OKYAJJUKIRA?
Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Lwaki Abakristaayo basaanidde okwewala okukozesa Bayibuli mu ngeri enkyamu?
Abantu abamu batera okukwata Bayibuli ne bagibikkula omulundi gumu, era olunyiriri amaaso gaabwe kwe gatuukira balutwala ng’obulagirizi Katonda bw’aba abawadde. Abakristaayo ab’amazima tebalina kukola bwe batyo, kubanga obwo buba bulaguzi. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okufuba okwekenneenya Bayibuli basobole okufuna okumanya okutuufu n’obulagirizi obuva eri Katonda.—12/15, olupapula 3.
‘Nsi’ ki ejja okuggwaawo?
“Ensi” ejja okuggwaawo be bantu abatakola Katonda by’ayagala. (1 Yok. 2:17) Kyokka ensi kwe tuli ejja kusigalawo era n’abantu abeesigwa nabo bajja kusigalawo.—1/1, olupapula 5-7.
Wadde nga Abbeeri yafa, ayogera atya naffe? (Beb. 11:4)
Ayogera naffe okuyitira mu kukkiriza. Bwe twekenneenya engeri gye yayolekamu okukkiriza era ne tumukoppa, aba ng’ayogera naffe.—1/1, olupapula 12.
Bintu ki ebiyinza okutwawukanya ku Katonda?
Mu bintu ebyo mwe muli: emirimu gyaffe, eby’okwesanyusaamu, okukolagana n’ab’eŋŋanda zaffe ababa bagobeddwa mu kibiina, tekinologiya, eby’obulamu, ne ssente.—1/15, olupapula 12-21.
Kiki kye tuyigira ku Musa, omusajja eyali omuwombeefu?
Musa teyakkiriza buyinza bwe yafuna kumuleetera kuba na malala. Mu kifo ky’ekyo, yeesigamanga ku Katonda. Tetusaanidde kukkiriza buyinza bwe tufuna oba bitone bye tulina kutuleetera kuba na malala; mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okwesiga Yakuwa. (Nge. 3:5, 6)—2/1, olupapula 5.
Abantu abanaazuukizibwa banaabeera wa?
Abamu, 144,000, bajja kuzuukizibwa bagende mu ggulu. Naye abantu abasinga obungi bajja kuzuukizibwa babeere wano ku nsi, nga balina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna.—3/1, olupapula 6.
Okuba nti ‘omutima’ gw’Abaisiraeri ‘tegwali mukomole’ kyali kitegeeza ki? (Yer. 9:26)
Baali bajeemu ne kiba nti kyali kibeetaagisa okweggyako ebintu ebyali bikakanyazza emitima gyabwe, kwe kugamba, endowooza zaabwe, ebintu bye baali beegomba, awamu n’ebiruubirirwa byabwe ebyali bikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. (Yer. 5:23, 24)—3/15, olupapula 9-10.
Mu ngeri ki Yesu gye yalina obulamu obw’amakulu?
Yalina ekigendererwa mu bulamu, olw’okuba yali akola Katonda by’ayagala. Yali ayagala nnyo Kitaawe era yali ayagala nnyo n’abantu. Okugatta ku ekyo, yali akimanyi nti Kitaawe naye amwagala era nti amusiima. Ebyo bye bintu ebifuula obulamu okuba obw’amakulu.—4/1, olupapula 4-5.
Ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kizingiramu ki?
Kizingiramu Akakiiko Akafuzi, obukiiko bw’amatabi, abalabirizi abakyalira ebibiina, obukiiko bw’abakadde, ebibiina, n’Abajulirwa ba Yakuwa kinnoomu.—4/15, olupapula 29.
Lwaki tuyinza okugamba nti engeri Katonda gye yazikirizaamu abantu teraga nti mukambwe?
Yakuwa tasanyukira kufa kw’ababi. (Ez. 33:11) Bwe yabanga tannazikiriza bantu mu biseera by’edda, yasookanga kubalabula. Ekyo kiraga nti bw’anaaba azikiriza abantu ababi mu biseera eby’omu maaso, tusobola okuwonawo.—5/1, olupapula 5-6.
Abaisiraeri battanga abamenyi b’amateeka nga babawanika ku muti?
Nedda. Amawanga mangi mu biseera by’edda bwe gatyo bwe gaakolanga, naye Abaisiraeri tebaakolanga bwe batyo. Okusinziira ku Mateeka, omuntu eyabanga agwana okuttibwa yasookanga kuttibwa, oboolyawo ng’akubibwa amayinja, oluvannyuma n’alyoka awanikibwa ku muti. (Leev. 20:2, 27) Ekyo kyakolebwanga okusobola okutangira Abaisiraeri abalala okukola ekibi omuntu oyo kye yabanga akoze.—5/15, olupapula 13.
Lwaki abantu tebasobola kuleeta mirembe ku nsi?
Wadde nga waliwo ebintu bingi ebyewuunyisa abantu bye bakoze, tebalina busobozi bwa kuluŋŋamya makubo gaabwe. (Yer. 10:23) Ate era olw’okuba ensi eri mu buyinza bwa Sitaani, abantu tebasobola kuleeta mirembe ku nsi. (1 Yok. 5:19)—6/1, olupapula 16.