Engeri gy’Oyinza Okuba mu Bulamu Obweyagaza
“Bw’onootereezanga bw’otyo ekkubo lyo, . . . bw’onooweebwanga omukisa bw’otyo.”—YOS. 1:8.
1, 2. (a) Abantu abasinga obungi balowooza nti omuntu alina obulamu obweyagaza y’afaanana atya? (b) Oyinza otya okumanya endowooza gy’olina ku muntu alina obulamu obweyagaza?
OMUNTU alina obulamu obweyagaza y’afaanana atya? Bw’obuuza abantu ekibuuzo ekyo, bakiddamu mu ngeri za njawulo. Abantu abasinga obungi bagamba nti omuntu alina obulamu obweyagaza y’oyo alina ssente ennyingi, alina omulimu omulungi, oba eyasoma ennyo. Abalala bagamba nti omuntu alina obulamu obweyagaza y’oyo alina enkolagana ennungi n’ab’omu maka ge, mikwano gye, oba bakozi banne. Ate abamu ku abo abaweereza Katonda bayinza okugamba nti omuntu alina obulamu obweyagaza y’oyo alina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina oba oyo afunye ebibala ebingi mu mulimu gw’okubuulira.
2 Okusobola okumanya endowooza gy’olina ku muntu alina obulamu obweyagaza, wandiika amannya g’abamu ku bantu be weesiimisa era b’owulira nti oyagala obeere nga bo. Bintu ki abantu abo bye bafaanaganya? Bagagga oba baatiikirivu? Ebyo by’oddamu biyinza okulaga ekyo ekiri ku mutima gwo, era ekyo kirina kinene kye kikola ku ngeri gy’osalawo ku nsonga ezitali zimu ne ku biruubirirwa bye weeteerawo.—Luk. 6:45.
3. (a) Kiki Yoswa kye yalina okukola okusobola okuba n’obulamu obweyagaza? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Ekintu ekisinga obukulu kwe kuba nti Yakuwa atutwala ng’abo abalina obulamu obweyagaza, kubanga abo abasiimibwa mu maaso ge be bajja okufuna obulamu obutaggwawo. Bwe yali akwasa Yoswa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi okukulembera Abaisiraeri okutuuka mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yamulagira okusoma Amateeka “emisana n’ekiro” n’okugakwata. Katonda yamugamba nti: “Bw’onootereezanga bw’otyo ekkubo lyo, era bw’onooweebwanga omukisa bw’otyo.” (Yos. 1:7, 8) Yoswa yalina obulamu obweyagaza. Ate kiri kitya eri ffe? Tuyinza tutya okumanya obanga endowooza gye tulina ku kuba n’obulamu obweyagaza ekwatagana n’eyo Katonda gy’alina? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo ka tulabe abasajja babiri aboogerwako mu Bayibuli.
SULEMAANI YALINA OBULAMU OBWEYAGAZA?
4. Lwaki tuyinza okugamba nti obulamu bwa Sulemaani bwali bweyagaza?
4 Waliwo ebintu bingi ebyaleetera obulamu bwa Sulemaani okuba nga bweyagaza. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga okumala emyaka mingi Sulemaani yakiraga nti yali atya Yakuwa era yamugonderanga. Bwe kityo, Yakuwa yamuwa emikisa mingi. Yakuwa bwe yagamba Kabaka Sulemaani okumusaba ky’ayagala, Sulemaani yamusaba amuwe amagezi asobole okukulembera obulungi abantu. Katonda yaddamu okusaba kwe n’amuwa amagezi n’obugagga. (Soma 1 Bassekabaka 3:10-14.) Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okusinga “amagezi gonna ag’abaana b’ebuvanjuba, n’amagezi gonna ag’e Misiri.” Sulemaani yayatiikirira ‘mu mawanga gonna agaali geetoolodde’ Isiraeri. (1 Bassek. 4:30, 31) Zzaabu Sulemaani gwe yafunanga buli mwaka yali azitowa kiro nga 25,000! (2 Byom. 9:13) Sulemaani yazimba ebizimbe bingi, yakolagananga bulungi n’abakulembeze b’amawanga amalala, era yakolanga nabo bizineesi. Mu butuufu, Sulemaani bwe yali akyalina enkolagana ennungi ne Katonda, yalina obulamu obweyagaza.—2 Byom. 9:22-24.
