaayo omwoyo ku kulabula okwava eri Yakuwa. Mu biseera byo, abantu ‘baali nga balya, nga banywa, nga bagula, era nga bazimba okutuukira ddala ku lunaku lwe baazikirizibwa.’ (Lukka 17:26-29) Baazikirizibwa olw’okuba baali beemalidde ku bintu ebyo ebya bulijjo mu bulamu ne balemwa okussaayo omwoyo ku kukola Katonda by’ayagala. (Matayo 24:39) Ne leero, okutwalira awamu abantu beemalidde ku bintu eby’obulamu obwa bulijjo ne kiba nti tebalaba bujulizi obulaga nti enkomerero y’ensi eno etatya Katonda eri kumpi.​—Lukka 17:30.

5. (a) Baani Yesu be yalabula era lwaki? (b) Kiki ekiviiriddeko abamu okuddirira mu kukkiriza?

5 Kya lwatu nga Yesu yakiraba nti n’abagoberezi be baali basobola okuwugulibwa ensi ya Setaani, ne batuuka ‘n’okuddira ebintu bye baaleka ennyuma.’ (Lukka 17:22, 31) Ate nga ddala kino kituuse ne ku Bakristaayo abamu. Okumala emyaka, abalinga abo baali beesunga olunaku Yakuwa lw’alireeta enkomerero y’ensi eno embi. Kyokka, Kalumagedoni bw’atajjira mu kiseera kye baali bamusuubiriramu, baggwaamu amaanyi. Mpolampola baagenda bakendeeza ku buweereza bwabwe era ne batandika okwemalira ku bintu ebirala eby’obulamu obwa bulijjo era bwe batyo ne baba nga tebakyalina biseera bya kwenyigira mu by’omwoyo. (Lukka 8:11, 13, 14) Kya ddaaki ‘baddira ebintu bye baali balese ennyuma.’ Nga kya nnaku nnyo!

Obwetaavu ‘bw’Okusaba Bulijjo’

6-8. (a) Nnyonnyola ebiri mu lugero lwa nnamwandu n’omulamuzi. (b) Kya kuyiga ki Yesu kye yalaga ekyali mu lugero olwo?

6 Tuyinza kukola ki okukakasa nti okukkiriza okunywevu kwe tulina mu bisuubizo bya Yakuwa tekuddirira? (Abaebbulaniya 3:14) Yesu yaddamu ekibuuzo ekyo bwe yali yaakamala okulabula abayigirizwa be obutaddayo nate mu nsi ya Setaani embi.

7 Lukka agamba nti Yesu ‘yabagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, awatali kukoowa.’ Yesu yagamba: “Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatya Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa; era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; n’ajjanga w’ali ng’agamba nti Nnamula [“Yoleka obwenkanya ng’okola ku nsonga zange,” NW ] n’omulabe wange. N’atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n’ayogera munda mu ye nti Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa; Naye olw’okunteganya nnamwandu ono kw’anteganya nnaamulamula [“nja kukola ku nsonga ze mu bwenkanya,” NW], aleme okuntengezza ng’ajja olutata.”

8 Ng’amaze okugera olugero olwo, Yesu yalaga eky’okuyiga ekirulimu: “Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky’agamba. Kale ne Katonda taliramula [“talisala musango mu bwenkanya ku lwa,” NW] abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro, [wadde] ng’akya[ba]gumiikiriza? Mbagamba nti Alibalamula mangu [“Alisala omusango mangu ku lwabwe,” NW]. Naye Omwana w’omuntu bw’alijja, aliraba okukkiriza ku nsi?”​—Lukka 18:1-8.

“Yoleka Obwenkanya ng’Okola ku Nsonga Zange”

9. Nsonga ki enkulu eyogerwako mu lugero lwa nnamwandu n’omulamuzi?

9 Ensonga enkulu mu lugero luno yeeyoleka bulungi. Yesu abyogerako era n’abali mu lugero bonna bagyogerako. Nnamwandu yeegayirira nti: “Yoleka obwenkanya ng’okola ku nsonga zange.” Omulamuzi yagamba nti: “Nja kukola ku nsonga ze mu bwenkanya.” Yesu yabuuza nti: “Katonda talisala musango mu bwenkanya?” Era ng’ayogera ku Yakuwa, Yesu yagamba nti: “Alisala mangu omusango mu bwenkanya ku lwabwe.” (Lukka 18:3, 5, 7, 8) Ddi Katonda lw’agenda ‘okusala omusango’ ogwo?

