Engeri gy’Osobola Okutuuka ku Buwanguzi
NG’ABAZADDE bwe bafaayo okuyamba abaana baabwe okubeera obulungi, ne Kitaffe ow’omu ggulu bw’atyo bw’atufaako. Ekiraga nti atufaako, atutegeeza ebituyamba n’ebiyinza okutulemesa okutuuka ku buwanguzi. Baibuli bw’eba eyogera ku muntu assaayo omwoyo ku Katonda ky’agamba, egamba nti: “Buli ky’akola akiweerwako omukisa.”—Zabbuli 1:3.
Bwe kiba bwe kityo, lwaki abantu bangi balemwa okuba n’obulamu obumatiza era obw’essanyu? Zabbuli eno etuwa eky’okuddamu era etulaga engeri naffe gye tusobola okutuuka ku buwanguzi.
‘Okuteesa kw’Ababi’
Omuwandiisi wa zabbuli alabula ku kabi akali mu kutambulira mu “kuteesa kw’ababi.” (Zabbuli 1:1) Asingirayo ddala okuba ‘omubi’ ye Setaani Omulyolyomi. (Matayo 6:13) Ebyawandiikibwa biraga nti ye ‘mufuzi w’ensi’ era nti “ensi yonna eri mu [buyinza bw’o]mubi.” (Yokaana 16:11, NW; 1 Yokaana 5:19) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti amagezi agasinga obungi abantu ge bawa bannaabwe mu nsi gooleka endowooza y’omubi oyo.
Magezi ga ngeri ki ababi ge bawa? Okutwalira awamu, abantu ababi banyooma Katonda. (Zabbuli 10:13) Amagezi gano agooleka obutassa kitiibwa mu Katonda gabunye buli wamu. Abantu ennaku zino bakubiriza “okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu.” (1 Yokaana 2:16) Emikutu gy’empuliziganya gikubiriza abantu ‘okufuna buli kye baagala mu bulamu.’ Mu nsi yonna, amakampuni buli mwaka gasaasaanya doola za Amerika ezisoba mu buwumbi 500 okusikiriza abantu okugula eby’amaguzi—ka kibe nti bakasitoma babyetaaga oba nedda. Kino kireetedde abantu okugula ebintu ebitali bya mugaso nnyo era ne kikyusa n’engeri ensi gy’etunuuliramu obuwanguzi.
Wadde nga kati abantu balina ebintu bingi bye baali tebalowooza kufuna, era basigadde si bamativu. Balowooza nti omuntu bw’ataba na bintu bino tasobola kuba musanyufu. Endowooza eno si ntuufu era ‘teva eri Katonda wabula eva eri ensi.’—1 Yokaana 2:16.
Omutonzi waffe amanyi bulungi ekisobola okututuusa ku buwanguzi. Amagezi ge ga njawulo nnyo ku “kuteesa kw’ababi.” N’olwekyo, okugezaako okusanyusa Katonda ng’eno bwe tutambulira mu kkubo ly’ababi, kiba ng’okugezaako okutambulira mu makubo abiri mu kiseera kye kimu. Kino tekisoboka n’akatono. Tekyewuunyisa Baibuli bw’erabula nti: ‘Empisa zammwe muleme kuzifaananya n’ez’abantu ab’ensi’!—Abaruumi 12:2.
Tokkiriza Kutambulira ku Mitindo gya Nsi
Ensi ya Setaani eyinza okulabika ng’etulumirirwa. Naye tulina okuba abeegendereza. Jjukira nti Setaani yalimba Kaawa, omukazi eyasooka, ng’alina ebibye by’aluubirira. Oluvannyuma yamukozesa okusendasenda Adamu okwonoona. Ne leero Setaani akozesa abantu okusaasaanya obulimba bwe.