5. Okusinziira ku bigambo bya Sulemaani, omuntu ayinza atya okuba n’obulamu obweyagaza?
5 Ebyo Sulemaani bye yawandiika mu kitabo ky’Omubuulizi biraga nti yali akimanyi bulungi nti eby’obugagga n’ettutumu si bye bireetera omuntu okuba mu bulamu obweyagaza. Sulemaani yagamba nti: “Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n’okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. Era buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.” (Mub. 3:12, 13) Sulemaani yali akimanyi nti ebintu ebyo okusobola okuleetera omuntu essanyu erya nnamaddala, omuntu alina okuba ng’asiimibwa Katonda, kwe kugamba, ng’alina enkolagana ennungi ne Katonda. Sulemaani yagamba nti: “Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: Otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.”—Mub. 12:13.
6. Ekyokulabirako kya Sulemaani kituyamba kitya okumanya kye kitegeeza okuba n’obulamu obweyagaza?
6 Sulemaani yamala emyaka mingi ng’agondera Katonda. Bayibuli egamba nti: ‘Sulemaani yeeyongera okwagala Yakuwa, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe.’ (1 Bassek. 3:3) Bwe yali akyali mwesigwa eri Katonda, Sulemaani yalina obulamu obweyagaza. Yakuwa yamuwa obulagirizi n’asobola okuzimba yeekaalu eyali erabika obulungi ennyo, era n’asobola okuwandiika ebitabo bya Bayibuli bisatu. Wadde nga tetusuubira kukola bintu nga Sulemaani bye yakola, ekyokulabirako kye yassaawo bwe yali akyali mwesigwa eri Katonda kituyamba okumanya kye kitegeeza okuba n’obulamu obweyagaza n’engeri gye tuyinza okubufunamu. Sulemaani yakiraga nti ebintu, gamba ng’amagezi, eby’obugagga, ettutumu, n’obuyinza, abantu abasinga obungi bye balowooza nti bye bireetera omuntu okuba n’obulamu obweyagaza, byonna butaliimu. Okwemalira ku kunoonya ebintu ng’ebyo kuba “kugoberera mpewo.” Naawe oyinza okuba ng’okirabye nti abantu abaagala ennyo eby’obugagga tebaba bamativu n’ebyo bye baba nabyo, era baba beeraliikirira nti essaawa yonna bayinza okubifiirwa. Mu butuufu, lumu eby’obugagga byabwe byonna bijja kudda mu mikono gy’abalala.—Soma Omubuulizi 2:8-11, 17; 5:10-12.
7, 8. Sulemaani yakiraga atya nti teyali mwesigwa eri Katonda, era biki ebyavaamu?
7 Oluvannyuma lw’ekiseera, Sulemaani yalekera awo okuweereza Katonda n’obwesigwa. Bayibuli egamba nti: “Olwatuuka Sulemaani ng’akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama Katonda we nga bwe gwali omutima gwa Dawudi Kitaawe. . . . Sulemaani n’akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi.”—1 Bassek. 11:4-6.
8 Ekyo kyanyiiza nnyo Yakuwa, bw’atyo n’agamba Sulemaani nti: “Kubanga . . . tokutte ndagaano yange n’amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo.” (1 Bassek. 11:11) Ng’ekyo kyali kibi nnyo! Wadde nga Sulemaani yakola ebintu ebirungi bingi, oluvannyuma yakola ebintu ebyanyiiza Yakuwa. Sulemaani yalekera awo okuba omwesigwa eri Yakuwa era obulamu bwe bwali tebukyeyagaza. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ebyo bye njize ku Sulemaani binannyamba okuba n’obulamu obweyagaza?’