10. (a) Mu kyasa ekyasooka, ennaku ez’omusango zaaliwo ddi? (b) Mu kiseera kyaffe olunaku olw’omusango lunaabaawo ddi, era mu ngeri ki?

10 Mu kyasa ekyasooka, ennaku ez’omusango oba ‘ennaku ez’okuwalana eggwanga’ zaatuuka mu 70 C.E., Yerusaalemi wamu ne yeekaalu bwe byazikirizibwa. (Lukka 21:22) Mu kiseera kyaffe, kino kijja kubaawo ku ‘lunaku olukulu olwa Yakuwa.’ (Zeffaniya 1:14; Matayo 24:21) Ku lunaku olwo, Yakuwa ajja ‘kubonereza abo ababonyaabonya’ abantu be “nga [Yesu Kristo] awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.”​—2 Abasessaloniika 1:6-8; Abaruumi 12:19.

11. Kitegeeza ki nti Yakuwa ajja kusala “mangu” omusango mu bwenkanya?

11 Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti Yakuwa ajja kusala “mangu” omusango mu bwenkanya? Ekigambo kya Katonda kiraga nti ‘wadde Yakuwa mugumiikiriza,’ olunaku lwe olw’omusango lujja kujja ng’ekiseera kye ekigereke kituuse. (Lukka 18:7, 8; 2 Peetero 3:9, 10) Mu biseera bya Nuuwa, Amataba bwe gajja, gaazikiriza ababi mu bwangu. Ne mu biseera bya Lutti, omuliro bwe gwava mu ggulu, ababi baasaanawo. Yesu yagamba nti: “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w’omuntu lw’alibikkulibwa.” (Lukka 17:27-30) Ne ku olwo, ababi bajja ‘kuzikirizibwa mangu.’ (1 Abasessaloniika 5:2, 3) Mazima ddala, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa, mu bwenkanya bwe, tajja kukkiriza nsi ya Setaani kweyongera kubaawo wadde olunaku olumu bwe luti ng’ekiseera kye eky’okusala omusango kituuse.

‘Alisala Omusango mu Bwenkanya’

12, 13. (a) Olugero lwa Yesu olwa nnamwandu n’omulamuzi lulimu kya kuyiga ki? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuwuliriza okusaba kwaffe era aleete olunaku lwe olw’omusango?

12 Olugero lwa Yesu olwa nnamwandu n’omulamuzi lulimu ebintu ebirala ebikulu. Bwe yali alaga eky’okuyiga ekirulimu, Yesu yagamba: “Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky’agamba. Kale ne Katonda taliramula [“talisala musango mu bwenkanya ku lwa,” NW ] abalonde be?” Kya lwatu, Yesu yali tageraageranya Yakuwa na mulamuzi oli nga gy’obeera nti Katonda bw’atyo bw’ayisa abantu abamukkiririzaamu. Wabula, yali alina ky’ayigiriza abagoberezi be ku Yakuwa, ng’abalaga enjawulo eriwo wakati wa Katonda n’omulamuzi oyo. Njawulo ki eriwo wakati waabwe?

13 Omulamuzi ow’omu lugero lwa Yesu ‘teyali mutuukirivu’ so ng’ate “Katonda ye musazi w’emisango omutuukirivu.” (Zabbuli 7:11; 33:5) Omulamuzi oyo teyalina kulumirirwa kwonna eri nnamwandu, naye Yakuwa alumirirwa buli muntu kinnoomu. (2 Ebyomumirembe 6:29, 30) Omulamuzi oyo yali tayagala kuyamba nnamwandu, naye ye Yakuwa ayagala nnyo okuyamba abamuweereza. (Isaaya 30:18, 19) Wano tuyigawo ki? Oba ng’omulamuzi ataali mutuukirivu yawuliriza okusaba kwa nnamwandu era n’akola ku nsonga ze, Yakuwa talisingawo nnyo okuwulira okusaba kw’abantu be era n’asala omusango ku lwabwe mu bwenkanya.​—Engero 15:29.