Gamba nga David gwe twalabye mu kitundu ekivuddeko, kyali kimwetaagisa okwongera ku biseera by’amala ku mulimu n’okutambula ennyo. Agamba nti: “Awaka nnavangawo ku Bbalaza ku makya ne nkomawo ku Lwokuna akawungeezi.” Olw’okuba baali bakimanyi nti okutuuka ku buwanguzi omuntu alina okukola ennyo, mikwano gye, ab’omu maka ge ne bakozi banne, baakubiriza David nti: “Sigala ku mulimu ku lwa b’omu maka go.” Bamugamba nti kino yali ajja kukikolera emyaka mitono abeere bulungi. David yagamba nti: “Mu kulaba kwabwe kino kyali kijja kuyamba ab’omu maka gange kubanga nnali ŋŋenda kufuna ssente nnyingi era mbeere bulungi. Wadde nga ebiseera bingi nnabeeranga ku mulimu, mikwano gyange bammatiza nti ekyo kye kyandisinze okuganyula ab’omu maka gange.” Okufaananako David, bangi bakola nnyo basobole okufuna buli kye balowooza nti ab’omu maka gaabwe bakyetaaga. Naye okukolera ku magezi ng’ago kiyamba omuntu okutuuka ku buwanguzi? Kiki ddala ab’omu maka kye beetaaga?
David kino yakitegeera lumu bwe yali ali ku lugendo. Agamba nti: “Bwe nnali njogera ne muwala wange Angelica ku ssimu yambuuza nti Taata lwaki toyagala kubeera naffe waka? Kyannuma nnyo.” Ebigambo bya muwala we byamuleetera okulekulira omulimu. David yasalawo okuwa ab’omu maka ge kye baali basinga okwetaaga—bye biseera bye.
Okukolera ku Magezi ga Katonda Kuvaamu Ebirungi
Osobola kukola ki obutatwalirizibwa ndowooza ezitazimba ezicaase ennyo mu nsi? Omuwandiisi wa zabbuli atugamba nti omuntu atuuka ku buwanguzi y’oyo ‘ayagala amateeka ga Yakuwa era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro.’—Zabbuli 1:2.
Katonda bwe yalonda Yoswa okukulembera eggwanga lya Isiraeri, yamugamba: ‘Osomanga Ekigambo kya Katonda emisana n’ekiro.’ Kituufu, okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kyali kikulu, naye era Yoswa yalina ‘okwekuumanga okukola byonna ebikiwandiikiddwamu.’ N’olwekyo, okusoma obusomi Baibuli ku bwakyo tekikutuusa ku buwanguzi, wabula olina okussa mu nkola by’oyiga. Katonda yagamba Yoswa nti: ‘Bw’onookola bw’otyo, ojja kutereeza ekkubo lyo, era ojja kuweebwa omukisa.’—Yoswa 1:8.
Kuba akafaananyi ng’omwana atudde ku mubiri gwa muzadde we nga basoma ku kintu ekibanyumira. Ne bwe kiba nti bakisomye emirundi mingi, akaseera ako ke bamala bombi kaba ka njawulo gye bali. Mu ngeri y’emu, omuntu ayagala Katonda anyumirwa nnyo okusoma Baibuli buli lunaku, kubanga akaseera ako aba akamala ne Kitaawe ow’omu ggulu. Olw’okukolera ku kubuulira kwa Yakuwa, omuntu ng’oyo abeera ‘ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo z’amazzi, ogubala emmere mu ntuuko zaayo, era n’amalagala gaagwo tegawotoka, na buli ky’akola akiweerwako omukisa.’—Zabbuli 1:3.
Omuti omuwandiisi wa zabbuli gw’ayogerako tegwamera gwokka. Omulimi ye yagusimba okumpi n’ensulo z’amazzi era y’agulabirira. Mu ngeri y’emu, Kitaffe ow’omu ggulu atereeza endowooza yaffe ng’ayitira mu kubuulirira okuli mu Byawandiikibwa. N’ekivaamu, tukulaakulanya engeri Katonda z’ayagala.
Kyokka, ‘ababi bwe batyo si bwe bali.’ Kyo kituufu nti bayinza okulabika nga abali obulungi, naye mudda ebibaviiramu tebiba birungi. Tebajja ‘kuyimirira ku lunaku olw’omusango.’ Naye wabula ‘ekkubo lyabwe liribula.’—Zabbuli 1:4-6.
N’olwekyo tokkiriza nsi kukuteerawo bigendererwa. Wadde ng’oyinza okuba n’ebitone ebikusobozesa okufuna ettutumu n’obugagga, weegendereze engeri gy’obikozesaamu oba engeri gy’okkiriza ensi okubikozesa. Okuluubirira okufuna ebintu kisobola okuleetera omuntu ‘okuwotoka.’ Ku luuyi olulala, okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kivaamu ebirungi era kireeta essanyu.
