Weewale Okukozesa Bayibuli mu Ngeri Enkyamu
“EKIGAMBO kya Katonda kiramu, kya maanyi.” (Beb. 4:12) Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti ekigambo kya Katonda kirina amaanyi. Kisobola okutuuka ku mutima gw’omuntu era ne kimuleetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe.
Kyokka, oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, bakyewaggula baatandika okuba n’endowooza enkyamu ku maanyi agali mu Bayibuli. (2 Peet. 2:1-3) Oluvannyuma lw’ekiseera, abakulembeze b’amadiini baatandika okuyigiriza abantu ebintu ebitali bituufu ebikwata ku maanyi agali mu Kigambo kya Katonda. Profesa Harry Y. Gamble yawandiika ku ndowooza enkyamu abantu abamu gye baalina ku maanyi agali mu Bayibuli. Yagamba nti mu kyasa eky’okusatu, Omukulembeze w’eddiini Origen yagamba nti “okuwulira obuwulizi Ekigambo kya Katonda nga kisomebwa kya muganyulo: bwe kiba nti ebigambo by’abalogo birina amaanyi, kati olwo ate ebigambo bya Katonda ebiri mu Byawandiikibwa tebisingawo nnyo.” John Chrysostom eyaliwo mu kyasa eky’okuna yagamba nti, “omulyolyomi tasobola kusemberera nnyumba erimu kitabo kya Njiri.” Era Gamble yagamba nti abantu abamu baabangako ebintu kwe baawandiikanga ebigambo okuva mu bitabo by’Enjiri ne babyambala mu bulago nga balowooza nti byali bijja kubawa obukuumi. Ate era yagamba nti Augustine, eyaliko omukulembeze w’Abakatuliki, “yali akitwala nti omuntu yenna bwe yabanga alumwa omutwe, yabanga asobola okuteeka ekitabo ky’Enjiri ya Yokaana emitwetwe ne guwona”! Enjigiriza ng’ezo zaaleetera abantu okutandika okukozesa Bayibuli mu ngeri enkyamu. Ate kiri kitya eri ggwe? Olowooza kituufu okukozesa Bayibuli ng’ekitabo ekisobola okukukuuma obutatuukibwako kabi?
Waliwo n’engeri endala etali ntuufu abantu gye bakozesaamu Bayibuli. Abantu abamu batera okukwata Bayibuli ne bagibikkula omulundi gumu, era olunyiriri amaaso gaabwe kwe gatuukira balutwala ng’obulagirizi Katonda bw’aba abawadde okugonjoola ekizibu kyabwe. Ng’ekyokulabirako, Profesa Gamble yagamba nti lumu Augustine bwe yawulira omwana omuto ku muliraano ng’agamba nti: “Bikkula osome, bikkula osome,” Augustine yakitwala nti ekiragiro ekyo kyali kivudde eri Katonda era yakwata Bayibuli n’agibikkula omulundi gumu n’asoma olunyiriri amaaso ge kwe gaatuukira.
Wali owuliddeko ku bantu abagamba nti bwe bafuna ekizibu, basaba Katonda era ne babikkula Bayibuli omulundi gumu ne basoma olunyiriri amaaso gaabwe kwe gatuukira nga balowooza nti lujja kubayamba okugonjoola ekizibu kyabwe? Wadde ng’ekigendererwa kyabwe kiyinza obutaba kikyamu, eyo si ye ngeri Abakristaayo gye basaanidde okunoonyaamu obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa.
Yesu yasuubiza okusindikira abayigirizwa be ‘omuyambi, omwoyo omutukuvu, eyandibayigirizza ebintu byonna era n’abajjukiza ebintu byonna bye yali abagambye.’ (Yok. 14:26) N’olwekyo, tufuna obulagirizi mu Bayibuli nga tujjukira ebyo bye tuba twasomako edda, so si nga tubikkula Bayibuli omulundi gumu ne tusoma olunyiriri amaaso gaffe kwe gaba gatuukidde.
Leero abantu bangi bakozesa Bayibuli mu ngeri enkyamu. Kyokka Ekigambo kya Katonda kivumirira eby’obulaguzi. (Leev. 19:26; Ma. 18:9-12; Bik. 19:19) Wadde ‘ng’ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi,’ tulina okukikozesa mu ngeri entuufu. Abo abaagala okufuna obulagirizi obwesigika, basaanidde okwewala okukozesa Bayibuli mu ngeri enkyamu, mu kifo ky’ekyo basaanidde okufuba okufuna okumanya okutuufu okugirimu. Okumanya okutuufu okuli mu Bayibuli kuyambye abantu bangi okuba n’empisa ennungi, okulekayo emize emibi, okufuna essanyu mu maka, n’okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa, Oyo eyawandiisa Bayibuli.