14. Lwaki tetusaanidde kulekera awo kukkiriza nti olunaku lwa Yakuwa olw’omusango lunaatera okujja?

14 N’olwekyo, abo abalekera awo okukkiriza nti olunaku lwa Katonda olw’omusango lunaatera okujja, bakola ensobi ya maanyi. Lwaki? Bwe balowooza nti ‘olunaku olukulu olwa Yakuwa’ teruli kumpi, babanga abagamba nti Yakuwa tatuukiriza bintu nga bw’asuubiza. Naye tewali asaanidde kubuusabuusa bwesigwa bwa Katonda. (Yobu 9:12) Ekyebuuzibwa kiri nti, ffe kinnoomu okukkiriza kwaffe kunaasigala nga kunywevu? Kino kye kibuuzo kyennyini Yesu kye yabuuza ku nkomerero y’olugero lwa nnamwandu n’omulamuzi.

“Ddala Alisanga Okukkiriza nga Kuno ku Nsi?”

15. (a) Kibuuzo ki Yesu kya yabuuza era lwaki? (b) Kiki kye tusaanidde okwebuuza?

15 Yesu yabuuza nti: “Omwana w’omuntu bw’alijja, ddala alisanga okukkiriza nga kuno ku nsi?” (Lukka 18:8, NW) Ebigambo “okukkiriza nga kuno” biraga nti yali tayogera ku kukkiriza okw’engeri yonna, wabula ku kukkiriza ng’okwo nnamwandu kwe yalina. Yesu teyaddamu kibuuzo ekyo. Naye yakibuuza okusobola okuyamba abayigirizwa be okufumiitiriza ku bunywevu bw’okukkiriza kwabwe. Kwali kutandise okuddirira ne kiba nti baali banaatera okuddayo mu bintu bye baali balese ennyuma? Oba baali balina okukkiriza ng’okwo nnamwandu kwe yalina? Naffe leero tuyinza okwebuuza, ‘Kukkiriza kwa ngeri ki “Omwana w’omuntu” kw’alaba mu mutima gwange?’

16. Kukkiriza kwa ngeri nnamwandu kwe yalina?

16 Ffe okusobola okuba mu abo abaliwonawo ku lunaku lwa Yakuwa olw’omusango, tulina okukola nga nnamwandu oyo. Kukkiriza kwa ngeri ki kwe yalina? Yalaga okukkiriza bwe ‘yagendanga ew’omulamuzi ng’amugamba nti Yoleka obwenkanya ng’okola ku nsonga zange.’ Nnamwandu oyo yeetayirira omulamuzi oyo ataali mutuukirivu ensonga ze zisobole okukolebwako mu bwenkanya. Mu ngeri y’emu, abaweereza ba Katonda leero basobola okuba n’obwesige nti Yakuwa ajja kusala omusango mu bwenkanya​—wadde nga kiyinza obutabaawo mu kiseera bo we bakisuubirira. Ate era, balaga obwesige bwe balina mu bisuubizo bya Yakuwa nga banyiikirira okusaba​—yee, nga ‘bamukaabirira emisana n’ekiro.’ (Lukka 18:7) Mu butuufu, singa Omukristaayo alekera awo okusaba Katonda okutaasa abantu be, ekyo kyandibadde kiraga nti abuusabuusa obanga ddala Yakuwa ajja kubaako ky’akolera abaweereza be.