Engeri gy’Oyinza Okutuuka ku Buwanguzi
Lwaki omuntu bw’agoberera okubuulirira kwa Katonda, buli ky’akola kimugendera bulungi? Engeri ensi gy’etunuuliramu obuwanguzi si y’eyo omuwandiisi wa zabbuli gye yali ayogerako. Obuwanguzi Baibuli bw’eyogerako bukwataganyizibwa n’okukola Katonda by’ayagala—era kino bulijjo kivaamu ebirungi. Ka tulabe engeri okukolera ku misingi gya Baibuli gye kuyinza okukutuusa ku buwanguzi.
Mu Maka: Ebyawandiikibwa bikubiriza abaami ‘okwagala bakazi baabwe ng’emibiri gyabwe gyennyini,’ n’abakazi Abakristaayo bakubirizibwa ‘okutyanga babbaabwe.’ (Abaefeso 5:28, 33) Abazadde bakubirizibwa okubeera n’abaana baabwe, okuzannyako n’abo, n’okubayigiriza ebintu ebikulu mu bulamu. (Ekyamateeka 6:6, 7; Omubuulizi 3:4) Ekigambo kya Katonda era kibuulirira abazadde nti: “Temusunguwazanga baana bammwe.” Singa okubuulirira kuno kugobererwa, abaana kibanguyira ‘okugondera n’okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe.’ (Abaefeso 6:1-4) Okukolera ku kubuulirira kuno kuleetera obulamu bw’amaka okuba obulungi.
Emikwano: Abantu abasinga baagala okuba n’emikwano. Twatondebwa nga twagala okwagalibwa era naffe okwagala abalala. Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okwagalananga.’ (Yokaana 13:34, 35) Mu bo tusangamu abo be tusobola okwesiga n’okufuula mikwano gyaffe nfiirabulago. (Engero 18:24) N’ekisinga byonna, bwe tukolera ku misingi gya Baibuli kituyamba “okusemberera Katonda” era tuyinza n’okuyitibwa ‘mikwano gya Katonda’ nga Ibulayimu.—Yakobo 2:23; 4:8.
Ekigendererwa mu Bulamu: Abo abatuuka ku buwanguzi obwa nnamaddala beebo ababeera n’ekigendererwa mu bulamu. Obulamu tebabwesigamya ku bintu bya mu nsi eno eby’akaseera obuseera. Ebiruubirirwa byabwe bibaviirako okufuna essanyu n’okuba abamativu. Omuntu asobola atya okuba n’ekigendererwa mu bulamu? Nga ‘atya Katonda ng’akwata ebiragiro bye. Kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.’—Omubuulizi 12:13.
Essuubi: Katonda bw’aba Mukwano gwaffe nakyo kituwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okwewala “okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda.” Bwe kityo, bandibadde ‘beeterekera eky’okuyimako ekirungi olw’ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu obwa nnamaddala.’ (1 Timoseewo 6:17-19) Obulamu buno obwa nnamaddala bujja kujja ng’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu buzzizzaawo Olusuku lwa Katonda ku nsi.—Lukka 23:43.
K’obe ng’otambulira ku misingi gya Baibuli, ojja kufuna ebizibu, wabula ojja kwewala ebyo abantu ababi bye beereetera. David, gwe twayogeddeko n’abalala bangi bayize omugaso oguli mu kutambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Baibuli. Bwe yafuna omulimu ogutamutwalira nnyo biseera, David yagamba: “Ndi musanyufu olw’enkolagana gye nnina ne mukyala wange n’abaana bange n’enkizo ey’okuweereza Yakuwa Katonda ng’omukadde mu kibiina.” Tekyewuunyisa zabbuli bw’eyogera ku muntu assaayo omwoyo ku kubuulira kwa Katonda nti: “Buli ky’akola akiweerwako omukisa”!
[Ekipande ekiri ku lupapula 6]
EMITENDERA ETAANO EGITUUSA KU BUWANGUZI
1 Weewale okutwalirizibwa endowooza z’ensi.
2 Soma era ofumiitirize ku Kigambo kya Katonda buli lunaku.
3 Kolera ku kubuulirira kwa Baibuli mu bulamu bwo.
4 Katonda mufuule mukwano gwo.
5 Tya Katonda ow’amazima, era okwatenga ebiragiro bye.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Ogoberera emitendera eginaakutuusa ku buwanguzi?