OBULAMU OBWEYAGAZA
9. Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, obulamu bwa Pawulo bwali bweyagaza? Nnyonnyola.
9 Obulamu bw’omutume Pawulo bwali bwa njawulo nnyo ku bwa Kabaka Sulemaani. Pawulo teyali mu lubiri lwa kabaka era teyalyanga na bakabaka. Emirundi mingi Pawulo yalumwanga enjala n’ennyonta, yabeeranga mu bunnyogovu, era oluusi teyabanga na byakwambala. (2 Kol. 11:24-27) Pawulo bwe yakkiriza nti Yesu ye Masiya, abantu abaali mu ddiini y’Ekiyudaaya baalekera awo okumuwa ekitiibwa. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baamukyawa. Yasibibwa mu kkomero, yakubibwa embooko n’enga, era yakubibwa n’amayinja. Pawulo yagamba nti ye awamu ne Bakristaayo banne baavumibwa, baayigganyizibwa, era baayogerwako ebintu ebibi. Era yagamba nti: “Tufuuse ng’ebisasiro by’ensi, obucaafu bw’ebintu byonna n’okutuusa kaakano.”—1 Kol. 4:11-13.
10. Lwaki abamu bayinza okuba nga baali baalowooza nti Pawulo yali ayonoonye obulamu bwe?
10 Pawulo bwe yali akyali muvubuka, bangi baali bamutwala ng’omuntu eyali agenda okuba n’obulamu obulungi. Ayinza okuba nga yali ava mu maka agaali obulungi mu by’enfuna era yayigirizibwa Gamalyeri, omusomesa abantu bangi gwe baali bassaamu ennyo ekitiibwa. Pawulo yagamba nti: “Nnali nkulaakulana nnyo mu ddiini y’Ekiyudaaya, nga nsinga bangi . . . bwe twali twenkanya emyaka.” (Bag. 1:14) Pawulo yali amanyi bulungi Olwebbulaniya n’Oluyonaani era yalina obutuuze bwa Rooma, ekintu abantu basinga obungi kye baali beegomba. Singa yeeyongera okwenoonyeza ebintu ebiri mu nsi, oboolyawo yandigaggawadde nnyo era n’aba mututumufu nnyo. Mu kifo ky’ekyo, yasalawo okutambuza obulamu bwe mu ngeri abantu abalala, oboolyawo n’abamu ku b’eŋŋanda ze, gye baali balowooza nti teyali ya magezi. Lwaki yasalawo okukola bw’atyo?
11. Bintu ki Pawulo bye yali atwala ng’ebikulu, kiki kye yali amaliridde okukola, era lwaki?
11 Pawulo yali ayagala nnyo Yakuwa era ng’ayagala okusiimibwa mu maaso ge. Eby’obugagga n’ettutumu si bye yali atwala ng’ekikulu. Pawulo bwe yayiga amazima, ebintu gamba ng’ekinunulo, omulimu gw’okubuulira, n’essuubi ery’okugenda mu ggulu yatandika okubitwala ng’ebintu ebikulu ennyo, wadde ng’abantu bangi baali tebabitwala ng’ebikulu. Pawulo yali amanyi ensonga Sitaani gye yaleetawo. Sitaani yagamba nti asobola okuggya abantu bonna ku Katonda. (Yob. 1:9-11; 2:3-5) Pawulo yali mumalirivu okweyongera okuweereza Katonda n’obwesigwa ne bwe yandyolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. Ekyo kye kintu bangi mu nsi abaagala okuba n’obulamu obweyagaza kye batalowoozanako.