17. Lwaki twandinyiikiridde okusaba era ne tuba n’okukkiriza okunywevu nti olunaku lwa Yakuwa olw’omusango lujja kujja?

17 Embeera ya nnamwandu oyo etulaga ensonga endala lwaki tusaanidde okunyiikirira okusaba. Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’embeera yaffe n’eyiye. Nnamwandu teyalekayo kugenda wa mulamuzi wadde tewaaliwo amukubiriza kukikola, naye ffe Ekigambo kya Katonda kitukubiriza bulijjo ‘okunyiikirira okusaba.’ (Abaruumi 12:12) Nnamwandu teyalina bukakafu nti ensonga ze zaali zijja kukolebwako, naye ffe Yakuwa atukakasizza nti ajja kusala omusango mu bwenkanya. Ng’ayitira mu nnabbi we, Yakuwa yagamba nti: “Newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.” (Kaabakuuku 2:3; Zabbuli 97:10) Nnamwandu teyalina muntu yenna amuwolereza mu maaso g’omulamuzi. Naye ffe tulina Yesu, “ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era [ng’]atuwolereza.” (Abaruumi 8:34; Abaebbulaniya 7:25) N’olwekyo, bwe kiba nti nnamwandu eyali mu mbeera enzibu ng’eyo yagendanga ew’omulamuzi entakera ensonga ye esobole okukolebwako mu bwenkanya, ffe tetwandisinzeewo nnyo okuba n’okukkiriza okunywevu nti olunaku lwa Yakuwa olw’okusala omusango luli kumpi!

18. Okusaba kunaatuyamba kutya okunyweza okukkiriza kwaffe era n’okuwonawo mu lutalo lwa Yakuwa?

18 Olugero luno olukwata ku nnamwandu lutuyigiriza nti waliwo akakwate ka maanyi wakati w’okusaba n’okukkiriza era nti bwe tunyiikirira okusaba kituyamba obutaddirira mu kukkiriza. Kya lwatu, okulaga obulazi abalala nti tusaba nnyo si kye kijja okutunyweza mu kukkiriza. (Matayo 6:7, 8) Bwe tusaba olw’okuba tukimanyi nti tewali kye tuyinza kukola awatali buyambi bwa Katonda, okusaba okwo kunyweza enkolagana yaffe ne Katonda awamu n’okukkiriza kwaffe. Ate era okuva bwe kiri nti okukkiriza kwetaagisa okusobola okulokolebwa, tekyewuunyisa nti Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okusabanga bulijjo awatali kukoowa’! (Lukka 18:1; 2 Abasessaloniika 3:13) Kyo kituufu nti okujja ‘kw’olunaku olukulu olwa Yakuwa’ tekujja kwesigama ku kusaba kwaffe. Lwo lujja kujja ka kibe nti tusaba lujje oba nedda. Naye okuwonawo kwaffe mu lutalo lwa Katonda kujja kusinziira ku bunywevu bw’okukkiriza kwaffe awamu n’okunyiikirira okusaba.

19. Tuyinza kukiraga tutya nti ddala tukkiriza nti Katonda ajja ‘kusala omusango ku lw’abantu be’?

19 Jjukira Yesu yabuuza nti: “Omwana w’omuntu bw’alijja, alisanga okukkiriza nga kuno ku nsi?” Ekibuuzo ekyo kiyinza kuddibwamu kitya? Nga tuli basanyufu nti abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bangi nnyo okwetooloola ensi, bakiraga mu ssaala zaabwe, obugumiikiriza n’obunyiikivu bwabwe nti balina okukkiriza okw’engeri eno! Bwe kityo ekibuuzo kya Yesu kiyinza okuddibwamu nti yee, alikusangako. Wadde nga kati twolekaganye n’obutali bwenkanya mu nsi ya Setaani eno, tukkiririza ddala nti Katonda ajja ‘kusala omusango mu bwenkanya ku lw’abalonde be.’

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okutegeera obulungi amakulu g’olugero luno, soma Lukka 17:22-33. Weetegereze akakwata akaliwo wakati w’ebyo ebyogerwa ku ‘Mwana w’omuntu’ mu Lukka 17:22, 24, 30 n’ekibuuzo ekiri mu Lukka 18:8.

Ojjukira?

• Kiki ekiviiriddeko Abakristaayo abamu okuddirira mu kukkiriza?

• Lwaki tuli bakakafu nti olunaku lwa Yakuwa olw’omusango lunaatera okujja?

• Lwaki twandinyiikiridde okusaba?

• Okunyiikirira okusaba kunaatuyamba kutya obutaddirira mu kukkiriza?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Bya kuyiga ki ebiri mu lugero lwa nnamwandu n’omulamuzi?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Abantu bangi bakkiriza nti Katonda ajja ‘kusala omusango mu bwenkanya’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share