12. Lwaki wasalawo okussa essuubi lyo mu Katonda?
12 Naawe oli mumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa? Wadde ng’ebiseera ebimu ekyo kiyinza obutaba kyangu, tukimanyi nti bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa atuwa emikisa era atusiima, era ekyo kitusobozesa okuba n’obulamu obweyagaza. (Nge. 10:22) Kituganyula mu kiseera kino, era kijja kutuviiramu emikisa mu biseera eby’omu maaso. (Soma Makko 10:29, 30.) N’olwekyo, tetusaanidde kussa ssuubi lyaffe “mu by’obugagga ebitali bya lubeerera,” wabula tusaanidde okulissa “mu Katonda atuwa byonna mu bungi olw’okutusanyusa.” Bwe tukola bwe tutyo, tuba tunyweza “obulamu obwa nnamaddala” Katonda bwe yatusuubiza. (1 Tim. 6:17-19) Singa osigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa, ba mukakafu nti emyaka nga kikumi oba lukumi oba n’okusingawo okuva kati, olijjukira engeri gye watambuzaamu obulamu bwo n’ogamba nti, “Mazima ddala obulamu bwange nnabutambuza bulungi!”
EBY’OBUGAGGA BYO WE BIBA
13. Kiki Yesu kye yayogera ku kweterekera eby’obugagga?
13 Bwe yali ayogera ku by’obugagga, Yesu yagamba nti: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi, gye biriibwa ebiwuka era gye byonoonebwa obutalagge, era ababbi gye bayinza okubibbira. Wabula mweterekere eby’obugagga mu ggulu gye bitayinza kuliibwa biwuka wadde okwonoonebwa obutalagge era n’ababbi gye batayinza kubibbira. Kubanga eby’obugagga byo we biba n’omutima gwo we gubeera.”—Mat. 6:19-21.
14. Lwaki tekiba kya magezi okwenoonyeza eby’obugagga eby’omu nsi?
14 Eby’obugagga omuntu by’ayinza okuba nabyo teziba ssente zokka. Bisobola okuzingiramu ebintu Sulemaani bye yayogerako, gamba ng’ettutumu n’obuyinza, abantu abasinga obungi bye balowooza nti omuntu bw’aba nabyo aba n’obulamu obweyagaza. Okufaananako Sulemaani, Yesu naye yakiraga nti eby’obugagga eby’omu nsi si bya lubeerera. Oteekwa okuba nga naawe okirabye nti eby’obugagga bisobola okuggwawo essaawa yonna. Bwe yali ayogera ku bintu abantu bangi bye batwala ng’ebikulu, Profesa F. Dale Bruner yagamba nti: “Ettutumu liba lya kaseera buseera. Omuntu eyali omuzira jjo, leero aba takyali muzira. Omuntu abadde omugagga ennyo omwaka guno, omwaka ogujja ayinza okuba omwavu lunkupe. . . . [Yesu] ayagala nnyo abantu. Abayamba okukiraba nti eby’obugagga n’ettutumu omuntu by’ayinza okuba nabyo bisobola okuggwawo essaawa yonna, omuntu n’asigala mu nnaku ey’amaanyi. Yesu tayagala bayigirizwa be bejjuse.” Abantu bangi bakkiriziganya n’ebigambo bya profesa oyo. Naye bameka abakolera ku bigambo bya Yesu? Ggwe obikolerako?
15. Kintu ki kye tusaanidde okutwala ng’ekikulu?
15 Abakulembeze b’amadiini abamu bayigiriza nti kikyamu omuntu okukola ennyo okusobola okuba obulungi. Naye weetegereze nti Yesu yali tagamba nti abantu tebasaanidde kukola kusobola kuba bulungi. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yali akubiriza abayigirizwa be okufuba okukolerera obulamu obusingayo okuba obulungi nga beeterekera “eby’obugagga mu ggulu” gye bitayinza kwonoonekera. Ekintu kye tusaanidde okutwala ng’ekisinga obukulu kwe kuba nti Yakuwa atutwala ng’abantu abalina obulamu obweyagaza. Yesu yalaga nti buli omu ku ffe alina eddembe okusalawo engeri y’okutambuzaamu obulamu bwe. Naye ekituufu kiri nti, engeri gye tusalawo okutambuzaamu obulamu bwaffe eraga ekyo ekiri mu mutima gwaffe, kwe kugamba, ekyo kye tutwala ng’ekikulu mu bulamu.
16. Tuyinza kuba bakakafu ku ki?
16 Bwe tufuba okukola ebisanyusa Yakuwa, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutuwa ebintu bye twetaaga mu bulamu. Okufaananako omutume Pawulo, naffe ebiseera ebimu tuyinza obutaba na kya kulya oba na kya kunywa. (1 Kol. 4:11) Kyokka bulijjo tusaanidde okujjukiranga ebigambo bya Yesu bino: “Temweraliikiriranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’ Ebintu bino byonna amawanga bye geemalirako. Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu bino byonna mubyetaaga. Kale musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.”—Mat. 6:31-33.
OBULAMU OBWEYAGAZA MU MAASO GA KATONDA
17, 18. (a) Obulamu obweyagaza businziira ku ki? (b) Obulamu obweyagaza tebusinziira ku ki?
17 Kikulu okukijjukira nti okuba n’obulamu obweyagaza tekisinziira ku bintu bye tutuuseeko mu bulamu oba ku kifo kye tulina mu nsi. Ate era tekisinziira ku nkizo ze tulina mu kibiina Ekikristaayo. Kyokka okuba n’enkizo mu kibiina kiyinza okulaga nti tugondera Katonda era nti tuli beesigwa gy’ali. Katonda atugamba nti: “Ekyetaagibwa mu bawanika kwe kubeera abeesigwa.” (1 Kol. 4:2) Tusaanidde okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda. Yesu yagamba nti: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” (Mat. 10:22) Abantu abeesigwa bajja kulokolebwa, era ekyo kijja kulaga nti ddala obulamu bwabwe baabutambuza bulungi.
18 Okusinziira ku ebyo bye tulabye, omuntu okuba omwesigwa eri Katonda tekimwetaagisa kuba nga mututumufu, nga yasoma nnyo, nga mugagga, nga mugezi nnyo, ng’alina ebitone, oba ng’alina obusobozi obw’enjawulo. Ka tubeere mu mbeera ki, ffenna tusobola okuba abeesigwa eri Katonda. Abamu ku baweereza ba Katonda abaaliwo mu kyasa ekyasooka, baali bagagga ate abalala baali baavu. Abo abaali abagagga, Pawulo yabagamba nti baalina ‘okukolanga ebirungi, okuba abagagga mu bikolwa ebirungi, okugabanga, n’okugabana n’abalala.’ Abakristaayo bonna, abagagga n’abaavu, baali basobola “okunyweza obulamu obwa nnamaddala.” (1 Tim. 6:17-19) Ne leero bwe kityo bwe kiri. Ffenna tulina okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda n’okuba ‘abagagga mu bikolwa ebirungi.’ Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba n’obulamu obweyagaza mu maaso g’Omutonzi waffe era tujja kuba basanyufu okukimanya nti tusiimibwa mu maaso ge.—Nge. 27:11.
19. Okusobola okufuna obulamu obulungi, kiki ky’omaliridde okukola?
19 Oyinza obutasobola kukyusa ndowooza nsi gy’ekulinako, naye osobola okukyusa engeri gy’otunuuliramu embeera gy’olimu. K’obe mu mbeera ki, fuba okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi mu kiseera kino era ne mu biseera eby’omu maaso. Bulijjo jjukiranga ebigambo bino Yesu bye yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta: “Beeranga mwesigwa okutuukira ddala ku kufa, nja kukuwa engule ey’obulamu.” (Kub. 2:10) Mazima ddala teri bulamu businga obwo!